Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
EKITABO I
Zabbuli 1–41
1 (A)Alina omukisa omuntu
atatambulira mu kuteesa kw’ababi,
era atayimirira mu kibiina ky’ababi,
newaakubadde okutuula n’abo abanyooma ebya Katonda.
2 (B)Naye asanyukira okugondera amateeka ga Mukama,
era mu mateeka ago mw’alowooleza emisana n’ekiro.
3 (C)Afaanana ng’omuti ogwasimbibwa ku mabbali g’omugga,
ogubala ebibala byagwo mu ntuuko zaabyo,
n’ebikoola byagwo tebiwotoka.
Na buli ky’akola kivaamu birungi byereere.
4 (D)Naye abakola ebibi tebakola bwe batyo.
Bali ng’ebisusunku ebifuumuuliddwa.
5 (E)Noolwekyo abakola ebibi tebaligumira lunaku lwa kusalirako musango;
newaakubadde aboonoonyi okuyimirira mu kibiina ky’abatuukirivu.
6 (F)Kubanga Mukama alabirira ekkubo ly’abatuukirivu,
naye ekkubo ly’abakola ebibi liribula.
Ebibbo by’Emitiini
24 (A)Yekoyakini mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n’abakungu, n’abaweesi n’abafundi ba Yuda bwe baatwalibwa kabaka Nebukadduneeza mu buwaŋŋanguse mu Babulooni okuva mu Yerusaalemi, Mukama yandaga ebibbo bibiri eby’emitiini nga biteekeddwa mu maaso ga yeekaalu ya Mukama. 2 (B)Ekibbo ekimu kyalimu ettiini nga nnungi nnyo ng’eyo esooka okwengera, n’ekibbo ekirala kyalimu ettiini nga mbi nnyo, ezitayinza kuliika.
3 (C)Mukama n’ambuuza nti, “Olaba ki Yeremiya?” Ne muddamu nti, “Ndaba ettiini. Ennungi nga nnungi nnyo naye embi nga mbi nnyo ezitayinza kuliika.”
4 Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nti, 5 “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ng’ettiini zino ennungi, ndaba nti abawaŋŋanguse b’omu Yuda balungi, be natwala okuva mu kifo kino eri mu nsi ey’Abakaludaaya. 6 (D)Amaaso gange gajja kubalabirira olw’obulungi bwabwe, era nzija kubakomyawo mu nsi eno. Nzija kubazimba era nneme kubamenyaamenya: nzija kubasimba nneme kubakuula. 7 (E)Ndibawa omutima bammanye, nti nze Mukama. Balibeera bantu bange, nange ndibeera Katonda waabwe, kubanga balidda gye ndi n’omutima gwabwe gwonna.
8 (F)“ ‘Naye ng’ettiini embi, embi ennyo ezitayinzika kuliika, bwe ntyo bwe nnaakola Zeddekiya kabaka wa Yuda, n’abakungu be n’abo abaasigalawo mu Yerusaalemi, oba abaasigalawo mu nsi eno oba abo ababeera mu Misiri,’ bw’ayogera Mukama. 9 (G)‘Ndibafuula kyennyinnyalwa era eky’omuzizo eri amawanga g’ensi, eky’okusekererwa era olugero obugero, ekintu eky’okusekererwa era eky’okukolimirwanga yonna gye nnaabagoberanga. 10 (H)Ndireeta ekitala, n’ekyeya, ne kawumpuli okubalumba okutuusa lwe balizikirira babule ku nsi gye nabawa ne bakitaabwe.’ ”
Okuyamba Abantu ba Katonda
16 (A)Kale ebyo ebikwata ku kuyamba abantu ba Katonda, mmwe mukole nga bwe nagamba ab’Ekkanisa z’e Ggalatiya. 2 (B)Buli omu ku mmwe ng’asinziira ku kufuna kwe mu wiiki, abengako ky’atereka, ebintu bireme kukuŋŋaanyizibwa nga nzize. 3 (C)Kale bwe ndituuka ne mutuma abo be munaasiima ne mbawa ebbaluwa ne batwala ebirabo byammwe e Yerusaalemi. 4 Naye bwe kirirabika nga nange nsaanye ŋŋende, kale balimperekerako.
Enteekateeka za Pawulo
5 (D)Ŋŋenda kujja gye muli nga mpitira e Makedoniya, gye ndimala akabanga akatono. 6 Osanga ewammwe gye ndimala ebbanga eriwera, oboolyawo ndiba nammwe mu biseera eby’obutiti byonna, mulyoke munnyambe buli gye nnaalaganga. 7 Saagala kubalabako kaseera katono, nsuubira okumala nammwe ekiseera, Mukama waffe bw’alisiima. 8 (E)Kyokka ŋŋenda kubeera mu Efeso okutuusa ku Pentekoote. 9 Kubanga ddala oluggi lw’Enjiri lunziguliddwawo, newaakubadde ng’eriyo bangi abampakanya.
10 (F)Timoseewo bw’ajjanga, mumuyambe atereere bulungi mu mmwe, kubanga naye akola omulimu gwa Mukama waffe nga nze. 11 (G)Noolwekyo waleme kubaawo amunyooma. Mumuyambe olugendo lwe lube lwa mirembe, ajje gye ndi. Kubanga nze n’abooluganda tumulindiridde.
12 (H)Naye ebyo ebikwata ku wooluganda Apolo, namwegayirira nnyo ajje gye muli, ng’ali n’abooluganda abalala, kyokka ye n’atayagala kujja kaakano, wabula alijja ng’afunye ebbanga.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.