Menu
Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo
account
A new Bible Gateway experience is here. Spot something unexpected? Tell us what needs a closer look.
Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo
Understand more as you read. Try Bible Gateway Plus.
  • Read
    • Reading Plans
    • Advanced Search
    • Available Versions
    • Audio Bibles
  • Study
    • Scripture Engagement
    • More Resources
  • News
  • Explore
    • Newsletters
    • Devotionals
    • Bible Gateway App
    • Bible Audio App
    • Take a Tour
  • Store
    • Bibles
    • Deals
    • More
  • Bible Gateway Plus
LCB
Version
Bible Books Bible Books
LCB
Version
Read
Study
News
Explore
Store
Bible Gateway Plus
Light Mode Dark Mode
Font Size
Log In show menu
Previous Next
Print PrintSettingsSettingsShare ShareParallelParallelExpandExpandCollapse

Yoweeri 3  Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Abalabe ba Isirayiri Basalirwa Omusango

3 (A)“Mu nnaku ezo, era mu biseera ebyo,
    Yuda n’ekibuga Yerusaalemi ndibiddiza emikisa gyabyo nga bwe gyabanga edda.
2 (B)Ndikuŋŋaanya abamawanga bonna
    ne mbaserengesa mu kiwonvu Yekosafaati,
ne mbasalira omusango
    olwa byonna bye baakola abantu bange Abayisirayiri ab’obusika bwange.
Kubanga baasaasaanya Abayisirayiri mu mawanga,
    ne bagabana ensi yange.
3 (C)Baagabana abantu bange nga babakubirako obululu;
    ne batunda abalenzi olw’abakazi bamalaaya,
n’abawala ne babatundamu omwenge
    ne beenywera.

4 (D)“Mwe Ttuulo ne Sidoni n’enjuyi zonna ez’Abafirisuuti, mmwe b’ani ku Nze? Nnina kye nabakola kye mugezaako okwesasuza? Bwe munaaba nga mugezaako kwesasuza, ebikolwa byammwe nzija kubibakyusizaako mangwago. 5 (E)Kubanga mwatwala effeeza yange ne zaabu yange n’ebintu byange eby’omuwendo omungi ne mubissa mu masabo gammwe. 6 Mwatwala abantu b’omu Yuda ne mu Yerusaalemi ne mubatunza Abayonaani.

7 (F)“Laba, ndibaggyayo mu mawanga gye mwabatunda; mmwe mbakole nga bwe mwabakola. 8 (G)Batabani bammwe ne bawala bammwe ndibaguza batabani ba Yuda, nabo balibaguza abantu ab’omu ggwanga ery’ewala ennyo, ery’e Seba.” Ebyo Mukama y’abyogedde.

Bakabona Balangirira Omusango eri Abaamawanga

9 (H)Bakabona mulangirire mu mawanga bwe muti nti,
    Mwetegekere olutalo!
Muyite abalwanyi bammwe ab’amaanyi,
    buli mulwanyi yenna asembere ajje mu lutalo.
10 (I)Enkumbi zammwe muziweeseemu ebitala,
    n’obwambe bwammwe mubuweeseemu amafumu;
omunafu agambe nti,
    “Ndi wa maanyi.”
11 (J)Mujje mangu mwe mwenna abamawanga agatwetoolodde,
    mukuŋŋaanire mu kiwonvu.
Ayi Mukama, weereza eggye lyo libalumbe.
12 (K)“Amawanga geeteeketeeke
    gajje mu kiwonvu ekya Yekosafaati;
kubanga eyo gye ndisinzira
    ne nsalira amawanga gonna ageetoolodde wano omusango.
13 (L)Kozesa oluwabyo lwo,
    kubanga ekiseera eky’amakungula kituuse.
Mujje mubabetente nga bwe mulinnyirira emizabbibu mu ssogolero
    okutuusa envinnyo lw’ekulukuta,
    ekibi kyabwe kinene nnyo.”

14 (M)Abantu bukadde na bukadde
    abali mu kiwonvu eky’okusalirwamu omusango!
Kubanga olunaku lwa Mukama lusembedde
    lwaliramulirako mu kiwonvu eky’okusalirwamu omusango.
15 Ekizikiza kibuutikidde enjuba n’omwezi,
    n’emmunyeenye tezikyayaka.
16 (N)Mukama aliwuluguma ng’ayima ku Sayuuni;
    alibwatuka n’eddoboozi lye ng’asinziira mu Yerusaalemi.
    Eggulu n’ensi birikankana.
Naye Mukama aliba ekiddukiro ky’abantu be,
    era ekigo ky’abaana ba Isirayiri eky’amaanyi.
17 (O)“Kale mulimanya nga Nze Mukama Katonda wammwe,
    abeera ku lusozi lwange olutukuvu Sayuuni.
Era Yerusaalemi kinaabeeranga kitukuvu,
    nga ne bannamawanga tebakyakirumba.

18 (P)“Olunaku luli bwe lulituuka, ensozi ziritonnyesa wayini omuggya,
    n’obusozi bulikulukusa amata,
    n’emigga gyonna egya Yuda emikalu girikulukusa amazzi.
Ensulo eriva mu nnyumba ya Mukama
    n’efukirira ekiwonvu kya Sittimu.
19 (Q)Misiri erifuuka amatongo
    n’ensi ya Edomu erifuuka ddungu jjereere
olw’ebikolobero bye baakola ku bantu ba Yuda,
    ensi mwe battira abantu abatalina musango.
20 (R)Naye mu Yuda mulibeeramu abantu ennaku zonna,
    ne Yerusaalemi kiribeerawo emirembe gyonna.
21 (S)Ndyesasuza olw’omusaayi ogw’abo abattibwa,
    era teriba mutemu asonyiyibwa.
Kubanga Mukama abeera mu Sayuuni.”

Cross references

  1. 3:1 : Yer 16:15
  2. 3:2 : Ez 36:5
  3. 3:3 : Am 2:6
  4. 3:4 : a Mat 11:21 b Is 34:8
  5. 3:5 : 2By 21:16-17
  6. 3:7 : Is 43:5-6; Yer 23:8
  7. 3:8 : a Is 60:14 b Is 14:2
  8. 3:9 : a Is 8:9 b Yer 46:4
  9. 3:10 : a Is 2:4; Mi 4:3 b Zek 12:8
  10. 3:11 : a Ez 38:15-16; Zef 3:8 b Is 13:3
  11. 3:12 : Is 2:4
  12. 3:13 : a Kos 6:11; Mat 13:39; Kub 14:15-19 b Kub 14:20
  13. 3:14 : Is 34:2-8; Yo 1:15
  14. 3:16 : a Am 1:2 b Ez 38:19 c Yer 16:19
  15. 3:17 : a Yo 2:27 b Is 4:3
  16. 3:18 : a Kuv 3:8 b Is 30:25; 35:6 c Kub 22:1-2 d Ez 47:1; Am 9:13
  17. 3:19 : Ob 10
  18. 3:20 : Am 9:15
  19. 3:21 : Ez 36:25
Next
Yoweeri 2
Amosi 1
Next
dropdown
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo

Font Size

Font Size

Dark Mode

Light Mode Dark Mode

About

  • About
  • Learn About the Bible
  • Statement of Faith
  • Mobile App
  • Store
  • Blog
  • Newsroom
  • Support Us

Help

  • FAQs
  • Tutorials
  • Use Bible Gateway on Your Site
  • Advertise with us
  • Contact us
  • Privacy policy
  • California Privacy Rights
  • Do Not Sell My Personal Information
  • Site: Terms of use
  • Widget: Terms of use

Our Network

  • FaithGateway
  • StudyGateway
  • ChurchSource
  • HarperCollins Christian Publishing
  • Grupo Nelson
  • Editorial Vida
  • Thomas Nelson
  • WestBow Press
  • Zondervan
  • MasterLectures

Social

  • Facebook
  • Instagram
  • Pinterest
  • TikTok
  • X
  • YouTube

Preferences

  • Versión en español
  • Preferences
  • Classic Bible Gateway
Sign Up for Bible Gateway: News & Knowledge
Get weekly Bible news, info, reflections, and deals in your inbox.

By submitting your email address, you understand that you will receive email communications from Bible Gateway, operated by HarperCollins Christian Publishing, 501 Nelson Pl, Nashville, TN 37214 USA, including commercial communications and messages from partners of Bible Gateway. You may unsubscribe from Bible Gateway’s emails at any time. If you have any questions, please review our Privacy Policy or email us at privacy@biblegateway.com.

Preferences

  • Versión en español
  • Preferences
  • Classic Bible Gateway