Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 119:81-88

כ Kaafu

81 (A)Emmeeme yange erumwa nnyo ennyonta ng’eyaayaanira obulokozi bwo,
    essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
82 (B)Ntunuulidde ebbanga ddene n’amaaso gange ne ganfuuyirira nga nninda okutuukirira kw’ekisuubizo kyo;
    ne neebuuza nti, “Olinsanyusa ddi?”
83 Newaakubadde nga nfuuse ng’ensawo ey’eddiba, eya wayini eri mu mukka[a],
    naye seerabira bye walagira.
84 (C)Ayi Mukama, nze omuddu wo nnaalindirira kutuusa ddi
    nga tonnabonereza abo abanjigganya?
85 (D)Abantu ab’amalala abatatya Katonda bansimidde ebinnya mu kkubo;
    be bo abatagondera mateeka go.
86 (E)Amateeka go gonna geesigibwa;
    abo abatakwagala banjigganyiza bwereere; nkusaba onnyambe!
87 (F)Baali kumpi okunzikiririza ddala ku nsi kuno;
    naye nze sivudde ku ebyo bye walagira.
88 Olw’okwagala kwo okutaggwaawo ndekera obulamu bwange,
    ndyoke nkuume ebyo bye walagira ebiva mu kamwa ko.

Yeremiya 16:14-21

14 (A)“Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama. “Abantu lwe bataliddayo kwogera nti, ‘Ddala nga Katonda bw’ali omulamu eyaggya Isirayiri mu nsi y’e Misiri,’ 15 (B)naye baligamba nti, ‘Ddala nga Mukama bw’ali omulamu eyaggya Abayisirayiri mu nsi ey’omu bukiikakkono era n’okuva mu nsi zonna gye yali abasudde.’ Kubanga ndibakomyawo mu nsi gye nawa bajjajjaabwe.

16 (C)“Naye kaakano leka ntumye abavubi bange,” bw’ayogera Mukama, “era bajja kubavuba. Ng’ekyo kiwedde nzija kutumya abayizzi bange, era bajja kubayigga ku buli lusozi era na buli kasozi na buli lwatika lwonna mu njazi. 17 (D)Amaaso gange galaba buli kye bakola, tebinkwekeddwa wadde obutali butuukirivu bwabwe okuunkwekebwa. 18 (E)Ndibasasula olw’obutali butuukirivu bwabwe n’olw’ekibi kyabwe emirundi ebiri, kubanga boonoonye ensi yange olw’ebintu ebitaliimu bulamu ne bajjuza omugabo gwange ebifaananyi bya bakatonda baabwe abakolerere, eby’emizizo.”

19 (F)Ayi Mukama, amaanyi gange era ekigo kyange,
    ekiddukiro kyange mu biro eby’okulabiramu ennaku,
bannaggwanga balijja gy’oli,
    okuva ku nkomerero z’ensi bagambe nti,
“Bakitaffe tebaalina kantu okuggyako bakatonda ab’obulimba,
    ebifaananyi ebikolerere ebitagasa ebitaabayamba.
20 (G)Abantu beekolera bakatonda baabwe?
    Ye, naye si Katonda!

21 “Noolwekyo ndibayigiriza,
    ku mulundi guno;
    ŋŋenda kubalaga amaanyi gange n’obuyinza bwange.
Olwo balyoke bamanye nti
    erinnya lyange nze Mukama.”

Yokaana 7:1-9

Yesu ne Baganda be

(A)Oluvannyuma lw’ebyo, Yesu n’alaga e Ggaliraaya, kubanga teyayagala kubeera mu Buyudaaya, kubanga Abayudaaya baali bamunoonya okumutta. (B)Naye embaga y’Abayudaaya eyitibwa ey’Ensiisira yali eneetera okutuuka. (C)Baganda ba Yesu ne bamugamba nti, “Vva wano, olage mu Buyudaaya, abayigirizwa bo balabe ebyamagero by’okola. Tosobola kwatiikirira nga weekwese. Kale obanga, okola ebintu ebyo, weerage eri ensi.” (D)Baganda be nabo tebaamukkiriza. (E)Yesu n’abaddamu nti, “Ekiseera kyange eky’okugenda tekinnatuuka. Naye mmwe muyinza okugenda mu kiseera kyonna we mwagalira. (F)Mmwe ensi teyinza kubakyawa, naye Nze enkyawa kubanga ngitegeeza ebikolwa byayo ebibi. (G)Mmwe mwambuke ku mbaga. Nze sijja kwambuka ku mbaga eno, kubanga ekiseera kyange tekinnatuuka.” Bwe yamala okubagamba ebyo n’asigala mu Ggaliraaya.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.