Book of Common Prayer
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi, ey’okujjukiza.
70 (A)Ayi Katonda oyanguwa okundokole.
Ayi Mukama oyanguwe okumbeera.
2 (B)Abo abannoonya okunzita
batabulwetabulwe;
abo abannoonya okunzikiriza,
bagobebwe nga baswadde.
3 Abagamba nti, “Kasonso,”
badduke nga bajjudde ensonyi.
4 Naye bonna abakunoonya
basanyukenga bajagulizenga mu ggwe.
Abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti,
“Katonda agulumizibwenga!”
5 (C)Naye nze ndi mwavu era ndi mu kwetaaga;
oyanguwe okujja gye ndi, Ayi Katonda.
Ggwe onnyamba era ggwe ondokola,
Ayi Mukama, tolwa!
71 (D)Mu ggwe, Ayi Mukama, mwe neekweka,
tondeka kuswazibwa.
2 (E)Mu butuukirivu bwo ondokole, omponye;
ontegere okutu ondokole.
3 (F)Onfuukire olwazi obuddukiro bwange,
ekifo eky’amaanyi;
ondokole
kubanga oli lwazi lwange era ekiddukiro kyange.
4 (G)Ayi Katonda wange omponye mu mukono gw’ababi,
omponye abantu abatali batuukirivu era abakambwe.
5 (H)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, ggwe ssuubi lyange;
ggwe, ggwe neesiga, okuviira ddala mu buvubuka bwange.
6 (I)Neesiga ggwe kasookedde nzalibwa;
ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange.
Nnaakutenderezanga ennaku zonna.
7 (J)Eri abangi nafuuka;
naye ggwe kiddukiro kyange eky’amaanyi.
8 (K)Akamwa kange kajjudde ettendo lyo,
nga ntenda ekitiibwa kyo obudde okuziba.
9 (L)Tonsuula mu kiseera kyange eky’obukadde.
Tondekerera ng’amaanyi gampweddemu.
10 (M)Kubanga abalabe bange banjogerako;
abo abaagala okunzita bansalira olukwe.
11 (N)Bagamba nti, “Katonda amulese,
ka tumugobe tumukwate,
kubanga taliiko anaamuwonya.”
12 (O)Ayi Katonda, tombera wala, Ayi Katonda wange,
yanguwa ojje ombeere.
13 (P)Abo abampawaabira bazikirizibwe nga bajjudde ensonyi,
abanoonya okunnumya baswale
era banyoomebwe.
14 (Q)Naye nze nnaabanga n’essuubi ennaku zonna.
Era nneeyongeranga okukutenderezanga.
15 (R)Akamwa kange kanaayogeranga ku bikolwa byo eby’obutuukirivu obudde okuziba;
nnaayogeranga ku bulokozi bwo,
wadde siyinza kubupima.
16 (S)Nnaatambuliranga mu maanyi go, Ayi Mukama Katonda,
era ne ntegeezanga nti ggwe wekka ggwe mutuukirivu.
17 (T)Ayi Katonda, ggwe wanjigiriza okuva mu buvubuka bwange;
n’okutuusa leero nkyatenda ebikolwa byo eby’ekitalo.
18 (U)Ne bwe ndiba nga nkaddiye nga mmeze n’envi,
tonjabuliranga, Ayi Katonda,
okutuusiza ddala nga mmaze okutendera abo abaliddawo amaanyi go amangi,
n’okumanyisa emirembe egigenda okujja obuyinza bwo.
19 (V)N’obutuukirivu bwo, Ayi Katonda, butuuka mu ggulu.
Ggw’okoze ebikulu,
Ayi Katonda, ani akwenkana?
20 (W)Newaakubadde wandeka ne mbonaabona nnyo bwe ntyo,
ggw’olinzizaamu obulamu,
n’ompa amaanyi amaggya,
n’onnyimusa okuva mu kinnya ekiwanvu ennyo wansi w’ensi.
21 (X)Olinnyongerako ekitiibwa
n’oddamu okunsanyusa.
22 (Y)Nnaakutenderezanga ne nnanga ey’enkoba
olw’obwesigwa bwo, Ayi Katonda wange;
nnaakutenderezanga n’entongooli,
Ayi ggwe Omutukuvu wa Isirayiri.
23 (Z)Nnaayimusanga eddoboozi lyange olw’essanyu
nga nkutendereza,
nze gw’onunudde!
24 (AA)Olulimi lwange nalwo lunaayogeranga ku bikolwa byo eby’obutuukirivu
obudde okuziba,
kubanga abo ababadde baagala okunkola akabi
otabuddetabudde enkwe zaabwe ne baswazibwa.
Zabbuli ya Asafu.
74 (A)Ayi Katonda, lwaki otusuulidde ddala ennaku zonna?
Obusungu bwo lwaki bunyookera ku ndiga z’omu ddundiro lyo?
2 (B)Ojjukire abantu bo be wagula edda;
ekika kye wanunula okuba ababo.
Ojjukire olusozi Sayuuni gye wabeeranga.
3 Tambulatambulako mu bifo by’ekibuga olabe bwe byonooneddwa!
Olabe omulabe nga bw’azikirizza ennyumba yo.
4 (C)Abalabe bo baleekaanira mu kifo kyo gye twakuŋŋaaniranga;
ne bagenda nga bakiramba n’ebendera zaabwe.
5 (D)Beeyisa ng’abantu ababagalidde embazzi
abatema emiti mu kibira.
6 (E)Batemyetemye n’embazzi ebintu ebyole,
era ne babissessebbula n’obubazzi.
7 Bookezza awatukuvu wo;
ne bafaafaaganya ekifo kyo eky’Erinnya lyo.
8 (F)Baateesa nga bagamba nti, “Tujja kubazikiririza ddala!”
Baayokya dda amasinzizo ga Katonda gonna agali mu nsi eno.
9 (G)Tetukyalaba ku bubonero bwo; ne bannabbi tewakyali n’omu.
So tewali n’omu mu ffe ategeera ebyo lwe birikoma.
10 (H)Ayi Katonda, omulabe alituusa ddi ng’akuduulira?
Omulabe anavvoolanga erinnya lyo ennaku zonna? Bazikirize.
11 (I)Lwaki totuyambye n’omukono gwo ogwa ddyo?
Kiki ekikukuumisa omukono gwo ogwa ddyo mu kifuba kyo?
12 (J)Naye ggwe, Ayi Katonda, oli Kabaka wange wa dda;
gw’oleeta obulokozi mu nsi.
13 (K)Ggwe wayawula mu mazzi g’ennyanja;
omulabe n’omuzikiririza mu mazzi.
14 Wamenyaamenya emitwe gya lukwata ogunene;
n’oguwaayo okuba ekyokulya eri ebitonde eby’omu ddungu.
15 (L)Ggwe wazibukula ensulo n’emyala;
ate n’okaza n’emigga
egyakulukutanga bulijjo.
16 (M)Obudde bw’emisana bubwo, n’ekiro kikyo;
ggwe wakola omwezi n’enjuba.
17 (N)Ggwe wateekawo ensalo z’ensi;
ggwe wakola ebiro eby’ekyeya n’eby’obutiti.
18 (O)Jjukira ebyo, Ayi Katonda, olabe okuduula kw’omulabe,
n’abantu abasirusiru nga bwe banyoomodde erinnya lyo.
19 (P)Ayi Katonda, towaayo mwoyo gwa jjiba lyo eri ensolo enkambwe;
so teweerabiriranga ddala bulamu bw’abantu bo ababonyaabonyezebwa.
20 (Q)Ojjukire endagaano yo;
kubanga ensi ejjudde ekizikiza n’abantu abakambwe.
21 (R)Tokkiriza abo abajoogebwa okuwangulwa;
era leka abaavu n’abeetaaga batenderezenga erinnya lyo ennaku zonna.
22 (S)Yimuka, Ayi Katonda, osalire abalabe baffe omusango.
Jjukira abo abatakussaamu kitiibwa, nga bwe bakuduulira obudde okuziba.
23 (T)Tonyooma luyoogaano lw’abalabe bo,
n’okuleekaana okwa buli kiseera.
4 Awo Nnabbi Debola mukazi wa Leppidosi ye yali akulembera Abayisirayiri mu kiseera ekyo. 5 (A)Era bulijjo yatuulanga wansi w’olukindu olwayitibwanga olwa Debola wakati w’e Lama ne Beseri mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi: Abayisirayiri ne bajjanga gyali okubalamula. 6 (B)N’atumya Baraki mutabani wa Abinoamu ave mu Kedesi ekitundu kya Nafutaali, n’amugamba nti, “Mukama Katonda w’Abayisirayiri akulagidde nti, ‘Ggenda okuŋŋaanyize abasajja bo ku lusozi Taboli, obalondemu omutwalo gumu okuva mu kika ekya Nafutaali n’ekya Zebbulooni. 7 (C)Ndisindika gy’oli ku mugga Kisoni, Sisera omuduumizi w’eggye lya Yabini, n’amagaali ge n’abalwanyi be era ndibawaayo mu mikono gyo.’ ” 8 Baraki n’amuddamu nti, “Kale nnaagenda bw’onokkiriza ŋŋende naawe, naye bw’otokkirize nange siigende.”
9 (D)Debola n’amugamba nti, “Wewaawo nnaagenda naawe, naye ekitiibwa n’obuwanguzi tebiibe bibyo, kubanga Mukama aliwaayo Sisera awangulwe mu mikono gy’omukazi.” Baraki n’addayo ne Debola e Kedesi. 10 (E)Baraki n’ayita ab’ekika kya Zebbulooni n’ekya Nafutaali bakuŋŋaanire e Kedesi, abasajja omutwalo gumu ne bamugoberera awamu ne Debola.
Baraki awangula Sisera
11 (F)Keberi Omukeeni[a] yazimba eweema ye okumpi n’omuti omwera e Zaanannimu ekiri okumpi ne Kedesi oluvannyuma lw’okwawukana ne Bakeeni banne, bazzukulu ba Kobabu mukoddomi wa Musa.
12 Awo Sisera bwe yamanya nga Baraki mutabani wa Abinoamu atuuse ku Lusozi Taboli, 13 (G)n’akuŋŋaanya amagaali ge gonna lwenda ag’ekyuma, n’abalwanyi be bonna okuva ku Kalosesi eky’abamawanga okutuuka ku mugga Kisoni.
14 (H)Debola n’agamba Baraki nti, “Mukama si y’akukulembedde! Noolwekyo situkiramu kubanga olwa leero Mukama awaddeyo Sisera mu mikono gyo.” Awo Baraki n’ava ku lusozi Taboli n’abalwanyi be omutwalo gumu. 15 (I)Mukama n’afufuggaza n’ekitala Sisera n’amagaali gonna n’eggye lye lyonna nga Baraki alaba; Sisera n’abuuka mu ggaali lye, n’adduka. 16 (J)Baraki n’afubutula eggye lya Sisera n’amagaali gaalyo okutuuka e Keloseesi eky’amawanga; era n’abatta n’ekitala obutalekaawo yadde n’omu.
Okuttibwa Kwa Sisera
17 Naye Sisera n’addukira eri eweema ya Yayeeri mukazi w’Omukeeni Keberi: Kubanga waaliwo enkolagana wakati wa kabaka w’e Kazoli, Yabini n’ab’omu maka g’Omukeeni Keberi. 18 Yayeeri n’afuluma okusisinkana Sisera; n’amugamba nti, “Mukama wange yingira mu weema yange, totya.” Sisera n’ayingira mu weema. Yayeeri n’amubikkako omunagiro. 19 (K)Namwegayirira nti, “Mpa ku tuzzi nnyweko kubanga ennyonta enzita.” N’asumulula eddiba omufukibwa amata n’amunywesa oluvannyuma n’amubikkako. 20 Sisera n’agamba Yayeeri nti, “Yimirira mu mulyango gwa weema eno, omuntu yenna bw’ajja n’akubuuza obanga muno mulimu omusajja yenna, omuddamu nti, ‘Temuli.’ ”
21 (L)Awo Sisera bwe yali nga ali mu tulo tungi, Yayeeri mukazi wa Keberi n’addira enkondo ya weema n’ennyondo n’amusooberera n’amukomerera enkondo mu kyenyi, n’eyitamu n’ekwata n’ettaka n’afa.
22 Awo Baraki bwe yali nga anoonya Sisera, Yayeeri n’afuluma okumusisinkana, n’amugamba nti, “Jjangu nkulage omusajja gw’onoonya. Baraki n’ayingira mu weema n’alaba omulambo ggwa Sisera nga gukubiddwamu enkondo mu kyenyi.”
23 (M)Ku lunaku olwo Katonda n’awa Abayisirayiri obuwanguzi ku Yabini kabaka wa Kanani.
Matiya Asikira Yuda
15 Awo mu nnaku ezo, Peetero n’ayimirira wakati mu booluganda abaali bakuŋŋaanye nga bawera nga kikumi mu abiri, n’ayogera nti, 16 (A)“Abasajja abooluganda, ebyawandiikibwa ku Yuda eyakulembera ekibiina ekyakwata Yesu byali biteekwa okutuukirira; kubanga ekyo Mwoyo Mutukuvu yali yakitegeeza dda bwe yayogerera mu Dawudi. 17 (B)Yuda yali omu ku ffe, era n’aweebwa omugabo gw’obuweereza buno.”
18 (C)Empeera gye yafuna mu butali butuukirivu bwe, yagigulamu ennimiro, era omwo mwe yagwa n’ayabika n’ebyenda bye ne biyiika. 19 Amawulire ago ne gatuuka ku bantu ab’omu Yerusaalemi, era ennimiro eyo ne bagituuma Akerudama mu lulimi lwabwe, amakulu nti, Ennimiro y’Omusaayi!
20 (D)“Kubanga kyawandiikibwa mu Zabbuli nti,
“ ‘Ekibanja kye kizike,
so kireme okubeerangamu omuntu.’
‘N’obuvunaanyizibwa bwe buweebwe omulala.’
21 Noolwekyo kigwanye okulonda omuntu mu bantu abaayitanga naffe mu biro byonna, eyayingiranga n’afuluma wamu naffe nga tuli ne Mukama waffe Yesu, 22 (E)okuviira ddala ku kubatiza kwa Yokaana okutuusa lwe yatwalibwa mu ggulu, alyoke abeere omujulirwa ow’okuzuukira kwe awamu naffe.”
23 Awo ne balonda abasajja babiri, omu nga ye Yusufu (eyayitibwanga Balusaba ate era nga ye Yusito), n’owokubiri nga ye Matiya. 24 (F)Ne balyoka basaba ne bagamba nti, “Ayi Mukama, gw’omanyi emitima gy’abantu bonna, tulage gw’olonze ku bantu bano ababiri, 25 okubeera mu baweereza buno n’okubeera omutume mu kifo kya Yuda eyatwawukanako n’alaga mu kifo kye ekimusaanira.” 26 (G)Oluvannyuma ne bakuba akalulu, ne kagwa ku Matiya, n’agattibwa ku batume ekkumi n’omu.
55 (A)Waaliwo n’abakazi bangi abaayitanga ne Yesu abaava naye e Ggaliraaya nga bamuweereza, baali beesuddeko akabanga, nga balaba ebigenda mu maaso. 56 (B)Mu bo mmwe mwali Maliyamu Magudaleene ne Maliyamu nnyina wa Yakobo ne Yusufu, ne nnyina w’abaana ba Zebbedaayo.
Okuziika Yesu
57 Obudde bwe bwawungeera, ne wajja omusajja omugagga ng’ava Alimasaya, erinnya lye Yusufu eyali omu ku bagoberezi ba Yesu. 58 N’agenda eri Piraato n’asabayo omulambo gwa Yesu. Piraato n’alagira bagumuwe. 59 Yusufu n’atwala omulambo n’aguzinga mu lugoye olulungi olwa linena, 60 (C)n’agugalamiza mu ntaana ye empya gye yatema mu lwazi, n’addira ejjinja eddene n’aliyiringisiza mu mulyango gw’entaana n’aggalawo, ne yeetambulira. 61 Maliyamu Magudaleene ne Maliyamu munne, bombi baali batudde awo kumpi n’entaana.
Abakuumi ku Ntaana
62 Enkeera, ng’olunaku olusooka mu nnaku z’Embaga y’Okuyitako luweddeko, bakabona abakulu n’Abafalisaayo ne bagenda eri Piraato, 63 (D)ne bamugamba nti, “Oweekitiibwa, omulimba oli tujjukira ng’akyali mulamu yagamba nti, ‘Nga wayiseewo ennaku ssatu ndizuukira.’ 64 Noolwekyo tukusaba olagire entaana ye ekuumibwe, okutuusa ku lunaku olwokusatu, abayigirizwa be baleme kumubbamu, ne balyoka bategeeza abantu nti azuukidde! Singa ekyo kiba bwe kityo, ekyo kye kijja okuba ekibi ennyo okusinga n’ekyasooka.”
65 (E)Piraato n’abaddamu nti, “Mukozese abaserikale bammwe be mulina mugende mugikuume.” 66 (F)Bwe batyo ne bateeka akabonero ak’envumbo ku jjinja eryaggala omulyango gw’entaana, ne bateekawo n’abakuumi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.