Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 118

118 (A)Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;
    okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

(B)Kale Isirayiri ayogere nti,
    “Okwagala kwa Mukama kubeerera emirembe gyonna.”
N’ab’ennyumba ya Alooni boogere nti,
    “Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
Abo abatya Mukama boogere nti,
    “Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”

(C)Bwe nnali mu nnaku empitirivu, nakoowoola Mukama,
    n’annyanukula, n’agimponya.
(D)Mukama ali ku ludda lwange, siriiko kye ntya.
    Abantu bayinza kunkolako ki?
(E)Mukama ali nange, ye anyamba.
    Abalabe bange nnaabatunuuliranga n’amaaso ag’obuwanguzi.

(F)Kirungi okwesiga Mukama
    okusinga okwesiga omuntu.
(G)Kirungi okuddukira eri Mukama
    okusinga okwesiga abalangira.
10 (H)Ensi zonna zanzinda ne zinneebungulula,
    naye mu linnya lya Mukama naziwangula.
11 (I)Banneebungulula enjuuyi zonna;
    naye mu linnya lya Mukama nabawangula.
12 (J)Bankuŋŋaanirako ne banneebungulula ng’enjuki;
    naye ne basirikka ng’amaggwa agakutte omuliro;
    mu linnya lya Mukama nabawangula.
13 (K)Bannumba n’amaanyi mangi, ne mbulako katono okugwa;
    naye Mukama n’annyamba.
14 (L)Mukama ge maanyi gange, era lwe luyimba lwange,
    afuuse obulokozi bwange.

15 (M)Muwulire ennyimba ez’essanyu ez’obuwanguzi,
    nga ziyimbirwa mu weema z’abatuukirivu nti,
    “Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!
16 Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gugulumizibbwa;
    omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!”
17 (N)Sijja kufa, wabula nzija kuba mulamu,
    ndyoke ntegeeze ebyo byonna Mukama by’akoze.
18 (O)Mukama ambonerezza nnyo,
    naye tandese kufa.
19 (P)Munzigulirewo emiryango egy’obutuukirivu,
    nnyingire, neebaze Mukama.
20 (Q)Guno gwe mulyango omunene ogwa Mukama,
    abatuukirivu mmwe banaayingiriranga.
21 (R)Nkwebaza kubanga onnyanukudde
    n’ofuuka obulokozi bwange.

22 (S)Ejjinja abazimbi lye baagaana lye
    lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.
23 Kino Mukama ye yakikola;
    era ffe tukiraba nga kya kitalo mu maaso gaffe.
24 Luno lwe lunaku Mukama lw’akoze;
    tusanyuke tulujagulizeeko.

25 Ayi Mukama tukwegayiridde, tulokole,
    Ayi Mukama tukwegayiridde otuwe obuwanguzi.

26 (T)Alina omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.
    Tubasabidde omukisa nga tuli mu nnyumba ya Mukama.
27 (U)Mukama ye Katonda,
    y’atwakiza omusana.
Mukumbire wamu nga mukutte amatabi mu ngalo zammwe n’ekiweebwayo kyammwe
    kituukire ddala ku mayembe g’ekyoto.

28 (V)Ggwe Katonda wange, nnaakwebazanga;
    ggwe Katonda wange, nange nnaakugulumizanga.

29 Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
    n’okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

Zabbuli 145

Oluyimba lwa Dawudi olw’okutendereza.

145 (A)Nnaakugulumizanga ggwe Katonda wange, era Kabaka wange;
    era nnaatenderezanga erinnya lyo buli lunaku emirembe n’emirembe.
(B)Nnaakutenderezanga buli lunaku;
    era nnaasuutanga erinnya lyo emirembe n’emirembe.

(C)Mukama mukulu, wa kitiibwa, era asaanira okutenderezebwanga ennyo,
    n’obukulu bwe tebwogerekeka.
(D)Buli mulembe gunaatenderanga gunnaagwo ebikolwa byo,
    era gunaatendanga emirimu gyo egy’amaanyi.
(E)Nnaatendanga obukulu n’obulungi bw’ekitiibwa kyo,
    era nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
(F)Abantu banaatendanga amaanyi g’ebikolwa byo eby’ekitalo,
    nange nnaatendanga obukulu bwo obw’ekitiibwa.
(G)Banaayogeranga ku bulungi bwo obw’ekitalo nga bajaguza;
    era banaayimbanga olw’obutuukirivu bwo.

(H)Mukama wa kisa, ajudde okusaasira,
    alwawo okusunguwala era ajudde okwagala okutaggwaawo.

(I)Mukama mulungi eri buli muntu,
    era okusaasira kwe kubuna byonna bye yatonda.
10 (J)Byonna bye watonda binaakutenderezanga, Ayi Mukama;
    n’abatukuvu bo banaakugulumizanga.
11 Banaayogeranga ku kitiibwa ky’obwakabaka bwo,
    era banaatendanga amaanyi go.
12 (K)Balyoke bategeeze abantu bonna ebikolwa byo eby’amaanyi,
    n’ekitiibwa ky’obukulu obw’obwakabaka bwo.
13 (L)Obwakabaka bwo, bwakabaka bwa lubeerera,
    n’obufuzi bwo bwa mirembe na mirembe.

Mukama by’ayogera byonna bya bwesigwa,
    n’ebikolwa bye bijjudde okusaasira.
14 (M)Mukama awanirira abo bonna abazitoowereddwa,
    era ayimusa bonna abagwa.
15 (N)Amaaso g’abantu bonna gatunuulira ggwe, Ayi Mukama,
    era bonna gw’obawa ebyokulya mu biseera byabyo.
16 (O)Oyanjuluza engalo zo,
    ebiramu byonna n’obigabira bye byetaaga ne bikkuta.

17 Mukama mutuukirivu mu bikolwa bye byonna
    era ayagala byonna bye yatonda.
18 (P)Mukama abeera kumpi n’abo bonna abamukoowoola;
    abo bonna abamukoowoola mu mazima.
19 (Q)Abo bonna abamussaamu ekitiibwa abawa bye baagala,
    era awulira okukaaba kwabwe n’abawonya.
20 (R)Mukama akuuma bonna abamwagala,
    naye abakola ebibi alibazikiriza.

21 (S)Akamwa kange kanaatenderezanga Mukama,
    era na buli kitonde kinaatenderezanga erinnya lye ettukuvu
    emirembe n’emirembe.

Zekkaliya 9:9-16

(A)Sanyuka nnyo ggwe omuwala wa Sayuuni:
    leekaana nnyo, ggwe omuwala wa Yerusaalemi;
laba, kabaka wo ajja gy’oli;
    mutuukirivu era muwanguzi;
    muwombeefu era yeebagadde endogoyi,
    endogoyi ento, omwana gw’endogoyi.
10 (B)Efulayimu ndimuggyako amagaali,
    ne Yerusaalemi muggyeko embalaasi ennwanyi,
    n’omutego gw’obusaale gulimenyebwa
era alireeta emirembe mu mawanga,
    n’obufuzi bwe buliva ku nnyanja emu butuuke ku nnyanja endala
    era buve ku mugga Fulaati butuuke ku nkomerero z’ensi.
11 (C)Naawe ggwe, olw’omusaayi gw’endagaano gye nakola naawe,
    ndisumulula abasibe bo okuva mu bunnya obutaliimu mazzi.
12 (D)Mudde mu nkambi yammwe mmwe abasibe abalina essuubi;
    nangirira leero nti ndibadizaawo emirundi ebiri.
13 (E)Yuda ndigiweta ng’omutego ogw’obusaale
    ngujjuze Efulayimu.
Ndiyimusa batabani ba Sayuuni,
    balwane n’abaana bo, ggwe Buyonaani,
    mbakozese ng’ekitala eky’omutabaazi.

14 (F)Era Mukama alirabika ng’ali waggulu waabwe,
    akasaale ke kamyanse ng’okumyansa kw’eggulu.
Mukama Katonda alifuuwa ekkondeere,
    n’akumbira mu muyaga ogw’omu bukiikaddyo.
15     (G)Mukama ow’Eggye alibakuuma.
Balirinnyirira ne bawangula envuumuulo,
    balinywa ne baleekaana ng’abatamiivu.
    Balijjula ng’ekibya ekikozesebwa okumansira ku nsonda z’ekyoto.
16 (H)Ku lunaku olwo Mukama Katonda alirokola abantu be
    ng’omusumba bw’alokola ekisibo ky’endiga ze.
Balitangalijja mu nsi ye,
    ng’amayinja ag’omuwendo bwe gatemagana mu ngule.

1 Peetero 3:13-22

13 (A)Bwe munaafubanga okukola ekituufu, ani anaabakolanga akabi? 14 (B)Naye era ne bwe munaabonyaabonyezebwanga olw’obutuukirivu, mulina omukisa. “Temutya bye batya; temutekemuka.” 15 (C)Mutyenga Mukama waffe Kristo mu mitima gyammwe. Era bulijjo mubenga beetegefu okuddamu buli ababuuza okunnyonnyola essuubi lyammwe, 16 (D)era muddengamu n’obuwombeefu, awamu n’eggonjebwa. Mubenga ba mutima mulungi, abo ababavuma era ababoogerako ekibi olw’empisa zammwe ennungi olw’okuba nga muli ba Kristo, balyoke baswale. 17 (E)Okubonyaabonyezebwanga olw’okukola obulungi, bwe kuba nga kwe kusiima kwa Katonda, kusinga okubonyaabonyezebwa olw’okukola ekibi. 18 (F)Kubanga ddala Kristo yabonyaabonyezebwa olw’ebibi omulundi gumu, Omuntu Omutuukirivu ku lw’abatali batuukirivu, alyoke abaleete eri Katonda bwe yattibwa mu mubiri, kyokka n’abeera mulamu mu mwoyo. 19 (G)Era omwoyo gwe, gwe gwagenda okubuulira Enjiri emyoyo egyali mu kkomera. 20 (H)Egyo gy’emyoyo egy’abo edda abaagaana okuwulira Katonda ng’akyabagumiikiriza, mu kiseera Nuuwa kye yazimbiramu eryato, abantu abatono, omunaana gwokka, mwe baawonyezebwa amazzi. 21 (I)Amazzi ago gaali kabonero ak’okubatizibwa mulyoke mulokolebwe kaakano. Kubanga okubatizibwa tekitegeeza kunaazibwako kko lya mubiri, wabula kitegeeza kwewaayo eri Katonda nga tumaliridde okukola by’ayagala, ng’atuwadde omutima omulongoofu olw’okuzuukira kwa Yesu Kristo, 22 (J)eyalinnya mu ggulu era atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ng’afuga bamalayika n’aboobuyinza, n’abaamaanyi ab’omu ggulu.

Matayo 21:1-13

Yesu ayingira n’Ekitiibwa mu Yerusaalemi

21 (A)Awo Yesu n’abayigirizwa be bwe baali basemberera Yerusaalemi nga batuuse kumpi n’ekibuga Besufaage ku lusozi lwa Zeyituuni, Yesu n’atuma babiri ku bayigirizwa be. N’abagamba nti, “Mugende mu kibuga ekiri mu maaso, bwe munaaba mwakakiyingira mujja kulaba endogoyi ng’esibiddwa awo wamu n’omwana gwayo. Muzisumulule muzireete wano. Naye omuntu yenna bw’anaabaako ky’abagamba, mumuddamu nti, ‘Mukama waffe y’azeetaaga,’ amangwago ajja kuziweereza.”

Kino kyabaawo okutuukiriza ebigambo nnabbi bye yayogera nti,

(B)“Mubuulire omuwala wa Sayuuni nti,
    ‘Laba Kabaka wammwe ajja gye muli
nga muwombeefu,
    nga yeebagadde omwana gw’endogoyi.’ ”

Awo abayigirizwa ababiri ne bagenda ne bakola nga Yesu bwe yabalagira. Ne baleeta endogoyi n’omwana gwayo, ne baaliirako eminagiro gyabwe ku ndogoyi, n’agyebagala. (C)Abantu bangi ne baaliira engoye zaabwe mu luguudo n’abalala ne batema amatabi g’emiti ne bagaalira mu luguudo. (D)Ebibiina ebyamukulembera, n’ebyo ebyamuva emabega ne bireekaana nti,

“Ozaana Omwana wa Dawudi!”

“Aweereddwa omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.”

“Ozaana waggulu ennyo!”

10 Awo Yesu bwe yayingira mu Yerusaalemi, ne wabaawo oluyoogaano mu kibuga kyonna nga beebuuza nti, “Ono ye ani?”

11 (E)Abaali mu kibiina ne baddamu nti, “Ono ye Yesu Nnabbi ava mu Nazaaleesi eky’omu Ggaliraaya.”

Yesu mu Yeekaalu

12 (F)Awo Yesu n’ayingira mu Yeekaalu n’agobamu abasuubuzi bonna n’avuunika emmeeza z’abaali bawaanyisa ensimbi n’entebe z’abaali batunda amayiba. 13 (G)N’abagamba nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu,’ naye mmwe mugifudde ‘empuku y’abanyazi.’[a]

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.