Add parallel Print Page Options

17 (A)Era ekibuga n’ebintu byamu byonna bya kuweebwayo eri Mukama bizikirizibwe okuggyako Lakabu yekka malaaya, oyo n’abantu be baanaabeera nabo mu nju ye. Kubanga yakweka abakessi baffe be twasindikayo. 18 (B)Naye mmwe mwekuume ebyo ebiweereddwayo eri Mukama okuzikirizibwa muleme kubitwala kubanga kiyinza okuleetera Abayisirayiri bonna ekikolimo n’okuzikirira. 19 (C)Kyokka ffeeza ne zaabu n’ebintu byonna eby’ekikomo n’eby’ekyuma bitukuvu eri Mukama era byakutereka mu ggwanika lya Mukama.”

Read full chapter

Ananiya ne Safira

Waaliwo omusajja erinnya lye Ananiya ne mukyala we Safira, n’atunda ebibye (A)ne yeeterekerako ku muwendo, mukazi we naye ng’amanyi, n’aleetako kitundu butundu n’akiteeka ku bigere by’abatume.

Read full chapter