Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Zabbuli. Oluyimba lwa Ssabbiiti.
92 (A)Kirungi okwebazanga Mukama,
n’okuyimba ennyimba n’okutenderezanga erinnya lyo, Ayi Ggwe, Ali Waggulu Ennyo;
2 (B)okutendanga okwagala kwo okutakoma buli nkya,
n’okutendanga obwesigwa bwo buli kiro.
3 (C)Okukutenderezanga n’amaloboozi g’enkoba z’ennanga
n’endere awamu n’entongooli.
4 (D)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, onkoledde ebinsanyusizza;
kyenva nkuyimbira n’essanyu olw’emirimu gy’emikono gyo.
12 (A)Abatuukirivu balyegolola ng’enkindu,
ne bakula ne bawanvuwa ng’emivule gy’e Lebanooni.
13 (B)Egisimbibwa mu nnyumba ya Mukama.
Baligimukira mu mpya za Katonda waffe.
14 (C)Ne mu bukadde bwabwe balibala ebibala;
baliba balamu era abagimu,
15 (D)kiryoke kitegeeze nti, Mukama w’amazima,
lwe Lwazi lwange era mu ye temuli butali butuukirivu.
15 (A)Okuddamu n’eggonjebwa kumalawo ekiruyi,
naye ekigambo eky’obukambwe kisaanuula obusungu.
2 (B)Olulimi lw’omugezi lwogera by’amagezi,
naye akamwa k’abasirusiru kafukumula busirusiru bwereere.
3 (C)Amaaso ga Mukama galaba buli wantu,
alaba abatuukirivu n’abakozi b’ebibi.
4 Olulimi oluzimba muti gwa bulamu,
naye olulimi olulimba lubetenta omutima.
5 (D)Omusirusiru anyooma okubuulirirwa kwa kitaawe,
naye omutegeevu assaayo omwoyo eri okunenyezebwa.
6 (E)Mu nnyumba y’omutuukirivu mubaamu obugagga bungi,
naye omukozi w’ebibi by’afuna, bimuleetera emitawaana.
7 Akamwa k’amagezi kabunyisa okumanya,
naye omutima gw’abasirusiru si bwe gukola.
8 (F)Ssaddaaka y’aboonoonyi ya muzizo eri Mukama,
naye okusaba kw’abalongoofu lye ssanyu lye.
9 (G)Ekkubo ly’omwonoonyi lya muzizo eri Mukama,
naye Mukama ayagala oyo anoonya obutuukirivu.
Okujja kwa Mukama waffe
13 Kaakano, abooluganda tetwagala mmwe obutategeera eby’abo abafu, ne munakuwala ng’abalala abatalina ssuubi. 14 (A)Kubanga bwe tukkiriza nti Yesu yafa era n’azuukira mu bafu bwe tutyo tukkiriza nti Katonda alikomyawo wamu naye abo abaafira mu Yesu. 15 (B)Kubanga ekyo kye tubategeeza mu kigambo kya Mukama waffe, nga ffe abalamu, abaasigalawo okutuusa okujja kwa Mukama waffe tetulisooka abaafa. 16 (C)Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n’eddoboozi ery’omwanguka, eddoboozi lya malayika omukulu nga liwulirwa, n’ekkondeere lya Katonda, n’abo abaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira, 17 (D)naffe abalamu abaasigalawo ne tulyoka tubeegattako, ne tusitulibwa mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga; bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna. 18 Kale buli omu agumyenga munne n’ebigambo ebyo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.