Revised Common Lectionary (Complementary)
Zabbuli ya Dawudi, bwe yali mu ddungu lya Yuda.
63 (A)Ayi Katonda, oli Katonda wange,
nkunoonya n’omutima gwange gwonna;
emmeeme yange ekwetaaga,
omubiri gwange gwonna gukuyaayaanira,
nga nnina ennyonta ng’ali
mu nsi enkalu omutali mazzi.
2 (B)Nkulabye ng’oli mu kifo kyo ekitukuvu,
ne ndaba amaanyi go n’ekitiibwa kyo.
3 (C)Kubanga okwagala kwo okutaggwaawo kusinga obulamu;
akamwa kange kanaakutenderezanga.
4 (D)Bwe ntyo nnaakutenderezanga obulamu bwange bwonna;
nnaayimusanga emikono gyange mu linnya lyo.
5 (E)Emmeeme yange enekkutanga ebyassava n’obugagga;
nnaayimbanga nga nkutendereza n’emimwa egy’essanyu.
6 (F)Nkujjukira nga ndi ku kitanda kyange,
era nkufumiitirizaako mu ssaawa ez’ekiro.
7 (G)Olw’okuba ng’oli mubeezi wange,
nnyimba nga ndi mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo.
8 (H)Emmeeme yange yeekwata ku ggwe;
omukono gwo ogwa ddyo gumpanirira.
9 (I)Naye abo abannoonya okunzita balizikirizibwa,
baliserengeta emagombe.
10 Balisaanawo n’ekitala;
ne bafuuka emmere y’ebibe.
11 (J)Naye ye kabaka anaajagulizanga mu Katonda;
bonna abalayira mu linnya lya Katonda banaatenderezanga Katonda,
naye akamwa k’abalimba kalisirisibwa.
Bakabona Balangirira Omusango eri Abaamawanga
9 (A)Bakabona mulangirire mu mawanga bwe muti nti,
Mwetegekere olutalo!
Muyite abalwanyi bammwe ab’amaanyi,
buli mulwanyi yenna asembere ajje mu lutalo.
10 (B)Enkumbi zammwe muziweeseemu ebitala,
n’obwambe bwammwe mubuweeseemu amafumu;
omunafu agambe nti,
“Ndi wa maanyi.”
11 (C)Mujje mangu mwe mwenna abamawanga agatwetoolodde,
mukuŋŋaanire mu kiwonvu.
Ayi Mukama, weereza eggye lyo libalumbe.
12 (D)“Amawanga geeteeketeeke
gajje mu kiwonvu ekya Yekosafaati;
kubanga eyo gye ndisinzira
ne nsalira amawanga gonna ageetoolodde wano omusango.
13 (E)Kozesa oluwabyo lwo,
kubanga ekiseera eky’amakungula kituuse.
Mujje mubabetente nga bwe mulinnyirira emizabbibu mu ssogolero
okutuusa envinnyo lw’ekulukuta,
ekibi kyabwe kinene nnyo.”
14 (F)Abantu bukadde na bukadde
abali mu kiwonvu eky’okusalirwamu omusango!
Kubanga olunaku lwa Mukama lusembedde
lwaliramulirako mu kiwonvu eky’okusalirwamu omusango.
15 Ekizikiza kibuutikidde enjuba n’omwezi,
n’emmunyeenye tezikyayaka.
16 (G)Mukama aliwuluguma ng’ayima ku Sayuuni;
alibwatuka n’eddoboozi lye ng’asinziira mu Yerusaalemi.
Eggulu n’ensi birikankana.
Naye Mukama aliba ekiddukiro ky’abantu be,
era ekigo ky’abaana ba Isirayiri eky’amaanyi.
17 (H)“Kale mulimanya nga Nze Mukama Katonda wammwe,
abeera ku lusozi lwange olutukuvu Sayuuni.
Era Yerusaalemi kinaabeeranga kitukuvu,
nga ne bannamawanga tebakyakirumba.
18 (I)“Olunaku luli bwe lulituuka, ensozi ziritonnyesa wayini omuggya,
n’obusozi bulikulukusa amata,
n’emigga gyonna egya Yuda emikalu girikulukusa amazzi.
Ensulo eriva mu nnyumba ya Mukama
n’efukirira ekiwonvu kya Sittimu.
19 (J)Misiri erifuuka amatongo
n’ensi ya Edomu erifuuka ddungu jjereere
olw’ebikolobero bye baakola ku bantu ba Yuda,
ensi mwe battira abantu abatalina musango.
20 (K)Naye mu Yuda mulibeeramu abantu ennaku zonna,
ne Yerusaalemi kiribeerawo emirembe gyonna.
21 (L)Ndyesasuza olw’omusaayi ogw’abo abattibwa,
era teriba mutemu asonyiyibwa.
Kubanga Mukama abeera mu Sayuuni.”
29 (A)“Amangu ddala ng’okubonyaabonyezebwa
“kw’omu nnaku ezo kuwedde,
‘enjuba eriggyako ekizikiza
era n’omwezi teguliyaka,
n’emmunyeenye zirigwa n’amaanyi g’eggulu galinyeenyezebwa.’ ”
30 (B)“Oluvannyuma lw’ebyo akabonero k’Omwana w’omuntu kalirabika ku ggulu, era walibaawo okukungubaga kw’amawanga gonna ag’omu nsi, era baliraba Omwana w’Omuntu ng’ajja ku bire by’eggulu, mu maanyi ne mu kitiibwa ekinene. 31 (C)Era alituma bamalayika be nga bwe bafuuwa amakondeere mu ddoboozi ery’omwanguka, ne bakuŋŋaanya abalonde be nga babaggya mu mpewo ennya okuva ku ludda olumu olw’eggulu okutuuka ku ludda olulala.”
32 “Kale muyigire ku lugero lw’omutiini. Amatabi gaagwo bwe gatandika okutojjera nga mumanya nti ebiseera eby’ebbugumu binaatera okutuuka. 33 (D)Noolwekyo nammwe bwe muliraba ebintu ebyo byonna, nga mumanya nti ekiseera kiri kumpi, era kisemberedde ddala ku luggi. 34 (E)Ddala ddala mbagamba nti, omulembe guno teguliggwaawo okutuusa ng’ebintu ebyo byonna bituukiridde. 35 (F)Eggulu n’ensi biriggwaawo naye ebigambo byange tebiriggwaawo.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.