Revised Common Lectionary (Complementary)
Ya mukulu wa Bayimbi. Ya ndere. Zabbuli ya Dawudi.
5 Otege okutu eri ebigambo byange, Ayi Mukama;
olowooze ku kunyolwa kwange.
2 (A)Wuliriza eddoboozi ly’omulanga gwange,
Ayi Kabaka wange era Katonda wange:
kubanga ggwe gwe nsaba.
3 (B)Ayi Mukama, buli nkya owulira eddoboozi lyange;
buli nkya ndeeta gy’oli okusaba kwange,
ne nnindirira onziremu.
4 (C)Kubanga ggwe Ayi Katonda, tosanyukira bibi:
n’ebitasaana tobigumiikiriza.
5 (D)Ab’amalala era abakola ebibi tobeetaaga mu maaso go:
kubanga okyawa abakola ebibi bonna.
6 (E)Abalimba bonna obazikiriza;
Mukama akyawa abatemu
era n’abalimba.
7 (F)Naye olw’ekisa kyo ekingi,
nze nnaayingiranga mu nnyumba yo:
ne nkusinziza mu Yeekaalu yo Entukuvu
n’okutya okungi.
8 (G)Onkulembere, Ayi Mukama, mu butuukirivu bwo,
olw’abalabe bange,
ondage ekkubo eggolokofu ery’okutambulirangamu.
9 (H)Abalabe bange bye boogera tebyesigibwa;
emitima gyabwe gijjudde bussi bwereere.
Emimiro gyabwe ntaana eyasaamiridde:
akamwa kaabwe koogera bya bulimba.
10 (I)Basalire omusango gubasinge, Ayi Katonda;
baleke bagwe mu mitego gyabwe.
Bagobe
kubanga baakujeemera.
11 (J)Naye leka abo bonna abakwesiga basanyukenga;
ennaku zonna bayimbenga n’essanyu,
obakuumenga,
abo abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe.
12 (K)Kubanga, Ayi Mukama, omutuukirivu omuwa omukisa;
era omukuuma, n’omwetoolooza okwagala ng’engabo.
13 (A)Nnyinza kugamba ki,
era kiki kye nnyinza okukugeraageranyaako
ggwe Omuwala wa Yerusaalemi?
Kiki kye nnyinza okukufaananya,
okukusanyusa ggwe
Omuwala Embeerera owa Sayuuni?
Ekiwundu kyo kinene nnyo,
kale ani ayinza okukiwonya?
14 (B)Okwolesebwa bannabbi bo kwe baafuna,
kwali kwa bulimba era kwa butaliimu;
tebaakutegeeza obutali butuukirivu bwo
okukuwonya obusibe.
Engero ze baabanyumizanga
zaali za bulimba era eziwabya.
15 (C)Bonna abayitawo
babakubira mu ngalo
ne bafuuwa empa ne banyeenyeza
omuwala wa Yerusaalemi emitwe gyabwe nga boogera nti,
“Kino kye kibuga ekyayitibwanga
ekituukiridde,
era essanyu ly’ensi zonna?”
16 (D)Abalabe bo bonna
baasaamiridde nga beewuunya;
nga bafuuwa empa, era baluma amannyo
nga boogera nti, “Tumuzikirizza.
Luno lwe lunaku lwe twalindirira,
kaakano lutuukiridde, era tululabye.”
17 (E)Mukama akoze kye yateekateeka,
era atuukirizza ekigambo kye
kye yalagira mu nnaku ez’edda.
Akuzikirizza awatali kukusaasira,
aleetedde omulabe wo okukusekerera,
n’amaanyi g’abalabe bo agagulumizza.
Balunabba ne Sawulo batumibwa
13 (A)Mu Kkanisa y’omu Antiyokiya mwalimu bannabbi n’abayigiriza bano: Balunabba, ne Simooni, eyayitibwanga, “Omuddugavu” ne Lukiyo ow’e Kuleene, ne Manaeni, eyakulira awamu ne kabaka Kerode, ne Sawulo. 2 (B)Awo bwe baali nga basinza Mukama era nga bwe basiiba, Mwoyo Mutukuvu n’agamba nti, “Munjawulire Balunabba ne Sawulo olw’omulimu gwe mbayitidde.” 3 (C)Awo bwe baamala okusaba n’okusiiba, ne bassa emikono gyabwe ku Balunabba ne Sawulo, ne babasiibula ne bagenda.
4 (D)Awo Balunabba ne Sawulo ne batumibwa Mwoyo Mutukuvu okugenda e Serukiya, gye baava ne bawunguka okulaga e Kupulo. 5 (E)Bwe baatuuka mu Salamisi ne bayingira mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya ne babuulira ekigambo kya Katonda. Yokaana Makko yali nabo okubaweereza.
6 (F)Ne bagenda nga babuulira ku kizinga kyonna okutuuka e Pafo. Eyo ne basangayo omufumu Omuyudaaya eyali nnabbi ow’obulimba, erinnya lye Balisa. 7 (G)Yayitanga ne Serugiyo Pawulo, gavana Omuruumi ow’oku kizinga ekyo. Gavana ono yali musajja w’amagezi, n’atumya Balunabba ne Sawulo ng’ayagala okuwulira ekigambo kya Katonda. 8 (H)Naye Eruma omufumu (kubanga ago ge makulu g’erinnya lye mu Luyonaani), n’abeekiikamu, n’agezaako okusendasenda gavana aleme okuwuliriza ebigambo eby’okukkiriza. 9 (I)Naye Sawulo, era ng’ayitibwa Pawulo, n’ajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu, n’atunuulira Eruma enkaliriza, 10 (J)n’amugamba nti, “Ggwe, omusajja ajudde obulimba bwonna n’obukuusa bwonna, omwana wa Setaani, era omulabe w’obutuukirivu bwonna olikomya ddi okukyusakyusa amakubo ga Katonda amatereevu? 11 (K)Kaakano omukono gwa Mukama gukwolekedde, ojja kuziba amaaso, omale ebbanga nga tolaba musana.”
Amangwago olufu n’ekizikiza ne bimusaanikira, n’atandika okuwammanta ng’anoonya anaamukwata ku mukono. 12 (L)Awo gavana bwe yalaba ebibaddewo, n’akkiriza, era n’awuniikirira nnyo olw’okuyigiriza kw’ekigambo kya Mukama.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.