Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 32

Zabbuli ya Dawudi.

32 (A)Alina omukisa oyo
    asonyiyiddwa ebyonoono bye
    ekibi ne kiggyibwawo.
(B)Alina omukisa omuntu oyo
    Mukama gw’atakyabalira kibi kye,
    ne mu mutima gwe nga temuli bukuusa.

(C)Bwe nasirikiranga ekibi kyange,
    ne nkogga,
    kubanga nasindanga olunaku lwonna.
(D)Wambonerezanga
    emisana n’ekiro,
amaanyi ne ganzigwamu
    ng’amazzi bwe gakalira mu kyeya.

(E)Awo ne nkwatulira ekibi kyange,
    ne sibikkirira kwonoona kwange.
Ne njogera nti,
    “Leka neenenyeze Mukama ebibi byange.”
Bw’otyo n’onsonyiwa,
    n’onziggyako omusango gw’ebibi byange.

(F)Noolwekyo abaweereza bo bonna abeesigwa
    bakwegayirire ng’okyalabika;
oluvannyuma ebizibu bwe birijja,
    ng’amazzi ag’amaanyi amangi tebiribatuukako.
(G)Oli kifo kyange mwe nneekweka,
    ononkuumanga ne situukwako kabi
    era ononneetooloozanga ennyimba ez’obulokozi.

(H)Nnaakulagiranga era ne nkuyigiriza ekkubo mw’onootambuliranga;
    nnaakuwanga amagezi nga bwe nkulabirira.
(I)Temubeeranga ng’embalaasi
    oba ennyumbu ezitategeera,
ze bateekwa okussa ekyuma mu kamwa ekisibwa ku lukoba,
    ziryoke zifugibwe zijje gy’oli.
10 (J)Ababi balaba ennaku nnyingi;
    naye abeesiga Mukama bakuumirwa
    mu kwagala kwe okutaggwaawo.

11 (K)Musanyukire mu Mukama era mujaguze mmwe abatuukirivu,
    era muyimbire waggulu n’essanyu mmwe abalina omutima omulongoofu.

2 Samwiri 13:23-39

Abusaalomu Atta Amunoni

23 (A)Bwe waayitawo emyaka ebiri nga kiseera kya kusala ebyoya by’endiga, ng’abasazi ba Abusaalomu bali e Baalukazoli, ekiriraanye Efulayimu, Abusaalomu n’ayita abaana ba kabaka bonna. 24 Abusaalomu n’agenda eri kabaka n’amugamba nti, “Omuddu wo alina abasazi ab’ebyoya by’endiga baaleese. Nkusaba kabaka n’abakungu be, mujje munjagulizeeko.” 25 Kabaka n’amuddamu nti, “Nedda, mwana wange. Ffenna bwe tunajja, tujja kuzitoowerera.” Abusaalomu n’amwegayirira nga bw’amuwaliriza, naye n’agaana okugenda, wabula n’amusabira omukisa. 26 Awo Abusaalomu n’amugamba nti, “Ggwe bw’oba nga tojje, nkwegayiridde okkirize Amunoni agende naffe.” Kabaka n’amubuuza nti, “Lwaki Amunoni agenda nammwe?” 27 Naye Abusaalomu n’amwegayirira nnyo okutuusa bwe yakkiriza Amunoni n’abaana ba kabaka bonna okugenda naye.

28 (B)Awo Abusaalomu n’alagira abaddu be nti, “Muwulire! Mugenderere okulaba Amunoni ng’atudde, n’omutima gwe nga musanyuukirivu; bwe n’abagamba nti, ‘mutte Amunoni,’ mumutte. Temutya, si nze mpadde ekiragiro? Mube n’amaanyi era mube bazira.” 29 Awo abasajja ba Abusaalomu ne batta Amunoni nga Abusaalomu bwe yabalagira. Abaana ba kabaka bonna ne basituka ne beebagala buli muntu ennyumbu ye ne badduka. 30 Bwe baali bakyali mu kkubo, amawulire ne gatuuka eri Dawudi nti, “Abusaalomu asse abaana ba kabaka bonna, era tewasigadde n’omu.” 31 (C)Kabaka n’agolokoka n’ayuza ebyambalo bye, ne yeebaka mu ttaka n’abaddu be bonna abaaliwo ne bayuza ebyambalo byabwe.

32 Naye Yonadabu mutabani wa Simeeya, mukulu wa Dawudi, n’ayogera nti, “Mukama wange kabaka aleme okulowooza nga basse abalangira bonna, Amunoni yekka y’afudde. Era ekyo kye kyali ekigendererwa kya Abusaalomu okuva ku lunaku Amunoni lwe yakwata Tamali mwannyina. 33 Noolwekyo mukama wange kabaka aleme okweraliikirira olw’amawulire g’afunye agagamba nti abaana ba kabaka bonna bafudde. Amunoni yekka ye afudde.” 34 Kyokka Abusaalomu n’adduka. Omuvubuka omukuumi n’ayimusa amaaso ge, n’alengera abantu bangi mu kkubo ery’ebugwanjuba nga bakkirira ku mabbali g’olusozi. 35 Awo Yonadabu n’agamba kabaka nti, “Laba abaana ba kabaka bajja; kituukiridde omuddu wo kye yayogedde.” 36 Bwe yali yakamala okwogera, abaana ba kabaka ne bayingira nga bakuba ebiwoobe. Kabaka n’abaddu be nabo ne bakaaba nnyo nnyini.

37 (D)Abusaalomu ye n’addukira eri Talumaayi mutabani wa Ammikuli, kabaka w’e Gesuli, Dawudi n’amukaabiranga buli lunaku. 38 Abusaalomu n’amala e Gesuli emyaka esatu. 39 (E)Naye omutima gwa Dawudi ne gwegomba okulaba ku Abusaalomu, kubanga yali akubagizibbwa olw’okufa kwa Amunoni.

Yakobo 4:1-7

Mweweeyo eri Katonda

(A)Kiki ekireeta entalo n’okulwanagana mu mmwe? Si lwa kubanga mu mitima gyammwe mujjudde ebintu bingi nnyo ebibi bye mwagala? Mwagala ebintu ne mutabifuna ne muba n’obuggya, ne mulyoka muttiŋŋana so ne mutasobola kubifuna, nga mulwana era nga muyomba kubanga mulemeddwa okubisaba. (B)Era ne bwe mubisaba, temubifuna kubanga ekigendererwa kyammwe kikyamu; mugenderera kubikozesa ku masanyu gokka.

(C)Mmwe abenzi temumanyi ng’okuba mikwano gy’ensi bulabe eri Katonda? Noolwekyo omuntu yenna bw’alondawo okuba mukwano gw’ensi afuuka mulabe wa Katonda. Oba mulowooza nti Ekyawandiikibwa tekiba na makulu bwe kigamba nti, “Omwoyo gwe yassa mu ffe, atulabirira n’okwagala okujjudde obuggya”? (D)Kyokka Omwoyo omukulu oyo era agaba ekisa kingi. Kyekiva kigamba nti,

“Katonda alwana n’ab’amalala
    naye abawombeefu abawa ekisa.”

(E)Kale, mugondere Katonda era mulwanyisenga Setaani, ajja kubaddukanga.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.