Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yeremiya 15-17

Yuda Wakuzikirira

15 (A)Awo Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Musa ne Samwiri ne bwe bandiyimiridde okunneegayirira, sandisonyiye bantu bano. Bagobe okuva mu maaso gange, banviire. (B)Era bwe bakubuuza nti, ‘Tunaagenda wa?’

“Bagambe nti, ‘Kino Mukama kyagamba nti,
Ab’okuttibwa bagenda kuttibwa,
n’ab’ekitala bafe ekitala, n’ab’enjala bafe enjala,
n’ab’okuwambibwa bawambibwe.’

(C)“Ndiweereza engeri nnya ez’okubazikiriza,” bw’ayogera Mukama. “Ekitala kya kufumita, embwa zikulule, ebinyonyi eby’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko zirye n’okuzikiriza. (D)Era ndibawaayo babeetamwe eruuyi n’eruuyi mu bwakabaka bwonna obw’omu nsi olw’ekyo Manase mutabani wa Keezeekiya kabaka wa Yuda kye yakola mu Yerusaalemi.

(E)“Ani alikukwatirwa ekisa ggwe Yerusaalemi?
    Oba ani alikukungubagira?
    Oba ani alikyama okubuuza ebikufaako?
(F)Mwanneegaana,” bw’ayogera Mukama.
    “Temutya kudda nnyuma.
Noolwekyo mbagololeddeko omukono gwange
    ne mbazikiriza.
Sikyasobola
    kukukwatirwa kisa.
(G)Era ndibakuŋŋunta n’ekitiiyo eky’amannyo
    mu miryango gy’ebibuga eby’omu nsi.
Ndizikiriza abantu bange ne mbamalawo
    kubanga tebaaleka makubo gaabwe.
(H)Bannamwandu beeyongedde obungi
    okusinga n’omusenyu gw’ennyanja.
Mu ttuntu mbaleetedde omuzikiriza
    amalewo ababazaalira abalenzi abato.
Mbakubiddewo
    obubalagaze n’entiisa.
(I)Eyazaala omusanvu ayongobedde,
    awejjawejja.
Enjuba ye egudde nga bukyali misana,
    amaanyi gamuwedde, ensonyi zimukutte, awuunze, awuubadde.
N’abo abawonyeewo ndi wa kubasogga ekitala,
    mu maaso ga balabe baabwe,”
    bwayogera Mukama.

10 (J)Zinsanze, mmange lwaki wanzaala
    omuntu eggwanga lyonna gwe lirwanyisa ne likuluusanya?
Siwolanga wadde okweyazika,
    kyokka buli muntu ankolimira.

11 (K)Mukama agamba nti,

“Ddala ndikununula olw’ekigendererwa ekirungi,
    ddala ndireetera abalabe bo okukwegayirira,
    mu biseera eby’okuluma obujiji, mu biseera eby’akabi.

12 (L)“Omusajja ayinza okumenya ekikomo
    oba ekyuma eky’omu bukiikakkono?

13 (M)“Ndiwaayo eby’obugagga byo n’ebintu byo eby’omuwendo ennyo
    binyagibwe awatali kusasulwa,
olw’ebibi byo byonna
    ebikoleddwa mu ggwanga lyonna.
14 (N)Ndibafuula abasibe b’abalabe bammwe
    mu ggwanga lye mutamanyi,
kubanga obusungu bwange bwakukoleeza omuliro
    ogunaabookya gubamalewo.”

Yeremiya Yeekaabirako

15 (O)Ayi Mukama ggwe omanyi byonna.
    Nzijukira ondabirire.
    Ompalanire eggwanga ku abo abanjigganya.
Mu kugumiikiriza kwo okunene tontwala.
    Lowooza ku ngeri gye mbonyeebonye ku lulwo.
16 (P)Ebigambo byo bwe byanzijira, ne mbirya,
    byali ssanyu era okujaguza kw’omutima gwange.
Kubanga mpitibwa linnya lyo,
    Ayi Mukama Katonda ow’Eggye.
17 (Q)Situulangako mu kuŋŋaaniro ly’abo ab’ebinyumu
    era sibeerangako mu biduula nabo.
Natuulanga nzekka kubanga naliko omukono gwo,
    era wandeetera okwekyawa.
18 (R)Lwaki okulumwa kwange tekukoma
    era n’ekiwundu kyange ne kitawona?
Onomberera ng’akagga akalimbalimba
    ng’ensulo ekalira?

19 (S)Noolwekyo kino Mukama ky’agamba nti,

“Bwe muneenenya,
    ndibakomyawo musobole okumpeereza;
bwe mulyogera ebigambo ebisaana so si ebitasaanidde,
    mulibeera boogezi bange.
Leka abantu bano be baba bajja gy’oli,
    so si ggwe okugenda gye bali.
20 (T)Ndikufuula ekisenge eri abantu bano,
    ekisenge ekinywezebbwa eky’ekikomo.
Balikulwanyisa
    naye tebalikuwangula,
kubanga ndi naawe,
    okukununula, n’okukulokola,”
    bw’ayogera Mukama.
21 (U)“Ndikununula okuva mu mukono gw’abakozi b’ebibi
    era n’enkuggya mu mukono gw’abasajja abakambwe,” bw’ayogera Mukama.

Olunaku olw’Akabi

16 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kigamba nti, (V)“Towasa, kuzaalira balenzi na bawala mu kifo kino. (W)Kubanga kino Mukama ky’agamba ku balenzi n’abawala abazaalibwa mu nsi eno era ne ku bakazi ba nnyaabwe ne ku basajja ba kitaabwe. (X)Balifa endwadde ez’akabi. Tebalibakungubagira wadde okuziikibwa naye balibeera ng’ebisaaniko ebisuuliddwa ku ttaka. Balizikirira na kitala era balifa njala; n’emirambo gyabwe girifuuka mmere ya binyonyi eby’omu bbanga n’ebisolo eby’omu nsiko.”

Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Toyingira mu nnyumba we balya emmere y’olumbe, togenda kukungubaga wadde okubasaasira kubanga nziggyewo omukisa gwange n’okwagala kwange era n’okusaasira kwange ku bantu bano,” bw’ayogera Mukama. (Y)Bonna ab’ekitiibwa n’abakopi baakufiira mu nsi eno. Tebajja kuziikibwa wadde okukungubagirwa era tewali ajja kwesala misale wadde okumwa omutwe ku lwabwe. (Z)Tewaliba n’omu aliwaayo mmere okuliisa abakungubagira abafiiriddwa, ne bwaliba kitaabwe oba nnyaabwe nga kwe kuli afudde; tewaliba n’omu alibawaayo wadde ekyokunywa okubakubagiza.

(AA)Era toyingiranga mu nnyumba muli kinyumu n’otuula okulya n’okunywa. (AB)Kubanga kino Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, ky’agamba nti, “Nga weerabirako n’amaaso go, mu nnaku z’obulamu bwo, ndikomya eddoboozi ery’essanyu era n’ery’okwesiima ery’abagole omusajja ne mukyala we mu kifo kino.

10 (AC)“Bw’oligamba abantu bino byonna ne bakubuuza nti, ‘Lwaki Mukama atutuusizaako akabi kano konna? Kibi ki kye tukoze? Musango ki gwe tuzizza eri Mukama Katonda waffe?’ 11 (AD)Kale bagambe nti, ‘Kubanga bakitammwe bandeka ne batakuuma mateeka gange,’ bw’ayogera Mukama, ‘ne bagoberera bakatonda abalala ne babaweereza ne babasinza. Bandeka ne batakuuma mateeka gange. 12 (AE)Era mweyisizza bubi n’okusinga bakitammwe. Laba buli omu nga bwe yeeyisa ng’akakanyaza omutima gwe ogujjudde ebibi mu kifo ky’okuŋŋondera. 13 (AF)Noolwekyo ndibaggya mu nsi eno ne mbateeka mu nsi mmwe gye mutamanyi wadde bakitammwe gye bataamanya, era nga muli eyo muliweereza bakatonda abalala emisana n’ekiro, era siribakwatirwa kisa.’

14 (AG)“Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama. “Abantu lwe bataliddayo kwogera nti, ‘Ddala nga Katonda bw’ali omulamu eyaggya Isirayiri mu nsi y’e Misiri,’ 15 (AH)naye baligamba nti, ‘Ddala nga Mukama bw’ali omulamu eyaggya Abayisirayiri mu nsi ey’omu bukiikakkono era n’okuva mu nsi zonna gye yali abasudde.’ Kubanga ndibakomyawo mu nsi gye nawa bajjajjaabwe.

16 (AI)“Naye kaakano leka ntumye abavubi bange,” bw’ayogera Mukama, “era bajja kubavuba. Ng’ekyo kiwedde nzija kutumya abayizzi bange, era bajja kubayigga ku buli lusozi era na buli kasozi na buli lwatika lwonna mu njazi. 17 (AJ)Amaaso gange galaba buli kye bakola, tebinkwekeddwa wadde obutali butuukirivu bwabwe okuunkwekebwa. 18 (AK)Ndibasasula olw’obutali butuukirivu bwabwe n’olw’ekibi kyabwe emirundi ebiri, kubanga boonoonye ensi yange olw’ebintu ebitaliimu bulamu ne bajjuza omugabo gwange ebifaananyi bya bakatonda baabwe abakolerere, eby’emizizo.”

19 (AL)Ayi Mukama, amaanyi gange era ekigo kyange,
    ekiddukiro kyange mu biro eby’okulabiramu ennaku,
bannaggwanga balijja gy’oli,
    okuva ku nkomerero z’ensi bagambe nti,
“Bakitaffe tebaalina kantu okuggyako bakatonda ab’obulimba,
    ebifaananyi ebikolerere ebitagasa ebitaabayamba.
20 (AM)Abantu beekolera bakatonda baabwe?
    Ye, naye si Katonda!

21 “Noolwekyo ndibayigiriza,
    ku mulundi guno;
    ŋŋenda kubalaga amaanyi gange n’obuyinza bwange.
Olwo balyoke bamanye nti
    erinnya lyange nze Mukama.”

Ekibi n’Ekibonerezo kya Yuda

17 (AN)“Ekibi kya Yuda kiwandiikiddwa n’ekkalaamu ey’ekyuma
    n’ejjinja essongovu;
kirambiddwa ku mitima gyabwe
    ne ku mayembe g’ebyoto byabwe.
(AO)N’abaana baabwe basinziza
    ku byoto bya bakatonda ba Asera
ebiri ku buli muti oguyimiridde
    era ne ku busozi obuwanvu.
(AP)Olusozi lwange oluli mu nsi,
    obugagga bwammwe n’ebintu byo eby’omuwendo byonna,
ndibiwaayo byonna binyagibwe
    n’ebifo byammwe ebigulumivu kwe musaddaakira
    olw’ekibi ekibunye mu nsi yonna.
(AQ)Musango gwo ggwe nti olifiirwa ensi gye nakuwa okuba omugabo gwo,
    ndikufuula muddu wa balabe bo mu nsi gy’otomanyangako,
kubanga mu busungu bwange omuliro gukoleezeddwa
    ogunaayakanga emirembe gyonna.”

(AR)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

Akolimiddwa oyo eyeesiga omuntu
    era eyeesiga omubiri okuba amaanyi ge,
    era alina omutima oguva ku Katonda.
(AS)Aliba ng’ekisaka mu ddungu,
    ataliraba birungi bwe birijja,
naye alibeera mu biwalakate mu ddungu,
    ensi ey’omunnyo omutali abeeramu.

(AT)Naye alina omukisa omusajja oyo eyeesiga Mukama,
    nga Mukama ly’essuubi lye.
(AU)Ali ng’omuti ogusimbiddwa awali amazzi,
    ne gulandiza emirandira gyagwo ku mabbali g’omugga,
nga wadde omusana gujja, tegutya
    n’amakoola gaagwo tegawotoka,
so tegulyeraliikirira mu mwaka ogw’ekyeya
    era teguliremwa kubala bibala.
(AV)Omutima mulimba okusinga ebintu byonna,
    era gulwadde endwadde etawonyezeka.
    Ani ayinza okugutegeera?

10 (AW)“Nze Mukama nkebera omutima,
    ngezesa emmeeme,
okuwa buli muntu ng’amakubo ge bwe gali,
    ng’ebikolwa bye bwe biri.”

11 (AX)Ng’enkwale bw’eyalula amagi geetebiikanga,
    bw’atyo bw’abeera oyo afuna obugagga mu makubo amakyamu;
obulamu bwe nga bwakabeerawo kaseera buseera,
    bulimuggwaako era oluvannyuma alizuulibwa nga musiru.

12 (AY)Ekifo kyaffe ekitukuvu,
    ntebe ey’ekitiibwa eyagulumizibwa okuva ku lubereberye.
13 (AZ)Ayi Mukama essuubi lya Isirayiri,
    bonna abakuvaako baliswala.
Abo abakuvaako ne bakuleka baliba ng’abawandiikiddwa mu nfuufu,
    kubanga bavudde ku Mukama,
    oluzzi olw’amazzi amalamu.

14 (BA)Mponya, Ayi Mukama, nange nnaawona,
    ndokola nange nnaalokoka,
    kubanga ggwe gwe ntendereza.
15 (BB)Tobakkiriza kuŋŋamba nti,
    “Ekigambo kya Mukama kiri ludda wa?
    Ka kituukirire nno kaakano!”
16 Sirekeddaawo kuba musumba wa ndiga zo,
    omanyi nga sikusabanga kubaleetako nnaku.
    Byonna ebiva mu kamwa kange tebikukwekeddwa, obimanyi.
17 (BC)Toba wa ntiisa gye ndi,
    ggwe oli buddukiro bwange mu kiseera eky’okulabiramu ennaku.
18 (BD)Abo abanjigganya leka baswale,
    era onkuume nneme kuswala;
leka bagwemu ekyekango
    nze onkuume nneme okwekanga,
batuuse ku lunaku olw’ekikangabwa,
    bazikiririze ddala.

Okukuuma Ssabbiiti nga Ntukuvu

19 (BE)Bw’ati Mukama bwe yaŋŋamba nti, “Genda oyimirire ku mulyango gw’abantu, bakabaka ba Yuda mwe bayingirira n’okufuluma; yimirira ne ku nzigi endala eza Yerusaalemi. 20 (BF)Bagambe nti, ‘Muwulirize ekigambo kya Mukama mmwe bakabaka ba Yuda n’abantu bonna ababeera mu Yerusaalemi, abayita mu miryango gy’ekibuga. 21 (BG)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Weegendereze oleme kufulumya mugugu gwonna mu nnyumba yo wadde okukola omulimu gwonna ku ssabbiiti, naye mukuume olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu nga temulukolerako mulimu gwonna, 22 (BH)era kuuma olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu nga bwe nalagira bajjajjammwe.’ 23 (BI)Naye tebaawuliriza wadde okukkiriza okunenyezebwa. 24 Kyokka bwe muneegendereza ne muŋŋondera, bw’ayogera Mukama, ‘ne mutayisa kintu kyonna kye mwetisse mu miryango gy’ekibuga ku ssabbiiti, naye ne mukuuma olwa Ssabbiiti nga lutukuvu obutakolerako mulimu gwonna, 25 (BJ)olwo bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi bajja kuyita mu miryango gy’ekibuga n’abakungu baabwe. Bo n’abakungu baabwe baakujja ng’abamu bavuga amagaali abalala nga beebagadde embalaasi, nga bawerekeddwako abasajja ba Yuda n’abo abali mu Yerusaalemi era ekibuga kino kiribeerwamu emirembe gyonna. 26 (BK)Abantu balijja okuva mu bibuga bya Yuda ne mu byalo ebiriraanye Yerusaalemi, okuva mu bitundu bya Benyamini ne mu biwonvu ne mu nsozi z’ebugwanjuba, n’okuva mu nsi ey’ensozi ey’e Negevu, nga baleeta ebiweebwayo ebyokebwa, ne ssaddaaka, ebiweebwayo eby’empeke, n’obubaane era n’ebiweebwayo eby’okwebaza mu nnyumba ya Mukama. 27 (BL)Naye bwe mutaŋŋondere kukuuma lunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu ne mwetikkirako emigugu gyammwe nga mufuluma mu nguudo za Yerusaalemi ku lunaku olwa Ssabbiiti, ndikoleeza omuliro ogutazikira mu miryango gya Yerusaalemi oguliyokya ebigo byakyo.’ ”

2 Timoseewo 2

Omuserikale Omwesigwa owa Kristo

(A)Noolwekyo mwana wange nywereranga mu kisa ekiri mu Kristo Yesu. (B)Ebyo bye wawulira nga njogera mu maaso g’abajulirwa abangi biyigirizenga abantu abeesigwa, abalisobola okubiyigiriza abalala. (C)Naawe bonaabonanga ng’omuserikale omulungi owa Kristo Yesu. Tewali muserikale ng’ali ku lutalo eyeeyingiza mu mitawaana gy’abantu abaabulijjo, alyoke asiimibwe oyo eyamuwandiika. (D)Omuntu yenna eyeetaba mu mizannyo gy’empaka, taweebwa buwanguzi bw’atagoberera biragiro bya mizannyo egyo. Omulimi ategana ennyo y’asaanira okufuna ku bibala ebibereberye. Kale lowooza ku bye ŋŋamba; Mukama ajja kukuwa okutegeera byonna.

(E)Jjukira nga Yesu Kristo ow’omu zzadde lya Dawudi yazuukira mu bafu ng’Enjiri gye ntegeeza bw’egamba. (F)Olw’Enjiri eyo, kyenva mbonaabona n’ensibibwa ng’omukozi w’ebibi. Naye ekigambo kya Katonda kyo tekisibiddwa. 10 (G)Kyenva ngumira ebintu byonna olw’abalonde nabo balyoke balokolebwe era bafune, n’ekitiibwa ekitaggwaawo ekiri mu Kristo Yesu.

11 (H)Ekigambo kino kyesigwa ekigamba nti:

“Obanga twafiira wamu naye,
    era tulibeera balamu wamu naye.
12 (I)Obanga tugumiikiriza awamu naye, era tulifugira wamu naye.
    Obanga tumwegaana era naye alitwegaana.
13 (J)Ffe bwe tutaba beesigwa, ye aba mwesigwa,
    kubanga teyeewakanya.”

Omukozi Katonda gw’asiima

14 (K)Ebyo bijjukizenga abantu ng’obakuutirira mu maaso ga Katonda, beewalenga okuwakana okutalina mugaso, nga bakyamya abo abawuliriza. 15 (L)Fubanga okweraga ng’osiimibwa Katonda, ng’oli mukozi akola ebitakuswaza, era nga weekuumira mu kkubo ery’obubaka obw’amazima. 16 (M)Weewalenga ebigambo ebinyooma era ebitaliimu nsa, kubanga abantu bibongera bwongezi mu butatya Katonda. 17 (N)Era ebigambo byabwe birisaasaana nga kookolo; mu abo mwe muli Kumenayo ne Fireeto, 18 (O)abaakyama ne bava ku mazima, nga bagamba nti okuzuukira kwabaawo dda, era waliwo abamu be bakyamizza. 19 (P)Kyokka omusingi Katonda gwe yateekawo mugumu, era gulina akabonero kano: “Mukama amanyi ababe.” Era nti: “Buli ayatula erinnya lya Mukama ave mu butali butuukirivu.”

20 (Q)Mu nnyumba ennene temubaamu bintu bya zaabu na ffeeza byokka, naye mubaamu n’eby’emiti, era n’eby’ebbumba. Ebimu bikozesebwa emirimu egy’ekitiibwa, n’ebirala egitali gya kitiibwa. 21 (R)Noolwekyo buli eyeewala ebintu ebyo ebitali bya kitiibwa anaabanga ow’ekitiibwa, atukuziddwa, asaanira okukozesebwa mukama we, olw’omulimu omulungi.

22 (S)Naye ddukanga okwegomba okubi okw’ekivubuka, ogobererenga obutuukirivu, n’okukkiriza, n’okwagalana era n’emirembe awamu n’abo abasaba Mukama n’omutima omulongoofu. 23 Weewalenga empaka ez’obusirusiru, ezitaliimu magezi, kubanga omanyi nti zivaamu okulwana. 24 (T)Omuddu wa Mukama tasaana kulwana, wabula okuba omukkakkamu eri bonna, n’okuba omuyigiriza omulungi agumiikiriza, 25 (U)era aluŋŋamya n’obwetoowaze abo abamuwakanya, oboolyawo Katonda alibawa okwenenya, ne bamanya amazima, 26 (V)ne bava mu mutego gwa Setaani gwe baguddemu abakozese by’ayagala, ne badda engulu mu kutegeera kwabwe.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.