Read the New Testament in 24 Weeks
Ekitabo ky’Olulyo lwa Yesu Kristo
1 (A)Luno lwe lulyo lwa Yesu Kristo, omwana wa Dawudi omwana wa Ibulayimu:
2 (B)Ibulayimu yazaala Isaaka,
Isaaka n’azaala Yakobo,
Yakobo n’azaala Yuda ne baganda be.
3 (C)Yuda n’azaala Pereezi ne Zeera mu Tamali,
Pereezi n’azaala Kezirooni,
Kezirooni n’azaala Laamu.
4 Laamu yazaala Aminadaabu,
Aminadaabu n’azaala Nasoni,
Nasoni n’azaala Salumooni.
5 Salumooni yazaala Bowaazi mu Lakabu,
Bowaazi n’azaala Obedi mu Luusi.
Obedi n’azaala Yese.
6 (D)Yese yazaala Kabaka Dawudi.
Dawudi n’azaala Sulemaani mu eyali muka Uliya.
7 Sulemaani yazaala Lekobowaamu,
Lekobowaamu n’azaala Abiya,
Abiya n’azaala Asa.
8 Asa n’azaala Yekosafaati,
Yekosafaati n’azaala Yolaamu,
Yolaamu n’azaala Uzziya.
9 Uzziya n’azaala Yosamu,
Yosamu n’azaala Akazi,
Akazi n’azaala Keezeekiya.
10 (E)Keezeekiya n’azaala Manaase,
Manaase n’azaala Amosi,
Amosi n’azaala Yosiya.
11 (F)Yosiya n’azaala Yekoniya ne baganda be mu kiseera eky’okutwalibwa e Babulooni.
12 (G)Nga bamaze okutwalibwa e Babulooni:
Yekoniya n’azaala Seyalutyeri,
Seyalutyeri n’azaala Zerubbaberi.
13 Zerubbaberi n’azaala Abiwuudi,
Abiwuudi n’azaala Eriyakimu,
Eriyakimu n’azaala Azoli.
14 Azoli n’azaala Zadooki,
Zadooki n’azaala Akimu,
Akimu n’azaala Eriwuudi.
15 Eriwuudi n’azaala Eriyazaali,
Eriyazaali n’azaala Mataani,
Mataani n’azaala Yakobo.
16 (H)Yakobo n’azaala Yusufu, oyo ye bba wa Maliyamu eyazaala Yesu ayitibwa Kristo.
17 Noolwekyo emirembe gyonna okuva ku Ibulayimu okutuuka ku Dawudi gyali kkumi n’ena, era okuva ku Dawudi okutuuka ku kuwaŋŋaangusibwa e Babulooni, emirembe kkumi n’ena, era okuva ku kuwaŋŋaangusibwa e Babulooni okutuuka ku Kristo, nagyo emirembe kkumi n’ena.
Okuzaalibwa kwa Yesu
18 (I)Okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwali bwe kuti: Maliyamu nnyina bwe yali ng’akyayogerezebwa Yusufu, era nga tebanaba kufumbiriganwa n’alabika ng’ali lubuto ku bwa Mwoyo Omutukuvu. 19 (J)Awo Yusufu eyali amwogereza, olwokubanga yali muntu mulungi n’asalawo mu mutima gwe okumuleka, naye ng’ayagala akikole mu kyama aleme kukwasa Maliyamu nsonyi.
20 Naye bwe yali ng’agalamidde ku kitanda kye ng’akyabirowoozaako, n’afuna ekirooto; n’alaba malayika wa Mukama ng’ayimiridde w’ali, n’amugamba nti, “Yusufu, omwana wa Dawudi, totya kutwala Maliyamu okuba mukazi wo! Kubanga olubuto lw’alina yalufuna ku bwa Mwoyo Mutukuvu. 21 (K)Era alizaala Omwana wabulenzi, olimutuuma erinnya Yesu, (amakulu nti, ‘Omulokozi’) kubanga y’alirokola abantu bonna mu bibi byabwe.”
22 Bino byonna byabaawo kisobole okutuukirira ekyayogerwa Mukama ng’ayita mu nnabbi we ng’agamba nti, 23 (L)“Laba omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, alizaala omwana wabulenzi, era aliyitibwa Emmanweri.” Amakulu gaalyo nti, “Katonda ali naffe.”
24 Yusufu bwe yazuukuka, n’akola nga Malayika bwe yamulagira, n’atwala Maliyamu okuba mukazi we. 25 (M)Naye Yusufu n’atamumanya okutuusa lwe yamala okuzaala Omwana. Yusufu n’amutuuma erinnya Yesu.
Okukyala kw’Abagezigezi
2 (N)Yesu bwe yazaalibwa mu kibuga Besirekemu eky’omu Buyudaaya, ku mulembe gwa Kabaka Kerode, abasajja abagezigezi, abaava ebuvanjuba ne bajja mu Yerusaalemi, nga babuuza nti, 2 (O)“Aliwa eyazaalibwa nga Kabaka w’Abayudaaya? Kubanga twalaba emmunyeenye ye nga tuli mu buvanjuba, era tuzze okumusinza.”
3 Awo Kabaka Kerode bwe yabiwulira ne bimweraliikiriza nnyo, era ne bonna abaali mu Yerusaalemi. 4 N’ayita bakabona abakulu bonna n’abawandiisi b’amateeka n’abeebuuzaako ekifo Kristo gye yali agenda okuzaalibwa. 5 (P)Ne bamuddamu nti, “Mu Besirekemu eky’omu Buyudaaya, kyawandiikibwa nnabbi nti,
6 (Q)“ ‘Naawe Besirekemu ekya Yuda,
toli mutono mu balangira ba Yuda,
kubanga omufuzi aliva mu ggwe,
alifuga abantu bange Isirayiri.’ ”
7 Awo Kerode n’atumya Abagezigezi kyama, n’ababuuza ebiro emmunyeenye bye yalabikiramu. 8 N’abasindika e Besirekemu ng’agamba nti, “Mugende mubuulirize ebikwata ku mwana. Bwe mumulaba, mukomeewo muntegeeze, nange ŋŋende musinze!”
9 Bwe baamala okuwulira Kabaka bye yabagamba ne bagenda. Bwe baafuluma, emmunyeenye eri gye baalaba ebuvanjuba n’eddamu okubalabikira n’okubakulembera, okutuusa lwe yayimirira waggulu Omwana w’ali. 10 Bwe baalaba emmunyeenye ng’eyimiridde, essanyu lyabwe ne libeera lingi nnyo! 11 (R)Bwe baayingira mu nnyumba[a] ne balaba Omwana ne Maliyamu nnyina ne bavuunama ne basinza Omwana. Ne basumulula ensawo zaabwe, ne bamutonera ebirabo, zaabu, n’obubaane n’omugavu. 12 (S)Awo bwe baalabulibwa mu kirooto baleme kuddayo wa Kerode, bwe batyo ne baddayo ewaabwe nga bayita mu kkubo eddala.
Okuddukira e Misiri
13 (T)Awo abagezigezi bwe baamala okugenda, malayika wa Mukama n’alabikira Yusufu mu kirooto n’amugamba nti, “Golokoka oddusize Omwana ne nnyina e Misiri, mubeere eyo okutuusa lwe ndibalagira okudda. Kubanga Kerode ajja kunoonya Omwana ng’ayagala okumutta.” 14 Ekiro ekyo n’asituka n’atwala Omwana ne nnyina e Misiri. 15 (U)Ne babeera eyo okutuusa Kerode bwe yafa. Mukama kye yayogerera mu nnabbi we ne kituukirira, bwe yagamba nti:
“Nayita Omwana wange okuva mu Misiri.”
Okutta Abaana Abato
16 Kerode bwe yalaba ng’Abagezigezi banyoomye ekiragiro kye, n’asunguwala nnyo, n’atuma abaserikale e Besirekemu ne mu byalo byakyo batte abaana bonna aboobulenzi ab’emyaka ebiri n’abatannagiweza, ng’asinziira ku bbanga abagezigezi lye baali bamutegeezeza mwe baalabira emmunyeenye. 17 Awo ekigambo nnabbi Yeremiya kye yayogera ne kiryoka kituukirira ng’agamba nti,
18 (V)“Eddoboozi lyawulirwa mu Laama,
okukuba emiranga n’okukungubaga okunene,
nga Laakeeri akaabira abaana be,
nga tewakyali asobola kumuwooyawooya,
kubanga bonna baweddewo.”
Okuva e Misiri Okudda e Nazaaleesi
19 (W)Kerode bwe yamala okufa malayika wa Mukama n’alabikira Yusufu mu kirooto e Misiri, 20 n’amugamba nti, “Golokoka ozzeeyo Omwana ne nnyina mu Isirayiri, kubanga abaali baagala okutta Omwana bafudde.”
21 Yusufu n’asitukiramu n’azzaayo Omwana ne nnyina mu nsi ya Isirayiri. 22 (X)Naye bwe yatuuka mu kkubo n’atya nnyo bwe yawulira nga Alukerawo[b] mutabani wa Kerode ye yali alidde obwakabaka. Mukama n’amulabulira nate mu kirooto aleme kugenda Buyudaaya, bw’atyo n’alaga e Ggaliraaya 23 (Y)n’atuuka mu kibuga ky’e Nazaaleesi, ne babeera omwo. Ebigambo bya bannabbi bye baayogera biryoke bituukirire nga bagamba nti: “Aliyitibwa Munnazaaleesi.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.