Revised Common Lectionary (Complementary)
8 (A)Nnaawulirizanga Mukama Katonda by’agamba;
asuubiza abantu be, be batukuvu be, okubawa emirembe;
naye tebaddayo mu byonoono byabwe.
9 (B)Ddala ddala obulokozi bwe busemberera abo abamutya,
ensi yaffe n’eryoka ejjula ekitiibwa kye.
10 (C)Okwagala n’obwesigwa bisisinkanye;
obutuukirivu n’emirembe binywegeraganye.
11 (D)Obwesigwa bulose mu nsi,
n’obutukuvu ne butunuulira ensi nga businzira mu ggulu.
12 (E)Ddala ddala Katonda anaatuwanga ebirungi,
n’ensi yaffe eneebalanga ebibala bingi.
13 Obutuukirivu bunaamukulemberanga,
era bunaateekateekanga ekkubo mw’anaayitanga.
Okulabula Abantu ba Isirayiri
3 (A)Muwulire ekigambo kino Mukama ky’aboogerako mmwe abaana ba Isirayiri, ennyumba yonna gye naggya mu Misiri.
2 (B)“Mu bantu bonna abali ku nsi,
mmwe mwekka be nalonda.
Kyendiva mbabonereza
olw’ebibi byammwe byonna.”
3 Abantu ababiri bayinza okutambulira awamu
wabula nga bakkiriziganyizza?
4 (C)Empologoma ewulugumira mu kisaka
nga terina muyiggo?
Empologoma ento ekaabira mu mpuku yaayo
nga teriiko ky’ekutte?
5 Akanyonyi kayinza okugwa mu mutego
nga tewali kikasikirizza?
Omutego gumasuka
nga teguliiko kye gukwasizza?
6 (D)Akagombe kavugira mu kibuga
abantu ne batatya?
Akabenje kagwa mu kibuga
nga Mukama si y’akaleese?
7 (E)Naye ddala Mukama Katonda takola kintu kyonna
nga tasoose kukibikkulira
baweereza be, bannabbi.
8 (F)Empologoma ewulugumye,
ani ataatye?
Mukama Katonda ayogedde
ani ataawe bubaka bwe?
9 (G)Langirira eri ebigo by’e Asudodi
n’eri ebigo by’e Misiri nti,
“Mujje mukuŋŋaanire ku nsozi z’e Samaliya
mulabe akajagalalo akanene akali eyo
n’abantu be nga bwe bajoogebwa.”
10 (H)Mukama agamba nti, “Abantu abajjuzza
ebigo byabwe n’ebintu ebinyage,
tebamanyi kukola kituufu.”
11 (I)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“Omulabe alirumba ensi,
n’amenyaamenya ebigo byo eby’amaanyi
era n’abinyagulula.”
12 (J)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Ng’omusumba bw’agezaako okutaasa endiga ye okuva mu kamwa k’empologoma
n’asikayo amagulu abiri obubiri n’ekitundu ky’okutu,
bwe batyo Abayisirayiri bwe balinunulibwa,
abo abatuula mu Samaliya
ku nkomerero y’ebitanda byabwe
ne ku bitanda byabwe mu Ddamasiko.
2 (A)Munyiikirirenga mu kusaba, nga temuddirira, wabula nga mwebazanga 3 (B)nga mwenna awamu mutusabira Katonda atuggulirewo oluggi okubuulira Enjiri, n’okutegeeza ekyama kya Kristo, kye nasibirwa. 4 Ndyoke njolesenga ekyama ekyo nga bwe kiŋŋwanidde okukyogerako. 5 (C)Abo abatannakkiriza mutambulenga nabo n’amagezi, nga mukozesa bulungi ebiseera bye mulina. 6 (D)Enjogera yammwe ebeerenga ya kisa, era ng’enoga omunnyo, mulyoke mumanye eky’okwanukulanga buli muntu yenna.
7 (E)Tukiko owooluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa era muddu munnaffe mu Mukama waffe alibategeeza ebinfaako byonna. 8 (F)Kyenva mmutuma gye muli mulyoke mumanye ebitufaako, era abazzeemu n’amaanyi, 9 (G)awamu ne Onesimo owooluganda omwagalwa era omwesigwa, omu ku b’ewammwe; balibategeeza byonna ebifa eno.
10 (H)Alisutaluuko, musibe munnange, ne Makko omujjwa wa Balunabba, gwe baabagambako nti bw’aliba ng’aze gye muli mumusembezanga, babatumidde; 11 ne Yesu ayitibwa Yusito abalamusizza. Abo be Bayudaaya, bakozi bannange bokka mu bwakabaka bwa Katonda, abaanzizaamu amaanyi. 12 (I)Epafula ow’ewammwe, omuddu wa Kristo Yesu, afuba bulijjo ku lwammwe okubasabira, mulyoke muyimirirenga nga munywedde mu kukkiriza era nga mutegeereranga ddala mu byonna Katonda by’ayagala, abalamusizza. 13 (J)Kubanga mmuweera obujulirwa, nga bw’afuba ennyo ku lwammwe, n’ab’omu Lawodikiya, n’ab’omu Kiyerapoli. 14 (K)Lukka, omusawo omwagalwa ne Dema, babalamusizza. 15 (L)Mulamuse abooluganda ab’omu Lawodikiya, ne Nunfa, n’ekkanisa ekuŋŋaanira mu nnyumba ye.
16 (M)Ebbaluwa eno bw’emalanga okusomebwa mu mmwe, mulabe nti esomerwa n’ab’ekkanisa y’omu Lawodikiya, era nammwe musome ebbaluwa eriva e Lawodikiya.
17 (N)Era mugambe Alukipo nti, “Ssaayo omwoyo ku kuweereza kwe waweebwa mu Mukama waffe, okutuukirize.”
18 Nze Pawulo nzennyini nze mpandiise okulamusa kuno. Munzijukirenga mu busibe bwange. Ekisa kibeerenga nammwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.