Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 91:9-16

Kubanga bw’olifuula Mukama ekiddukiro kyo;
    Ali Waggulu Ennyo n’omufuula ekifo kyo mw’obeera,
10 (A)tewali kabi kalikutuukako,
    so tewali kibonoobono kirisemberera nnyumba yo.
11 (B)Kubanga Mukama aliragira bamalayika be
    bakukuume mu makubo go gonna.
12 (C)Balikuwanirira mu mikono gyabwe;
    oleme okwekoona ekigere kyo ku jjinja.
13 (D)Olirinnya ku mpologoma ne ku nswera;
    olirinnyirira empologoma ey’amaanyi, n’omusota.

14 “Olw’okuba nga njagala kyendiva muwonya;
    nnaamukuumanga, kubanga amanyi erinnya lyange.
15 (E)Anankowoolanga ne muyitabanga;
    nnaabeeranga naye mu biseera eby’akabi.
    Ndimuwonya era ndimuwa ekitiibwa.
16 (F)Ndimuwangaaza n’asanyuka
    era ndimulaga obulokozi bwange.”

Isaaya 47:1-9

Babulooni Esalirwa Omusango

47 (A)“Omuwala wa Babulooni embeerera,
    kakkana wansi otuule mu nfuufu,
tuula wansi awatali ntebe ya bwakabaka,
    ggwe omuwala w’Abakaludaaya.
Ekibuga ekitawangulwangako.
    Toliddayo nate kuyitibwa kyatika oba nnalulungi.
(B)Ddira olubengo ose obutta.
    Ggyako akatimba ku maaso,
situla ku ngoye z’oku magulu
    oyite mu mazzi.
(C)Obwereere bwo bulibikkulwa;
    obusungu bwo bulyeraga.
Nzija kuwoolera eggwanga;
    tewali muntu yenna gwe ndirekawo.”

(D)Omununuzi waffe Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye,
    ye Mutukuvu wa Isirayiri.

(E)“Tuula mu kasirise
    yingira mu kizikiza ggwe omuwala w’Abakaludaaya,
tebakyakuyita kabaka omukazi
    afuga obwakabaka obungi.
(F)Nnali nsunguwalidde abantu bange,
    ne nyonoonesa omugabo gwange.
Nabawaayo mu mikono gyo,
    n’otobasaasira n’akatono.
N’abakadde wabateekako ekikoligo ekinene ennyo.
(G)Wayogera nti,
    ‘Nzija kubeera kabaka omukazi emirembe gyonna,’
naye n’otolowooza ku bintu bino
    wadde okulowooza ku kyali kigenda okubaawo.

(H)“Kale nno kaakano wuliriza kino,
    ggwe awoomerwa amasanyu
ggwe ateredde mu mirembe gyo,
    ng’oyogera mu mutima gwo nti,
‘Nze ndiwo era tewali mulala wabula nze.
    Siribeera nnamwandu
    wadde okufiirwa abaana.’
(I)Ebintu bino byombi birikutuukako mangu nnyo mu lunaku lumu,
    eky’okufiirwa abaana
    n’okufuuka nnamwandu.
Birikutuukako mu kigera kyabyo ekituufu,
    newaakubadde obulogo bwo nga bungi okuyitirira,
    n’eby’obufumu byo nga bigenze wala.

Okubikkulirwa 17

Omukazi eyali Yeebagadde Ekisolo

17 (A)Awo omu ku bamalayika omusanvu abaalina ebibya omusanvu n’ajja n’ayogera nange, n’aŋŋamba nti, “Jjangu nkulage ebigenda okutuuka ku mukazi malaaya omukulu atudde ku mazzi amangi. (B)Bakabaka ab’oku nsi bayenda naye n’abantu ab’oku nsi banywa omwenge ogw’obwenzi bwe ne batamiira.”

(C)Bw’atyo malayika n’antwala mu mwoyo, mu ddungu, ne ndaba omukazi ng’atudde ku kisolo ekimyufu ekyalina emitwe omusanvu n’amayembe ekkumi, okwali kuwandiikiddwa amannya agavvoola Katonda. (D)Omukazi yali ayambadde engoye bbiri olugoye olumyufu n’olwa kakobe era ng’alina n’ebintu ebirala eby’omuwendo, nga zaabu n’amayinja ag’omuwendo, era ng’akutte mu mukono gwe ekikompe ekya zaabu nga kijjudde eby’omuzizo byonna eby’obwenzi bwe. (E)Ebiwandiiko eby’ekyama byali biwandiikiddwa ku kyenyi kye nga bigamba nti:

Babulooni Ekibuga Ekikulu

Nnyina wa Bamalaaya bonna,

era Nnyina w’Eby’emizizo mu nsi.

(F)Ne ndaba omukazi ng’atamidde omusaayi gw’abatukuvu, awamu n’ogw’abajulirwa abattibwa olwa Yesu.

Bwe namulaba ne neewuunya. (G)Malayika n’ambuuza nti, “Lwaki weewuunya? Nzija kukunnyonnyola ebyama eby’omukazi oyo era n’ekisolo kw’atudde ekirina emitwe omusanvu n’amayembe ekkumi. (H)Ekisolo kye walabye kyaliwo, naye kaakano tekikyaliwo era mu bbanga ttono kiriggyibwa mu bunnya obutakoma kiryoke kizikirizibwe. Abantu abali ku nsi amannya gaabwe nga tegawandiikiddwa mu kitabo eky’Obulamu okuva ensi lwe yatondebwa, balyewuunya okulaba ekisolo ekyaliwo, ne kitabeerawo, ate ne kiddamu okubeerawo.

(I)“Kale kyetaaga amagezi n’okutegeera. Emitwe omusanvu ze nsozi omusanvu omukazi kw’atudde, era be bakabaka omusanvu. 10 Abataano baagwa, omu y’aliwo kaakano, naye omulala tannajja wabula bw’anajja kimugwanira okubeerawo ekiseera kitono. 11 (J)Ekisolo ekyaliwo, kaakano nga tekikyaliwo, ky’eky’omunaana, kyokka kiri nga biri omusanvu; era nakyo kirizikirizibwa.

12 (K)“Amayembe ekkumi ge walaba be bakabaka ekkumi abatannaweebwa buyinza kufuga; balirondebwa okufugira wamu n’ekisolo okumala essaawa emu. 13 (L)Bonna bassa kimu era baliwa ekisolo ekikambwe, amaanyi n’obuyinza bwabwe. 14 (M)Bano balyegatta wamu okulwanyisa Omwana gw’Endiga, kyokka Omwana gw’Endiga alibawangula kubanga ye Mukama wa bakama era Kabaka wa bakabaka, abali awamu naye be yayita era abalonde be abeesigwa.”

15 (N)Awo malayika n’aŋŋamba nti, “Amazzi ge walaba omukazi omwenzi kw’atudde, be bantu n’ebibinja by’abantu aba buli kika n’aba buli lulimi. 16 (O)Ekisolo n’amayembe ekkumi bye walaba birikyawa omukazi oyo ne bimulumba ne bimulwanyisa, era birimuleka bwereere nga talina ky’ayambadde ne birya omubiri gwe, ne bimwokya n’omuliro. 17 (P)Kubanga Katonda ye yakibiwa bituukirize ebyo bye yasiima okukola, n’okukola n’omwoyo gumu n’okuwa obwakabaka bwabwe ekisolo ekyo okutuusa ekigambo kya Katonda lwe kirituukirira. 18 (Q)Ate omukazi gwe walabye, ky’ekibuga ekikulu ekifuga bakabaka bonna ab’oku nsi.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.