Readings for Lent and Easter
21 “Munkwatirwe ekisa mikwano gyange, munkwatirwe ekisa,
kubanga omukono gwa Katonda gunkubye.
22 (A)Lwaki munjigga nga Katonda bw’anjigga?
Omubiri gwe mufunye tegumala?
23 (B)“Singa nno ebigambo byange byawandiikibwa,
Singa byawandiikibwa ku muzingo, bandiguwadde ani?
24 Singa byawandiikibwa n’ekyuma ku lubaati,
oba okuwandiikibwa ku lwazi ne bibeerawo emirembe n’emirembe!
25 (C)Mmanyi nga Omununuzi wange mulamu,
era nga ku nkomerero aliyimirira ku nsi.
26 (D)Era ng’olususu lwange bwe luweddewo,
kyokka mu mubiri gwange ndiraba Katonda;
27 (E)nze mwene ndimulaba,
n’amaaso gange, Nze, so si mulala.
Emmeeme yange ng’eyaayaana munda mu nze!
28 “Bwe mugamba nti, ‘Tujja kumuyigganya,
kubanga ensibuko y’emitawaana eri mu ye;’
29 (F)nammwe bennyini musaana mutye ekitala.
Kubanga obusungu buleeta okubonereza okw’ekitala,
olwo mulyoke mumanye ng’eriyo okusalirwa omusango.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.