Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 40:6-17

(A)Ssaddaaka n’ebiweebwayo tewabyagala.
    Ebiweebwayo ebyokebwa olw’okutangirira ebibi,
tobyetaaga.
    Naye onzigudde amatu.
Kyenava njogera nti, “Nzuuno,
    nzize nga bwe kyampandiikibwako mu muzingo gw’ekitabo.”
(B)Nsanyukira okukola ky’oyagala, Ayi Katonda wange,
    kubanga amateeka go gali mu mutima gwange.

(C)Ntegeeza obutuukirivu mu lukuŋŋaana olunene.
    Sisirika busirisi,
    nga naawe bw’omanyi, Ayi Mukama.
10 (D)Bye mmanyi ku butuukirivu bwo sisirika nabyo mu mutima gwange,
    naye ntegeeza ku bwesigwa bwo n’obulokozi bwo.
Abantu nga bakuŋŋaanye,
    sirema kubategeeza ku mazima go n’okwagala kwo okungi.

11 (E)Onsasirenga bulijjo, Ayi Mukama,
    amazima n’okwagala kwo byeyongerenga okunkuuma.
12 (F)Kubanga ebizibu bye siyinza na kubala binneetoolodde;
    ebibi byange binsukiridde, sikyasobola na kulaba;
bisinga enviiri ez’oku mutwe gwange obungi,
    mpweddemu amaanyi.
13 (G)Onsasire ayi Mukama ondokole;
    Ayi Mukama, oyanguwe okumbeera.

14 (H)Abo abaagala okunzita batabuketabuke baswale;
    n’abo bonna abagenderera okummalawo bagobebwe nga baswadde.
15 Abo abankubira akasonso baswazibwe nnyo.
16 (I)Naye abo abakunoonya basanyuke
    era bajaguze;
abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti,
    Mukama agulumizibwenga.”

17 (J)Ndi mwavu, eyeetaaga ennyo.
    Mukama ondowoozeeko.
Tolwawo, Ayi Katonda wange.
    Ggwe mubeezi wange era Omulokozi wange.

Okuva 12:1-13

Okuyitako

12 Awo Mukama n’ayogera ne Musa ne Alooni nga bali mu nsi y’e Misiri, n’abagamba nti, (A)“Okuva leero omwezi[a] guno gwe gunaabanga omubereberye mu myezi gyonna mu mwaka gwammwe. Mutegeeze abantu bonna aba Isirayiri nti ku lunaku olw’ekkumi olw’omwezi guno kigwanidde buli mukulu wa nnyumba, addire omwana gw’endiga ogw’okuliibwa mu maka ge, buli maka omwana gw’endiga gumu. Singa amaka gabaamu abantu batono nnyo abatamalaawo mwana gwa ndiga, amaka ago geegatte n’ag’omuliraano balye omwana gw’endiga ogwo. Muligeraageranya obungi bw’abantu abamalawo omwana gw’endiga nga musinziira ku ndya ya buli omu mu maka omwo. (B)Omwana gw’endiga gusaana gube gwa seddume nga gwa mwaka gumu obukulu, era nga teguliiko kamogo. Guyinza okuba omwana gw’endiga oba ogw’embuzi. (C)Ensolo ezo muzirabiriranga okutuusa ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi guno; ekibiina kyonna eky’abantu ba Isirayiri ne kiryoka kizitta akawungeezi. Baddiranga omusaayi ne bagumansira ku njuyi zombi ne waggulu, ku mwango gw’oluggi lwa buli nnyumba mwe baliriira omwana gw’endiga. (D)Mu kiro ekyo ennyama balyanga njokye ku muliro, era baliirangako n’emigaati egitali mizimbulukuse n’enva ezikaawa. Tewabanga ku nnyama eyo gye mulya nga mbisi obanga efumbwa mu mazzi; wabula mugyokyanga ku muliro: omutwe, amagulu n’eby’omunda byonna. 10 (E)Temugiterekangako kutuusa nkeera; bw’ebalemanga eggulolimu, mugyokyanga bwokya ne mugizikiriza. 11 (F)Mugiryanga bwe muti: Mwesibanga ekimyu, nga mwambadde n’engatto zammwe[b], nga mukutte n’omuggo. Mugiryanga mangu. Kubanga eyo y’Embaga ey’Okuyitako kwa Mukama.

12 (G)“Kubanga mu kiro ekyo ndiyita mu nsi ya Misiri, nditta buli kibereberye kyonna mu nsi y’e Misiri, abantu era n’ebisolo; era bakatonda bonna ab’omu Misiri ndibasalira omusango. Nze Mukama. 13 Omusaayi ke kaliba akabonero akalaga ennyumba mwe muli; era bwe ndiraba omusaayi, nga mbayitako; so n’okuzikirira kwe ndireeta ku Bamisiri mmwe tekulibakwatako.

Okuva 12:21-28

Omwana gw’Endiga ogw’Okuyitako Guttibwa

21 (A)Awo Musa n’ayita abakulembeze ba Isirayiri bonna, n’abagamba nti, “Mwerondere abaana b’endiga ng’amaka gammwe bwe gali, mutte omwana gw’endiga ogw’Okuyitako. 22 (B)Musibe bulungi akaddo k’akakubansiri, mukannyike mu musaayi gwe mutadde mu bensani, mulyoke mumansire ku mwango gw’oluggi waggulu, ne ku njuyi zombi ez’omwango. Tewabaawo n’omu afuluma ennyumba ye okutuusa ng’obudde bukedde. 23 (C)Kubanga Mukama ajja kuyita awo ng’agenda okutta Abamisiri; kale bw’anaalaba omusaayi ku mwango gw’oluggi waggulu ne ku mwango mu mbiriizi z’oluggi, oluggi olwo Mukama ajja kuluyitako, era tajja kukkiriza oyo azikiriza kuyingira mu nnyumba zammwe n’okubatta.

24 “Kibagwanira okugondera ebiragiro bino ng’etteeka, mmwe ne batabani bammwe emirembe gyonna. 25 Era bwe muliyingira mu nsi Mukama gy’alibawa nga bwe yasuubiza, temwerabiranga mukolo guno. 26 (D)Abaana bammwe bwe balibabuuza nti, ‘Omukolo guno gutegeeza ki?’ 27 (E)Mulibaddamu nti, ‘Kino kye kiweebwayo eri Mukama eky’Okuyitako, kubanga yayita ku nnyumba z’Abayisirayiri mu Misiri, n’awonya amaka gaffe, bwe yatta Abamisiri.’ ” Awo abantu ne bavuunama ne basinza. 28 Abaana ba Isirayiri ne bagenda ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa ne Alooni, bwe batyo bwe baakola.

Ebikolwa by’Abatume 8:26-40

Firipo n’Omwesiyopya

26 (A)Awo malayika wa Mukama n’agamba Firipo nti, “Kwata ekkubo eriraga mu bukiikaddyo, eriva e Yerusaalemi nga liyita mu ddungu okugenda e Ggaaza.” 27 (B)Firipo n’akwata ekkubo eryo. Mu kiseera ekyo waaliwo omusajja Omwesiyopya mu kkubo eryo ng’ava mu kusinza e Yerusaalemi. Yali mulaawe nga mukungu mu lubiri lwa Kandake, kabaka omukazi owa Esiyopya, era ye yali omuwanika we omukulu. 28 Yali atudde mu ggaali lye ng’addayo ewaabwe nga bw’asoma ekitabo kya nnabbi Isaaya. 29 (C)Awo Mwoyo Mutukuvu n’agamba Firipo nti, “Semberera eggaali eryo oligendereko.”

30 Firipo n’adduka n’atuuka ku ggaali, n’awulira Omwesiyopya ng’asoma mu kitabo kya nnabbi Isaaya. N’amubuuza nti, “By’osoma obitegeera?”

31 Omwesiyopya n’addamu nti, “Nnaabitegeera ntya nga sirina abinnyinnyonnyola?” N’asaba Firipo ayingire mu ggaali lye batuule bombi.

32 Ekyawandiikibwa kye yali asoma nga kigamba bwe kiti nti:

“Yatwalibwa ng’endiga egenda okuttibwa.
    Ng’omwana gw’endiga bwe gusiriikirira nga bagusalako ebyoya,
    naye bw’atyo teyayasamya kamwa ke.
33 (D)Yajoogebwa n’atalamulwa mu bwenkanya.
    Ani alyogera ku bazzukulu be?
    Kubanga ekiseera kye eky’obulamu bwe ku nsi kyakoma!”

34 Omulaawe kwe kubuuza Firipo nti, “Nnyinnyonnyola, munnange, nnabbi gw’ayogerako; yeeyogerako yekka oba ayogera ku mulala?” 35 (E)Awo Firipo n’atandika n’Ekyawandiikibwa ekyo n’amubuulira Enjiri ya Yesu Kristo.

36 (F)Bwe baali bagenda ne batuuka awali amazzi, omulaawe n’agamba nti, “Laba amazzi! Kale lwaki sibatizibwa?” 37 Awo Firipo n’amugamba nti, “Oyinza okubatizibwa, bw’oba ng’okkiriza n’omutima gwo gwonna.” Omulaawe n’addamu nti, “Nzikiriza nga Yesu Kristo Mwana wa Katonda.” 38 Awo n’alagira omugoba w’eggaali lye okuyimirira, ne bakka mu mazzi, Firipo n’amubatiza. 39 (G)Bwe baava mu mazzi amangwago Omwoyo wa Mukama n’atwala Firipo, Omulaawe n’ataddayo kumulaba nate, naye n’atambula olugendo lwe ng’ajjudde essanyu. 40 (H)Naye Firipo n’alabikira mu Azoto, n’agenda ng’abuulira Enjiri mu bibuga byonna eby’omu kitundu ekyo okutuukira ddala e Kayisaliya.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.