Add parallel Print Page Options

Ekyoto ky’Obubaane

30 (A)“Onookola ekyoto mu miti gya akasiya, okwoterezangako obubaane. (B)Kya kwenkanankana, sentimita amakumi ana mu ttaano buli ludda mu buwanvu ne mu bugazi; era kinaabeera n’obugulumivu bwa sentimita kyenda. Kubeeko amayembe amakole mu muti ogw’ekyoto nga si mayungeko buyunzi. Ekyoto okiteekeko zaabu kyonna, waggulu ne mu mbiriizi, ne ku mayembe. Era kikolereko omuge ogwa zaabu okukyetooloola. Wansi w’omuge, mu mbiriizi z’ekyoto zombi, kolerawo empeta bbiri eza zaabu, okuyisaamu emisituliro gyakyo nga waliwo gye kitwalibwa. Emisituliro ogikole mu muti gwa akasiya, era ogiteekeko zaabu. (C)Ekyoto kitereeze mu maaso g’eggigi awali essanduuko ey’endagaano, awali ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira, ekiri ku Ndagaano; awo we nnaakusisinkana.

Read full chapter

25 (A)Bino byonna obikolemu amafuta amatukuvu ag’okusiiga, nga bigattikibbwa bulungi ng’ebikoleddwa omutabuzi w’eby’akawoowo, ne galyoka gabeera amafuta amatukuvu ag’okufukibwangako.

Read full chapter

Ebyakaloosa

34 Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Ddira ebyakaloosa bino eby’omuwendo ennyo: sitakite, n’onuka, ne galabano, n’obubaane obuka, nga byenkanankana obuzito, 35 (A)Okolemu ebyakaloosa eby’omuwendo, bibe ng’ebikoleddwa omukugu w’ebyakaloosa. Obiteekemu omunnyo bibeere birongoofu era nga bitukuvu. 36 (B)Onoggyako ekitundu n’okisa ne kifuuka lufufugge, n’okiteeka okwolekera Essanduuko ey’Endagaano mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, awo we nnaakusisinkananga. Ekyo kinaabeeranga kitukuvu nnyo, gy’oli. 37 (C)Temwekoleranga ebyakaloosa ebyammwe ku bwammwe mu ntabula eno; bino binaabanga bitukuvu era nga bya Mukama. 38 (D)Omuntu yenna alikola ebibifaanana yeesanyuse olw’akaloosa kaabyo, anaawaŋŋangusibwanga, n’ava mu bantu b’ewaabwe.”

Read full chapter