Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yeremiya 50

Obubaka ku Babulooni

50 (A)Kino kye kigambo Mukama Katonda kye yayogerera mu nnabbi Yeremiya ekikwata ku Babulooni n’ensi ey’Abakaludaaya.

(B)“Buulira mu mawanga era olangirire,
    yimusa bendera olangirire,
    tolekaayo kintu kyonna ogambe nti,
‘Babulooni eriwambibwa;
    Beri kiswale,
    ne Meroddaaki kijjule entiisa.
Ebifaananyi bya bakatonda abakole n’emikono bijja kuswala
    era bitye.’
(C)Eggwanga okuva mu bukiikakkono lijja kukirumba
    lyonoone ensi y’Abakaludaaya.
Tewali muntu alisigalamu;
    abantu bonna balikiddukamu era n’ensolo zonna.

(D)“Mu nnaku ezo, era mu kiseera ekyo,”
    bw’ayogera Mukama,
“abantu ba Isirayiri awamu n’abantu ba Yuda
    balikaaba amaziga nga banoonya Mukama Katonda waabwe.
(E)Balibuuza ekkubo eridda e Sayuuni
    era bakyuse obwenyi bwabwe okukitunuulira, nga boogera nti,
Mujje twesibe ku Mukama Katonda
    mu ndagaano ey’emirembe gyonna
    etegenda kwerabirwa.

(F)“Abantu bange babadde ndiga ezibuze;
    abasumba baabwe babawabizza
    ne babatuusa ku kutaataaganira ku nsozi.
Baava ku lusozi ne badda ku kasozi
    ne beerabira ekifo kyabwe eky’okuwummuliramu.
(G)Buli eyabasanganga nga abatulugunya;
    abalabe baabwe ne bagamba nti, ‘Tetulina musango gwe tuzza,
kubanga baajeemera Mukama Katonda, obuddukiro bwabwe obwa nnama ddala,
    ye Mukama, essuubi lya bakitaabwe.’ 

(H)“Mudduke okuva e Babulooni;
    muleke ensi y’Abakaludaaya,
    mubeere ng’embuzi ezikulembera ekisibo.
Kubanga, laba, ndigolokosa ekibiina ky’amawanga amanene
    okuva mu nsi ey’obukiikakkono okulumba Babulooni.
Baliyimirira mu nnyiriri zaabwe bakirumbe,
    bakiwambe nga basinzira mu bukiikakkono.
Obusaale bwabwe buliba ng’obw’abalwanyi abakugu,
    abataddira awo ngalo nsa.
10 Noolwekyo ensi y’Abakaludaaya erinyagibwa;
    abo bonna abaliginyaga balitwala byonna bye baagala,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

11 (I)“Kubanga musanyuka ne mujaguza,
    mmwe abaanyaga omugabo gwabwe,
kubanga muligita ng’ente enduusi ewuula emmere ey’empeke,
    ne muleekaana ng’embalaasi ennume enkulu,
12 nnyammwe alikwatibwa ensonyi;
    oyo eyakuzaala aliswazibwa.
Aliba ensi esemberayo ddala,
    ensiko, ensi enkalu, eddungu.
13 (J)Olw’obusungu bwa Mukama Katonda tajja kubeeramu bantu,
    naye alisigala matongo.
Bonna abayita e Babulooni balyewuunya batye era bakisooze
    olw’ebiwundu bye byonna.

14 (K)“Musimbe ennyiriri okwetooloola Babulooni,
    mwenna abanaanuula omutego.
Mumulase! Temulekaawo kasaale n’akamu,
    kubanga yajeemera Mukama Katonda.
15 (L)Mumukube olube ku buli ludda.
    Ajeemulukuse, eminaala gye gigwa,
    n’ebisenge bye bimenyeddwa.
Kubanga kuno kwe kwesasuza kwa Mukama Katonda,
    mumwesasuzeeko;
    mumukole nga bw’akoze abalala.
16 (M)Asiga mumuggye mu Babulooni,
    n’omukunguzi oyo akwata ekiwabyo mumuggye mu makungula.
Olw’ekitala ky’omujoozi,
    leka buli omu addukire mu nsi y’ewaabwe,
    buli muntu adde eri abantu be.

17 (N)“Isirayiri kisibo kya ndiga ezisaasaanye,
    empologoma kye zigobye.
Eyasooka okumulya
    yali kabaka wa Bwasuli;
eyasembayo okumenya amagumba ge
    yali Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni.”

18 (O)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti,

“Ndibonereza kabaka w’e Babulooni n’ensi ye
    nga bwe nabonereza kabaka w’e Bwasuli.
19 (P)Naye ndikomyawo Isirayiri mu kisibo kye
    era aliriira ku Kalumeeri ne Basani;
alikuttira
    ku busozi bwa Efulayimu, ne mu Gireyaadi.
20 (Q)Mu nnaku ezo, era mu biseera ebyo,” bw’ayogera Mukama Katonda, “omusango ku Isirayiri gulinoonyezebwa, naye tegulibaawo, era n’ebibi bya Yuda birinoonyezebwa, naye tewaliba na kimu, kubanga ndisonyiwa abo bendeseewo.

21 (R)“Mulumbe ensi ye Merasayimu
    n’abo abali mu Pekodi.
Mubagoberere mubatte, mubazikiririze ddala,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.
    “Mukole byonna bye mbalagidde.
22 (S)Oluyoogaano lw’olutalo luwulirwa mu ggwanga,
    eddoboozi ery’okuzikiriza okunene!
23 (T)Ennyondo y’ensi yonna
    ng’ekubiddwa n’emenyeka!
Babulooni kifuuse matongo
    mu mawanga!
24 (U)Nakutegera omutego, ggwe Babulooni,
    babagwiikiriza ne babakwata nga tebategedde,
baakukwata ne bakuwamba
    kubanga wawakanya Mukama.
25 (V)Mukama agguddewo etterekero ly’ebyokulwanyisa bye
    naggyamu ebyokulwanyisa eby’ekiruyi kye,
kubanga Mukama Katonda ow’Eggye alina omulimu ogw’okukola
    mu nsi y’Abakaludaaya.
26 (W)Mujje mumulumbe mmwe abava mu buli nsonda,
    mumenye ebyagi eby’emmere y’empeke,
    mumukuŋŋaanye abe ng’entuumo y’emmere y’empeke.
Mumuzikiririze ddala;
    waleme kusigalawo n’omu ku bo.
27 Mutte ennume zaabwe zonna,
    muzitwale zittibwe.
Zibasanze kubanga olunaku lwabwe lutuuse,
    kye kiseera kyabwe eky’okubonerezebwa.
28 (X)Muwulire eby’abadduka n’abanoonyi b’obubudamu okuva mu Babulooni
    nga balangirira mu Sayuuni
engeri Mukama Katonda waffe gye yeesasuzza,
    gye yeesasuzza olwa yeekaalu ye.

29 (Y)“Koowoola abalasi b’obusaale balumbe Babulooni,
    ne bonna abanaanuula omutego.
Mumwetooloole yenna;
    tewaba n’omu awona.
Mumusasule olw’ebikolwa bye byonna;
    mumukole nga bwe yakola banne.
Kubanga yanyooma Mukama,
    Omutukuvu wa Isirayiri.
30 (Z)Noolwekyo, abavubuka be baligwa mu nguudo;
    abaserikale be balisirisibwa ku lunaku olwo,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.
31 (AA)“Laba, ndi mulabe wo, ggwe ow’amalala,”
    bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye,
“Kubanga olunaku lwo lutuuse,
    ekiseera ky’on’obonerezebwamu.
32 (AB)Oyo ow’amalala alyesittala agwe
    era teri n’omu alimuyamba kuyimuka;
Ndikoleeza omuliro mu bibuga bye
    oguliyokya bonna abamwetoolodde.”

33 (AC)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Abantu ba Isirayiri banyigirizibwa
    awamu n’abantu ba Yuda;
Bonna ababawambye babanywezezza,
    bagaanye okubata.
34 (AD)Omununuzi waabwe w’amaanyi,
    Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
Alirwanirira ensonga zaabwe awatali kubuusabuusa,
    alyoke aleete emirembe mu nsi yaabwe;
    wabula alireeta okutabukatabuka mu bantu ba Babulooni.

35 (AE)“Ekitala kyolekedde Abakaludaaya,”
    bw’ayogera Mukama,
“n’eri abo ababeera mu Babulooni,
    n’abakungu baabwe n’abasajja baabwe abajjudde amagezi!
36 (AF)Ekitala kyolekedde bannabbi baabwe ab’obulimba!
    Balifuuka balisiriwala,
ekitala kyolekedde abalwanyi baabwe.
    Balijjula entiisa.
37 (AG)Ekitala kyolekedde embalaasi ze n’amagaali
    n’abagwira bonna abamubeeramu!
    Balifuuka banafu ng’abakazi.
Ekitala kyolekedde eby’obugagga bwe!
    Birinyagibwa!
38 (AH)Ekyeya kyolekedde amazzi gaamu!
    Galikalira.
Kubanga ggwanga erisinza ebifaananyi,
    ebifaananyi ebirigwa eddalu olw’entiisa.

39 (AI)“Noolwekyo ensolo z’omu nsiko ziribeera eyo n’empisi,
    era eyo ekiwuugulu nakyo gye kiribeera.
Ekibuga ekyo tekiriddamu kubeeramu bantu
    wadde kutuulwamu bantu emirembe gyonna.
40 (AJ)Katonda nga bwe yazikiriza Sodomu ne Ggomola
    n’ebibuga ebiriraanyeewo,”
    bw’ayogera Mukama,
“bw’atyo bw’alikikola ne mutaba muntu n’omu alikibeeramu;
    tewaliba n’omu alikisigalamu.

41 (AK)“Laba, eggye liva mu bukiikakkono;
    ensi ey’amaanyi ne bakabaka bangi,
    bakuŋŋaana okuva ku nkomerero y’ensi.
42 (AL)Balina obusaale n’amafumu,
    bakambwe si ba kisa.
Beebagadde embalaasi zaabwe
    ne baba ng’amayengo agawuluguma mu nnyanja;
bali ng’abasajja abalwanyi abajjira mu nnyiriri z’entalo
    okukulumba, ggwe Muwala wa Babulooni.
43 Kabaka w’e Babulooni afunye amawulire agabafaako,
    n’emikono gye girebedde.
Entiisa emugwiridde,
    ng’omukazi alumwa okuzaala.
44 (AM)Ng’empologoma eva mu kibira kya Yoludaani
    okugenda mu ddundiro eggimu,
Babulooni ndimugoba mu nsi ye awatali kutemya kikowe.
    Ani oyo omulonde gwe nnaawa okukola kino?
Ani ali nga nze, era ani ayinza okunsomooza?
    Era musumba ki ayinza okuyimirirawo okumpakanya?”

45 (AN)Noolwekyo, wulira Mukama ky’ategekedde Babulooni,
    ky’ategese okuleeta ku nsi y’Abakaludaaya.
Obwana bw’ebisibo byabwe bulitwalibwa,
    alizikiririza ddala ebisibo byabwe ng’abalanga obujeemu bwabwe.
46 (AO)Olw’oluyoogaano lw’okuwambibwa kwa Babulooni, ensi erikankana;
    okukaaba kwe kuliwulirwa mu mawanga.

Abaebbulaniya 8

Kabona Omukulu ow’Endagaano Empya

(A)Ekigambo ekikulu ekiri mu bye twogedde kye kino nti, Tulina Kabona Asinga Obukulu, atudde ku mukono ogwa ddyo, ogw’entebe ya Katonda ey’obwakabaka mu ggulu, (B)omuweereza w’ebitukuvu, era ow’eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu ey’amazima, etaazimbibwa bantu wabula Mukama.

(C)Kubanga Kabona Asinga Obukulu yenna alondebwa olw’omulimu ogw’okuwaayo ebirabo ne ssaddaaka, bwe kityo n’oyo kyamugwanira okuba n’ekintu ky’awaayo. (D)Singa yali ku nsi, teyandibadde kabona kubanga waliwo bakabona abawaayo ebirabo ng’amateeka bwe galagira. (E)Kye bakola kifaananako bufaananyi era kisiikirize ky’ebyo ebikolebwa mu ggulu. Musa kyeyava alabulwa, bwe yali ng’anaatera okumaliriza weema, Mukama n’amugamba nti, “Bw’oba ng’ozimba, goberera entegeka yonna eyakulagirwa ku lusozi.” (F)Naye kaakano omulimu Yesu gwe yaweebwa, gusinga nnyo ogwa bali obukulu, kubanga n’endagaano gy’alimu ng’omutabaganya y’esinga obulungi, n’ebisuubizo kw’enyweredde, bye bisinga obulungi.

(G)Singa endagaano eyasooka teyaliiko kyakunenyezebwa, tewandibaddewo kyetaagisa yaakubiri. (H)Kubanga bw’abanenya ayogera nti,

“Laba ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama,
    “ndiragaana endagaano empya n’ennyumba ya Isirayiri,
awamu n’ennyumba ya Yuda.
(I)Endagaano eno empya terifaanana n’eri gye nalagaana ne bajjajjaabwe
    lwe nabakwata ku mukono okubaggya mu nsi y’e Misiri.
Olw’okubanga tebaagoberera ndagaano yange,
    nange ssaabassaako mwoyo,”
    bw’ayogera Mukama.
10 (J)“Eno y’endagaano gye ndiragaana n’ennyumba ya Isirayiri,
    oluvannyuma lw’ennaku ezo, bw’ayogera Mukama.
Ndissa amateeka gange mu birowoozo byabwe
    era ndiwandiika amateeka gange ku mitima gyabwe,
nange nnaabeeranga Katonda waabwe,
    nabo banaabeeranga bantu bange.
11 (K)Era tewaliba nate muntu ayigiriza munne oba muliraanwa we, oba muganda we ng’agamba nti,
    ‘Manya Mukama,’
Kubanga okuva ku muto okutuuka ku mukulu
    bonna balimmanya.
12 (L)Era ndibasaasira,
    n’ebibi byabwe siribijjukira nate.”

13 (M)Katonda bw’ayogera ku ndagaano empya, olwo ng’andibizza ey’edda; n’eyo gy’adibizza n’okukaddiwa n’ekaddiwa, eriggwaawo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.