New Testament in a Year
Yokaana Atemwako Omutwe
14 (A)Mu kiseera ekyo Kabaka Kerode bwe yawulira ettutumu lya Yesu 2 (B)n’agamba abaweereza be nti, “Oyo ye Yokaana Omubatiza azuukidde mu bafu, era y’akola eby’amagero.”
3 (C)Kuba Kerode yali amaze okukwata Yokaana n’amussa mu kkomera, kubanga Yokaana yamunenya olwa Kerodiya muka Firipo muganda we, 4 (D)kubanga Yokaana yagamba Kerode nti, “Si kituufu okusigula muka muganda wo n’omufuula owuwo.” 5 (E)Kerode yali ayagala kumutta naye n’atya abantu kubanga baalowooza Yokaana okuba nnabbi.
6 Olunaku lw’amazaalibwa ga Kerode bwe lwatuuka muwala wa Kerodiya n’azina nnyo ku mbaga n’asanyusa nnyo Kerode. 7 Awo Kerode n’asuubiza omuwala ng’alayira okumuwa kyonna ky’anaamusaba. 8 Naye bwe yaweebwa nnyina amagezi, n’agamba nti, “Mpeera wano omutwe gwa Yokaana Omubatiza ku lusaniya.” 9 Ekintu ekyo ne kinakuwaza nnyo kabaka. Naye olwokubanga yali yakisuubiza mu maaso g’abagenyi be, kyeyava alagira bagumuleetere. 10 (F)Ne bagenda mu kkomera, ne batemako Yokaana omutwe 11 ne baguleetera ku lusaniya ne baguwa omuwala, naye n’agutwalira nnyina.
12 (G)Abayigirizwa ba Yokaana ne banonayo omulambo gwe ne bagutwala ne baguziika, ne balyoka bagenda ne babikira Yesu. 13 Yesu bwe yabiwulira ebyo, n’asaabala mu lyato, n’abaako gy’alaga abeere yekka mu kyama. Naye abantu bangi nnyo bwe baakiwulira ne bava mu bibuga bingi, ne beekooloobya, ne bamugoberera nga bayita ku lukalu. 14 (H)Yesu bwe yava eyo n’alaba, abantu bangi n’abasaasira n’awonya abalwadde baabwe.
15 Obudde bwe bwawungeera abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamugamba nti, “Laba obudde buzibye ate tuli mu ddungu, ssiibula abantu bagende beegulire emmere mu bibuga.”
16 Naye Yesu n’abaddamu nti, “Tekyetaagisa kubasiibula, mmwe mubawe ekyokulya.”
17 (I)Ne bamuddamu nti, “Ffe tetulina kyakulya kiyinza kubamala, wabula tulinawo emigaati etaano gyokka n’ebyennyanja bibiri.”
18 N’abagamba nti, “Kale mubindetere wano.” 19 (J)N’alagira ekibiina kituule wansi ku muddo, n’addira emigaati etaano n’ebyennyanja ebibiri, n’atunula waggulu ne yeebaza, emigaati n’agimenyaamenyamu n’agiwa abayigirizwa ne batandika okugabula ekibiina. 20 Bonna ne balya ne bakkuta; obutundutundu obwafikkawo ne babukuŋŋaanya wamu ne bujjuza ebisero kkumi na bibiri! 21 Abantu bonna abaalya baali ng’enkumi ttaano nga totaddeeko bakazi na baana.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.