Add parallel Print Page Options

32 (A)Awo olulituuka buli alikoowoola
    erinnya lya Mukama okusaasirwa alirokoka.
Kubanga mu lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi
    walibaawo abaliwona
    nga Mukama bw’ayogedde,
ne mu abo abalifikkawo
    mulibaamu abo Mukama b’aliyita.”

Read full chapter

16 (A)Mukama aliwuluguma ng’ayima ku Sayuuni;
    alibwatuka n’eddoboozi lye ng’asinziira mu Yerusaalemi.
    Eggulu n’ensi birikankana.
Naye Mukama aliba ekiddukiro ky’abantu be,
    era ekigo ky’abaana ba Isirayiri eky’amaanyi.

Read full chapter

21 (A)Abanunuzi balyambuka ku Lusozi Sayuuni,
    okufuga ensozi za Esawu.
    Obwakabaka buliba bwa Mukama.”

Read full chapter

(A)Ku lunaku olwo amazzi amalamu galikulukuta okuva mu Yerusaalemi; agamu gagende mu nnyanja ey’Ebuvanjuba n’amalala mu nnyanja ey’Ebugwanjuba; mu kyeya ne mu ttoggo.

Read full chapter