Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 5

Ya mukulu wa Bayimbi. Ya ndere. Zabbuli ya Dawudi.

Otege okutu eri ebigambo byange, Ayi Mukama;
    olowooze ku kunyolwa kwange.
(A)Wuliriza eddoboozi ly’omulanga gwange,
    Ayi Kabaka wange era Katonda wange:
    kubanga ggwe gwe nsaba.

(B)Ayi Mukama, buli nkya owulira eddoboozi lyange;
    buli nkya ndeeta gy’oli okusaba kwange,
    ne nnindirira onziremu.
(C)Kubanga ggwe Ayi Katonda, tosanyukira bibi:
    n’ebitasaana tobigumiikiriza.
(D)Ab’amalala era abakola ebibi tobeetaaga mu maaso go:
    kubanga okyawa abakola ebibi bonna.
(E)Abalimba bonna obazikiriza;
    Mukama akyawa abatemu
    era n’abalimba.
(F)Naye olw’ekisa kyo ekingi,
    nze nnaayingiranga mu nnyumba yo:
ne nkusinziza mu Yeekaalu yo Entukuvu
    n’okutya okungi.

(G)Onkulembere, Ayi Mukama, mu butuukirivu bwo,
    olw’abalabe bange,
    ondage ekkubo eggolokofu ery’okutambulirangamu.
(H)Abalabe bange bye boogera tebyesigibwa;
    emitima gyabwe gijjudde bussi bwereere.
Emimiro gyabwe ntaana eyasaamiridde:
    akamwa kaabwe koogera bya bulimba.
10 (I)Basalire omusango gubasinge, Ayi Katonda;
    baleke bagwe mu mitego gyabwe.
Bagobe
    kubanga baakujeemera.
11 (J)Naye leka abo bonna abakwesiga basanyukenga;
    ennaku zonna bayimbenga n’essanyu,
obakuumenga,
    abo abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe.

12 (K)Kubanga, Ayi Mukama, omutuukirivu omuwa omukisa;
    era omukuuma, n’omwetoolooza okwagala ng’engabo.

Nekkemiya 1

Okusaba kwa Nekkemiya

(A)Ebigambo bya Nekkemiya mutabani wa Kakaliya:

Awo mu mwezi gwa Kisuleevu mu mwaka ogw’amakumi abiri[a] bwe nnali nga ndi mu lubiri mu kibuga ekikulu ekya Susani,[b] (B)Kanani, omu ku baganda bange, n’ajja n’abamu ku basajja okuva mu Yuda, ne mubuuza ku bikwata ku kitundu ky’Abayudaaya ekyasigalawo, ne ku bifa mu Yerusaalemi. (C)Ne bantegeeza nti, “Abaawaŋŋangusibwa abaddayo mu ssaza[c] bali mu kabi kanene ne mu nnaku nnyingi; bbugwe wa Yerusaalemi yamenyebwa, era ne wankaaki waakyo yayokebwa omuliro.” (D)Awo bwe nawulira ebigambo ebyo, ne ntuula wansi ne nkaaba, ne mmala ebiro nga nnakuwadde, nga nsiiba era nga nsaba mu maaso ga Katonda w’eggulu. (E)Ne njogera nti,

“Ayi Mukama Katonda w’eggulu, Katonda omukulu ow’entiisa, akuuma endagaano ye, era ayagala abo abagondera amateeka ge. (F)Ozibule amaaso go, otege okutu okuwulira okusaba kw’omuddu wo kwe nsaba mu maaso go emisana n’ekiro ku lwa baddu bo abantu ba Isirayiri. Njatula ebibi bye twakola, ffe Abayisirayiri, nga nange n’ennyumba ya kitange mwe tuli. (G)Twasobya mu maaso go, ne tutagoberera mateeka go n’ebiragiro byo bye watuma omuddu wo Musa.

(H)“Jjukira ebiragiro bye wawa omuddu wo Musa, ng’oyogera nti, ‘Bwe mutaabeerenga beesigwa, ndibasaasaanya mu mawanga, (I)naye bwe mulikyuka ne mukomawo gye ndi, ne mugondera amateeka gange, abantu bammwe abaawaŋŋangusibwa ne bwe banaabeeranga ku nkomerero y’eggulu, ndibakuŋŋaanyayo ne mbaleeta mu kifo kye neeroboza okubeerangamu Erinnya lyange.’

10 (J)“Abo be baddu bo era be bantu bo be wanunula n’amaanyi go amangi era n’omukono gwo ogw’amaanyi. 11 (K)Ayi Mukama, otege okutu eri okusaba kw’omuddu wo n’eri okusaba kw’abaddu bo abatya erinnya lyo. Omuddu wo omusobozese okulaba ekisa mu maaso g’omusajja ono.”

Ebiro ebyo nnali musenero wa kabaka.

Ebikolwa by’Abatume 3:1-10

Peetero Awonya Omulema

(A)Awo Peetero ne Yokaana bwe baali bagenda mu Yeekaalu mu kusaba okw’essaawa omwenda, (B)ne wabaawo omusajja eyazaalibwa nga mulema gwe baasitulanga ne bateekanga bulijjo ku mulyango gwa Yeekaalu oguyitibwa Omulyango Omulungi, okusabiriza. Awo bwe yalaba Peetero ne Yokaana nga bagenda okuyingira mu yeekaalu n’abasaba ensimbi. Ne bamwekaliriza amaaso, Peetero n’alyoka amugamba nti, “Tutunuulire!” N’abatunuulira ng’asuubira okuweebwayo akantu.

(C)Naye Peetero n’agamba nti, “Effeeza ne zaabu sibirina, naye ka nkuwe ekyo kye nnina. Mu linnya lya Yesu Omunnazaaleesi Golokoka, otambule!” Awo Peetero n’akwata omulema ku mukono ogwa ddyo n’amuyimusa, amangwago ebigere by’omusajja n’obukongovvule ne bifuna amaanyi, (D)n’abuuka n’ayimirira n’atandika okutambula! N’ayingira nabo mu Yeekaalu ng’atambula era nga bw’abuuka ng’atendereza Katonda. (E)Abantu bonna ne baamulaba ng’atambula, era ng’atendereza Katonda, 10 (F)ne bamutegeera nga ye wuuyo eyatuulanga ku mulyango gwa Yeekaalu oguyitibwa Omulyango Omulungi ng’asabiriza, ne bawuniikirira era ne beewuunya nnyo olw’ekyo ekimutuuseeko.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.