Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Amosi 1-3

(A)Bino bye bigambo Amosi eyali omu ku balunzi b’endiga mu bitundu by’e Tekowa bye yabikkulirwa, musisi amale ajje nga wakayitawo emyaka ebiri, mu mirembe gya Uzziya kabaka wa Yuda, era nga gy’emirembe gya kabaka Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi nga y’afuga Isirayiri.

(B)Amosi yagamba nti,

Mukama awuluguma ng’asinziira mu Sayuuni,
    era eddoboozi lye liwulirwa nga libwatukira mu Yerusaalemi;
omuddo mu malundiro gulikala
    n’entikko y’olusozi Kalumeeri erisigala njereere.”

Okulamulwa kwa Baliraanwa ba Isirayiri

(C)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Olw’ebyonoono bya Ddamasiko ebisatu,
    weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga baabonereza nnyo abantu b’e Gireyaadi
    nga babasalaasala n’ebyuma.
(D)Ndiweereza omuliro mu lubiri lwa kabaka Kazayeeri
    era njokye n’ebigo bya kabaka Benikadadi.
(E)Era ndimenya enzigi z’ekibuga Ddamasiko
    era ndizikiriza kabaka ali mu Kiwonvu ky’e Aveni,
oyo akwata omuggo ogw’obwakabaka mu Besiadeni.
    Abantu b’e Busuuli balitwalibwa mu buwaŋŋanguse mu Kiri,”
    bw’ayogera Mukama.

(F)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Olw’ebyonoono bya Gaza ebisatu,
    weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga yatwala eggwanga ddamba mu busibe
    n’alitunda eri Edomu.
Ndiweereza omuliro ku bbugwe wa Gaza
    ogulyokya ebigo byakyo.
(G)Ndizikiriza atuula mu Asudodi,
    n’oyo akwata omuggo gw’obwakabaka ndimumalawo okuva mu Asukulooni.
Ndibonereza Ekuloni
    okutuusa lwe ndimalirawo ddala Abafirisuuti,”
    bw’ayogera Mukama.

(H)Mukama bw’ati bw’ayogera nti,

“Olw’ebyonoono bya Ttuulo ebisatu,
    weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga yatunda eggwanga ddamba erya Edomu mu busibe
    n’amenya endagaano ey’obwaseruganda eyali ekoleddwa,
10 (I)kyenaava mpeereza omuliro ku bbugwe wa Ttuulo,
    ogunaayokya ebigo byakyo.”

11 (J)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Olw’ebyonoono bya Edomu ebisatu,
    weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga yayigganya muganda we n’ekitala
    awatali kusaasira,
obusungu bwabwe ne bubuubuuka obutakoma
    era ne batabusalako.
12 (K)Ndiweereza omuliro ku Temani
    oguliyokya ebigo bya Bozula.”

13 (L)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Olw’ebyonoono bya Amoni ebisatu
    weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Mu ntalo ez’okugaziya ensi ye,
    yabaaga abakazi abaali embuto ab’e Giriyaadi.
14 (M)Ndiweereza omuliro ku bbugwe wa Labba,
    era gulyokya ebigo byakyo.
Walibaawo n’oluyoogaano olunene ku lunaku olw’olutalo
    mu mpewo ey’amaanyi, kibuyaga ng’akunta.
15 Kabaka waakyo alitwalibwa mu buwaŋŋanguse,
    ye n’abakungu be bonna,”
    bw’ayogera Mukama.

Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Olw’ebyonoono bya Mowaabu ebisatu
    weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga yayokya amagumba ga kabaka wa Edomu
    ne gafuuka evvu.
Ndiweereza omuliro ku Mowaabu
    era gulyokya ebigo bya Keriyoosi.
Abantu ba Mowaabu balifiira
    wakati mu kusasamala okungi omuliba okuleekaana n’okufuuwa amakondeere.
(N)Ndizikiriza omukulembeze wa Mowaabu
    n’abakungu baamu bonna, ndibatta,”
    bw’ayogera Mukama.
(O)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Olw’ebyonoono bya Yuda ebisatu
    weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga banyoomye amateeka ga Mukama,
    ne batakuuma biragiro bye nabawa
ne bagondera bakatonda ab’obulimba
    bajjajjaabwe be baagobereranga.
(P)Ndiweereza omuliro ku Yuda
    ne njokya ebigo bya Yerusaalemi.”

(Q)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Olw’ebyonoono bya Isirayiri ebisatu
    weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Batunda obutuukirivu bafune ffeeza,
    ne batunda n’abaavu olw’omugogo gw’engatto.
(R)Balinnyiririra emitwe gy’abaavu
    mu nfuufu,
    n’abajoogebwa ne batalamulwa mu bwenkanya.
Omwana ne kitaawe bayingira eri omuwala omu
    ne boonoona erinnya lyange.
(S)Bagalamira okumpi ne buli kyoto
    ku ngoye ezaweebwayo ng’obweyamo.
Mu nnyumba ya bakatonda baabwe
    mwe banywera omwenge oguleetebwa abatanziddwa.

(T)“Nazikiriza Abamoli ku lwabwe
    newaakubadde nga baali bawanvu ng’emivule
    era nga ba maanyi ng’emyera.
Nazikiriza ebibala ebyali waggulu
    okutuuka ku mirandira egyali wansi.
10 (U)Nakuggya mu nsi y’e Misiri,
    ne nkukulemberera emyaka amakumi ana mu ddungu,
    weetwalire ensi y’Abamoli.

11 (V)“Nayimusa abamu ku batabani bammwe okubeera bannabbi,
    ne ku balenzi bammwe okuba Abawonge ba Mukama.
Si bwe kiri bwe kityo abantu ba Isirayiri?”
    bw’ayogera Mukama.
12 (W)“Naye mmwe ne mudda mu kuwa Abawonge ba Mukama omwenge okunywa,
    ne muwa bannabbi amateeka nga mubagamba nti temuwa byabunnabbi.

13 “Laba, ndibasesebbula
    ng’eggaali eryettisse ebinywa by’emmere ey’empeke bwe lisesebbula ekiri mu kkubo lyalyo.
14 (X)Abanguwa tebaliwona,
    n’ab’amaanyi tebalikuŋŋaanya maanyi gaabwe
    era n’omuzira nnamige talisobola kuwonya bulamu bwe.
15 (Y)Omukubi w’obusaale omukugu taliyimirira kunywera,
    n’omuserikale ow’ebigere nnakinku talisobola kuwenyuka.
    Abo abasajja abazira abeebagazi b’embalaasi tebalisobola kuwonya bulamu bwabwe.
16 (Z)Ku lunaku olwo abalwanyi abazira nnamige
    balidduka bukunya!”
    bw’atyo bw’ayogera Mukama.

Okulabula Abantu ba Isirayiri

(AA)Muwulire ekigambo kino Mukama ky’aboogerako mmwe abaana ba Isirayiri, ennyumba yonna gye naggya mu Misiri.

(AB)“Mu bantu bonna abali ku nsi,
    mmwe mwekka be nalonda.
Kyendiva mbabonereza
    olw’ebibi byammwe byonna.”
Abantu ababiri bayinza okutambulira awamu
    wabula nga bakkiriziganyizza?
(AC)Empologoma ewulugumira mu kisaka
    nga terina muyiggo?
Empologoma ento ekaabira mu mpuku yaayo
    nga teriiko ky’ekutte?
Akanyonyi kayinza okugwa mu mutego
    nga tewali kikasikirizza?
Omutego gumasuka
    nga teguliiko kye gukwasizza?
(AD)Akagombe kavugira mu kibuga
    abantu ne batatya?
Akabenje kagwa mu kibuga
    nga Mukama si y’akaleese?

(AE)Naye ddala Mukama Katonda takola kintu kyonna
    nga tasoose kukibikkulira
    baweereza be, bannabbi.

(AF)Empologoma ewulugumye,
    ani ataatye?
Mukama Katonda ayogedde
    ani ataawe bubaka bwe?

(AG)Langirira eri ebigo by’e Asudodi
    n’eri ebigo by’e Misiri nti,
“Mujje mukuŋŋaanire ku nsozi z’e Samaliya
    mulabe akajagalalo akanene akali eyo
    n’abantu be nga bwe bajoogebwa.”

10 (AH)Mukama agamba nti, “Abantu abajjuzza
    ebigo byabwe n’ebintu ebinyage,
    tebamanyi kukola kituufu.”

11 (AI)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Omulabe alirumba ensi,
    n’amenyaamenya ebigo byo eby’amaanyi
    era n’abinyagulula.”

12 (AJ)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Ng’omusumba bw’agezaako okutaasa endiga ye okuva mu kamwa k’empologoma
    n’asikayo amagulu abiri obubiri n’ekitundu ky’okutu,
    bwe batyo Abayisirayiri bwe balinunulibwa,
abo abatuula mu Samaliya
    ku nkomerero y’ebitanda byabwe
    ne ku bitanda byabwe mu Ddamasiko.

13 (AK)“Muwulirize kino era mulumirize enju ya Yakobo yonna,” bw’ayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna.

14 (AL)“Ku lunaku lwe lumu lwe ndibonereza Isirayiri olw’ebibi bye,
    ndisaanyaawo ebyoto by’e Beseri,
n’amayembe g’ekyoto galisalibwako
    ne gagwa wansi.
15 (AM)Era ndisaanyaawo ennyumba ebeerwamu mu biseera eby’obutiti,
    awamu n’ennyumba ebeerwamu mu biseera ey’ebbugumu;
era ndimenyaamenya n’ennyumba ezayolebwa n’amasanga,
    ne nsanyaawo n’embiri,”
    bw’ayogera Mukama.

Okubikkulirwa 6

Obubonero bw’Envumbo

(A)Awo ne ndaba Omwana gw’Endiga ng’abembulula akamu ku bubonero bw’envumbo; ne mpulira ekimu ku biramu ebina nga kyogera n’eddoboozi eryawulikika ng’okubwatuka nga kigamba nti, “Jjangu!” (B)Ne ndaba, era laba, embalaasi enjeru, ng’agyebagadde alina omutego ogulasa akasaale; n’aweebwa engule n’agenda ng’awangula, n’awangulira ddala.

(C)Bwe yabembulula akabonero k’envumbo akookubiri, ne mpulira ekiramu ekyokubiri nga kyogera nti, “Jjangu!” (D)Ne wavaayo embalaasi endala nga myufu, eyali agyebagadde n’aweebwa ekitala ekiwanvu, n’aweebwa n’obuyinza okuggyawo emirembe ku nsi, n’okuleeta entalo wakati w’abantu, battiŋŋane bokka na bokka.

(E)Bwe yabembulula akabonero k’envumbo akokusatu ne mpulira ekiramu ekyokusatu nga kyogera nti, “Jjangu!” Era laba, ne ndaba embalaasi enzirugavu n’eyali agyebagadde ng’akutte minzaani mu mukono gwe. (F)Ne mpulira eddoboozi eryawulikika ng’eriva wakati w’ebiramu ebina nga ligamba nti, “Omugaati gumu gugula ddinaali, ne kilo y’obuwunga bwa sayiri nayo bw’eba egula, kyokka omuzigo n’envinnyo tobyonoona.”

(G)Bwe yabembulula akabonero k’envumbo akookuna ne mpulira ekiramu ekyokuna nga kyogera nti, “Jjangu!” (H)Ne ndaba, era laba, embalaasi ey’erangi ensiiwuukirivu n’eyali agyebagadde ng’ayitibwa Walumbe, ne Magombe n’agenda naye. Ne baweebwa okufuga ekitundu ekyokuna eky’ensi, okutta n’ekitala, n’enjala, n’olumbe, n’ensolo enkambwe ez’oku nsi.

(I)Bwe yabembulula akabonero k’envumbo akookutaano ne ndaba wansi w’ekyoto emyoyo egy’abo abattibwa olw’okubuulira ekigambo kya Katonda n’olw’okuba abeesigwa mu bujulizi bwabwe. 10 (J)Ne bakaabirira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka nga bagamba nti, “Ayi Mukama, Omutukuvu era ow’amazima, onoosalira ddi abantu b’ensi omusango, n’owoolera eggwanga olw’omusaayi gwaffe?” 11 (K)Buli omu ku bo n’aweebwa ekyambalo ekyeru, era ne bagambibwa okugira nga bawummulako okutuusa baganda baabwe abalala era baweereza bannaabwe aba Yesu abaali bagenda okuttibwa, lwe balibeegattako.

12 (L)Awo ne ndaba ng’abembulula akabonero k’envumbo ak’omukaaga; ne wabaawo musisi ow’amaanyi ennyo, era enjuba n’eddugala n’efuuka nzirugavu ng’ekibukutu ekyakolebwa mu bwoya, n’omwezi gwonna ne gumyuka ng’omusaayi. 13 (M)Awo emmunyeenye ez’omu ggulu ne zigwa ku nsi ng’omutiini bwe gukunkumula emitiini egitanayengera olwa kibuyaga ow’amaanyi, 14 (N)n’eggulu ne lyezingako ng’omuzingo gw’ekitabo bwe gwezingazinga na buli lusozi na buli kizinga ne biggibwawo mu bifo byabyo.

15 (O)Bakabaka b’ensi, n’abafuzi ab’oku ntikko n’abantu abagagga, n’abakulu b’amaggye n’ab’amaanyi, na buli muddu n’ow’eddembe, ne beekweka mu mpuku ne mu njazi z’ensozi. 16 (P)Ne bagamba ensozi nti, “Mutugweko mutukweke mu maaso g’Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka, ne mu busungu bw’Omwana gw’Endiga. 17 (Q)Kubanga olunaku olukulu olw’obusungu bwabwe lutuuse era ani ayinza okugumira obusungu bwabwe!”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.