Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 137

137 (A)Twatuula ku mabbali g’emigga gy’e Babulooni,
    ne tukaaba amaziga bwe twajjukira Sayuuni.
Ne tuwanika ennanga zaffe
    ku miti egyali awo.
(B)Abaatunyaga ne batulagira okuyimba,
    abaatubonyaabonya ne batulagira okusanyuka;
    nga bagamba nti, “Mutuyimbireyo lumu ku nnyimba za Sayuuni.”

Tunaayimba tutya oluyimba lwa Mukama
    mu nsi eteri yaffe?
Bwe nnaakwerabiranga, ggwe Yerusaalemi,
    omukono gwange ogwa ddyo gukale!
(C)Olulimi lwange lwesibire waggulu w’ekibuno kyange
    singa nkwerabira,
ggwe Yerusaalemi, ne sikulowoozaako
    okusinga ebintu ebirala byonna.

(D)Jjukira, Ayi Mukama, batabani ba Edomu kye baakola,[a]
    ku lunaku Yerusaalemi lwe kyawambibwa;
ne baleekaana nti, “Kisuule,
    kimalirewo ddala n’emisingi gyakyo.”
(E)Ggwe omuwala wa Babulooni, agenda okuzikirizibwa,
    yeesiimye oyo alikusasula ebyo
    nga naawe bye watukola.
(F)Yeesiimye oyo aliddira abaana bo
    n’ababetentera[b] ku lwazi.

Zabbuli 144

Zabbuli ya Dawudi.

144 (A)Atenderezebwe Mukama, olwazi lwange,
    atendeka emikono gyange okulwana,
    era ateekerateekera engalo zange olutalo.
(B)Mukama anjagala ye Katonda wange era kye kiddukiro kyange,
    ge maanyi gange amangi era ye mulokozi wange.
Ye ngabo yange mwe neekweka.
    Awangula amawanga n’agassa wansi w’ebigere byange.

(C)Ayi Mukama, omuntu kye ki ggwe okumufaako,
    oba omwana w’omuntu, ggwe okumulowoozaako?
(D)Omuntu ali nga mukka.
    Ennaku ze ziri ng’ekisiikirize ekiyita obuyisi.

(E)Yawula mu ggulu lyo, Ayi Mukama, okke!
    Kwata ku nsozi zinyooke omukka!
(F)Myansa abalabe basaasaane,
    era lasa obusaale bwo obazikirize.
(G)Ogolole omukono gwo ng’osinziira waggulu ennyo,
    omponye,
onzigye mu mazzi amangi,
    era onzigye mu mikono gya bannamawanga;
(H)ab’emimwa egyogera eby’obulimba,
    abalayira nti kya mazima, so nga bulimba bwereere.

(I)Ayi Mukama, nnaakuyimbiranga oluyimba oluggya;
    nnaakukubiranga ennanga ey’enkoba ekkumi,
10 (J)ggwe awa bakabaka obuwanguzi;
    amponya, nze omuddu wo Dawudi, ekitala ekyogi.

11 (K)Ndokola, omponye onzigye
    mu mukono gwa bannamawanga bano
ab’emimwa egyogera eby’obulimba,
    era omukono gwabwe ogwa ddyo gwa bulimba.

12 (L)Batabani baffe mu buvubuka bwabwe, Ayi Mukama,
    babeere ng’ebisimbe ebikulidde ddala obulungi,
ne bawala baffe babe ng’empagi ennungi ez’oku nsonda
    okuzimbirwa ennyumba ya kabaka mu lubiri.
13 Amawanika gaffe gajjule ebibala
    ebya buli ngeri.
Endiga zaffe zizaale
    enkumi n’obukumi zijjule amalundiro gaffe.
14     Ente zaffe ziwalule ebizito.
Ebisenge by’ekibuga bireme kumenyebwa.
    Waleme kubaawo kukaaba
    n’okwaziirana kwonna mu nguudo ez’omu bibuga byaffe.
15 (M)Abantu abaweereddwa emikisa egyo beesiimye!
    Balina omukisa abantu abo abalina Katonda waabwe nga ye Mukama.

Zabbuli 104

104 (A)Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange.

Ayi Mukama Katonda wange, oli mukulu nnyo;
    ojjudde obukulu n’ekitiibwa.

(B)Yeebika ekitangaala ng’ayeebikka ekyambalo
    n’abamba eggulu ng’eweema,
    (C)n’ateeka akasolya k’ebisulo bye eby’oku ntikko kungulu ku mazzi;
ebire abifuula amagaali ge,
    ne yeebagala ebiwaawaatiro by’empewo.
(D)Afuula empewo ababaka be,
    n’ennimi z’omuliro ogwaka abaweereza be.

(E)Yassaawo ensi ku misingi gyayo;
    teyinza kunyeenyezebwa.
(F)Wagibikkako obuziba ng’ekyambalo;
    amazzi ne gatumbiira okuyisa ensozi ennene.
(G)Bwe wagaboggolera ne gadduka;
    bwe gaawulira okubwatuka kwo ne gaddukira ddala;
(H)gaakulukutira ku nsozi ennene,
    ne gakkirira wansi mu biwonvu
    mu bifo bye wagategekera.
Wagassizaawo ensalo ze gatasaana kusukka,
    na kuddayo kubuutikira nsi.

10 (I)Alagira ensulo ne zisindika amazzi mu biwonvu;
    ne gakulukutira wakati w’ensozi.
11 Ne ganywesa ebisolo byonna eby’omu nsiko;
    n’endogoyi ne gazimalako ennyonta.
12 (J)Ebinyonyi eby’omu bbanga bizimba ebisu byabyo ku mabbali g’amazzi,
    ne biyimbira mu matabi.
13 (K)Afukirira ensozi ennene ng’osinziira waggulu gy’obeera;
    ensi n’ekkuta ebibala by’emirimu gyo.
14 (L)Olagira omuddo ne gukula okuliisa ente,
    n’ebirime abantu bye balima,
    balyoke bafune ebyokulya okuva mu ttaka.
15 (M)Ne wayini okusanyusa omutima gwe,
    n’ebizigo okwesiiga awoomye endabika ye,
    n’emmere okumuwa obulamu.
16 Emiti gya Mukama gifuna amazzi mangi;
    gy’emivule gy’e Lebanooni gye yasimba.
17 (N)Omwo ebinyonyi mwe bizimba ebisu byabyo;
    ne ssekanyolya asula mu miti omwo.
18 (O)Ku nsozi empanvu eyo embulabuzi ez’omu nsiko gye zibeera;
    n’enjazi kye kiddukiro ky’obumyu.

19 (P)Wakola omwezi okutegeeza ebiro;
    n’enjuba bw’egwa n’eraga olunaku.
20 (Q)Oleeta ekizikiza, ne buba ekiro;
    olwo ebisolo byonna eby’omu bibira ne biryoka bivaayo.
21 (R)Empologoma ento zikaabira emmere gye zinaalya;
    nga zinoonya ebyokulya okuva eri Katonda.
22 (S)Enjuba bw’evaayo ne zigenda, n’oluvannyuma
    ne zikomawo ne zigalamira mu mpuku zaazo.
23 (T)Abantu ne bagenda ku mirimu gyabwe,
    ne bakola okutuusa akawungeezi.

24 (U)Ayi Mukama, ebintu bye wakola nga bingi nnyo!
    Byonna wabikola n’amagezi ag’ekitalo;
    ensi ejjudde ebitonde byo.
25 (V)Waliwo ennyanja, nnene era ngazi,
    ejjudde ebitonde ebitabalika,
    ebintu ebirina obulamu ebinene era n’ebitono.
26 (W)Okwo amaato kwe gaseeyeeyera nga galaga eno n’eri;
    ne galukwata ge wakola mwe gabeera okuzannyiranga omwo.

27 (X)Ebyo byonna bitunuulira ggwe
    okubiwa emmere yaabyo ng’ekiseera kituuse.
28 (Y)Bw’ogibiwa,
    nga bigikuŋŋaanya;
bw’oyanjuluza engalo zo n’obigabira ebintu ebirungi
    ne bikkusibwa.
29 (Z)Bw’okweka amaaso go
    ne byeraliikirira nnyo;
bw’obiggyamu omukka nga bifa,
    nga biddayo mu nfuufu.
30 Bw’oweereza Omwoyo wo,
    ne bifuna obulamu obuggya;
    olwo ensi n’ogizza buggya.

31 (AA)Ekitiibwa kya Katonda kibeerengawo emirembe gyonna;
    era Mukama asanyukirenga ebyo bye yakola.
32 (AB)Atunuulira ensi, n’ekankana;
    bw’akwata ku nsozi ennene, ne zinyooka omukka.

33 (AC)Nnaayimbiranga Mukama obulamu bwange bwonna;
    nnaayimbanga nga ntendereza Katonda wange ennaku zonna ze ndimala nga nkyali mulamu.
34 (AD)Ebirowoozo byange, nga nfumiitiriza, bimusanyusenga;
    kubanga mu Mukama mwe neeyagalira.
35 (AE)Naye abakola ebibi baggweewo ku nsi;
    aboonoonyi baleme kulabikirako ddala.

Weebaze Mukama, gwe emmeeme yange.

Mumutenderezenga Mukama.

Zekkaliya 14:12-21

12 (A)Ono ye kawumpuli Mukama gw’alikubisa amawanga gonna agaalwanyisa Yerusaalemi. Emibiri gyabwe girivunda nga bakyali balamu. Amaaso gabavundire mu biwanga, n’ennimi zibavundire mu kamwa. 13 (B)Ku lunaku olwo Mukama alireetera abantu ekyekango eky’amaanyi. Buli muntu alikwata omukono gwa munne nga balwanagana. 14 (C)Ne Yuda alirwanira mu Yerusaalemi era obugagga bw’ensi zonna eziriraanyeewo bukuŋŋaanyizibwe, zaabu n’effeeza n’ebyambalo bingi nnyo nga nabyo bikuŋŋaanyizibbwa. 15 (D)Era kawumpuli ng’oli aligwa ku mbalaasi, ne ku nnyumbu, ne ku ŋŋamira, n’endogoyi, ne ku nsolo zonna eziriba mu bisulo ebyo.

16 (E)Abo abalisigalawo ku mawanga agaalumba Yerusaalemi banaayambukanga buli mwaka okusinza Mukama kabaka ow’Eggye era n’okukwatanga embaga ey’ensiisira. 17 (F)Omuntu yenna mu nsi bw’ataagendenga Yerusaalemi kusinza Mukama Kabaka ow’Eggye, taafunenga nkuba. 18 (G)Abamisiri bwe bataagendenga kwetabamu, tebaafunenga nkuba. Mukama anaabareeteranga kawumpuli, gwakubisa amawanga agatagenda kukwata mbaga ey’ensiisira. 19 Ekyo kye kinaabanga ekibonerezo kya Misiri n’amawanga gonna agataayambukenga kukwata mbaga ya nsiisira.

20 (H)Ku lunaku olwo ekigambo kino, “kitukuvu eri Mukama Katonda,” kinaawandikibwa ku bide by’embalaasi era n’entamu ezifuumbirwamu mu nnyumba ya Mukama zinaabeeranga ng’ebibya ebitukuvu mu maaso g’ekyoto. 21 (I)Weewaawo, buli nsuwa mu Yerusaalemi ne mu Yuda eneebanga ntukuvu mu maaso ga Mukama ow’Eggye; n’abo bonna abanajjanga okuwaayo ssaddaaka banaafumbiranga mu zimu ku ntamu ezo. Era ku lunaku olwo, waliba tewakyali Mukanani mu nnyumba ya Mukama ow’Eggye.

Abafiripi 2:1-11

Mulabire ku Kristo

(A)Kale bwe wabaawo okubazaamu endasi kwonna mu Kristo, oba okusanyusa kwonna okw’okwagala, oba okussa ekimu mu mwoyo, oba okwagala okw’engeri yonna, oba okusaasira, (B)mutuukirize essanyu lyange, mulowoozenga bumu, nga mulina okwagala, n’omwoyo gumu, nga mulowooza bumu, (C)nga temukola kintu na kimu olw’okuvuganya wadde okwewaana okutaliimu, wabula mu bwetoowaze nga buli muntu agulumiza munne okusinga bwe mwegulumiza mwekka, nga buli muntu tatunuulira bibye yekka, naye ng’afaayo ne ku by’abalala.

(D)Mubengamu endowooza eri eyali mu Kristo Yesu,

(E)ye newaakubadde nga yali mu kifaananyi kya Katonda,
    Teyeerowooza kwenkanankana ne Katonda,
(F)wabula yeewaayo n’afuuka ng’omuddu,
    era n’azaalibwa ng’omuntu,
    era n’alabikira mu kifaananyi ky’omuntu,
(G)ne yeetoowaza,
    n’aba muwulize n’okutuukira ddala ku kufa,
    ate okufa okw’okukomererwa ku musaalaba.

(H)Katonda kyeyava amugulumiza,
    n’amuwa erinnya erisinga amannya gonna;
10 (I)buli vviivi ery’abo abali mu ggulu n’abali ku nsi,
    era n’abali wansi w’ensi liryoke lifukaamirirenga erinnya lya Yesu,
11 (J)era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama,
    Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa.

Lukka 19:41-48

Yesu Akaabira Yerusaalemi

41 (A)Awo Yesu bwe yali ng’asemberera ekibuga Yerusaalemi, bwe yakirengera, n’akikaabira. 42 N’agamba nti, “Singa otegedde leero ebireeta emirembe ebyakulagirwa! Naye kaakano bikukwekeddwa, amaaso go tegayinza kubiraba. 43 (B)Ekiseera kigenda kutuuka abalabe bo lwe balikuzimbako ekigo okukwetooloola ne bakuzinda, 44 (C)ne bakumerengulira ku ttaka munda mu bisenge byo ggwe n’abaana bo. Abalabe bo tebalirekawo jjinja na limu nga litudde ku linnaalyo, kubanga omukisa Katonda gwe yakuwa ogw’okulokolebwa wagaana okugukozesa.”

Yesu mu Yeekaalu

45 Awo Yesu n’ayingira mu Yeekaalu n’agobamu abaali batundiramu. 46 (D)N’abagamba nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Ennyumba yange eneebanga ya kusinzizangamu,’ naye mmwe mugifudde ‘empuku y’abanyazi.’ ”

47 (E)Okuva mu kiseera ekyo Yesu n’ayigirizanga mu Yeekaalu buli lunaku. Naye bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka, n’abakulembeze b’Abayudaaya ne bagezaako okufuna akaagaanya we banaamuttira. 48 Naye ne balemwa kubanga abantu bonna baamussaako nnyo omwoyo nga bamuwuliriza.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.