Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 106:1-6

106 (A)Mumutendereze Mukama!

Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
    kubanga okwagala kwe tekuggwaawo emirembe gyonna.

(B)Ani ayinza okwogera ku bikulu Mukama by’akola n’abimalayo,
    oba okumutendereza obulungi nga bw’asaanira?
(C)Balina omukisa abalina obwenkanya,
    era abakola ebituufu bulijjo.

(D)Onzijukiranga, Ayi Mukama, bw’obanga okolera abantu bo ebirungi;
    nange onnyambe bw’olibalokola,
(E)ndyoke neeyagalire wamu n’abalonde bo nga bafunye ebirungi,
    nsanyukire wamu n’eggwanga lyo,
    era ntendererezenga mu bantu bo.

(F)Twonoonye, nga bajjajjaffe bwe baakola;
    tukoze ebibi ne tusobya nnyo.

Zabbuli 106:13-23

13 (A)Waayita akabanga katono ne beerabira ebyo byonna bye yakola;
    ne batawulirizanga kubuulirira kwe.
14 (B)Bwe baatuuka mu ddungu, okwegomba ne kubasukkirira;
    ne bagezesa Katonda nga bali mu lukoola olwo.
15 (C)Bw’atyo n’abawa kye baasaba,
    kyokka n’abaleetera n’olumbe olw’amaanyi.

16 (D)Nga bali mu lusiisira baakwatirwa obuggya eri Musa
    ne Alooni abalonde ba Mukama.
17 (E)Ettaka ne lyasama ne limira Dasani;
    Abiraamu ne banne ne libasaanyaawo.
18 (F)Omuliro ne gukoleera ne gukwata abagoberezi baabwe;
    ennimi z’omuliro ne zookya aboonoonyi.
19 (G)Bwe baali e Kolebu ne beekolera ennyana;
    ne basinza ekifaananyi ekyo kye baakola mu byuma bye baasaanuusa.
20 (H)Ekitiibwa kya Katonda
    ne bakiwaanyisaamu ekibumbe ekifaanana ente erya omuddo.
21 (I)Ne beerabira Katonda eyabanunula,
    eyabakolera ebintu ebikulu bwe bityo mu Misiri,
22 (J)ebyamagero bye yabakolera mu nsi ya Kaamu,
    n’ebikolwa eby’entiisa ku Nnyanja Emyufu.
23 (K)N’agamba nti,
    Ajja kubazikiriza.
Naye Musa, omulonde we, n’ayimirira mu maaso ge
    n’amwegayirira, obusungu bwe ne bumuggwaako n’atabazikiriza.

Zabbuli 106:47-48

47 (A)Ayi Mukama Katonda,
    otulokole, otukuŋŋaanye, otuggye mu mawanga,
tulyoke twebazenga erinnya lyo ettukuvu,
    era tusanyukenga nga tukutendereza.

48 (B)Mukama atenderezebwenga, Katonda wa Isirayiri,
    emirembe n’emirembe.

Abantu bonna ka boogere nti, “Amiina!”

Mumutendereze Mukama.

Ekyamateeka Olwokubiri 4:21-40

21 (A)“Ate n’ekirala, Mukama yansunguwalira ku lwammwe, ne yeerayirira nti nze sigenda kusomoka mugga ogwo Yoludaani nnyingire mu nsi eyo ennungi Mukama Katonda wammwe gy’abawa okubeera obusika bwammwe. 22 (B)Naye nze kinsaanira okufiira wano mu nsi eno kaakano mwe tuli, sigenda kusomoka mugga Yoludaani; naye mmwe muligusomoka ne mwefunira ensi eyo ennungi okubeera obutaka bwammwe obw’enkalakkalira. 23 (C)Mwegenderezanga nnyo ne muteerabira ndagaano ya Mukama Katonda wammwe gye yakola nammwe. Temwekoleranga bitali Katonda mu kufaanaanyiriza okw’ekintu kyonna Mukama Katonda wo kye yakugaana okukola. 24 (D)Kubanga Mukama Katonda wo muliro ogwokya ne gusaanyaawo, ye Katonda ow’obuggya.

Ekibonerezo olw’Okusinza Bakatonda Abalala

25 (E)“Bw’olimala okuzaala abaana ng’ofunye n’abazzukulu, era nga mu nsi omwo mumazeemu emyaka mingi nga mukaddiye; ne mugenda mweyonoonanga nga mwekolera bakatonda abalala ab’engeri zonna, ne mukolanga ebibi mu maaso ga Mukama Katonda wo ne mumusunguwazanga, 26 (F)nkoowoola eggulu n’ensi okubeera abajulirwa bange ku lunaku lwa leero nga mbakuutira mmwe nti, Bwe muneeyonoonanga bwe mutyo, muliggweerawo ddala mu nsi eyo gye mugenda okwefunira okuba obutaka bwammwe, nga mumaze okusomoka Yoludaani. Muligibeeramu akabanga katono ne muzikirizibwa mwenna. 27 (G)Mukama anaabasaasaanyanga mu mawanga amalala, era erisigalayo batono mu mmwe abalibeera mu nsi ezo Mukama Katonda gy’anaabanga abasindiikirizza. 28 (H)Nga muli eyo munaasinzanga bakatonda abakolebwa n’emikono gy’abantu, mu miti ne mu mayinja, abatayinza kulaba, oba okuwulira oba okulya, wadde okuwunyiriza. 29 (I)Naye ng’oli eyo, bw’onoonoonyanga Mukama Katonda wo, onoomulabanga, singa onoomunoonyanga n’omutima gwo gwonna awamu n’omwoyo gwo gwonna. 30 (J)Ebintu ebyo byonna bwe binaakutuukangako n’olaba ennaku nnyingi, olwo onookomangawo eri Mukama Katonda wo mu biseera eby’oluvannyuma, n’omugonderanga. 31 (K)Kubanga Mukama Katonda wo ajjudde okusaasira, taakusuulirirenga wadde okukuzikiriza, oba okwerabira endagaano ye gye yakola ne bajjajjaabo gye yabalayiririra.

Isirayiri, Eggwanga Eddonde

32 (L)“Kale, weebuuze leero ku byafaayo eby’ebiro eby’edda, nga naawe tonnabeerawo, okuva ku lunaku Katonda lwe yatonderako omuntu n’amuteeka ku nsi; weebuuze okuva ku luuyi olumu olw’eggulu okutuuka ku luuyi olulala. Waali wabaddewo ekintu ekikulu nga kino, oba waali wabaddewo akiwulirako? 33 (M)Abantu abamawanga amalala baali bawuliddeko ku ddoboozi lya Katonda ng’ayogerera mu muliro, ne basigala nga bakyali balamu, nga mmwe bwe mwaliwulira ne muba balamu? 34 (N)Nantiki, waali wabaddewo katonda eyali agezezzaako okwetwalira eggwanga erimu ng’aliggya wakati mu ggwanga eddala, ng’ataddewo ebigezo, n’okukola ebyamagero, n’obubonero, n’ebyewuunyo, n’entalo, ng’alaga omukono gwe ogw’amaanyi, n’omukono gwe omuwanvu; oba n’ebikolwa ebinene ebitiisa, okufaanana ng’ebintu Mukama Katonda wammwe bye yabakolera nga muli mu Misiri, nga mwenna mutunula?

35 (O)“Walagibwa ebintu ebyo byonna olyoke otegeere nga Mukama ye Katonda; era nga awatali ye tewali mulala. 36 (P)Yakuleka n’owulira eddoboozi lye nga liva mu ggulu alyoke akuyigirize. Yakulaga omuliro gwe omungi ennyo ku nsi, n’owulira ebigambo bye nga biva mu muliro ogwo. 37 (Q)Olw’okubanga yayagala nnyo bajjajjaabo naawe muzzukulu waabwe eyabaddirira, yakuggya mu nsi y’e Misiri ng’akozesa obuyinza bwe obungi. 38 (R)Yakuwangulira amawanga amakulu era agakusinga ggwe amaanyi, alyoke akuyingize mu nsi yaabwe, era agikuwe ggwe okubeeranga obusika bwo nga bwe kiri leero.

39 (S)“Noolwekyo osaana okitegeerere ddala okuva ku lunaku lwa leero, era okinywereze ddala mu mutima gwo nti Mukama ye Katonda yekka ali waggulu mu ggulu ne wansi ku nsi; so tewali mulala. 40 (T)Kale, mugonderenga amateeka ge n’ebiragiro bye, bye nkulagira leero; olwo nno eby’obulamu bwo n’embeera yo biryoke bikugenderenga bulungi, ggwe n’ezzadde lyo eririddawo; bw’otyo olyoke owangaalenga ng’oli mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeeranga obutaka bwo obw’enkalakkalira.”

Makko 7:9-23

(A)N’abagamba nate nti, “Munyooma ekiragiro kya Katonda, ne muggumiza obulombolombo bwammwe. 10 (B)Musa yagamba nti, ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’ Era n’agamba nti, ‘Omuntu yenna ayogera obubi ku kitaawe oba nnyina anattibwanga.’ 11 (C)Naye mmwe mugamba nti kituufu omuntu okulagajjalira bakadde be nga bali mu kwetaaga n’abagamba bugambi nti, ‘Mmunsonyiwe, kubanga kye nandibawadde ye Korubaani[a].’ ” 12 “Omuntu temumukkiriza kubeerako ky’akolera kitaawe oba nnyina. 13 (D)Bwe mutyo munyooma ekigambo kya Katonda mulyoke mutuukirize obulombolombo bwammwe bwe mwaweebwa. N’ebirala bingi ebiri ng’ebyo bye mukola.”

Ebyonoona Omuntu

14 Awo Yesu n’ayita ekibiina ky’abantu n’abagamba nti, “Mmwe mwenna, mumpulirize, era mutegeere. 15 Ebintu ebiyingira mu muntu si bye byonoona empisa ze, wabula ebyo ebiva mu mutima gwe bye bizoonoona. 16 (Omuntu alina amatu agawulira awulirize.)”

17 (E)Yesu n’aviira ekibiina n’ayingira mu nnyumba, abayigirizwa be ne bamubuuza amakulu g’ebigambo bye yayogera. 18 N’abaddamu nti, “Nammwe temutegedde? Temutegeera nti buli kintu ekiyingira mu muntu si kye kimwonoona? 19 (F)Olw’okuba nga tekiyingira mu mutima gwe naye kiyingira mu lubuto lwe ne kiryoka kigenda mu kabuyonjo.” Mu kwogera atyo Yesu yakakasa nga buli kyakulya bwe kiri ekirongoofu.

20 Era n’ayongerako na bino nti, “Ebirowoozo by’omuntu bye bimwonoona. 21 Kubanga mu mutima gw’omuntu mwe muva ebirowoozo ebibi eby’obukaba, n’obubbi, n’obutemu, n’obwenzi, 22 (G)n’okwegomba, n’omutima omubi, n’obukuusa, n’obumenyi bw’amateeka, n’obuggya, n’okusekeeterera, n’obusirusiru. 23 Ebibi bino byonna biva munda mu muntu ne bimwonoona.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.