Read the New Testament in 24 Weeks
11 (A)Mundabireko nga nange bwe ndabira ku Kristo.
Okubikka ku mutwe mu kusinza
2 (B)Mbatenda nnyo Olw’okunzijjukiza mu bintu byonna era n’olw’okunyweza ebyo bye nabayigiriza. 3 (C)Kyokka njagala mutegeere nti Kristo ye mutwe gwa buli muntu, n’omusajja gwe mutwe gwa mukazi we. Era Katonda ye mutwe gwa Kristo. 4 Noolwekyo omusajja yenna bw’asaba oba bw’ayogera eby’obunnabbi nga taggyeko kibikka ku mutwe gwe, aba aswaza omutwe gwe. 5 (D)N’omukazi bw’asaba oba n’ayogera eby’obunnabbi nga tabisse mutwe gwe aba tawadde bba kitiibwa kubanga kyekimu n’oyo amwereddwako enviiri. 6 Obanga omukazi tayagala kubikka ku mutwe gwe, kale enviiri ze azisalengako. Naye obanga omukazi kimuswaza enviiri ze okuzisalako oba okuzimwako, kale ateekwa omutwe gwe okugubikkangako. 7 (E)Omusajja tasaana kubikka ku mutwe gwe, kubanga ye kye kifaananyi n’ekitiibwa kya Katonda; naye omukazi ye ky’ekitiibwa ky’omusajja. 8 (F)Kubanga omusajja teyatondebwa ng’aggibwa mu mukazi, wabula omukazi ow’olubereberye ye yaggyibwa mu musajja. 9 (G)Era omusajja teyatondebwa lwa mukazi, wabula omukazi ye yatondebwa olw’omusajja. 10 Kale olw’ensonga eyo, omukazi kimusaanira okubikkanga ku mutwe gwe, okulaga nti afugibwa era ne bamalayika bakirabe. 11 Kyokka mu Mukama waffe, omukazi n’omusajja, buli omu yeetaaga munne. 12 (H)Kuba, newaakubadde ng’omukazi ava mu musajja, naye buli musajja azaalibwa mukazi; kyokka byonna biva eri Katonda.
13 Kale nammwe bennyini mwebuuze obanga kisaana omukazi okusaba Katonda nga tabisse ku mutwe. 14 Obuzaaliranwa tebubalaga ng’omusajja bw’aba n’enviiri empanvu tekimuweesa kitiibwa, 15 ate ng’omukazi ye zimuweesa kitiibwa? Kubanga yaweebwa enviiri empanvu okumubikkako. 16 (I)Naye obanga waliwo ayagala okuwakanya bino, tetulinaayo nkola nga eyo, wadde mu Kkanisa za Katonda.
Ekyekiro kya Mukama waffe
17 (J)Mu bino bye ŋŋenda okubalagira temuli kya kubatenda, kubanga enkuŋŋaana zammwe zivaamu bibi okusinga ebirungi. 18 (K)Ekisooka bwe mukuŋŋaana ng’ekibiina, mwesalaasalamu ebitundu, era nzikiriza ng’ebimu ku ebyo bituufu. 19 (L)Naye okwesalaasalamu okwo kusaana kubeewo abatuufu balyoke bategeerekeke. 20 Bwe mukuŋŋaana ekyo kye mulya si kye kyekiro kya Mukama waffe. 21 (M)Kubanga bwe muba mulya buli omu alya ku lulwe, talinda banne. Abamu basigala bakyali bayala, ng’abalala bo batamidde.
22 (N)Temulina wammwe gye muyinza okuliira n’okunywera? Oba munyooma ekkanisa ya Katonda, ne muswaza abaavu? Mbagambe ki? Mbatende olw’ekyo? Nedda na katono, sijja kubatenda. 23 (O)Kubanga Mukama yennyini kye yampa ky’ekyo kye nabayigiriza nti, Mukama waffe Yesu, mu kiro kiri kye baamuliiramu olukwe, yaddira omugaati, 24 ne yeebaza Katonda, n’agumenyaamenyamu, n’agamba nti, “Guno mubiri gwange, oguweebwayo ku lwammwe, mugutoole mulye, mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga.” 25 (P)Era mu ngeri y’emu bwe baamala okulya, yaddira ekikompe n’agamba nti, “Ekikompe kino y’endagaano empya ekoleddwa Katonda nammwe, ekakasiddwa n’omusaayi gwange, mutoole munywe, mukolenga bwe mutyo buli lwe munaakinywangako okunzijukiranga.” 26 Kubanga buli lwe munaalyanga omugaati guno ne buli lwe munaanywanga ku kikompe, munaategeezanga abantu okufa kwa Mukama waffe okutuusa Lw’alijja.
27 (Q)Noolwekyo buli alya omugaati guno oba anywa ku kikompe kya Mukama waffe nga tasaanidde, azza omusango ku mubiri gwa Mukama waffe, ne ku musaayi gwe. 28 (R)Noolwekyo omuntu amalenga kwekebera, alyoke alye ku mugaati n’okunywa ku kikompe. 29 Kubanga buli alya era anywa nga tafaayo kutegeera makulu ga mubiri gwa Mukama waffe, aba yeesalidde yekka omusango okumusinga. 30 Mu mmwe kyemuvudde mubaamu abanafu n’abalwadde, era bangi bafudde. 31 (S)Naye singa tusooka okwekebera, tetwandisaliddwa musango kutusinga. 32 (T)Kyokka Mukama bw’atusalira omusango aba atukangavvula tuleme kusalirwa musango awamu n’ensi. 33 Kale baganda bange, bwe mukuŋŋaananga awamu okulya, buli omu alinde munne. 34 (U)Era singa wabaawo alumwa enjala amale okulya eka, bwe mukuŋŋaana muleme kwereetako musango. N’ebirala ndibirongoosa, we ndijjira wonna.
Ebirabo bya Mwoyo Mutukuvu
12 (V)Abooluganda, ssaagala mmwe obutategeera ebikwata ku birabo ebya Mwoyo. 2 (W)Mumanyi nti bwe mwali Abaamawanga mwabuzibwabuzibwanga ne mutwalibwa eri ebifaananyi ebitayogera. 3 (X)Noolwekyo njagala mutegeere nti tewali muntu aba ne Mwoyo wa Katonda n’ayogera nti, “Yesu akolimirwe.” Era tewali n’omu asobola okwogera nti, “Yesu ye Mukama waffe,” wabula ku bwa Mwoyo Mutukuvu.
4 (Y)Waliwo ebirabo bya ngeri nnyingi, naye Mwoyo abigaba y’omu. 5 Waliwo engeri nnyingi ez’okuweererezaamu, naye Mukama aweerezebwa y’omu. 6 (Z)Waliwo okukola kwa ngeri nnyingi kyokka Katonda asobozesa bonna mu byonna bye bakola y’omu.
7 (AA)Mwoyo Mutukuvu yeeragira mu buli omu olw’okugasa bonna. 8 (AB)Omu Omwoyo amuwa okwogera ekigambo eky’amagezi, omulala Omwoyo oyo omu n’amuwa okuyiga n’ategeera. 9 (AC)Omulala Omwoyo y’omu n’amuwa okukkiriza, n’omulala n’amuwa obuyinza okuwonyanga abalwadde. 10 (AD)Omu, Omwoyo amuwa okukolanga ebyamagero, n’omulala n’amuwa okwogera eby’obunnabbi, ate omulala n’amuwa okwawulanga emyoyo emirungi n’emibi. Omulala amuwa okwogera ennimi ezitali zimu, n’omulala n’amuwa okuzivvuunula. 11 (AE)Naye Omwoyo akola ebyo byonna y’omu, y’agabira buli muntu ng’Omwoyo oyo bw’ayagala.
Omubiri guli gumu naye ebitundu byagwo bingi
12 (AF)Kuba omubiri nga bwe guli ogumu, ne guba n’ebitundu bingi, ate ebitundu byonna ne byegatta ne biba omubiri gumu, kale, ne Kristo bw’ali bw’atyo. 13 (AG)Bwe tutyo ffenna twabatizibwa mu Mwoyo omu, ne tufuuka omubiri gumu, oba Bayudaaya, oba baamawanga, oba baddu, oba ba ddembe, era ne tunywa ku Mwoyo oyo omu.
14 Kubanga omubiri tegulina kitundu kimu, naye gulina ebitundu bingi. 15 Singa ekigere kigamba nti, “Nze siri mukono, noolwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo tekikifuula butaba kitundu kya mubiri. 16 Era singa okutu kugamba nti, “Siri liiso, noolwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo kikiggyako okubeera ekitundu ky’omubiri? 17 Kale singa omubiri gwonna gwali liiso, olwo okuwulira kwandibadde wa? Era singa omubiri gwonna gwali kutu, olwo okuwunyiriza kwandibadde wa? 18 (AH)Naye kaakano Katonda yakola ebitundu bingi eby’enjawulo n’alyoka abifuula omubiri gwaffe nga bwe yayagala. 19 Singa byonna byali ekitundu kimu olwo omubiri gwandibadde wa? 20 (AI)Naye kaakano ebitundu bingi naye ng’omubiri guli gumu.
21 Eriiso terisobola kugamba mukono nti, “Ggwe sikwetaaga,” oba n’omutwe teguyinza kugamba bigere nti, “Mmwe sibeetaaga.” 22 Era ebitundu ebyo eby’omubiri ebirabika ng’ebisinga obunafu bye byetaagibwa ennyo. 23 Era n’ebitundu ebyo eby’omubiri bye tulowooza obutaba bya kitiibwa bye bisinga okwambazibwa, n’ebitundu ebitukwasa ensonyi bye tusinga okulabirira, 24 so ng’ebitundu byaffe ebisinga okwolekebwa mu bantu tebikyetaaga. Bw’atyo Katonda bwe yakola omubiri, ebitundu ebyandibadde biragajjalirwa n’abyongera ekitiibwa, 25 olwo omubiri ne guteeyawulamu naye ebitundu byonna, ne biyambagana byokka ne byokka. 26 Ekitundu ekimu bwe kirumwa, ebitundu ebirala byonna birumirwa. Era ekitundu ekimu bwe kigulumizibwa, ebitundu byonna bijaguliza wamu nakyo.
27 (AJ)Kale mwenna awamu muli mubiri gwa Kristo, era buli omu ku mmwe kitundu kyagwo. 28 (AK)Era abamu Katonda yabateekawo mu kkanisa: abasooka be batume, abookubiri be bannabbi, n’abookusatu be bayigiriza, ne kuddako abakola eby’amagero, ne kuddako abalina ebirabo eby’okuwonya endwadde, n’okuyamba abali mu kwetaaga, abakulembeze, era n’aboogezi b’ennimi. 29 Bonna batume? Bonna bannabbi? Bonna bayigiriza? Bonna bakola ebyamagero? 30 (AL)Bonna balina ekirabo ky’okuwonya endwadde? Bonna boogera mu nnimi? Bonna bavvuunula ennimi? 31 (AM)Kale mwegombenga ebirabo ebisinga obukulu, naye ka mbalage ekkubo eddungi erisinga gonna.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.