Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 63

Zabbuli ya Dawudi, bwe yali mu ddungu lya Yuda.

63 (A)Ayi Katonda, oli Katonda wange,
    nkunoonya n’omutima gwange gwonna;
emmeeme yange ekwetaaga,
    omubiri gwange gwonna gukuyaayaanira,
nga nnina ennyonta ng’ali
    mu nsi enkalu omutali mazzi.

(B)Nkulabye ng’oli mu kifo kyo ekitukuvu,
    ne ndaba amaanyi go n’ekitiibwa kyo.
(C)Kubanga okwagala kwo okutaggwaawo kusinga obulamu;
    akamwa kange kanaakutenderezanga.
(D)Bwe ntyo nnaakutenderezanga obulamu bwange bwonna;
    nnaayimusanga emikono gyange mu linnya lyo.
(E)Emmeeme yange enekkutanga ebyassava n’obugagga;
    nnaayimbanga nga nkutendereza n’emimwa egy’essanyu.

(F)Nkujjukira nga ndi ku kitanda kyange,
    era nkufumiitirizaako mu ssaawa ez’ekiro.
(G)Olw’okuba ng’oli mubeezi wange,
    nnyimba nga ndi mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo.
(H)Emmeeme yange yeekwata ku ggwe;
    omukono gwo ogwa ddyo gumpanirira.

(I)Naye abo abannoonya okunzita balizikirizibwa,
    baliserengeta emagombe.
10 Balisaanawo n’ekitala;
    ne bafuuka emmere y’ebibe.

11 (J)Naye ye kabaka anaajagulizanga mu Katonda;
    bonna abalayira mu linnya lya Katonda banaatenderezanga Katonda,
    naye akamwa k’abalimba kalisirisibwa.

Yoweeri 1:1-14

(A)Buno bwe bubaka bwa Mukama obwajjira Yoweeri mutabani wa Pesweri.

(B)Muwulirize mmwe abakadde ba Isirayiri,
    buli ali mu nsi naye awulirize.
Kino kyali kibaddewo mu biseera byammwe,
    oba mu biseera bya bakitammwe?
(C)Mukibuulire abaana bammwe,
    nabo balikibuulira abaana baabwe,
    nabo balikibuulira ab’emirembe egiriddawo.
(D)Ebibinja by’enzige ebisooka bye zitalidde,
    enzige eziddirira zibirumbye,
ate ezo bye zireseewo,
    enzige ento bye ziridde,
ate zino bye zireseewo,
    enzige endala ne zibizikiririza ddala byonna!

(E)Muzuukuke, mmwe abatamiivu, mwekaabire amaziga;
    mukube ebiwoobe mmwe mwenna abanywi b’omwenge,
mukube ebiwoobe kubanga akamwa kammwe
    katuuse okwerabira omwenge omusu.
(F)Eggwanga lirumbye ensi yange,
    ery’amaanyi ennyo era ery’abantu abatabalika.
Amannyo gaalyo gali ng’ag’empologoma,
    n’amasongezo gaalyo ng’ag’empologoma enkazi.
(G)Eggwanga eryo lizikirizza emizabbibu gyange,
    ne limalawo emitiini gyange.
Lisusumbudde ebikuta byagyo,
    byonna biri ku ttaka,
    amatabi gaagyo gasigadde gatukuuliridde.

(H)Mukungubage nga nnamwandu omuto afiiriddwa bba,
    ng’ayambadde ebibukutu olw’ennaku.
(I)Ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke n’ebiweebwayo eby’okunywa
    tewakyali kirabikako mu nnyumba ya Mukama.
Bakabona abaweerereza mu maaso ga Katonda
    bakungubaga.
10 (J)Ennimiro ziweddemu ebirime;
    ettaka likaze,
Emmere ey’empeke eweddewo,
    omwenge omusu n’amafuta g’emizeeyituuni ne bibulira ddala.

11 (K)Mmwe abalimi mukwatibwe entiisa,
    mmwe abalima emizabbibu mukaabe.
Mukaabire eŋŋaano ne sayiri,
    kubanga ebyandikunguddwa byonna biweddewo.
12 (L)Omuzabbibu gukaze
    n’omutiini guyongobedde.
Omukomamawanga, n’olukindu ne apo
    n’emiti gyonna egy’omu nnimiro giwotose.
Abantu tebakyalina ssanyu.

Abantu bayitibwa Okwenenya

13 (M)Mmwe bakabona, mwesibe mwambale ebibukutu mukungubage.
    Mmwe abaweereza ba Katonda wange ab’oku kyoto,
mweyale wansi awali ekyoto,
    musule awo ekiro kyonna nga mukuba ebiwoobe,
kubanga mu nnyumba ya Katonda wammwe temukyali kiweebwayo kyonna,
    eky’emmere ey’empeke oba eky’envinnyo.
14 (N)Mulangirire okusiiba okutukuvu
    n’okukuŋŋaana mu maaso ga Katonda.
Muyite abakulu abakulembeze
    n’abantu bonna ababeera mu nsi,
bajje mu nnyumba ya Mukama Katonda waabwe
    bamukaabirire.

1 Basessaloniika 3:6-13

Lipoota ya Timoseewo ezzaamu amaanyi

(A)Naye kaakano Timoseewo bw’akomyewo ng’ava gye muli atuleetedde amawulire amalungi ag’okukkiriza kwammwe n’okwagala kwammwe, era nga mutujjukira bulungi bulijjo, nga mwesunga okutulabako nga naffe bwe twesunga okubalabako. Noolwekyo abaagalwa, newaakubadde nga tuli mu buzibu ne mu kubonaabona, okukkiriza kwammwe kutuzaamu amaanyi. (B)Kubanga bwe muba abanywevu mu Mukama waffe, naffe tuba balamu. (C)Kale Katonda tumwebaze tutya olw’essanyu eritujjudde ku lwammwe olw’essanyu lye tulina ku lwammwe mu maaso ga Katonda waffe? 10 (D)Katonda tumwegayirira nnyo nnyini emisana n’ekiro, atukkirize okubalabako tujjuulirize ebyo ebikyabulako mu kukkiriza kwammwe.

11 Katonda Kitaffe yennyini ne Mukama waffe Yesu aluŋŋamye ekkubo lyaffe okujja gye muli. 12 (E)Mukama waffe aboongereko okwagala kwammwe, mwagalanenga mwekka na mwekka era mwagalenga nnyo abantu bonna, nga naffe bwe tubaagala, 13 (F)alyoke anyweze emitima gyammwe nga temuliiko kya kunenyezebwa mu butukuvu mu maaso ga Katonda Kitaffe, Mukama waffe Yesu Kristo bw’alikomawo n’abatukuvu be bonna.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.