Readings for Lent and Easter
4 (A)Abo abankyayira obwereere
bangi okusinga enviiri ez’oku mutwe gwange;
abalabe bange bangi
abannoonya okunzita awatali nsonga;
ne mpalirizibwa mbaddizeewo
ekyo kye sibbanga.
5 (B)Ayi Katonda, omanyi obusirusiru bwange,
n’okusobya kwange tekukukwekeddwa.
6 Sisaana kuswaza
abo abakwesiga,
Ayi Mukama, Mukama ow’Eggye.
Abo abakunoonya
baleme kuswazibwa ku lwange,
Ayi Katonda wa Isirayiri.
7 (C)Ngumiikirizza okuvumwa ku lulwo,
n’amaaso gange ne gajjula ensonyi.
8 (D)Nfuuse nga omugwira eri baganda bange,
munnaggwanga eri abaana ba mmange.
9 (E)Nzijudde obuggya olw’ennyumba yo,
n’abo abakuvuma bavuma nze.
10 (F)Bwe nkaaba ne nsiiba,
ekyo nakyo ne kinvumisa.
11 (G)Bwe nnyambala ebibukutu ne nfuuka eky’okuzanyisa kyabwe.
12 (H)Abo abatuula ku mulyango gw’ekibuga banduulira,
era nfuuse luyimba lw’abatamiivu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.