Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Read the New Testament in 24 Weeks

A reading plan that walks through the entire New Testament in 24 weeks of daily readings.
Duration: 168 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Matayo 3-4

Yokaana Omubatiza Aluŋŋamya Ekkubo lya Mukama

(A)Mu nnaku ezo Yokaana Omubatiza n’ajja ng’abuulira mu ddungu ly’e Buyudaaya ng’agamba nti, (B)“Mwenenye, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu bunaatera okutuuka.” (C)Oyo nnabbi Isaaya gwe yayogerako ng’agamba nti,

“Mpulira eddoboozi ly’oyo ayogerera waggulu mu ddungu ng’agamba nti,
‘Mulongoose oluguudo lwa Mukama,
    muluŋŋamye amakubo ge!’ ”

(D)Ebyambalo bya Yokaana byakolebwa mu bwoya bwa ŋŋamira, era nga yeesibya lukoba lwa ddiba. N’emmere ye yali nzige na mubisi gwa njuki. Abantu bangi ne bava mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya mwonna ne mu bifo ebiriraanye Yoludaani ne bajja mu ddungu okuwulira by’abuulira. N’ababatiza mu mugga Yoludaani, nga baatula ebibi byabwe.

(E)Naye bwe yalaba Abafalisaayo bangi n’Abasaddukaayo nga bajja okubatizibwa n’abagamba nti, “Mmwe, abaana b’essalambwa, ani yabalabula okudduka obusungu bwa Katonda obugenda okujja? (F)Kale mubale ebibala ebiraga nti Mwenenyeza. Temulowooza mu mitima gyammwe nti, ‘Tuli bulungi kubanga tuli Bayudaaya, abaana ba Ibulayimu, tetufaayo, tetulina kye twetaaga.’ Ekyo tekibasigula. Mbategeeza nti, Katonda ayinza okufuula amayinja gano abaana ba Ibulayimu! 10 (G)Kaakano embazzi ya Katonda eteekeddwa ku buli kikolo kya muti, omuti ogutabala bibala birungi, gutemebwa gusuulibwe mu muliro.

11 (H)“Nze mbabatiza na mazzi okutuuka ku kwenenya, naye waliwo omulala ajja, oyo ye ansinga amaanyi era sisaanira na kukwata ngatto ze, oyo alibabatiza ne Mwoyo Mutukuvu n’omuliro. 12 (I)Ekikuŋŋunta kiri mu mukono gwe, alirongoosa egguuliro lye. Eŋŋaano aligitereka mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya mu muliro ogutazikira.”

Okubatizibwa kwa Yesu

13 (J)Awo Yesu n’ava e Ggaliraaya n’ajja ku mugga Yoludaani, abatizibwe Yokaana. 14 Naye Yokaana n’ayagala okugaana, n’agamba nti, “Nze neetaaga ggwe okumbatiza, naye ate gw’ojja gye ndi?”

15 Yesu n’amuddamu nti, “Kkiriza ombatize, kubanga kitugwanidde okutuukiriza obutuukirivu bwonna.” Awo Yokaana n’amukkiriza.

16 (K)Awo amangwago Yesu nga yakamala okubatizibwa nga yaakava mu mazzi, eggulu ne libikkuka n’alaba Omwoyo wa Katonda ng’amukkako mu kifaananyi ky’ejjiba. 17 (L)Eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.”

Okukemebwa kwa Yesu

Awo Yesu n’atwalibwa Mwoyo Mutukuvu mu ddungu okukemebwa Setaani. (M)N’amala ennaku amakumi ana ng’asiiba, nga talya, emisana n’ekiro, oluvannyuma enjala n’emuluma. (N)Setaani n’ajja gy’ali n’amugamba nti, “Obanga oli Mwana wa Katonda, lagira amayinja gano gafuuke emmere.”

(O)Naye Yesu n’amuddamu nti, “Kyawandiikibwa nti: ‘Omuntu tabeera mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.’ ”

(P)Awo Setaani n’amutwala mu kibuga ekitukuvu n’amussa ku kitikkiro kya Yeekaalu. (Q)N’amugamba nti,

“Obanga oli Mwana wa Katonda weesuule wansi
    kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Katonda aliweereza bamalayika be bakuwanirire mu mikono gyabwe
oleme okwekoona ekigere kyo ku jjinja.’ ”

(R)Yesu n’addamu Setaani nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Tokemanga Mukama Katonda wo.’ ”

Ate Setaani n’amutwala ku lusozi oluwanvu n’amulengeza ensi zonna n’obwakabaka bwamu n’ekitiibwa kyabwo kyonna, n’amugamba nti, “Bino byonna nnaabikuwa bw’onoovuunama n’onsinza.”

10 (S)Yesu n’addamu nti, “Vvaawo, genda Setaani. Kyawandiikibwa nti, ‘Osinzanga Mukama Katonda wo yekka, era gw’oweerezanga.’ ”

11 (T)Setaani n’amuviira n’agenda. Bamalayika ne bajja ne bamuweereza.

Yesu Atandika Okubuulira

12 (U)Yesu bwe yawulira nga Yokaana bamusibye mu kkomera n’agenda e Ggaliraaya. 13 (V)Bwe yava e Nazaaleesi n’agenda abeera e Kaperunawumu ekiri ku lubalama lw’ennyanja mu byalo by’e Zebbulooni n’e Nafutaali. 14 Kino ne kituukiriza ekyayogerwa nnabbi Isaaya ng’agamba nti,

15 “Ensi ya Zebbulooni n’ensi ya Nafutaali, okuliraana ennyanja,
    n’ebyalo ebiri emitala w’omugga Yoludaani,
    n’e Ggaliraaya ey’ekyengulu omuli bannaggwanga abangi,
16 (W)abantu abaatuulanga mu kizikiza,
    balabye Omusana mungi.
Abaatuulanga mu nsi ey’ekisiikirize eky’okufa,
    omusana gubaakidde.”

17 (X)Okuva mu kiseera ekyo Yesu n’atandika okubuulira nti, “Mwenenye, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.”

Okuyitibwa kw’Abayigirizwa Abaasooka

18 (Y)Yesu bwe yali ng’atambula ku lubalama lw’ennyanja y’e Ggaliraaya n’alaba abooluganda babiri: Simooni, gwe bayita Peetero, ne Andereya, nga basuula obutimba bwabwe mu nnyanja, kubanga baali bavubi. 19 (Z)Awo Yesu, n’abagamba nti, “Mujje mungoberere, nange ndibafuula abavubi b’abantu.” 20 Amangwago ne baleka awo obutimba bwabwe, ne bamugoberera.

21 (AA)Bwe yeeyongerayo katono, n’asanga abooluganda abalala babiri: Yakobo, ne Yokaana, nga batudde ne kitaabwe Zebbedaayo mu lyato nga baddaabiriza obutimba bwabwe, nabo n’abayita bamugoberere. 22 Amangwago, ne baleka awo kitaabwe mu lyato ne bagenda naye.

Yesu Awonya Abalwadde

23 (AB)Yesu n’abuna wonna mu Ggaliraaya ng’ayigiriza mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya ng’abuulira Enjiri ey’obwakabaka obw’omu ggulu, era ng’awonya buli ndwadde yonna n’obuyongobevu bwonna mu bantu. 24 (AC)Amawulire ag’ebyamagero bye yakolanga ne gatuuka mu Siriya yonna. Ne bamuleetera abayongobevu, n’abalina ebibabonyaabonya, n’ab’ensimbu n’abo abaaliko baddayimooni, abakoozimbye n’ab’endwadde endala ezitali zimu, bonna n’abawonya. 25 (AD)Ebibiina binene ne bimugoberera, abantu nga bava mu Ggaliraaya ne mu Dekapoli,[a] ne mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya yonna, n’emitala w’omugga Yoludaani.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.