Add parallel Print Page Options

(A)Ne weekuba kalifuuwa omuyitirivu
    ng’ogenda okutwala amafuta ag’omuzeeyituuni ewa Moleki katonda wo,
n’otuma ababaka bo ewala ennyo banoonye bakatonda,
    kumpi batuuke n’emagombe.

Read full chapter

Okufa kwa Yezeberi

30 (A)Yeeku n’agenda Yezeberi gye yali, Yezeberi n’akimanya, n’asiiga amaaso ge, n’alongoosa enviiri ze, n’atunula ebweru ng’asinziira mu ddirisa.

Read full chapter

30 (A)Okola ki ggwe,
    ggwe eyayonoonebwa?
    Lwaki oyambala engoye entwakaavu,
ne weeteekako eby’obugagga ebya zaabu,
    n’amaaso n’ogasiiga langi?
Omala biseera nga weeyonja.
    Baganzi bo bakunyoomoola; era baagala kukutta.

Read full chapter

13 (A)Wayonjebwa ne zaabu n’effeeza, n’engoye zo zaali za linena, n’ebyambalo byo byali byamuwendo mungi era nga biriko omudalizo. Walyanga emmere ey’obutta obulungi, n’omubisi gw’enjuki n’omuzigo ogw’omuzeyituuni. Walungiwa nnyo n’otuuka ku mwaliiro ery’obwa kabaka omukazi. 14 (B)Ettutumu lyo lyabuna mu mawanga olw’obulungi bwo, kubanga nakuwa ekitiibwa kyange, bw’ayogera Mukama Katonda.

15 (C)“ ‘Naye weesiga obulungi bwo, n’okozesa ettutumu lyo okukola obwenzi, n’ofuka obukaba bwo ku buli eyayitangawo obulungi bwo ne bufuuka bubwe. 16 (D)Waddira ebimu ku byambalo byo ne weekolera ebifo ebigulumivu nga byamabala mangi, gye wakoleranga obwenzi bwo. Ebintu bwe bityo tebikolebwa, era tebikolebwanga. 17 (E)Ate era waddira emikuufu emirungi gye nnali nkuwadde, egyakolebwa mu zaabu n’effeeza bye nakuwa, ne weekolera bakatonda abalala abali mu bifaananyi eby’ekisajja, bw’otyo n’okola eby’obwenzi nabyo, 18 n’oddira ebyambalo byo ebiriko emidalizo n’obibikkako, n’oteeka omuzigo gwange n’obubaane bwange mu maaso gaabyo. 19 (F)N’emmere gye nnali nkuwadde, obuwunga obw’obutta, n’omuzigo ogw’omuzeyituuni n’omubisi gw’enjuki bye nnali nkuwadde okulya, wabiwaayo okuba ebiweebwayo eby’evvumbe eddungi eri bbyo. Era bw’otyo bwe wakola, bw’ayogera Mukama Katonda.

Read full chapter