Add parallel Print Page Options

13 Bwe munaaba nga mwakayingira mu kibuga, mujja kumusisinkana nga tannayambuka kuliira[a] mu kifo ekigulumivu. Abantu tebajja kulya nga tannatuuka, kubanga alina okusabira ssaddaaka omukisa n’oluvannyuma abayitiddwa balyoke balye. Kaakano mwanguwe mugende, mujja kumusisinkana.”

Read full chapter

Footnotes

  1. 9:13 Ebijjulo byabeerangawo oluvannyuma lw’emikolo egimu egy’okuwaayo ssaddaaka

26 (A)Bwe baali balya, Yesu n’addira omugaati n’agusabira omukisa, n’agumenyaamenyamu n’agabira abayigirizwa be, n’agamba nti, “Mutoole mulye, kubanga guno gwe mubiri gwange.”

Read full chapter

Awo Yesu n’alagira abantu batuule wansi. N’addira emigaati omusanvu, ne yeebaza Katonda, n’agimenyaamenyamu, n’agiwa abayigirizwa be ne bagitwalira ekibiina ne babagabula.

Read full chapter

30 (A)Awo bwe yali ng’alya nabo n’addira omugaati, ne yeebaza n’agumenyamu, n’abawa.

Read full chapter

Obulamu bw’Abakkiriza

42 (A)Ne banyiikiranga okuyigirizibwa kw’abatume ne mu kussekimu, ne mu kumenya omugaati era ne mu kusaba.

Read full chapter

35 (A)Awo Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, n’addira omugaati, ne yeebaza Katonda mu maaso gaabwe bonna, n’amenya omugaati n’alya.

Read full chapter

(A)Kubanga buli kitonde kya Katonda kyonna kirungi, era tekizira, kasita kiriirwa mu kwebaza,

Read full chapter