Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 76

Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Asafu.

76 Katonda amanyiddwa mu Yuda;
    erinnya lye kkulu mu Isirayiri.
(A)Eweema ye eri mu Yerusaalemi;
    era abeera mu Sayuuni.
(B)Eyo gy’asinziira n’amenyaamenya obusaale bw’omulabe obujja bwesooza;
    n’engabo n’ebitala n’ebyokulwanyisa byonna eby’olutalo.

Owa ekitangaala,
    oli wa kitiibwa okusinga ensozi ennene eziriko ensolo eziyiggibwa.
(C)Ab’amaanyi bagalamira nga banyaguluddwa,
    beebaka ne batasobola kugolokoka,
ne watabaawo n’omu asobola
    okuyimusa omukono gwe.
(D)Bw’obaboggolera, Ayi Katonda wa Yakobo,
    abeebagala embalaasi ezisika ebigaali bagwiira wamu n’ebigaali ne batagolokoka.

(E)Ggwe ayi Katonda, osaanira okutiibwanga.
    Ani ayinza okuyimirira mu maaso go ng’osunguwadde?
(F)Osalira abantu emisango ng’osinziira mu ggulu,
    ensi n’etya n’ekankana n’esirika olw’obusungu bwo,
(G)bw’ogolokoka okusala omusango,
    okuwonya ababonyaabonyezebwa mu nsi.
10 (H)Bw’osunguwalira omuntu kikuleetera okutenderezebwa,
    n’abo b’otasunguwalidde ne beegendereza.
11 (I)Mweyame obweyamo bwammwe eri Mukama Katonda wammwe, era mubutuukirizenga;
    bonna abamuli okumpi bamuleetere ebirabo,
    kubanga asaanidde okutiibwa.
12 Mukama akkakkanya abalangira,
    ne bakabaka b’ensi bamutya.

Ezeekyeri 30:20-26

20 (A)Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu, mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olw’omusanvu, ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 21 (B)“Omwana w’omuntu, mmenye omukono gwa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, era laba tegusibiddwa okusiigako eddagala, n’okugussaako ekiwero okugusiba, guleme okufuna amaanyi okukwata ekitala. 22 (C)Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nnina ensonga ne Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, era ndimenya emikono gye, omulamu ogw’amaanyi n’ogwo ogwamenyekako, ne nsuula ekitala okuva mu mukono gwe. 23 (D)Ndisaasaanya Abamisiri mu mawanga ne mu nsi ennyingi. 24 (E)Ndinyweza emikono gya kabaka w’e Babulooni ne nteeka ekitala mu mukono gwe, naye ndimenya emikono gya Falaawo, era alisindira mu maaso ga kabaka w’e Babulooni, ng’omuntu afumitiddwa anaatera okufa. 25 Ndinyweza emikono gya kabaka w’e Babulooni, naye emikono gya Falaawo giriremala, balyoke bamanye nga nze Mukama. Nditeeka ekitala mu mikono gya kabaka w’e Babulooni, n’akigololera ku nsi y’e Misiri. 26 (F)Ndibunya Abamisiri mu mawanga ne mbasaasaanya ne mu nsi yonna, era balimanya nga nze Mukama.”

Yokaana 16:25-33

25 (A)Ebyo mbibabuulidde mu ngero. Naye ekiseera kijja kutuuka nneme kwogera nammwe mu ngero, wabula mbabuulire lwatu ebifa ku Kitange. 26 (B)Mu kiseera ekyo mulisaba mu linnya lyange, so si Nze okubasabira eri Kitange. 27 (C)Kitange abaagala nnyo kubanga nammwe munjagala nnyo era mukkiriza nti nava eri Katonda. 28 (D)Nava eri Kitange ne nzija mu nsi era nzija kuva mu nsi nzireyo eri Kitange.”

29 (E)Awo abayigirizwa be ne bamugamba nti, “Kaakano oyogera lwatu, so si mu ngero. 30 Kaakano tutegedde ng’omanyi byonna, era nga tewali kyetaagisa kukubuuza. Kyetuva tukkiriza nga wava eri Katonda.”

31 Yesu n’abaddamu nti, “Kaakano mukkirizza? 32 (F)Laba, ekiseera kijja, era kituuse mwenna lwe munaasaasaana buli omu n’addayo ku bibye, ne mundeka nzekka. Kyokka sijja kuba nzekka, kubanga Kitange ali wamu nange.

33 (G)“Mbategeezezza ebyo byonna mulyoke mube n’emirembe mu nze. Mu nsi muno mujja kubonaabona, naye mugume, kubanga Nze mpangudde ensi.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.