Old/New Testament
Ebibi bya Yerusaalemi
22 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, 2 (A)“Omwana w’omuntu, olikisalira omusango? Olisalira omusango ekibuga ekiyiwa omusaayi? Kale mulumbe wakati mu bikolwa bye byonna eby’ekivve; 3 (B)mugambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ggwe ekibuga ekittira abantu mu kyo era ekyeyonoonesa olwa bakatonda abalala be beekolera, weeleeseeko wekka ekivume, 4 (C)era osingiddwa olw’omusaayi gw’oyiye era weeyonoonyesezza olwa bakatonda abalala be weekolera. Ennaku zo ozikomekkerezza, enkomerero ye myaka gyo etuuse. Kyendiva nkuswaza eri amawanga, n’ofuuka eky’okusekererwa eri ensi zonna. 5 Abali okumpi n’abali ewala balikukudaalira, ggwe ekibuga ekinyoomebwa era ekijjudde emivuyo.
6 (D)“ ‘Laba, buli mulangira wa Isirayiri bw’akozesa obuyinza bwe okuyiwa omusaayi. 7 (E)Bataata ne bamaama banyoomebwa, era n’abagenyi mu mmwe banyigirizibwa, era babonyaabonya bamulekwa ne bannamwandu. 8 (F)Munyoomye ebintu byange ebitukuvu, ne mwonoona Ssabbiiti zange. 9 (G)Mu mmwe mulimu abantu abawaayiriza abaamalirira okuyiwa omusaayi, era mulimu n’abo abaliira ku nsozi, ne bakola eby’obugwagwa. 10 (H)Era mu mmwe mulimu abajerega obwereere bwa bakitaabwe, era mulimu n’abo abeebaka n’abakazi abali mu nsonga zaabwe ez’abakazi nga si balongoofu. 11 (I)Mu mmwe mulimu omusajja akola ebibi eby’obwenzi ne muka muliraanwa we, omulala n’ayonoonyesa muka mwana mu buswavu, ate omulala n’akwata mwannyina muwala wa kitaawe. 12 (J)Mu mmwe mulimu abantu abalya enguzi okuyiwa omusaayi, ne basolooza amagoba agasukkiridde ne bafuna ekisukkiridde okuva ku baliraanwa baabwe mu ngeri ey’obukumpanya, era munneerabidde, bw’ayogera Mukama Katonda.
13 (K)“ ‘Kale nno ndikuba mu ngalo olw’amagoba agatasaanidde ge mukoze n’omusaayi ogwayiyibwa wakati mu mmwe. 14 (L)Obuvumu bwo bulibeerera, oba emikono gyo giriba n’amaanyi olunaku lwe ndikubonereza? Nze Mukama nkyogedde, era ndikikola. 15 (M)Ndibabunya mu mawanga ne mbasaasaanya mu nsi, era ndikomya obutali bulongoofu bwo. 16 Bw’oliggwaamu ekitiibwa mu maaso g’amawanga, olimanya nga Nze Mukama.’ ”
17 Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 18 (N)“Omwana w’omuntu, ennyumba ya Isirayiri efuuse amasengere gye ndi; bonna bali ng’ebikomo, masasi, n’ebyuma ebisigalira wansi mu kikoomi ky’ekyokero. Bali ng’amasengere ga ffeeza. 19 Mukama Katonda kyava ayogera nti, ‘Kubanga mwenna mufuuse masengere, kyendiva mbakuŋŋaanya ne mbateeka wakati mu Yerusaalemi. 20 (O)Ng’omuntu bw’okuŋŋaanya effeeza, n’ebikomo, n’ebyuma, n’amasasi mu kyokero okubisaanuusa n’omuliro ogw’amaanyi, nange bwe ntyo bwe ndibakuŋŋaanya nga ndiko obusungu n’ekiruyi, ne mbateeka mu kibuga ne mbasaanuusa. 21 Ndibakuŋŋaanya, ne mbafukuta mu muliro ogw’ekiruyi kyange, ne musaanuukira munda mu kyo. 22 (P)Era ng’effeeza bw’esaanuusibwa mu kyokero, nammwe bwe mutyo bwe mulisaanuusibwa munda mu kyo, era mulimanya nga Nze Mukama mbafuseeko ekiruyi kyange.’ ”
23 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira nate, n’aŋŋamba nti, 24 (Q)“Omwana w’omuntu, yogera eri ensi nti, ‘Ggwe oli nsi eteri nongoose, era etetonnyebwako nkuba ku lunaku olw’ekiruyi.’ 25 (R)Bannabbi b’ensi balina enkwe, bali ng’empologoma ewuluguma etaagulataagula omuyiggo gwayo; bavaabira abantu, ne batwala eby’obugagga n’ebintu eby’omuwendo, ne bafuula abakazi bangi mu kyo okuba bannamwandu. 26 (S)Bakabona baakyo bajeemedde amateeka gange era boonoonye ebintu byange ebitukuvu; tebaawuddeemu bitukuvu na bya bulijjo; bayigiriza nti tewali njawulo wakati wa bitali birongoofu n’ebirongoofu, so tebassaayo mwoyo okukuuma Ssabbiiti zange, ne banswaza Nze mu bo. 27 (T)Abakungu baakyo bali ng’emisege egitaagulataagula omuyiggo gwagyo; bayiwa omusaayi ne batta abantu okukola amagoba mu butali bwenkanya. 28 (U)Bannabbi baakyo bakkiriza ebikolwa ebyo, nga babalimba n’okwolesebwa okukyamu n’okuwa obunnabbi obw’obulimba, nga boogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda,’ so nga Mukama tayogedde. 29 (V)Abantu ab’omu nsi bakola eby’obukumpanya ne babba; banyigiriza omwavu ne babonyaabonya ne munnaggwanga ne batabasalira musango mu bwenkanya.
30 (W)“Ne nnoonya omuntu mu bo ayinza okuzimba ekisenge era ayinza okubeeyimiririra mu maaso gange ku lw’ensi, naye ne siraba n’omu. 31 (X)Kyendiva mbayiwako ekiruyi kyange, ne mbamalawo n’omuliro ogw’obusungu bwange, ne mbaleetako ebyo byonna bye baakola,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Abooluganda Ababiri Abenzi
23 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 2 (Y)“Omwana w’omuntu waaliwo abakazi babiri, nnyabwe omu, 3 (Z)abeewaayo mu Misiri, ne bakola obwamalaaya okuviira ddala mu buto bwabwe, era eyo gye baakwatirakwatira ku mabeere ne batandika n’okumanya abasajja. 4 Erinnya ly’omukulu nga ye Okola, ne muto we nga ye Okoliba. Baali bange, era banzalira abaana aboobulenzi n’aboobuwala. Okola ye yali ayitibwa Samaliya, Okoliba nga ye Yerusaalemi.
5 (AA)“Okola n’akola obwamalaaya ng’akyali wange, n’akabawala ku baganzi be Abasuuli, 6 abaserikale abaayambalanga kaniki, n’abaamasaza, n’abaduumizi b’eggye, bonna nga basajja balabika bulungi era nga beebagala embalaasi. 7 (AB)Yeewaayo okubeera malaaya eri abakulembeze ab’e Bwasuli, ne yeeyonoonyesa ne bakatonda abalala bonna aba buli muntu gwe yakabawalanga naye. 8 (AC)Teyalekayo bwamalaaya bwe yatandikira mu Misiri.
9 (AD)“Kyenava muwaayo eri baganzi be Abasuuli, be yakabawalanga nabo. 10 (AE)Baamwambula, ne batwala batabani be ne bawala be, ye ne bamutta n’ekitala. Yafuuka ekivume mu bakazi ne bamuwa n’ekibonerezo.
11 (AF)“Newaakubadde nga muganda we Okoliba, yabiraba ebyo, yeeyongera mu bukaba bwe ne mu bwamalaaya bwe n’okusinga muganda we. 12 (AG)Yakabawala n’Abasuuli, n’abaamasaza n’abaduumizi b’eggye n’abaserikale abaali bambadde obulungi engoye ennungi n’abeebagalanga embalaasi n’abaalabikanga obulungi abeegombebwanga. 13 Ne ndaba nga naye yeeyonoonye, era bombi nga bakutte ekkubo lye limu.
14 (AH)“Naye wakati mu ebyo byonna, ne yeeyongeranga mu bwamalaaya bwe; n’alaba ebifaananyi eby’abasajja ebyasiigibwa ku bisenge, n’ebifaananyi eby’Abakaludaaya ebyatonebwa mu langi emyufu, 15 nga beesibye enkoba mu biwato, nga beesibye n’ebiremba ku mitwe, bonna nga bafaanana ng’abakungu ba Babulooni abavuga amagaali ab’omu nsi ey’Abakaludaaya. 16 Awo olwatuuka, n’abeegomba, n’abatumira ababaka mu Bukaludaaya. 17 Era Abababulooni ne bajja gy’ali, ne beebaka naye, era mu kwegomba kwe ne bamwonoona. Bwe baamusobyako n’abaviira, nga yeetamiddwa. 18 (AI)Bwe yagenda mu maaso n’obwamalaaya bwe mu lwatu, n’ayolesa obwereere bwe, ne mmuviira nga nennyamidde, nga bwe nnava ku muganda we. 19 Newaakubadde nga namukola ebyo byonna, yeeyongeranga bweyongezi mu maaso, nga bwe yejjukanya ennaku ez’omu buvubuka bwe, bwe yakola obwamalaaya mu Misiri, 20 gye yakabawalira ku baganzi be, abaalina entula ez’ekisajja nga zifaanana ez’endogoyi, n’amaanyi agabavaamu ng’ag’embalaasi. 21 (AJ)Bw’otyo n’oyaayaanira okwegomba okw’omu buvubuka bwo, bwe wali mu Misiri ne bakukwatirira mu ngeri ey’obukaba, ne bakwatirira n’amabeere go amato.
22 (AK)“Kale ggwe Okoliba, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ndikuma mu baganzi bo omuliro, ne bakulumba ku njuyi zonna: 23 (AL)Abababulooni, n’Abakaludaaya bonna, n’abasajja ab’e Pekodi ne Sara ne Kowa, n’Abaasuli bonna wamu nabo, n’abavubuka abalabika obulungi, n’abaamasaza n’abaduumizi b’eggye bonna, n’abakungu abavuga amagaali n’abaserikale ab’oku ntikko bonna, nga beebagadde embalaasi bonna. 24 (AM)Balikulumba nga balina amagaali, n’ebiwalulibwa n’ekibiina eky’abantu; balyesega ne beetereeza mu bifo byabwe ne bakulumba enjuuyi zonna nga bakutte engabo ennene n’entono nga bambadde n’enkuufiira ez’ebyuma. Ndikuwaayo mu mukono gwabwe ne bakusalira omusango, era balikubonereza ng’amateeka gaabwe bwe gali. 25 (AN)Ndikuyiwako ekiruyi kyange, nabo ne bakubonereza mu busungu. Balibasalako ennyindo zammwe n’amatu gammwe, n’abalisigalawo balifa n’ekitala. Balitwala batabani bammwe ne bawala bammwe, n’abaliba basigaddewo, balyokebwa omuliro. 26 (AO)Balibambulamu engoye zammwe, ne batwala n’eby’omu bulago. 27 (AP)Era ndikomya obukaba n’obwamalaaya bwe waleeta okuva mu Misiri, so tolibuyaayaanira nate newaakubadde okujjukira Misiri.
28 (AQ)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nnaatera okukuwaayo eri abo abakukyawa n’eri abo be weetamwa. 29 (AR)Balikukwata n’obukyayi obuyitiridde, ne batwala ebintu byonna bye wakolerera, ne bakuleka bwereere nga tolina kantu, n’ensonyi z’obwamalaaya zirabibwe buli muntu. Obukaba bwo n’obugwagwa bwo 30 (AS)bwe bukuleetedde ebyo, kubanga weegomba amawanga ne weeyonoona ne bakatonda baabwe. 31 (AT)Kubanga wagoberera ekkubo lya muganda wo, kyendiva nkuwa ekikompe kye mu mukono gwo.
32 (AU)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“Olinywa ekikompe kya muganda wo,
ekikompe ekigazi era ekinene;
kirikuleetera okusekererwa n’okuduulirwa
kubanga kirimu ebintu bingi.
33 (AV)Olijjuzibwa okutamiira n’ennaku,
ekikompe eky’obuyinike era eky’okunakuwala,
ekyo kye kikompe kya muganda wo Samaliya.
34 (AW)Olikinywa n’okikaliza;
olikyasaayasa,
ne weeyuzaayuza amabeere.
Nze Mukama Katonda, nkyogedde.
35 (AX)“Mukama Katonda kyava ayogera nti, Kubanga mwanneerabira ne munkuba amabega, kyemuliva mubonaabona olw’okwegomba kwammwe.” 36 (AY)Mukama n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu olisalira Okola ne Okoliba omusango? Kale nno baŋŋange olw’ebikolwa byabwe eby’ekivve, 37 (AZ)kubanga bakoze eby’obwenzi, n’engalo zaabwe zijjudde omusaayi. Benze ne bakatonda baabwe, ne basaddaaka n’abaana baabwe ng’emmere y’abakatonda baabwe, abaana be banzalira. 38 Ne kino bakinkoze. Mu kiseera kyekimu boonoonye ekifo kyange ekitukuvu, era boonoonye ne Ssabbiiti zange. 39 (BA)Ku lunaku kwe baassaddaakira abaana baabwe eri bakatonda baabwe, baayingira mu watukuvu ne bayonoonawo. Ebyo bye baakola mu nnyumba yange.
40 (BB)“Baatuma ababaka okuleeta abasajja okuva ewala ennyo, era bwe baatuuka, ne munaaba ku lwabwe ne mweyonja mu maaso, ne mwambala n’amayinja ag’omuwendo omungi. 41 (BC)Watuula ku kitanda ekinene eky’ekitiibwa, n’oyalirira n’emmeeza mu maaso go ng’etegekeddwako obubaane bwange n’amafuta gange.
42 (BD)“Oluyoogaano olw’ekibinja ky’abantu abatalina nnyo kye bakola ne Abaseba ne lumwetooloola; Abaseba ne baleetebwa okuva mu ddungu wamu n’abasajja abaalyanga mu kasasiro, ne bambaza ebintu eby’ebikomo ku mikono gy’omukazi ne muganda we, ne babatikkira n’engule ennungi ku mitwe gyabwe. 43 (BE)Awo ne njogera ku oyo eyali akaddiye olw’obwenzi nti, ‘Bamukozeseze ddala nga malaaya kubanga ekyo kyali.’ 44 Ne beebaka naye. Ng’abasajja bwe beebaka ne malaaya, bwe batyo beebaka n’abakazi abo abagwenyufu, Okola ne Okoliba. 45 (BF)Naye abatuukirivu balisalira omusango abakazi abenzi era abassi kubanga benzi era n’engalo zaabwe zijjudde omusaayi.
46 (BG)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ‘Mukuŋŋaanye ekibiina ekinene mubaleeteko entiisa era mubanyage. 47 (BH)Ekibiina ekyo kiribakuba amayinja ne babatemaatema n’ebitala; balitta batabani baabwe ne bawala baabwe ne bookya n’ennyumba zaabwe.’
48 (BI)“Bwe ntyo bwe ndikomya obukaba mu nsi, abakazi bonna bakitwale ng’ekyokulabula, baleme okukola ebyo bye mwakola. 49 (BJ)Mulisasulibwa olw’obukaba bwammwe, era mulibonerezebwa olw’ebibi byammwe eby’okusinza bakatonda abalala, mulyoke mumanye nga nze Mukama Katonda.”
Okulamusa
1 (A)Nze Peetero omutume wa Yesu Kristo, mpandiikira abalonde ba Katonda, abaasaasaanira mu Ponto, ne mu Ggalatiya ne mu Kapadokiya, ne mu Asiya ne mu Bisuniya, 2 (B)Katonda Kitaffe be yasooka okumanya ne batukuzibwa Omwoyo olw’okugondere Yesu Kristo, era ne balongoosebwa n’omusaayi ggwe, ogwabamansirwako.
Ekisa n’emirembe byeyongerenga mu mmwe.
Essuubi Eddamu
3 (C)Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo atenderezebwe. Olw’okusaasira kwe okungi twazaalibwa mu bulamu obulina essuubi omulundi ogwokubiri, olw’okuzuukira kwa Yesu Kristo mu bafu. 4 (D)Bw’atyo n’atusuubiza omugabo mu busika, ogw’olubeerera ogutakyusa langi era ogutafuma, gw’atuterekedde mu ggulu. 5 (E)Era Katonda, mu buyinza bwe, alibakuuma olw’okukkiriza kwammwe, n’abatuusa mu bulokozi obwateekebwateekebwa okubikkulirwa mu biro eby’enkomerero. 6 (F)Ekyo, kijja kubasanyusa nnyo newaakubadde nga mujja kusanga ebizibu bya ngeri nnyingi okumala akaseera. 7 (G)Kubanga okugezesebwa kw’okukkiriza kwammwe, kwa muwendo mungi nnyo okusinga zaabu egezebwa mu muliro n’ekakasibwa, kulyoke kusaanire ettendo n’ekitiibwa n’okugulumizibwa ku lunaku luli Mukama waffe Yesu Kristo lw’alirabikirako. 8 (H)Newaakubadde nga Yesu oyo temumulabangako, kyokka mumwagala, era ne kaakano temumulaba naye mumukkiriza ne mujjula essanyu eritayogerekeka ne mumugulumiza, 9 (I)era ekiva mu kukkiriza kwammwe kwe kulokolebwa kw’emyoyo gyammwe.
10 (J)Bannabbi baafuba nga bwe baasobola okuvumbula era n’okutegeera okulokolebwa kuno, ne bategeeza eby’omu maaso ku kisa kya Katonda ky’agenda okubawa. 11 (K)Omwoyo wa Kristo ng’ali mu bo, yategeeza eby’omu maaso ku kubonaabona kwa Kristo era n’ekitiibwa ekiriddirira, ne bafuba okuvumbula omuntu gwe kirituukako n’ekiseera we kirituukira. 12 (L)Bannabbi bano Katonda yabalaga nti ebyo tebabikola ku lwabwe, wabula ku lwammwe. Era kaakano Enjiri ebuuliddwa gye tuli ffenna. Yatubuulirwa mu maanyi ga Mwoyo Mutukuvu eyava mu ggulu. Bino by’ebintu ne bamalayika bye bayaayaanira okutegeera.
Twayitibwa kuba Batukuvu
13 Noolwekyo mwetegeke nga muli bateefu, nga mutadde emitima gyammwe ku kisa kya Katonda ekiribaweebwa, Yesu Kristo bw’alirabika. 14 (M)Mugonderenga Katonda, kubanga muli baana be, muleme kufugibwa okwegomba kwammwe okubi okw’edda, kwe mwatambulirangamu mu butamanya. 15 (N)Kale, nga Katonda eyabayita bw’ali omutukuvu, nammwe mubeerenga batukuvu mu byonna bye mukola. 16 (O)Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Mubenga batukuvu, kubanga nze ndi mutukuvu.”
17 (P)Mujjukire nti Kitammwe gwe musaba, asalira omusango buli muntu awatali kusaliriza, musaana mumusseemu ekitiibwa, nga mwetwala ng’abagenyi ku nsi kuno. 18 (Q)Kubanga mumanyi nti mwanunulibwa mu mpisa zammwe embi ezaava ku bajjajjammwe. Temwanunulibwa na bintu ebiggwaawo nga ffeeza oba zaabu. 19 (R)Wabula mwanunulibwa n’omusaayi gwa Kristo ogw’omuwendo omungi ennyo, ogw’omwana gw’endiga ogutaliiko kamogo oba ebbala. 20 (S)Kristo yategekebwa dda nga n’ensi tennatondebwa, kyokka mu nnaku zino ezaakayita n’alabisibwa ku lwammwe. 21 (T)Mu ye, mwe mwayita okukkiriza Katonda eyamuzuukiza mu bafu, n’amuwa ekitiibwa, era okukkiriza kwammwe n’okusuubira kwammwe kyebivudde binywerera ku Katonda.
22 (U)Kale kaakano nga bwe mumaze okutukuza emyoyo gyammwe olw’okukkiriza amazima, ne mwagalanira ddala mu luganda lwennyini, mweyongere okwagalana n’omutima ogutaliimu bukuusa. 23 (V)Kubanga okusinziira mu kigambo kya Katonda ekiramu era eky’olubeerera, mwazaalibwa omulundi ogwokubiri. 24 Kubanga,
“Abantu bonna bali ng’omuddo,
n’ekitiibwa kyabwe kiri ng’ekimuli ky’omuddo.
Omuddo gukala, ekimuli kyagwo ne kigwa.
25 (W)Naye ekigambo kya Mukama Katonda kibeerera emirembe gyonna.”
Era ekigambo ekyo y’Enjiri eyababuulirwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.