Add parallel Print Page Options

Ekitiibwa kya Sayuuni Ekijja

60 (A)“Yimuka, oyake, kubanga ekitangaala kyo kizze kyase
    era ekitiibwa kya Mukama kikwakirako.
(B)Kubanga laba ensi eribikkibwa ekizikiza
    era n’ekizikiza ekikutte ennyo kibikke abantu baamawanga gonna,
naye ggwe Mukama alikwakirako
    era ekitiibwa kye kikulabikeko.
(C)Amawanga galijja eri omusana gwo
    ne bakabaka eri okumasamasa okunaakubangako ng’ojja.

(D)“Yimusa amaaso go olabe;
    abantu bo bonna bakuŋŋaana okujja gy’oli
batabani bo abava ewala ne bawala bo
    abasituliddwa mu mikono.
Kino oli wakukirabako ojjule essanyu,
    omutima gwo, gujjule okweyagala n’okujaguza.
Obugagga bw’amawanga bulyoke bukuleetebwe,
    era n’ebirungi byonna eby’omu nnyanja birikweyuna.
(E)Ebisibo by’eŋŋamira birijjula ensi yammwe,
    eŋŋamira ento ez’e Midiyaani ne Efa.[a]
Era ne zonna ez’e Seba zirijja nga zeetisse zaabu n’obubaane
    okulangirira ettendo lya Katonda.
(F)N’ebisibo byonna eby’e Kedali birikukuŋŋanyizibwa,
    endiga ennume ez’e Nebayoosi zirikuweereza.
Zirikkirizibwa ng’ekiweebwayo ku kyoto kyange
    era ndyolesa ekitiibwa kyange mu yeekaalu yange.

(G)“Bano baani abaseyeeya nga ebire,
    ng’amayiba agadda mu bisu byago?

Read full chapter

Footnotes

  1. 60:6 Midiyaani lyali ggwanga lya balunzi ba nsolo abaatambulatambulanga mu bukiikaddyo bw’obugwanjuba bwa Yoludaani. Efa ye yali mutabani wa Midiyaani