Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Isaaya 1-2

(A)Okwolesebwa kwa Isaaya, mutabani wa Amozi, kwe yafuna okukwata ku Yuda ne Yerusaalemi mu bufuzi bwa Uzziya, ne Yosamu, ne Akazi ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda.

Eggwanga Ejjeemu

(B)Wulira ggwe eggulu, mpuliriza ggwe ensi,
    kubanga bw’ati Mukama bw’ayogera nti,
“Nayonsa ne ndera abaana
    naye ne banjeemera.
(C)Ente emanya nannyini yo
    n’endogoyi emanya ekisibo kya mukama waayo,
naye Isirayiri tammanyi,
    abantu bange tebantegeera.”

(D)Woowe! Eggwanga erijjudde ebibi,
    abantu abajjudde obutali butuukirivu,
ezzadde eryabakola ebibi,
    abaana aboonoonyi!
Balese Mukama
    banyoomye Omutukuvu wa Isirayiri,
    basenguse bamuvuddeko bamukubye amabega.

(E)Lwaki mweyongera okujeema?
    Mwagala mwongere okubonerezebwa?
Omutwe gwonna mulwadde,
    n’omutima gwonna gunafuye.
(F)Okuva mu mala g’ekigere okutuuka ku mutwe
    temuli bulamu
wabula ebiwundu, n’okuzimba,
    n’amabwa agatiiriika amasira
agatanyigibwanga, okusibibwa,
    wadde okuteekebwako eddagala.

(G)Ensi yammwe esigadde matongo,
    ebibuga byammwe byokeddwa omuliro,
nga nammwe bennyini mulaba.
    Bannamawanga[a] balidde ensi yammwe,
    era ezise kubanga bannaggwanga bagisudde.
(H)Omuwala wa Sayuuni alekeddwa
    ng’ensiisira esigadde mu nnimiro y’emizabbibu,
ng’ekiwummulirwamu mu nnimiro y’emyungu[b],
    ng’ekibuga ekizingiziddwa.
(I)Singa Mukama ow’Eggye
    teyatulekerawo bantu abatonotono abaasigalawo
twandibadde nga Sodomu,
    twandifuuse nga Ggomola.

10 (J)Muwulirize ekigambo kya Katonda
    mmwe abafuzi ba Sodomu!
Musseeyo omwoyo eri okuyigiriza kwa Katonda waffe
    mmwe abantu b’e Ggomola!
11 (K)“Ssaddaaka enkumu ze munsalira
    zingasa ki?
Nkooye endiga ennume
    enjokye eziweebwayo,
so sisanyukira musaayi gwa nte,
    newaakubadde ogw’abaana b’endiga, newaakubadde ogw’embuzi ennume,” bw’ayogera Mukama.
12 (L)Bwe mujja mu maaso gange,
    ani aba abayise
    ne mujja okulinnyirira empya zange?
13 (M)Mulekeraawo okuleeta ssaddaaka zammwe ezitaliimu;
    obubaane bwammwe bwa muzizo gye ndi.
Omwezi Ogubonese ne Ssabbiiti n’enkuŋŋaana zammwe
    zijjudde obutali butuukirivu.
14 (N)Emyezi gyammwe Egibonese n’embaga zammwe ez’ennaku entukuvu,
    emmeeme yange ebikyaye,
binfuukidde omugugu,
    nkooye okubigumiikiriza.
15 (O)Bwe munaayimusanga emikono gyammwe musabe
    nnaabakwekanga amaaso gange,
era ne bwe munaasabanga ennyo
    siiwulirenga
kubanga emikono gyammwe gisaabaanye omusaayi.

16 (P)Munaabe, mwetukuze
    muggirewo ddala ebikolwa byammwe ebibi gye ndi,
    mulekeraawo okukola ebibi.
17 (Q)Muyige okukola obulungi, musalenga emisango n’amazima,
    mudduukirirenga abajoogebwa,
musalenga omusango gw’atalina kitaawe,
    muwolerezenga bannamwandu.

18 (R)“Mujje nno tukubaganye ebirowoozo,”
    bw’ayogera Mukama;
“ebibi byammwe ne bwe biba ng’olugoye olumyufu
    binaafuuka byeru ng’omuzira,
ne bwe binaaba bitwakaavu nga langi emyufu enkwafu,
    binaatukula ng’ebyoya by’endiga.
19 (S)Bwe munaagondanga ne muwulira,
    munaalyanga ebirungi eby’ensi;
20 (T)naye bwe munaagaananga ne mujeemanga
    ekitala kinaabalyanga,”
kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.

21 (U)Laba ekibuga ekyesigwa
    bwe kifuuse ng’omwenzi!
Oyo eyasalanga emisango mu bwenkanya!
    Obutuukirivu bwatuulanga mu ye,
    naye kaakano batemu bennyini nnyini!
22 Effeeza yo efuuse masengere,
    wayini wo afuuse wa lujjulungu.
23 (V)Abafuzi bo bajeemu,
    mikwano gya babbi,
bonna bawoomerwa enguzi,
    era banoonya kuweebwa birabo;
tebayamba batalina ba kitaabwe,
    so n’ensonga za bannamwandu tebazifaako.
24 (W)Noolwekyo kyava ayogera Mukama, Mukama ow’Eggye,
    ow’amaanyi owa Isirayiri nti,
“Ndifuka obusungu ku balabe bange,
    era ne nesasuza abo abankyawa.
25 (X)Era ndikukwatamu n’omukono gwange,
    ne nnoongoosereza ddala amasengere go gonna
    ne nkuggyamu ebitali birungi byonna.
26 (Y)Era ndikomyawo abalamuzi bo ng’olubereberye
    n’abo abakuwa amagezi, nga bwe kyali okusooka.
Olwo olyoke oyitibwe
    ekibuga eky’obutuukirivu,
    ekibuga ekyesigwa.”

27 (Z)Sayuuni alinunulibwa lwa bwenkanya,
    n’abantu baamu abalyenenya mu butuukirivu.
28 (AA)Naye abeewaggula n’abakozi b’ebibi balizikirizibwa wamu,
    n’abo abava ku Mukama Katonda, balimalibwawo.

29 (AB)“Kubanga mulikwatibwa ensonyi olw’emiti
    mwe mwenyumiririzanga,
n’olw’ennimiro
    ze mweroboza.
30 Kubanga mulibeera ng’omuvule oguwotoka
    era ng’ennimiro etaliimu mazzi.
31 (AC)N’omusajja ow’amaanyi alifuuka ng’enfuuzi,
    n’omulimu gwe ng’akasasi akavudde ku lyanda,
era byombi biriggiira wamu
    so tewaliba azikiza omuliro ogwo.”

Olusozi lwa Mukama

(AD)Kuno kwe kwolesebwa Isaaya omwana wa Amozi kwe yalaba ku Yuda ne Yerusaalemi.

(AE)Olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma

olusozi okuli ennyumba ya Mukama Katonda
    lulinywezebwa lusinge ensozi zonna okugulumira,
luliyimusibwa lusukke ku ndala zonna,
    era amawanga gonna galilwolekera.

(AF)Abantu bangi balijja bagambe nti,

Mujje twambuke tulinnye ku lusozi lwa Mukama,
    mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo,
alyoke atuyigirize amakubo ge,
    tulyoke tutambulire mu mateeka ge.
Kubanga Mukama aliteeka amateeka ng’asinziira mu Sayuuni,
    era mu Yerusaalemi abayigirize ekigambo kye.
(AG)Alisala enkaayana z’amawanga,
    aliramula emisango gy’abantu bangi,
era ebitala byabwe balibiwesaamu enkumbi,
    n’amafumu gaabwe bagaweeseemu ebiwabyo.
Eggwanga teririyimusa kitala ku ggwanga linnaalyo,
    so tebalyetegeka kulwana ntalo nate.

Mukama Ayita Ennyumba Ya Yakobo Okwenenya

(AH)Ggwe ennyumba ya Yakobo,
    mujje tutambulire mu kitangaala kya Mukama Katonda.
(AI)Wayabulira abantu bo
    ab’ennyumba ya Yakobo,
kubanga eggwanga lijjudde obusamize obuva mu buvanjuba,
    n’obulaguzi obuli nga obw’omu Bafirisuuti,
    era basizza kimu ne bannamawanga.
(AJ)Ensi yaabwe ejjudde effeeza ne zaabu,
    n’obugagga bwabwe tebuliiko kkomo:
ensi yaabwe ejjudde embalaasi,
    era erimu n’amagaali g’embalaasi mangi nnyo.
(AK)Ensi yaabwe ejjudde bakatonda ababumbe,
    basinza omulimu gw’emikono gyabwe bo,
    engalo zaabwe gwe zeekolera.
(AL)Kale omuntu wa kukkakkanyizibwa,
    omuntu wa kussibwa wansi.
    Mukama, tobasonyiwa!

10 (AM)Mugende mwekweke mu njazi,
    mwekweke mu binnya wansi mu ttaka,
nga mudduka entiisa ya Mukama Katonda,
    nga mudduka entiisa y’ekitiibwa ky’obukulu bwe.
11 (AN)Olunaku lujja okweyisa kw’omuntu
    n’amalala ge lwe birizikirizibwa,
era Mukama Katonda yekka yaligulumizibwa ku olwo.

12 (AO)Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye alina olunaku lw’ategese
    eri abo bonna ab’amalala era abeewanise,
    eri ebyo byonna eby’egulumiza ebijjudde
    okwemanya n’okwewulira.
13 (AP)Alizikiriza emiti gy’omu Lebanooni,[c] emiwanvu emigulumivu,
    n’emivule gyonna egya Basani.
14 (AQ)Era n’ensozi zonna empanvu,
    n’obusozi bwonna obugulumivu.
15 (AR)Na buli mulongooti gwonna omuwanvu,
    na buli bbugwe gwe bakomese.
16 (AS)Alizikiriza emmeeri zonna ez’e Talusiisi,
    n’ebifaananyi byonna ebisiige eby’omuwendo omungi.
17 (AT)Era okwegulumiza kw’abantu kulijemulukuka,
    n’amalala g’abantu galissibwa;
era Mukama Katonda yekka yaligulumizibwa ku lunaku olwo.
18     (AU)N’ebifaananyi bye basinza birizikiririzibwa ddala ku olwo.

19 (AV)Abantu balidduka ne beekweka mu mpuku mu mayinja,
    ne mu binnya mu ttaka,
nga badduka entiisa
    n’ekitiibwa ky’obukulu bwa Mukama Katonda,
    bwaliyimuka okukankanya ensi n’amaanyi.
20 (AW)Ku lunaku olwo abantu balisuulira ddala
    bakatonda baabwe abakole mu ffeeza, n’abakole mu zaabu,
be beekolera nga ba kusinzanga,
    ne babakanyuga eri emmese n’eri ebinyira.
21 (AX)Balidduka ne beekukuma mu mpuku
    ez’amayinja amaatifu
nga badduka entiisa
    n’ekitiibwa ky’obukulu bwa Mukama Katonda,
    bwaliyimuka okukankanya ensi.

22 (AY)Mulekeraawo okwesiga omuntu
    alina omukka obukka mu nnyindo ze.
Kiki ennyo kyali?

Abaggalatiya 5

Eddembe mu Kristo

(A)Kale nga Kristo bwe yatufuula ab’eddembe, bwe mutyo munywerere mu ddembe eryo muleme kusibwa nate mu kikoligo ky’obuddu.

(B)Ka mbategeeze nze Pawulo: Bwe mukomolebwa, nga Kristo taliiko ky’abagasa. (C)Era nziramu okutegeeza buli muntu akomolebwa nti alina ebbanja okutuukiriza amateeka gonna. (D)Mwava mu Kristo mmwe abanoonya okufuna obutuukirivu olw’amateeka. Mwava mu kisa. (E)Kubanga ffe, ffe ku bw’Omwoyo olw’okukkiriza tulindirira n’essuubi obutuukirivu. (F)Kubanga mu Kristo Yesu, okukomolebwa oba obutakomolebwa, tekulina maanyi, wabula okukkiriza kukola olw’okwagala.

(G)Mwali mutambula bulungi. Ani eyabasendasenda n’abaggya ku kugondera amazima? (H)Okusendebwasendebwa okwo, si kw’oyo eyabayita. (I)Ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna. 10 (J)Mbeesiga mu Mukama waffe nga temujja kulowooza kintu kirala kyonna. Naye oyo abateganya alisalirwa omusango ne bw’aliba ani. 11 (K)Naye nze abooluganda, oba nga nkyayigiriza okukomolebwa, lwaki njigganyizibwa? Kale enkonge ey’omusaalaba evuddewo. 12 Nnandyagadde abo abaabateganya beeraawe.

Obulamu bw’Omwoyo

13 (L)Kubanga mmwe abooluganda mwayitibwa lwa ddembe, noolwekyo eddembe teribawa bbeetu kugoberera bya mubiri. Naye olw’okwagala buli omu abeerenga muweereza wa munne. 14 (M)Kubanga amateeka gonna gatuukirizibwa mu tteeka lino nti: “Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka.” 15 Naye obanga muneneŋŋana mwegendereze muleme okwezikiriza. 16 (N)Mbagamba nti, mutambulirenga mu Mwoyo, mu ngeri yonna, mulemenga kutuukiriza kwegomba kwa mubiri. 17 (O)Kubanga okwegomba kw’omubiri kulwanagana n’Omwoyo, n’Omwoyo n’alwanagana n’omubiri; kubanga bino byombi bikontana, mulemenga okukola bye mwagala. 18 (P)Naye bwe muluŋŋamizibwa Omwoyo, olwo nga temukyafugibwa mateeka.

19 (Q)Ebikolwa by’omubiri bya lwatu, bye bino: obwenzi, obukaba, obugwenyufu, 20 Okusinza bakatonda abalala, obufumu, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, okwekuluntaza, okweyawula, okwesalamu, 21 (R)ettima, obutamiivu, ebinyumu, n’ebirala ebiri ng’ebyo. Ka mbategeeze nate nga bwe nasooka okubabuulira nti buli akola ebyo talina mugabo mu bwakabaka bwa Katonda.

22 (S)Naye ebibala eby’Omwoyo bye bino: okwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, obwesigwa, 23 (T)obuwombeefu, okwefuga; awali ebyo tewali tteeka libiwakanya. 24 (U)N’abo aba Kristo Yesu baakomerera omubiri n’okwegomba kwagwo, n’omululu gwagwo. 25 Kale bwe tuba abalamu ku bw’Omwoyo, tugobererenga okuluŋŋamizibwa kw’Omwoyo. 26 (V)Tulemenga okwemanya, n’okunyizaganya, n’okukwatiragananga obuggya.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.