Add parallel Print Page Options

29 (A)“Kubanga mulikwatibwa ensonyi olw’emiti
    mwe mwenyumiririzanga,
n’olw’ennimiro
    ze mweroboza.

Read full chapter

Isirayiri, Atali Mwesigwa

(A)Mu nnaku z’obufuzi bwa kabaka Yosiya Mukama yayogera nange n’aŋŋamba nti, “Olabye Isirayiri etali neesigwa ky’ekoze? Agenze ku buli kasozi na buli wansi w’omuti oguyimiridde ne yeeyisa ng’omukazi omwenzi.

Read full chapter

(A)Naye buli lwe nayongeranga okuyita Isirayiri,
    nabo gye beeyongeranga okusemberayo
ne bawaayo ssaddaaka eri Babaali,
    ne bootereza ebifaananyi ebyole obubaane.

Read full chapter

Isirayiri Ebonerezebwa olw’Okusinza bakatonda abalala

20 (A)Mukama ow’eggye agamba nti,

“Isirayiri, ebbanga ddene eriyiseewo bukya weggya mu buyinza bwange,
    n’ogamba nti, ‘Sijja kukugondera.’
Era ddala, ku buli kasozi era na buli wansi w’omuti oguyimiridde
    wakuba obwamalaaya
    ng’ovuunamira bakatonda abalala.

Read full chapter

17 (A)Mukama kyava akuddamu nti,

“ ‘Mukazi wo alifuuka malaaya mu kibuga
    era n’abaana bo aboobulenzi n’aboobuwala balifa ekitala.
Ettaka lyo lirigabanyizibwamu ne liweebwa abalala
    naawe kennyini olifiira mu nsi ey’abakafiiri.
Ekituufu kiri nti abantu ba Isirayiri balitwalibwa mu buwaŋŋanguse,
    ne baggyibwa mu nsi yaboobwe.’ ”

Read full chapter

13 (A)Ndimubonereza olw’ennaku
    ze yayotereza obubaane eri Babaali,
ne yeeyambaza empeta n’ebintu eby’omuwendo ennyo,
    n’agenda eri baganzi be,
    naye nze n’aneerabira,”
    bw’ayogera Mukama.

Read full chapter