Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Danyeri 8-10

Okwolesebwa kwa Danyeri okw’Endiga Ennume n’Embuzi Ennume

Mu mwaka ogwokusatu mu mirembe gya Kabaka Berusazza, nze Danyeri ne nfuna okwolesebwa oluvannyuma olwa kuli okwasooka. (A)Mu kwolesebwa okwo ne ndaba nga ndi mu kibuga ekikulu Susani mu ssaza Eramu, nga ndi ku mabbali g’omugga Ulaayi. (B)Ne nnyimusa amaaso gange ne ndaba, laba, endiga ennume eyalina amayembe abiri, n’amayembe ago gombi nga mawanvu naye erimu nga lisinga linnaalyo obuwanvu, ate nga lyo lyakula luvannyuma. (C)Ne ndaba endiga ennume ng’etomera edda ku luuyi olw’ebugwanjuba n’eri obukiikakkono, ne ku luuyi olw’obukiikaddyo. Ne wataba nsolo nkambwe n’emu egisinza amaanyi, ate nga mpaawo ayinza kuwona maanyi gaayo. N’ekola nga bwe yayagala era ne yeefuula ya kitalo.

Awo bwe nnali nkyalowooza ku ebyo, amangwago ne walabika embuzi ennume eyalina ejjembe eddene mu kyenyi ng’eva ebugwanjuba, n’esala okuva ku luuyi olumu olw’ensi, okulaga ku luuyi olulala nga terinnye ku ttaka. N’erumba n’obusungu bungi endiga ennume eyalina amayembe abiri, gye nalaba ng’eyimiridde ku mabbali g’omugga. (D)Ne ngiraba ng’esemberera endiga eyo ennume, mu busungu obungi n’egitomera era n’emenya amayembe gaayo gombi; endiga ennume n’eggwaamu amaanyi n’eteyinza kwetaasa, embuzi ennume n’egikoona n’egwa wansi n’egirinnyirira, ne wataba n’omu eyayinza okuwonya endiga ennume eyo mu maanyi g’embuzi ennume. (E)Embuzi ennume ne yeegulumiza nnyo, naye mu maanyi gaayo amangi, ejjembe lyayo eddene ne limenyeka, we lyali amayembe ana agalabika obulungi ne gamerawo nga gadda eri embuyaga ennya ez’omu ggulu.

(F)Mu ago ne muva ejjembe eddala ettono, ne likula mu maanyi mangi okwolekera obukiikaddyo, n’ebuvanjuba n’eri ensi ey’ekitalo ennungi. 10 (G)Ne likula ne lituuka eri eggye ery’omu ggulu, ne lisuula abamu ku b’eggye n’emmunyeenye ezimu wansi ku nsi, ne libirinnyirira. 11 (H)Ne lyegulumiza okwenkanankana omukulu w’eggye, ne limuggyako ekiweebwayo ekyokebwa, n’ekifo eky’awatukuvu ne lyonoonawo. 12 Olw’obujeemu eggye awamu n’ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku ne biriweebwa. Amazima ne gasuulibwa wansi, ne buli kye lyakolanga ne kiba kya mukisa.

13 (I)Ne mpulira omutukuvu ng’ayogera, n’omutukuvu omulala n’agamba oyo eyayogera nti, “Okwolesebwa okwogera ku kiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, ne ku bujeemu okuleeta okwonoona okungi, ne ku kuwaayo okwa watukuvu, ne ku batukuvu abalinnyirirwa, kulituukirira ddi era ebyo byonna birikoma ddi?”

14 (J)N’aŋŋamba nti, “Okutuusa ng’ennaku enkumi bbiri mu bisatu ziyiseewo.”

Amakulu g’Okwolesebwa

15 (K)Awo nze Danyeri bwe namala okufuna okwolesebwa okwo nga nkyagezaako okutegeera amakulu gaakwo, laba ne wayimirira mu maaso gange ekifaananyi ng’eky’omusajja. 16 (L)Ne mpulira eddoboozi ly’omusajja emitala w’omugga Ulaayi, eryakoowoola, ne lyogera nti, “Gabulyeri, tegeeza omusajja oyo amakulu g’okwolesebwa okwo.”

17 (M)Awo n’asembera okumpi ne we nnali nnyimiridde, ne ntya, ne neeyala wansi. Naye n’aŋŋamba nti, “Tegeera, ggwe omwana w’omuntu, ng’okwolesebwa, kwogera ku biro eby’enkomerero.”

18 (N)Awo bwe yali akyayogera nange, ne nkwatibwa otulo otungi ennyo, ng’amaaso gange nga ngavuunise ku ttaka, ye n’ankwatako n’angolokosa.

19 (O)N’ayogera nti, “Laba, ndikumanyisa ebiribaawo mu biro eby’enkomerero eby’okubonaabona, kubanga okwolesebwa kwogera ku kiseera ekyalondebwa eky’enkomerero. 20 Endiga ennume gye walaba ey’amayembe abiri, be bakabaka ab’Obumeedi, n’Obuperusi. 21 (P)N’embuzi ennume endaawo ye kabaka w’e Buyonaani, n’ejjembe eddene eriri mu kyenyi kyayo ye kabaka ow’olubereberye. 22 N’amayembe ana agadda mu kifo kyalyo nga limenyese, bwe bwakabaka obuna obuliva mu ggwanga lye, naye tebuliba na buyinza bwe bumu ng’obubwe.

23 “Mu biro eby’enkomerero eby’okufuga kwabwe, abajeemu nga batandise okusobya ennyo, kabaka omuzira ate omukambwe, ng’alina obukoddyo bungi alivaayo. 24 (Q)Aliba n’amaanyi mangi, naye si lwa buyinza bwe ye, era alireeta entiisa nnene, era aliba wa mukisa mu buli ky’akola. Alizikiriza abantu ab’amaanyi n’abantu abatukuvu. 25 (R)Aliba mulimba nnyo, n’aleetera obulimba okweyongera, era alyegulumiza nnyo. Aligwikiriza abantu bangi n’abazikiriza, era n’alumba n’Omukulu w’abalangira. Wabula naye alizikirizibwa so si n’amaanyi ag’obuntu.

26 (S)“Okwolesebwa okukwata ku biro eby’oku makya ne ku by’akawungeezi, kwe wafuna kwa mazima, naye sirikira okwolesebwa okwo, kubanga kwogera ku biro ebigenda okujja.”

27 (T)Nze Danyeri ne mpulira nga nkooye nnyo era ne ndwala okumala ennaku. N’oluvannyuma nga nzisuuse ne nzira ku mirimu gya kabaka, kyokka okwolesebwa okwo ne kuntawanya nnyo mu mutima, ate nga sitegeera makulu gaakwo.

Okusaba kwa Danyeri

(U)Mu mwaka ogw’olubereberye ogwa Daliyo mutabani wa Akaswero Omumeedi, gwe yaliiramu obwakabaka bwa Bakaludaaya, (V)mu mwaka ogwo ogw’olubereberye, nze Danyeri ne ntegeera amakulu ag’ebyawandiikibwa, ng’ekigambo kya Mukama bwe kiri kye yawa Yeremiya nnabbi, ng’okubonaabona kwa Yerusaalemi kulitwala emyaka nsanvu. (W)Awo ne nkyukira Mukama Katonda ne nnoonya okubeerwa okuva gyali nga nsaba era nga neegayirira, nga nsiiba era nga nyambadde ebibukutu nga neesiize evvu.

(X)Ne nsaba Mukama Katonda wange ne mwatulira nti,

“Ayi Mukama omukulu era ow’entiisa, akuuma endagaano ye so n’okwagala kwo tekujjulukuka eri abo bonna abakwagala era abagondera ebiragiro byo, (Y)twonoonye era tusobezza, tukoze eby’ekyejo n’eby’obujeemu, era (Z)tetwawuliriza baddu bo bannabbi, abaayogeranga mu linnya lyo eri bakabaka baffe, n’eri abalangira baffe, n’eri bajjajjaffe, n’eri abantu bonna ab’omu nsi.

(AA)Mukama oli mutukuvu, naye olunaku lwa leero tuswadde, abantu ba Yuda, n’abatuuze ba Yerusaalemi, ne Isirayiri yenna, abali okumpi n’abali ewala mu nsi zonna gye wabawaŋŋangusiriza olw’obutaba beesigwa gy’oli. Ayi Mukama, ffe ne bakabaka baffe, n’abalangira baffe, ne bajjajjaffe tuswadde kubanga twonoonye. (AB)Mukama Katonda waffe ajjudde okusaasira n’okusonyiwa, newaakubadde nga tumujeemedde, 10 (AC)ne tutawuliriza ddoboozi lya Mukama Katonda waffe, newaakubadde okukuuma amateeka ge, ge yatuwa ng’ayita mu baddu be bannabbi. 11 (AD)Isirayiri yenna bamenye amateeka go ne bakuvaako, era bakujeemedde.

“Noolwekyo ebikolimo n’ebirayiro ebyawandiikibwa mu mateeka ga Musa omuddu wa Mukama kyebivudde bitutuukako kubanga twayonoona mu maaso go. 12 (AE)Otuukirizza ebigambo bye watwogerako, n’eri abakulembeze baffe, bw’otuleeseeko akabi akanene; era wansi w’eggulu tewabangawo kintu kinene bwe kityo ekyakolebwa, ng’ekyo ekituuse ku Yerusaalemi. 13 (AF)Nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa, bwe bityo ebisobyo byonna bwe byatutuukako, naye ate nga tetunneegayirira kisa kya Mukama Katonda waffe, okulekayo ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu tusseeyo omwoyo okugoberera amazima. 14 (AG)Mukama kyeyava talwa kutuleetako buzibu obwo, kubanga Mukama Katonda waffe mutuukirivu mu buli ky’akola, naye tetugondedde ddoboozi lye.

15 (AH)“Ggwe, Ayi Mukama Katonda waffe eyaggya abantu bo mu nsi ey’e Misiri n’omukono gwo ogw’amaanyi ne weekolera erinnya, eryayatiikirira ne leero, twayonoona ne tukola ebitali bya butuukirivu. 16 (AI)Ayi Mukama, ng’obutuukirivu bwo bwonna bwe buli, obusungu bwo n’ekiruyi kyo obiggye ku kibuga kyo Yerusaalemi, olusozi lwo olutukuvu, kubanga olw’ebibi byaffe n’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu ebya bajjajjaffe, tufuuse eky’okusekererwa eri abatwetoolodde bonna.

17 (AJ)“Kaakano, Ayi Katonda waffe, owulire okusaba n’okwegayirira kw’omuddu wo, olw’okusaasira kwo Ayi Mukama otunule eri ekifo kyo ekitukuvu. 18 (AK)Ayi Katonda wange, otege okutu kwo owulirize, otunuulire okuzika kw’ekibuga ekyatuumibwa erinnya lyo, kubanga tetuleeta byetaago byaffe eri ggwe olw’obutuukirivu bwaffe, wabula olw’okusaasira kwo okungi. 19 (AL)Ayi Mukama otuwulire! Ayi Mukama, otusonyiwe! Ayi Mukama otuwulire era obeeko ne ky’okolawo! Olw’okusaasira kwo, Ayi Katonda wange oleme okulwa, kubanga ekibuga kyo n’abantu bo n’eggwanga lyo bayitibwa Erinnya lyo.”

Amakulu ga Wiiki Omusanvu

20 (AM)Awo bwe nnali nga njogera era nga nsaba, nga njatula ebibi byange n’ebibi by’abantu bange Isirayiri, nga neegayirira Mukama Katonda wange ku lw’olusozi lwe olutukuvu, 21 (AN)awo mu kiseera ekyo nga nkyasaba, omusajja Gabulyeri, gwe nalaba mu kwolesebwa okwasooka, n’ajja gye ndi mu mbuyaga ey’amaanyi mu kiseera ekya ssaddaaka ey’akawungeezi. 22 N’aŋŋamba nti, “Danyeri, kaakano nzize okukuwa amagezi n’okutegeera. 23 (AO)Amangu nga waakatandika okusaba, okwegayirira kwo kwaddibwamu era nzize okukutegeeza, kubanga oli mwagalwa nnyo. Noolwekyo ssaayo omwoyo eri ekigambo kino, otegeere bye wayolesebwa.

24 (AP)“Wiiki nsavu ze ziweereddwa abantu bo n’ekibuga kyo ekitukuvu okukomya ebikolwa byabwe ebibi, n’okuleka ebibi, n’okutangiririrwa olw’ebikolwa ebitali bya butuukirivu, n’okuleeta obutuukirivu obutaliggwaawo, n’okukakasa ebyo ebyayolesebwa n’ebyo ebyalangibwa, n’okufuka amafuta ku asinga obutukuvu.

25 (AQ)“Manya era tegeera ng’okuva ne kaakano ekiragiro nga bwe kiweereddwa ku kuzzibwawo kwa Yerusaalemi n’okutuusa ku kujja okw’omufuzi oyo eyafukibwako amafuta, waliba ebbanga lya wiiki musanvu. N’oluvannyuma kirizimbibwa mu wiiki nkaaga mu bbiri ne kiteekebwamu enguudo n’olusalosalo, newaakubadde nga biriba biro bya kutegana. 26 (AR)N’oluvannyuma lwa wiiki enkaaga mu ebbiri, eyafukibwako amafuta alisalibwako, era taliba na kintu. Abantu ab’omufuzi balijja ne bazikiriza ekibuga n’awatukuvu, n’enkomerero ye erijja ng’amataba, n’entalo era n’okuzika okwalagirwa biryeyongera okutuusa ku nkomerero. 27 (AS)Alikola endagaano enywevu n’abantu bangi okumala wiiki emu, naye wakati wa wiiki eyo aliggyawo emikolo gya ssaddaaka n’ebiweebwayo. Ne ku kiwaawaatiro eky’ebyemizizo kulijjirako oyo aleeta okubonaabona, okutuusa ekiseera eky’enkomerero ekyalagirwa nga kituukiridde ku ye.”

Danyeri Alaba Malayika mu Kwolesebwa

10 (AT)Mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwa Kuulo kabaka w’e Buperusi, Danyeri eyayitibwanga Berutesazza n’afuna okwolesebwa okulala. Ekigambo kye yafuna kyali kya mazima nga kyogera ku lutalo olw’amaanyi. N’ategeera obubaka obwamuweebwa mu kwolesebwa okwo.

(AU)Mu biro ebyo, nze Danyeri ne mmala wiiki ssatu nga nkungubaga. Saalya ku mmere ennungi, newaakubadde ennyama wadde okunywa ku wayini; era ne nsiwuukira ddala okumala wiiki ssatu.

(AV)Ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya olw’omwezi ogw’olubereberye nga nyimiridde ku mabbali g’omugga omunene Tigiriisi, (AW)ne nnyimusa amaaso gange, ne ntunula waggulu, ne ndaba omusajja ayambadde linena, nga yeesibye olukoba olwa zaabu ennongooseemu mu kiwato. (AX)Omubiri gwe gwali gumasamasa ng’ejjinja erya berulo, n’ekyenyi kye nga kiri ng’okumyansa okw’eggulu, n’amaaso ge nga gali ng’ettabaaza ez’omuliro, n’emikono gye n’amagulu ge nga biri ng’ebbala ly’ekikomo ekizigule, n’eddoboozi lye ng’oluyoogaano olw’ekibiina ekinene.

(AY)Nze Danyeri nzekka, nze nalaba okwolesebwa okwo, abasajja be nnali nabo tebaakulaba, wabula bajjula entiisa, ne badduka ne beekweka. (AZ)Ne nsigala nzekka, nga neewuunya okwolesebwa okunene okwo; ne nzigwamu amaanyi; amaaso gange ne gayongobera, ne mba, nga seesobola. (BA)Awo ne mpulira ng’ayogera, era bwe nnali nga nkyamuwuliriza, ne neebaka otulo tungi nnyo, amaaso gange nga gatunudde wansi ku ttaka.

10 (BB)Ne wabaawo omukono ogunkwatako, emikono gyange n’amaviivi gange ne bitanula okujugumira. 11 (BC)N’aŋŋamba nti, “Danyeri, ggwe omusajja omwagalwa ennyo, tegeera era osseeyo omwoyo ku bigambo bye njogera naawe, era yimuka oyimirire kubanga ntumiddwa gy’oli.” Awo bwe yayogera ebigambo ebyo gye ndi ne nnyimirira nga nkankana.

12 (BD)N’alyoka aŋŋamba nti, “Totya Danyeri, kubanga okuva ku lunaku olwasooka lwe wamalirira okutegeera ne weetoowaza mu maaso ga Katonda wo, ebigambo byo byawulirwa, era nzize olw’ebigambo byo. 13 (BE)Namala ennaku amakumi abiri mu lumu nga nkyalwana n’omulangira w’e Buperusi, naye Mikayiri omu ku balangira abakulu n’ajja n’annyamba, kubanga kabaka w’e Buperusi yali ankwatidde eyo. 14 (BF)Kaakano nzize okukunnyonnyola ebigenda okutuuka ku bantu bo mu biro eby’omu maaso; kubanga bye wayolesebwa byogera ku biro ebigenda okujja.”

15 (BG)Awo bwe yali ng’akyambuulira ebyo, ne nkutama, ne ntunuza amaaso gange wansi, ne nsirika. 16 (BH)Awo ne wajja eyafaanana ng’omuntu n’akoma ku mimwa gyange, ne ntanula okwogera. Ne ŋŋamba eyali annyimiridde mu maaso nti, “Mukama wange nzijjudde obuyinike, era n’amaanyi sirina olw’ebyo bye njolesebbwa. 17 (BI)Nnyinza ntya nze omuddu wo okwogera naawe ggwe mukama wange? Amaanyi gampweddemu, sikyayinza na kussa bulungi mukka.”

18 (BJ)Nate eyafaanana ng’omuntu n’ankomako n’anzizaamu amaanyi. 19 (BK)N’aŋŋamba nti, “Ggwe omwagalwa ennyo, totya. Emirembe gibeere gy’oli, guma omwoyo era beera n’obuvumu.”

Awo bwe yayogera nange, ne nziramu amaanyi, ne njogera nti, “Yogera mukama wange, kubanga onzizizzaamu amaanyi.”

20 (BL)N’alyoka ayogera nti, “Ekindeese gy’oli okimanyi? Mu bbanga eritali ly’ewala, nzija kuddayo okulwanyisa omulangira ow’e Buperusi, era bwe ndimuwangula, omulangira ow’e Buyonaani alijja. 21 (BM)Naye okusooka byonna, ka nkutegeeze ebyawandiikibwa ebiri mu kitabo eky’amazima: Tewali n’omu ambeera okuggyako Mikayiri, omulangira wammwe abakuuma.

3 Yokaana

(A)Nze, Omukadde, mpandiikira ggwe Gayo omwagalwa, gwe njagala mu mazima.

Munnange omwagalwa, nkusabira okole bulungi ebintu byonna era obeere mulamu mu mubiri, nga bw’oli mu mwoyo. (B)Abooluganda bwe nabatuukako kya nsanyusa nnyo bwe bambuulira nti onyweredde mu mazima, era nti mw’otambulira. (C)Tewali kindeetera ssanyu lisinga ng’eryo lye nfuna bwe mpulira nti abaana bange batambulira mu mazima.

(D)Omwagalwa, okola ekintu kya bwesigwa buli lw’okolera abooluganda ebirungi na ddala ababeera ku ŋŋendo ne bw’oba tobamanyi. Baategeeza Ekkanisa omukwano gwe wabalaga awamu ne bye wabakolera. Kibeera kirungi singa obasiibuza ekirabo ekiba kisaanidde. (E)Kubanga baatambulira mu linnya lya Mukama, nga tebakkiriza ebyo abatali bakkiriza bye baabawanga. Noolwekyo ffe ffennyini, ffe tusaana okubalabirira tulyoke tufuuke bakozi bannaabwe mu mazima.

Diyotuleefe ne Demeteriyo

Nawandiikira Ekkanisa ku nsonga eyo, kyokka Diyotuleefe, olw’okwagala okwefuula omukulembeze tatwagala. 10 (F)Bwe ndijja ndibategeeza ebimu ku bintu by’akola, n’ebintu by’atwogerako ebitali birungi, era n’olulimi oluvuma lw’akozesa. Takoma ku kugaana kwaniriza abooluganda abatambuze kyokka, naye n’okulagira alagira abantu abalala nabo, baleme okubaaniriza era abo ababaaniriza agezaako okubagoba mu Kkanisa.

11 (G)Mukwano gwange, togobereranga kyakulabirako ekibi wabula eby’obutuukirivu. Gobereranga ebyo byokka by’olaba nga bya butuukirivu. Kirungi ojjukirenga nti abo abakola eby’obutuukirivu baba bakakasiza ddala nga bwe bali abaana ba Katonda; naye abakola ebitali bya butuukirivu balaga nga bwe bali ewala ne Katonda. 12 (H)Naye buli omu ayogera bya mazima ku Demeteriyo. Nange mwogerako bya mazima byereere. Naye omanyi nga nze njogera mazima.

13 Mbadde na bingi eby’okukugamba, kyokka saagala kubikuwandiikira mu bbaluwa, 14 (I)kubanga nsuubira okukulaba mu bbanga ttono. Kale olwo tuliba na bingi eby’okwogerako ffembi nga tulabaganye amaaso n’amaaso.

15 Emirembe gibeerenga naawe.

Ab’emikwano abali wano bakulamusizza. Nange, mikwano gyange abali eyo, buli omu munnamusize.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.