Add parallel Print Page Options

22 (A)Era bwe weebuuza nti,
    “Lwaki kino kintuseeko?”
Olw’ebibi byo ebingi
    engoye zo kyezivudde ziyuzibwa,
    era omubiri gwo ne gubonerezebwa.

Read full chapter

18 (A)Olunaku lujja Mukama lwaliggya ku bakazi b’omu Yerusaalemi ebintu byonna ebibaleetera amalala, ebikomo by’oku magulu, ebitambaala ebibikka ku mitwe, n’obukuufiira, 19 ebyokumatu, ebyambalwa mu bulago, n’obutimba bw’omu maaso, 20 (B)ebyokumitwe, ebyokumikono, ebyomukiwato, 21 empeta ez’oku ngalo n’ez’omu nnyindo, 22 engoye ennungi, n’eminagiro, n’amaganduula, n’obusawo, 23 n’endabirwamu, n’engoye ez’obutimba, n’eza linena, n’ebitambaala eby’oku mitwe ebinaanikiddwa n’amayinja ag’omuwendo, n’engoye ezibabikka.

Read full chapter

39 (A)N’oluvannyuma ndikuwaayo mu mukono gw’abaganzi bo; balimenyaamenya ebifo byo ebigulumivu, ne bazikiriza amasabo go. Era balikwambula ebyambalo byo, ne batwala eby’omuwendo byo, ne bakuleka ng’oli bukunya.

Read full chapter