Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 35:11-28

11 (A)Abajulizi abakambwe bagolokoka
    ne bambuuza ebintu bye sirinaako kye mmanyi.
12 (B)Bwe mbayisa obulungi bo bampisa bubi,
    ne banakuwaza omwoyo gwange.
13 (C)So nga bwe baalwala nanakuwala ne nnyambala ebibukutu,
    ne neerumya nga nsiiba, ne nsaba Mukama nga nkotese omutwe,
naye okusaba kwange bwe kutaddibwamu,
14     ne mbeera mu nnaku
    ng’ankungubagira ow’omukwano
oba owooluganda nkoteka omutwe gwange mu buyinike
    ng’akaabira nnyina.
15 (D)Naye bwe nagwa mu kabi ne beekuŋŋaanya nga basanyuse;
    ne bannumba nga simanyi,
    ne bampayiriza obutata.
16 (E)Banduulidde n’ettima ng’abatamanyi Katonda bwe bakola,
    ne bannumira obujiji.
17 (F)Ayi Mukama, olituusa ddi ng’otunula butunuzi?
    Nziruukirira nga bannumba, obulamu bwange obuwonye okutaagulwataagulwa,
    obulamu bwange obw’omuwendo eri empologoma zino.
18 (G)Nnaakwebalizanga mu lukuŋŋaana olukulu,
    ne nkutenderezanga mu kibiina ky’abantu abangi ennyo.
19 (H)Tokkiriza balabe bange kunneeyagalirako,
    abankyawa awatali nsonga;
abankyayira obwereere
    tobakkiriza kunziimuula.
20 Teboogera bya mirembe,
    wabula okuwaayiriza abantu abeetuulidde emirembe mu nsi.
21 (I)Banjasamiza akamwa kaabwe ne boogera nti,
    “Leero luno, ky’okoze tukirabye n’amaaso gaffe.”

22 (J)Bino byonna obirabye, Ayi Mukama.
    Noolwekyo tosirika. Tonsuulirira, Ayi Mukama.
23 (K)Golokoka ojje onnyambe;
    nnwanirira Ayi Katonda wange era Mukama wange.
24 Mu butuukirivu bwo nnejjeereza, Ayi Mukama Katonda wange,
    tobaganya kunneeyagalirako.
25 (L)Tobaleka kulowooza nti, “Leero luno! Kino kye twali twagala!”
    Oba nti, “Tumusaanyizzaawo!”

26 (M)Abo bonna abanneeyagalirako olw’ennaku yange ne beesanyusa,
    batabulwetabulwe era baswazibwe;
abo bonna abanneegulumirizaako
    baswazibwe era banyoomebwe.
27 (N)Abo abasanyuka ng’annejjeereza,
    baleekaanire waggulu olw’essanyu n’okujaganya;
era boogerenga nti, “Mukama agulumizibwe,
    asanyuka omuweereza we ng’atebenkedde.”

28 (O)Olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo,
    era nnaakutenderezanga olunaku lwonna.

Okuva 35:1-29

Ebiragiro bya Ssabbiiti

35 (A)Awo Musa n’akuŋŋaanya ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri, n’abagamba nti, “Bino bye bintu Mukama by’abalagidde okukola. (B)Munaakolanga emirimu mu nnaku omukaaga; naye olunaku olw’omusanvu lunaabanga Lwassabbiiti, lutukuvu, munaaluwummulanga awali Mukama. Buli anaakoleranga omulimu ku lunaku olwo anattibwanga. (C)Temukumanga muliro mu nnyumba zammwe ku lunaku Lwassabbiiti.”

Ekiragiro ky’Eweema ya Mukama

Musa n’agamba ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri nti, “Kino Mukama ky’alagidde. Mutoole ku bye mulina muweeyo eri Mukama. Buli omu aweeyo, nga bw’ayagala mu mutima gwe ebiweebwayo eri Mukama:

“zaabu, ne ffeeza, n’ekikomo;

n’olugoye olwa bbululu, n’olwa kakobe, n’olumyufu, n’olugoye olwa linena erangiddwa mu wuzi ennungi;

n’obwoya bw’embuzi,

n’amaliba g’endiga ennume amakunye amannyike mu langi emyufu, n’ekika ky’eddiba ekirala ekiwangaazi;

n’embaawo z’omuti gwa akasiya,

n’amafuta g’ettaala,

n’ebyakaloosa eby’okukozesa mu mafuta ag’okwawula, ne mu bubaane obw’okunyookeza,

n’amayinja aga onuku n’amayinja amalala ag’omuwendo, ag’okutona ku kkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi era ne ku kyomukifuba.

10 (D)“Abo bonna mu mmwe abakugu mu kukola, muveeyo mujje mukole ebyo byonna Mukama by’atulagidde:

11 (E)“Eweema ya Mukama Omukuŋŋaanirwa n’olugoye lwayo n’ekibikkako, n’ebisiba, n’embaawo, n’emikiikiro, n’empagi zaayo, n’ebituurwamu;

12 (F)essanduuko ey’Endagaano n’emisituliro gyayo, n’ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira, n’eggigi erigisiikiriza;

13 (G)emmeeza n’emisituliro gyayo ne byonna ebigibeerako, n’emigaati gya Mukama egy’okulaga;

14 (H)ekikondo ky’ettaala n’ebigenderako, ettaala n’amafuta gaazo;

15 (I)ekyoto eky’okwoterezaamu obubaane n’emisituliro gyakyo; amafuta ag’okwawula, n’obubaane obw’akawoowo;

olutimbe olw’omu mulyango oguyingira mu Weema ya Mukama;

16 (J)ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa n’ekitindiro kyakyo eky’ekikomo; emisituliro gyakyo ne byonna ebikozeserwako;

ebbensani ey’ekikomo ne ky’etuulako;

17 (K)entimbe ez’oku bisenge eby’omu luggya n’empagi zaazo ne mwe zituula; n’olutimbe olw’omu mulyango ogulaga mu luggya;

18 enkondo z’eweema n’ez’omu luggya n’emiguwa gyazo;

19 (L)ebyambalo ebiruke ebyambalwa mu kuweereza mu Kifo Ekitukuvu, bye byambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, n’ebyambalo bya batabani be bye bakozesa mu bwakabona nga baweereza.”

Abantu Baleeta Ebirabo Byabwe

20 Awo abantu bonna ab’ekibiina ky’abaana ba Isirayiri ne bava awali Musa ne bagenda. 21 Buli eyayagala, era ng’omwoyo gwe bwe gwamukubiriza, n’awaayo eri Mukama eby’okukozesa Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ebikozesebwamu byonna, n’eby’okukozesa ebyambalo ebitukuvu. 22 Abasajja n’abakazi bonna abaayagala mu mitima gyabwe ne bajja; ne baleeta ebikwaso eby’omuwendo, empeta ez’omu matu, n’empeta ez’oku ngalo, n’ebikomo, n’ebirala ebya zaabu ebitali bimu; buli muntu n’awaayo ekirabo ekya zaabu eri Mukama. 23 (M)Era buli muntu eyalina olugoye olwa bbululu, oba olwa kakobe, oba olumyufu, oba olwa linena ennungi, oba olw’obwoya bw’embuzi; oba amaliba amakunye ag’endiga ensajja oba ag’embuzi, byonna ne babireeta. 24 Buli omu eyalina eky’okuwaayo ekya ffeeza oba eky’ekikomo, yakireeta n’akiwaayo eri Mukama; era na buli musajja eyalina olubaawo olwa akasiya nga luyinza okugasa mu mulimu ogwali gukolebwa, yaluleeta n’aluwaayo. 25 (N)Abakazi bonna abaali bamanyi ennyo okulanga ewuzi, ne balanga n’engalo zaabwe ewuzi eza bbululu, n’eza kakobe, n’emyufu n’eza linena omuyonde obulungi, ne bazireeta ne baziwaayo. 26 Era n’abakazi bonna abaali abakugu era nga beeyagalidde, ne balanga ewuzi mu bwoya bw’embuzi. 27 (O)Awo abakulembeze ne baleeta amayinja aga onuku, n’amayinja amalala ag’omuwendo, gasalibwe galyoke gatonebwe ku kkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi ne ku ky’omu kifuba. 28 (P)Era ne baleeta n’ebyakaloosa, n’amafuta g’ettaala, n’amafuta ag’okwawula n’okukozesa ku bubaane. 29 (Q)Abaana ba Isirayiri bonna, abasajja n’abakazi, abaalina omutima ogwagala okuleeta ekintu kyonna olw’omulimu Mukama gwe yali alagidde Musa okukolebwa, ne bakireeta ng’ekiweebwayo kyabwe kye baawaayo eri Mukama nga beesiimidde.

Ebikolwa by’Abatume 10:9-23

Peetero Alabikirwa

(A)Ku lunaku olwaddirira bwe baali basemberera ekibuga, essaawa zaali ziwera nga mukaaga ez’omu ttuntu, Peetero n’alinnya waggulu ku kasolya k’ennyumba akaali akatereevu, okusaba. 10 (B)Yali ali eyo enjala n’emuluma, naye bwe baali bamuteekerateekera ekyokulya embeera ye n’ewaanyisibwa n’ayolesebwa. 11 N’alaba eggulu nga libikkuse, ekintu ekifaanana ng’essuuka ennene ennyo, nga kinywezebbwa ku nsonda zaakyo ennya, nga kikka wansi ku ttaka. 12 Kyalimu ebisolo ebirina amagulu ana byonna, n’ebyewalula byonna eby’oku nsi n’ennyonyi zonna ez’omu bbanga. 13 Awo n’awulira eddoboozi nga ligamba nti, “Peetero, situka osale, olye!”

14 (C)Peetero n’addamu nti, “Nedda, Mukama wange, kubanga siryanga ku kintu kya muzizo oba ekitali kirongoofu.”

15 (D)Eddoboozi ne liddamu okwogera naye omulundi ogwokubiri nti, “Ekyo Katonda ky’amaze okulongoosa tokiyitanga ekitali kirongoofu.”

16 Ne kiba bwe kityo emirundi esatu, amangwago ekintu ekyo ekiri ng’essuuka ne kizzibwayo mu ggulu.

17 (E)Peetero n’abeera awo ng’asamaaliridde. Ne yeebuuza amakulu g’okwolesebwa okwo, ne yeebuuza ne ky’asaana okukola, byonna nga bimusobedde. Mu kiseera ekyo ababaka abaatumibwa Koluneeriyo, ennyumba baali baakagizuula era nga bayimiridde wabweru ku luggi 18 nga babuuza obanga awo Simooni ayitibwa Peetero we yabeeranga.

19 (F)Awo Peetero bwe yali ng’akyebuuza eby’okwolesebwa okwo, Mwoyo Mutukuvu n’amugamba nti, “Laba, abasajja basatu bakunoonya. 20 (G)Situka okke wansi ogende nabo awatali kulwa kubanga nze mbatumye.”

21 Bw’atyo Peetero n’akka wansi, n’agamba abasajja abaatumibwa nti, “Ye nze gwe munoonya. Kiki ekibaleese?”

22 (H)Ne bamuddamu nti, “Koluneeriyo omukulu w’ekitongole y’atutumye. Musajja mwegendereza, atya Katonda era Abayudaaya bonna bamussaamu ekitiibwa. Yalabikirwa malayika wa Katonda n’amugamba akuyite ojje mu nnyumba ye omutegeeze Katonda by’ayagala akole.” 23 (I)Awo Peetero n’abayingiza mu nnyumba ne basulawo ekiro ekyo. Enkeera n’agenda n’abo ng’awerekerwako abooluganda abamu ab’omu Yopa.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.