Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Engero 3-5

Emikisa Egiva mu kuba n’amagezi

(A)Mwana wange, teweerabiranga bintu bye nakuyigiriza,
    era okuumanga ebiragiro byange mu mutima gwo,
(B)kubanga bijja kuwangaaza obulamu bwo ku nsi,
    era bikukulaakulanye.

(C)Amazima n’ekisa tobyerabiranga;
    byesibe mu bulago bwo,
    obiwandiike ku mutima gwo.
(D)Bw’otyo bw’onoofuna okuganja n’okusiimibwa
    eri Katonda n’eri abantu.

(E)Weesige Mukama n’omutima gwo gwonna,
    so teweesigamanga ku magezi go gokka.
(F)Mukama mukulembezenga mu by’okola byonna,
    naye anaakuluŋŋamyanga n’owangula.

(G)Amagezi go tegakusigulanga,
    naye otyanga Mukama, era weewale okukola ebibi.
(H)Onoofunanga obulamu mu mubiri gwo
    n’amagumba go ne gadda buggya.

Amagezi n’Obugagga

(I)Mukama mugulumizenga n’eby’obugagga byo; n’ebibala ebisooka eby’ebintu byo byonna eby’omu nnimiro yo,
10 (J)olwo amaterekero go lwe ganajjulanga ebintu enkumu,
    era n’amasenero go ne gajjula ne gabooga omwenge omusu.

11 (K)Mwana wange tonyoomanga kukangavvula kwa Mukama,
    n’okunenya kwe kulemenga okukukooya,
12 (L)kubanga Mukama anenya oyo gw’ayagala,
    nga kitaawe w’omwana bw’anenya mutabani we gwe yeenyumiririzaamu.

13 Aweereddwa omukisa oyo afuna amagezi,
    omuntu oyo afuna okutegeera,
14 (M)kubanga amagezi gasinga ffeeza
    era galimu amagoba okusinga zaabu.
15 (N)Amagezi ga muwendo mungi okusinga amayinja ag’omuwendo omungi:
    era tewali kyegombebwa kiyinza kugeraageranyizibwa nago.
16 (O)Mu mukono gwago ogwa ddyo mwe muli obuwanguzi;
    ne mu mukono gwago ogwa kkono ne mubaamu obugagga n’ekitiibwa.
17 (P)Mu magezi mulimu essanyu,
    era n’amakubo gaago ga mirembe.
18 (Q)Amagezi muti gwa bulamu eri abo abagakwata ne baganyweza;
    abo abagakwata ne baganyweza baliweebwa omukisa.

19 (R)Amagezi, Mukama ge yakozesa okuteekawo emisingi gy’ensi;
    n’okutegeera kwe yakozesa okuteekawo eggulu;
20 n’okumanya kwe, kwe yakozesa okwawula obuziba bw’ennyanja,
    era n’ebire ne bivaamu omusulo.

Ab’amagezi Baweebwa Ekitiibwa

21 (S)Mwana wange, beeranga n’okuteesa okulungi n’okusalawo ebisaana,
    ebyo biremenga okukuvaako,
22 (T)binaabeeranga obulamu eri emmeeme yo,
    era ekyokwambala ekirungi ekinaawoomesanga obulago bwo.
23 (U)Bw’otyo bw’onootambulanga nga onyweredde mu kkubo lyo,
    era ekigere kyo tekijjanga kwesittala.
24 (V)Bw’onoogalamiranga toobenga na kutya,
    weewaawo bw’oneebakanga otulo tunaakuwoomeranga.

25 Totyanga kabenje kootomanyiridde,
    wadde okuzikirira okujjira abakozi b’ebibi,
26 (W)Kubanga Mukama y’anaabeeranga obwesigwa bwo,
    era anaalabiriranga ekigere kyo ne kitakwatibwa mu mutego.

27 Tommanga birungi abo be bisaanira
    bwe kibeera mu buyinza bwo okukikola.
28 (X)Togambanga muliraanwa wo nti,
    “Genda, onodda enkya ne nkuwa,”
    ate nga kye yeetaaga okirina.

29 Totegekanga kukola bulabe ku muliraanwa wo,
    atudde emirembe ng’akwesiga.
30 Tovunaananga muntu n’omu awatali nsonga
    nga talina kabi k’akukoze.

31 (Y)Tokwatirwanga obuggya omuntu ayigganya abalala,
    era tokolanga nga ye bw’akola,
32 (Z)kubanga omuntu omugwagwa wa muzizo eri Mukama,
    naye abo abagolokofu abalinamu obwesige.

33 (AA)Ekikolimo kya Mukama kiri ku nnyumba y’ababi,
    naye awa omukisa ennyumba y’abatuukirivu.
34 (AB)Ddala ddala, Mukama anyooma abanyoomi,
    naye abeetoowaza abawa ekisa.
35 Ab’amagezi balisikira ekitiibwa,
    naye abasirusiru baliswazibwa.

Amagezi ge gali ku Ntikko

(AC)Muwulirize baana bange okuyigiriza kwange ng’okwa kitammwe,
    era musseeyo omwoyo mufune okutegeera.
Kubanga mbawa okuyigiriza okulungi;
    temulekanga biragiro byange.
Bwe nnali omuvubuka nga ndi ne kitange,
    omwana omu yekka omwagalwa, owa mmange,
(AD)yanjigiriza n’aŋŋamba nti, “Ebigambo byange bikuumenga ku mutima gwo,
    kuuma ebiragiro byange obeere mulamu.
(AE)Funa amagezi; funa okutegeera,
    teweerabiranga era tovanga ku bigambo bya mu kamwa kange.
(AF)Togalekanga, nago ganaakukuumanga,
    gaagale nago ganaakulabiriranga.
(AG)Ddala amagezi kye kintu ekisingira ddala obukulu;
    noolwekyo fuba ofune amagezi, era fubira ddala nnyo ofune okutegeera.
(AH)Amagezi gagulumize, nago gajja kukuyimusa,
    gaanirize, nago gajja kukuweesa ekitiibwa.
(AI)Amagezi gajja kukutikkira engule ey’ekisa,
    era gakuwe n’engule ey’ekitiibwa.”

Enjawulo wakati w’Ab’amagezi n’Abagwenyufu

10 (AJ)Wuliriza ggwe, mutabani, era okkirize ebigambo byange
    olyoke owangaalire ku nsi n’essanyu eringi.
11 (AK)Nkuluŋŋamya mu kkubo ery’amagezi,
    ne nkukulembera mu makubo ag’obutuukirivu.
12 (AL)Bw’onootambulanga, ekigere kyo kireme okuziyizibwa;
    era bw’onoddukanga, tojjanga kwesittala.
13 (AM)Nywerezanga ddala okuyigirizibwa, tokutanga:
    kukuumenga kubanga bwe bulamu bwo.
14 (AN)Toyingiranga mu kkubo ly’abakozi b’ebibi,
    wadde okutambulira mu kkubo ly’abantu aboonoonyi.
15 Lyewalenga, tolitambulirangamu,
    liveeko okwate ekkubo lyo.
16 (AO)Kubanga abakozi b’ebibi tebayinza kwebaka okuggyako nga bakoze ebibi,
    era otulo tubabulira ddala bwe baba tebalina gwe bakozeeko bulabe.
17 Okukola ebibi y’emmere yaabwe,
    n’okukozesa eryanyi kye kyokunywa kyabwe.

18 (AP)Ekkubo ly’abatuukirivu liri ng’enjuba eyakavaayo,
    eyeeyongera okwaka okutuusa obudde lwe butangaalira ddala.
19 (AQ)Naye ekkubo ly’ababi liri ng’ekizikiza ekikutte,
    tebamanyi kibaleetera kwesittala.

20 (AR)Mutabani wange wuliriza n’obwegendereza ebigambo byange;
    osseeyo omwoyo eri bye nkutegeeza;
21 (AS)ebigambo bino tebikuvangako,
    bikuumire ddala mu mutima gwo,
22 (AT)kubanga bya bulamu eri abo ababifuna,
    era biwonya omubiri gwabwe gwonna.
23 (AU)Ekisinga byonna kuuma omutima gwo,
    kubanga y’ensulo y’obulamu bwo.
24 Weewalire ddala eby’obubambavu
    era n’okwogera ebya swakaba.
25 Amaaso go gatunulenga butereevu,
    era otunulenga n’obumalirivu eyo gy’olaga.
26 (AV)Ttereeza bulungi amakubo go;
    okwate amakubo ageesigika gokka.
27 (AW)Tokyamanga ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono;
    ebigere byo byewalenga ekkubo ekyamu.

Okulabula ku Bwenzi

(AX)Mutabani, ossangayo omwoyo eri ebiragiro byange,
    era owulirizanga bulungi ebigambo byange eby’amagezi,
olyoke oyige okusalawo okw’amagezi,
    era akamwa ko kavengamu eby’obutegevu.
(AY)Kubanga emimwa gy’omukazi omwenzi gitonnya omubisi gw’enjuki,
    n’ebigambo bye biweweevu okusinga omuzigo;
(AZ)naye enkomerero ya byonna, akaawa ng’omususa
    era asala ng’ekitala eky’obwogi obubiri.
(BA)Ebigere bye bituuka mu kufa,
    ebisinde bye biraga emagombe.
(BB)Tafaayo ku kkubo lya bulamu,
    amakubo ge gaakyamakyama dda, naye nga takimanyi.

(BC)Kaakano, batabani bange mumpulirize,
    temuvanga ku bigambo bya kamwa kange.
(BD)Mwewalenga omukazi oyo
    era temusembereranga luggi lwa nnyumba ye;
si kulwa nga mufiirwa ekitiibwa kyammwe,
    n’okumalira ebiseera byammwe ku oyo alina ettima,
10 ate si kulwa nga b’otolina ky’obamanyiiko bakwavuwaza,
    n’amaanyi go n’ogamalira ku maka g’omulala.
11 Ku nkomerero y’obulamu bwo olisinda,
    ennyama yo n’omubiri gwo nga biweddewo.
12 (BE)Oligamba nti, “Nga nakyawa okulabulwa,
    n’omutima gwange ne gukyawa okunenyezebwa,
13 era ne sigondera ddoboozi ly’abasomesa bange,
    wadde okussaayo omwoyo eri abo abampanga amagezi.
14 Ntuuse ku njegoyego z’okuzikirira
    nga ndi wakati mu kuŋŋaaniro ly’ekibiina.”

Obuvunaanyizibwa n’Essanyu mu Bufumbo

15 Onoonywanga amazzi ag’omu kidiba kyo,
    n’amazzi agava mu luzzi lwo goonoonywanga.
16 Ensulo zo zisaanye okukulukutira mu nguudo,
    n’enzizi zo mu bifo ebigazi eby’omu kibuga?
17 Leka bibeere bibyo wekka,
    bireme kugabanibwako b’otomanyiiko n’akamu.
18 (BF)Kale leka ensulo yo ebeere n’omukisa,
    era osanyuke ne mukazi wo ow’omu buvubuka bwo.
19 (BG)Ng’ennangaazi eyeeyagaza n’empeewo esanyusa,
    leka okusuuta kwe kukumalenga ennaku zonna era naye akwetoloozenga okwagala kwe.
20 Lwaki mwana wange osendebwasendebwa omukazi omwenzi,
    n’ogwa mu kifuba ky’omukazi w’omusajja omulala?

21 (BH)Kubanga Mukama alaba amakubo g’omuntu gonna,
    era n’akebera n’amakubo ge gonna.
22 (BI)Ebikolwa by’omukozi w’ebibi bimufuukira omutego,
    era emiguwa gy’ebikolwa bye ebibi girimusibira ddala.
23 (BJ)Alifa, kubanga yagaana okwekuuma,
    era alizikirira olw’obusirusiru bwe obungi.

2 Abakkolinso 1

Okulamusa n’Okwebaza

(A)Pawulo omutume wa Kristo Yesu, olw’okusiima kwa Katonda, n’owooluganda Timoseewo, tuwandiikira ekkanisa ya Katonda eri mu Kkolinso awamu n’abatukuvu bonna abali mu Akaya yonna, (B)ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga nammwe.

(C)Katonda oyo Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow’okusaasira era Katonda azaamu bonna amaanyi yeebazibwe, (D)atuzaamu amaanyi mu kubonaabona kwonna kwe tuyitamu, tulyoke tugumye abalala abayita mu kubonaabona okwa buli ngeri, olw’okugumya kwe tufuna nga Katonda atuzaamu amaanyi. (E)Kubanga nga bwe tugabana ku kubonaabona kwa Kristo, ne Kristo bw’atyo bw’atuzzaamu amaanyi. (F)Bwe tubonaabona, tubonaabona mulyoke muzibwemu amaanyi era mulokolebwe; oba ne bwe tuba nga tuzzibwamu endasi nammwe muzibwamu endasi, mulyoke mugumire okubonaabona kwe kumu kwe tuyitamu. (G)Essuubi lyaffe gye muli linywevu, nga tumanyi nti nga bwe mugabanira awamu naffe mu kubonaabona, bwe mutyo bwe mugabanira awamu naffe mu kuzibwamu amaanyi.

(H)Kubanga tetwagala mmwe abooluganda obutategeera, okubonaabona kwe twayitamu mu Asiya kwali kungi ekiyitiridde n’essuubi ery’okuba abalamu ne lituggwaamu. (I)Naye ffe ffennyini nga tusaliddwa gwa kufa, nga tetusaanidde kwetekamu bwesige bwaffe ffe, wabula mu Katonda azuukiza abafu, 10 (J)eyatuwonya mu kufa okwo okw’entiisa, era anaatulokolanga, era gwe tulinamu essuubi ery’okutuwonyanga. 11 (K)Tukolere wamu nga mutusabira, bangi balyoke batwebalizeeko olw’ekirabo kye twaweebwa.

Pawulo akyusa mu ntegeka ze

12 (L)Tulina okwenyumiriza ng’omwoyo gwaffe gutujulira kubanga twatambulira mu buwombeefu ne mu mazima ga Katonda, so si mu magezi ag’omubiri, naye mu kisa kya Katonda nga tuli mu nsi n’okusingira ddala gye muli. 13 Kubanga tetubawandiikira lwa bintu birala wabula ku ebyo bye musomako era ku ebyo bye mumanyiiko; era nsuubira nga mulibimanyira ddala okutuusa ku nkomerero, 14 (M)era nga bwe mwamanyako ekitundu nti muli kya kwenyumiriza gye tuli nga naffe bwe tuli eky’okwenyumiriza gye muli ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu. 15 (N)Olw’okwekakasa mu ekyo, nateekateeka okujja gye muli edda, mulyoke musanyuke omulundi ogwokubiri, 16 (O)nga mpita gye muli okugenda e Makedoniya, ate n’amadda nga nkomawo, mulyoke munsibirire okulaga e Buyudaaya. 17 (P)Mulowooza nga nateekateeka bwe ntyo olwokubanga nnekyusiza? Oba nti ntekateeka ebintu nga ngoberera omubiri, nga ŋŋamba nti weewaawo ye weewaawo, ate nti si weewaawo, si weewaawo?

18 (Q)Naye nga Katonda bw’ali omwesigwa ekigambo kyaffe gye muli tekiri weewaawo ate nti si weewaawo. 19 (R)Omwana wa Katonda Yesu Kristo gwe twababuulira, nze ne Sirwano[a] ne Timoseewo teyali nti weewaawo ne si weewaawo, wabula mu ye mwe muli weewaawo bulijjo. 20 (S)Kubanga nga bwe biri ebisuubizo ebingi ebya Katonda, era mu ye kyetuva tugamba Amiina nga tuyita mu ye, Katonda atenderezebwe mu ffe. 21 (T)Naye atunyweza ffe awamu nammwe mu Kristo, era eyatufukako amafuta, ye Katonda, 22 (U)era ye oyo eyatussaako akabonero, n’atuwa amazima g’omwoyo mu mitima gyaffe.

23 (V)Katonda oyo ye mujulirwa w’emmeeme yange, nga nabasabira ne sijja Kkolinso. 24 (W)Temusaanye kulowooza nti ffe tufuga okukkiriza kwammwe, naye tuli bakozi bannammwe, mulyoke musanyuke, kubanga okukkiriza kwammwe kwe kubanywezezza.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.