Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ekitiibwa kya Sayuuni Ekijja
60 (A)“Yimuka, oyake, kubanga ekitangaala kyo kizze kyase
era ekitiibwa kya Mukama kikwakirako.
2 (B)Kubanga laba ensi eribikkibwa ekizikiza
era n’ekizikiza ekikutte ennyo kibikke abantu baamawanga gonna,
naye ggwe Mukama alikwakirako
era ekitiibwa kye kikulabikeko.
3 (C)Amawanga galijja eri omusana gwo
ne bakabaka eri okumasamasa okunaakubangako ng’ojja.
4 (D)“Yimusa amaaso go olabe;
abantu bo bonna bakuŋŋaana okujja gy’oli
batabani bo abava ewala ne bawala bo
abasituliddwa mu mikono.
5 Kino oli wakukirabako ojjule essanyu,
omutima gwo, gujjule okweyagala n’okujaguza.
Obugagga bw’amawanga bulyoke bukuleetebwe,
era n’ebirungi byonna eby’omu nnyanja birikweyuna.
6 (E)Ebisibo by’eŋŋamira birijjula ensi yammwe,
eŋŋamira ento ez’e Midiyaani ne Efa.[a]
Era ne zonna ez’e Seba zirijja nga zeetisse zaabu n’obubaane
okulangirira ettendo lya Katonda.
Zabbuli ya Sulemaani.
72 Ayi Katonda, kabaka omuwe okuba omwenkanya,
ne mutabani we omuwe obutuukirivu,
2 (A)alyoke alamulenga abantu bo mu butuukirivu,
n’abaavu abalamulenga mu mazima.
3 Ensozi zireeterenga abantu bo okukulaakulana
n’obusozi bubaleetere obutuukirivu.
4 (B)Anaalwaniriranga abaavu,
n’atereeza abaana b’abo abeetaaga,
n’omujoozi n’amusaanyaawo.
5 Abantu bakutyenga ng’enjuba n’omwezi gye bikoma
okwaka mu mirembe gyonna.
6 (C)Abeere ng’enkuba bw’etonnya ku muddo ogusaliddwa,
afaanane ng’oluwandaggirize olufukirira ensi.
7 (D)Obutuukirivu bweyongere nnyo mu mulembe gwe,
n’okufuga kwe kujjule emirembe okutuusa omwezi lwe gulikoma okwaka!
10 (A)Bakabaka b’e Talusiisi[a] n’ab’oku bizinga eby’ewala
bamuwenga omusolo;
bakabaka b’e Syeba n’ab’e Seeba[b]
bamutonerenga ebirabo.
11 Bakabaka bonna banaavuunamanga mu maaso ge;
amawanga gonna ganaamuweerezanga.
12 Kubanga anaawonyanga eyeetaaga bw’anaamukoowoolanga,
n’omwavu ne kateeyamba ataliiko mwasirizi.
13 Anaasaasiranga omunafu n’omwavu;
n’awonya obulamu bwa kateeyamba.
14 (B)Anaabanunulanga mu mikono gy’omujoozi n’abawonya obukambwe bwe;
kubanga obulamu bwabwe bwa muwendo mungi gy’ali.
Omulimu gwa Pawulo mu Baamawanga
3 (A)Nze Pawulo, Kristo Yesu yanfuula omusibe we, nsobole okuyamba mmwe Abaamawanga.
2 (B)Mwawulira ekisa kya Katonda kye naweebwa okubayamba. 3 (C)Nga bwe nasooka okubawandiikira mu bimpimpi, Katonda alina okubikkulirwa okw’ekyama kwe yandaga. 4 (D)Bwe munaasoma ebbaluwa eno mujja kusobola okutegeera ebyo bye mmanyi ku kyama kya Kristo. 5 (E)Mu biro eby’edda, tewali yali amanyi kyama ekyo okutuusa Omwoyo wa Katonda bw’akibikkulidde abatume be abatukuvu ne bannabbi. 6 (F)Kino kye kyama kye njogerako: olw’enjiri ya Kristo, Abaamawanga balisikira wamu ne Isirayiri ekyo Katonda kye yasuubiza, era baliba omubiri gumu, era ne bagabanira wamu ekisuubizo ekyo mu Kristo Yesu.
7 (G)Nafuuka omuweereza w’enjiri eyo olw’ekirabo eky’ekisa kya Katonda kye naweebwa, Katonda ng’akolera mu maanyi ge. 8 (H)Newaakubadde nga nze nsembayo wansi mu batukuvu bonna, naweebwa ekisa ekyo, okubuulira Abaamawanga emikisa egiri mu Kristo egitageraageraganyizika. 9 (I)Katonda eyatonda ebintu byonna yayagala nnyambe buli muntu okutegeera ebyekyama ebyali bikwekeddwa mu Katonda. 10 (J)Katonda yakigenderera atyo, ng’ayita mu kkanisa, alyoke yeeyoleke eri amaanyi n’obuyinza ebiri mu nsi ey’omwoyo eya waggulu, ng’abalaga nga bw’alina amagezi amangi ag’ebika eby’enjawulo. 11 Katonda yakola bw’atyo ng’enteekateeka ye ey’emirembe n’emirembe bw’eri, gye yatuukiriza mu ebyo byonna Kristo Yesu Mukama waffe bye yakola. 12 (K)Kristo atuwa obuvumu n’obugumu, tulyoke tusembere mu maaso ga Katonda olw’okukkiriza nga tetutya.
Okukyala kw’Abagezigezi
2 (A)Yesu bwe yazaalibwa mu kibuga Besirekemu eky’omu Buyudaaya, ku mulembe gwa Kabaka Kerode, abasajja abagezigezi, abaava ebuvanjuba ne bajja mu Yerusaalemi, nga babuuza nti, 2 (B)“Aliwa eyazaalibwa nga Kabaka w’Abayudaaya? Kubanga twalaba emmunyeenye ye nga tuli mu buvanjuba, era tuzze okumusinza.”
3 Awo Kabaka Kerode bwe yabiwulira ne bimweraliikiriza nnyo, era ne bonna abaali mu Yerusaalemi. 4 N’ayita bakabona abakulu bonna n’abawandiisi b’amateeka n’abeebuuzaako ekifo Kristo gye yali agenda okuzaalibwa. 5 (C)Ne bamuddamu nti, “Mu Besirekemu eky’omu Buyudaaya, kyawandiikibwa nnabbi nti,
6 (D)“ ‘Naawe Besirekemu ekya Yuda,
toli mutono mu balangira ba Yuda,
kubanga omufuzi aliva mu ggwe,
alifuga abantu bange Isirayiri.’ ”
7 Awo Kerode n’atumya Abagezigezi kyama, n’ababuuza ebiro emmunyeenye bye yalabikiramu. 8 N’abasindika e Besirekemu ng’agamba nti, “Mugende mubuulirize ebikwata ku mwana. Bwe mumulaba, mukomeewo muntegeeze, nange ŋŋende musinze!”
9 Bwe baamala okuwulira Kabaka bye yabagamba ne bagenda. Bwe baafuluma, emmunyeenye eri gye baalaba ebuvanjuba n’eddamu okubalabikira n’okubakulembera, okutuusa lwe yayimirira waggulu Omwana w’ali. 10 Bwe baalaba emmunyeenye ng’eyimiridde, essanyu lyabwe ne libeera lingi nnyo! 11 (E)Bwe baayingira mu nnyumba[a] ne balaba Omwana ne Maliyamu nnyina ne bavuunama ne basinza Omwana. Ne basumulula ensawo zaabwe, ne bamutonera ebirabo, zaabu, n’obubaane n’omugavu. 12 (F)Awo bwe baalabulibwa mu kirooto baleme kuddayo wa Kerode, bwe batyo ne baddayo ewaabwe nga bayita mu kkubo eddala.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.