Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okubala 21

Yaladi Kizikirizibwa

21 (A)Kabaka Omukanani ow’e Yaladi eyatuulanga mu bukiikaddyo, n’awulira nga Isirayiri ajjira mu kkubo lya Asalimu, n’alumba Isirayiri n’amulwanyisa n’awambamu abamu ku bo. Awo Isirayiri ne yeeyama eri Mukama Katonda obweyamo buno nti, “Bw’onoogabula abantu bano mu mukono gwaffe, ne tubawangula, ebibuga byabwe tulibizikiririza ddala.” Mukama Katonda n’awulira okwegayirira kw’Abayisirayiri, Abakanani n’abawaayo eri Abayisirayiri, ne bazikiriza ebibuga byabwe; ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya Koluma.

Omusota Ogw’Ekikomo

(B)Ne basitula okuva ku lusozi Koola, ne bakwata ekkubo eriraga ku Nnyanja Emyufu, balyoke beetooloole ensi ya Edomu. Abantu nga bali ku lugendo olwo ne batandika okuggwaamu obugumiikiriza. (C)Ne beemulugunyiza Musa ne Katonda nga boogera nti, “Lwaki mwatuggya mu Misiri okufiira wano mu malungu? Kubanga temuli mmere; so temuli mazzi; n’obumere buno bwe tufuna tubwetamiddwa.”

(D)Awo Mukama n’asindikira abantu emisota emikambwe egy’obusagwa, ne gibojja abantu, era abaana ba Isirayiri bangi ne bafa. (E)Abantu ne bajja awali Musa, ne bamugamba nti, “Twayonoona bwe twakwemulugunyiza ne twemulugunyiza ne Mukama Katonda, ne tuboogerako bubi. Tusaba weegayirire Mukama atuggyeko emisota gino.” Musa n’asabira abantu.

(F)Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Kolayo omusota ogufaanana nga giri emikambwe egy’obusagwa oguwanike ku mulongooti; buli anaabojjebwanga omusota, n’agutunulako, anaawonanga.” (G)Awo Musa n’aweesa omusota ogw’ekikomo, n’aguwanika ku mulongooti. Kale buli eyabojjebwanga omusota n’atunula ku musota ogw’ekikomo, ng’awona, ng’aba mulamu.

Olugendo Olwabatuusa mu Mowaabu

10 (H)Awo abaana ba Isirayiri ne basitula ne batambula okutuuka mu Yebosi, ne basiisira omwo. 11 (I)Ne basitula okuva mu Yebosi ne batambula, ne basiisira mu Lye-Abalimu, mu ddungu eryolekedde Mowaabu, ku luuyi olw’ebuvanjuba. 12 (J)Bwe baava awo, ne batambula okulaga mu kiwonvu kya Zeredi, ne basiisira omwo. 13 (K)Ne bava awo, ne batambula ne basiisira emitala w’omugga Alunoni, oguli mu ddungu erituuka ne ku nsalo ya Abamoli. Omugga Alunoni ye nsalo ya Mowaabu, eyawula Mowaabu n’Abamoli. 14 Kyekyava kiwandiikibwa mu Kitabo ky’Entalo za Mukama Katonda, nti,

“Vakebu ne Sufa,
n’ebiwonvu bya Alunoni, 15     (L)n’obuserengeto bw’ebiwonvu
ebituuka ku kibuga kya Ali,
    ne byesigama ku nsalo ya Mowaabu.”

16 (M)Bwe baava eyo ne batambula okutuuka e Beeri, olwo lwe luzzi Mukama we yagambira Musa nti, “Abantu bonna bakuŋŋaanye, mbawe amazzi.”

17 (N)Isirayiri n’alyoka ayimba oluyimba luno, nti,

“Weetale, ggwe Oluzzi!
    Muluyimbirire!
18 Muyimbe ku luzzi abalangira lwe baasima,
    abakungu n’abantu lwe baayiikuula,
    abakungu, emiggo gyabwe.”

19 Ne bava mu ddungu ne batambula okutuuka e Matana. Bwe baava e Matana ne balaga e Nakalieri, ne bava e Nakalieri ne balaga e Bamosi. 20 Bwe baava e Bamosi ne balaga mu kiwonvu ekiri mu matwale ga Mowaabu wansi w’olusozi Pisuga, kw’osinziira okulengera eddungu.

Sikoni Awangulwa

21 (O)Awo Isirayiri n’atuma ababaka eri Sikoni kabaka w’Abamoli ng’amugamba nti,

22 (P)“Tukkirize tuyite mu nsi yo. Tetuliyita mu birime wadde mu nnimiro z’emizabbibu, era tetugenda kunywa na ku mazzi agali mu nzizi. Tugenda kutambulira mu Luguudo lwa Kabaka olunene mwokka okutuusa lwe tuliva mu nsi yo.”

23 (Q)Naye Sikoni n’atakkiriza Isirayiri kuyita mu nsi ye. N’akuŋŋaanya eggye lye lyonna, n’agenda atabaale Isirayiri mu ddungu. Bwe yatuuka e Yakazi n’alwana ne Isirayiri. 24 (R)Isirayiri n’amufumita n’obwogi bw’ekitala, n’atwala ensi ye okuva ku mugga Alunoni okutuuka ku mugga Yaboki, n’atuukira ddala ku Bamoni, n’akoma awo, kubanga Abamoni baali ba maanyi nnyo ku nsalo yaabwe. 25 (S)Isirayiri n’awamba ebibuga byonna eby’Abamoli n’abeera omwo, ne Kesuboni n’akiwambiramu n’obubuga bwonna obwali bukyetoolodde. 26 (T)Kesuboni kye kyali ekibuga ekikulu ekya Sikoni Kabaka w’Abamoli kye yali awambye ng’amaze okulwana n’eyali kabaka wa Mowaabu n’amuggyako ensi ye yonna okutuuka ku Alunoni.

27 Abayiiya ennyimba kyebaava bayimba nti,

“Mujje e Kesuboni kizimbibwe;
    ekibuga kya Sikoni kizzibwewo.

28 (U)“Omuliro gwafuluma mu Kesuboni,
    ennimi z’omuliro ne ziva mu kibuga kya Sikoni.
Gwayokya Ali ekya Mowaabu,
    n’abatuula mu nsozi za Alunoni.
29 (V)Zikusanze, gwe Mowaabu!
    Muzikirizibbwa, mmwe abantu ba Kemosi!
Batabani be abawaddeyo eri kabaka Sikoni ow’Abamoli
    ne bafuuka ng’abanoonyi b’obubudamu
    ne bawala be, ng’abawambe.

30 (W)“Naye tubawangudde
    Kesuboni azikiridde okutuukira ddala ku Diboni.
Tubafufuggazza okutuuka ku Nofa,
    kwe kutuukira ddala ku Medeba.”

Ogi Awangulwa

31 Bw’atyo Isirayiri n’atuula mu nsi y’Abamoli.

32 (X)Musa bwe yamala okutuma abakessi e Yazeri, abaana ba Isirayiri ne bawamba ebibuga ebyali bikyebunguludde, ne bagobamu Abamoli abaabibeerangamu. 33 (Y)Ne bakyuka ne bambukira mu kkubo eriraga e Basani. Ogi kabaka w’e Basani n’eggye lye lyonna ne yeesowolayo okubatabaala mu lutalo olwali mu Ederei.

34 (Z)Mukama n’agamba Musa nti, “Tomutya; kubanga mugabudde mu mukono gwo, n’eggye lye lyonna awamu n’ensi ye; omukole nga bwe wakola Sikoni kabaka w’Abamoli eyafugiranga mu Kesuboni.”

35 Bwe batyo ne bamutta, ne batabani be, n’eggye lye lyonna, ne batawonyaawo muntu n’omu[a]. Ensi ye ne bagirya.

Zabbuli 60-61

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Eddanga ery’Endagaano.” Zabbuli ya Dawudi. Yakuyigiriza. Dawudi bwe yalwana n’Abaalamu abaava e Nakalayimu n’abaava e Zoba, Yowaabu n’akomawo n’atta Abayedomu omutwalo gumu mu enkumi bbiri mu Kiwonvu eky’Omunnyo.

60 (A)Otusudde, Ayi Katonda, otumazeemu amaanyi,
    otunyiigidde. Tukwegayiridde otuzze gy’oli.
(B)Ensi ogiyuuguumizza n’ogyasaayasa;
    tukwegayirira enjatika ozizibe, kubanga ekankana.
(C)Obadde mukambwe nnyo eri abantu bo;
    tuli nga b’owadde omwenge omungi ne gututagaza.
Naye abo abakutya obawanikidde ebbendera okuba akabonero akabakuŋŋaanya awamu,
    era akatiisa abalabe baabwe.

(D)Otulokole era otuyambe n’omukono gwo ogwa ddyo,
    abakwagala baleme kutuukibwako kabi konna.
(E)Katonda ayogedde ng’asinziira mu kifo kye ekitukuvu, n’agamba nti,
    “Mu buwanguzi, ndisala mu Sekemu,
    era n’ekiwonvu kya Sukkosi ndikigabanyagabanyaamu.
(F)Ensi ya Gireyaadi yange, n’eya Manase nayo yange.
    Efulayimu ye nkufiira ey’oku mutwe gwange;
    ate Yuda gwe muggo gwange ogw’okufuga.
(G)Mowaabu kye kinaabirwamu kyange,
    ate Edomu gye nkasuka engatto yange:
    ne ku Bafirisuuti ndeekaana mu buwanguzi.”

Ani anantuusa ku kibuga ekigumu ekinywevu?
    Ani anankulembera okunnyingiza mu Edomu?
10 (H)Si ggwe Ayi Katonda, atusudde,
    atakyatabaala na magye gaffe?
11 (I)Tudduukirire, nga tulwanyisa abalabe baffe,
    kubanga obuyambi bw’abantu temuli nsa.
12 (J)Bwe tunaabeeranga ne Katonda, tunaabanga bawanguzi,
    kubanga ye y’anaalinnyiriranga abalabe baffe wansi w’ebigere bye.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.

61 (K)Wulira okukaaba kwange, Ayi Katonda;
    wulira okusaba kwange.

(L)Nkukoowoola okuva ku nkomerero y’ensi,
    omutima gwange nga gugenda gunafuwa.
    Onkulembere ontuuse ku lwazi olunsinga obuwanvu mwe nnyinza okwekweka.
(M)Kubanga gw’oli kiddukiro kyange.
    Oli kigo eky’amaanyi mwe neekweka omulabe.

(N)Nnaabeeranga mu weema yo ennaku zonna;
    ndyoke nkuumirwenga mu biwaawaatiro byo.
(O)Kubanga ggwe, Ayi Katonda, owulidde obweyamo bwange:
    ompadde omugabo awamu n’abo abatya erinnya lyo.

(P)Oyongere ku nnaku z’obulamu bwa kabaka;
    emyaka gye gimutuuse mu mirembe mingi,
(Q)alyoke abeerenga mu maaso ga Katonda ennaku zonna.
    Okwagala kwo n’obwesigwa bwo bimukuumenga.

(R)Ndyoke nnyimbenga nga ntendereza erinnya lyo ennaku zonna,
    nga ntuukiriza obweyamo bwange buli lunaku.

Isaaya 10:5-34

Omusango Katonda gwalisalira Bwasuli

(A)“Zikusanze Bwasuli, omuggo gw’obusungu bwange,
    era omuggo gw’ekiruyi kyange.
(B)Mmutuma okulumba eggwanga eritatya Mukama,
    era mmusindika eri abantu abansunguwazizza,
abanyage, ababbire ddala,
    n’okubasambirira abasambirire ng’ebitoomi eby’omu nguudo.
(C)Naye kino si kye kigendererwa kye,
    kino si ky’alowooza.
Ekigendererwa kye kwe kuzikiriza,
    okumalirawo ddala amawanga mangi.
(D)‘Abaduumizi bange bonna tebenkana bakabaka?’ bw’atyo bw’ayogera.
    (E)‘Kalino tetwakizikiriza nga Kalukemisi,
ne Kamasi nga Alupaadi,
    ne Samaliya nga Ddamasiko?
10 (F)Ng’omukono gwange bwe gwawamba obwakabaka obusinza bakatonda ababajje,
    abasinga n’abo ab’omu Yerusaalemi ne Samaliya,
11 nga bwe nakola Samaliya ne bakatonda baabwe abalala
    si bwe nnaakola Yerusaalemi ne bakatonda baabwe ababajje?’ ”

12 (G)Mukama bw’alimaliriza omulimu gwe ku lusozi Sayuuni era ne ku Yerusaalemi n’alyoka abonereza kabaka w’e Bwasuli olw’okwewaana n’okuduula kwe n’entunula ye ey’amalala. 13 (H)Kubanga yayogera nti,

“ ‘Bino byonna mbikoze olw’amaanyi g’omukono gwange,
    era n’olw’amagezi gange,
kubanga ndi mukalabakalaba:
    Najjulula ensalo z’amawanga ne nnyaga obugagga bwabwe,
    ng’ow’amaanyi omuzira ne nzikakkanya bakabaka baabwe.
14 (I)Ng’omuntu bw’akwata mu kisu,
    omukono gwange gw’akunuukiriza ne gukwata mu bugagga bw’amawanga;
ng’abantu bwe balondalonda amagi agalekeddwawo,
    bwe ntyo bwe nakuŋŋaanya amawanga gonna,
tewali na limu lyayanjuluza ku kiwaawaatiro,
    newaakubadde eryayasamya akamwa kaalyo okukaaba.’ ”

15 (J)Embazzi eyinza okweyita ey’ekitalo okusinga oyo agitemesa?
    Omusumeeno gulyekuza okusinga oyo agusazisa?
Gy’obeera nti oluga luyinza okuwuuba omuntu alukozesa,
    oba omuggo okusitula oyo atali muti.
16 (K)Noolwekyo Mukama, Mukama Katonda Ayinzabyonna,
    kyaliva aweereza obukovvu bulye abasajja be abaagejja,
era wansi w’okujaganya n’ekitiibwa kye akoleeze wo omuliro
    ogwokya ng’oluyiira.
17 (L)Ekitangaala kya Isirayiri kirifuuka omuliro,
    n’Omutukuvu waabwe abeere olulimi lw’omuliro,
mu lunaku lumu kyokye kimalirewo ddala
    amaggwa ge n’emyeramannyo gye.
18 (M)Era kiryokya ne kimalirawo ddala ekitiibwa ky’ebibira bye,
    n’ennimiro ze, engimu,
    ng’omusajja omulwadde bwaggweerawo ddala.
19 (N)N’emiti egy’omu kibira kye egirisigalawo giriba mitono nnyo
    nga n’omwana ayinza okugibala.

Abalisigalawo ku Isirayiri

20 (O)Awo olulituuka ku lunaku olwo, abaliba bafisseewo ku Isirayiri,
    n’abo abaliba bawonye ku nnyumba ya Yakobo
nga tebakyeyinulira ku oyo[a]
    eyabakuba
naye nga beesigama ku Mukama Katonda,
    omutukuvu wa Isirayiri mu mazima.
21 (P)Ekitundu ekirifikkawo kirikomawo, ekitundu kya Yakobo
    kirikomawo eri Katonda ow’amaanyi.
22 (Q)Kubanga wadde abantu bo bangi ng’omusenyu gw’ennyanja,
    abalikomawo nga balamu baliba batono.
Okuzikirira kwo kwa kubaawo
    kubanga kusaanidde.
23 (R)Kubanga Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye alireeta
    enkomerero eteriiko kubuusabuusa nga bwe yateekateeka entuuko mu nsi yonna.

24 (S)Noolwekyo Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye kyava ayogera nti,

“Mmwe abantu bange ababeera mu Sayuuni,
    temutyanga Abasuli,
newaakubadde nga babakuba n’oluga
    era nga babagololera omuggo nga Abamisiri bwe baakola.
25 (T)Kubanga mu kaseera katono nnyo
    obusungu bwange gy’oli bujja kukoma era ekiruyi kyange kiribazikiriza.”

26 (U)Mukama Katonda ow’Eggye alibakuba n’akaswanyu
    nga bwe yakuba aba Midiyaani ku lwazi lw’e Olebu.
Era aligololera oluga lwe ku nnyanja
    nga bwe yakola e Misiri.
27 (V)Ku lunaku olwo, omugugu gwe guliggyibwa ku bibegabega byo,
    n’ekikoligo kye kive ku nsingo yo;
ekikoligo kirimenyebwa
    olw’obugevvu bwo.

28 (W)Laba eggye ly’omulabe lituuse liwambye Yagasi,
    liyise mu Migulooni,
    era mu Mikumasi gye balireka emigugu gyabwe.
29 (X)Bayise awavvuunukirwa, e Geba
    ne basulayo ekiro kimu,
Laama akankana,
    Gibea wa Sawulo adduse.
30 (Y)Kaaba n’eddoboozi ery’omwanguka ggwe omuwala wa Galimu!
    Ggwe Layisa wuliriza!
    Ng’olabye Anasosi!
31 Madumena adduse,
    abantu b’e Gebimu beekukumye.
32 (Z)Olwa leero bajja kusibira Nobu,
    balyolekeza ekikonde kyabwe
eri olusozi lwa Muwala wa Sayuuni,
    akasozi ka Yerusaalemi.

33 (AA)Laba, Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye,
    alitema amatabi n’entiisa
n’emiti emiwanvu n’emiwagguufu giritemerwa ddala,
    n’emiti emiwanvu girikkakkanyizibwa.
34 Era alitemera ddala n’embazzi ebisaka by’omu kibira;
    Lebanooni aligwa mu maaso g’oyo Ayinzabyonna.

Yakobo 4

Mweweeyo eri Katonda

(A)Kiki ekireeta entalo n’okulwanagana mu mmwe? Si lwa kubanga mu mitima gyammwe mujjudde ebintu bingi nnyo ebibi bye mwagala? Mwagala ebintu ne mutabifuna ne muba n’obuggya, ne mulyoka muttiŋŋana so ne mutasobola kubifuna, nga mulwana era nga muyomba kubanga mulemeddwa okubisaba. (B)Era ne bwe mubisaba, temubifuna kubanga ekigendererwa kyammwe kikyamu; mugenderera kubikozesa ku masanyu gokka.

(C)Mmwe abenzi temumanyi ng’okuba mikwano gy’ensi bulabe eri Katonda? Noolwekyo omuntu yenna bw’alondawo okuba mukwano gw’ensi afuuka mulabe wa Katonda. Oba mulowooza nti Ekyawandiikibwa tekiba na makulu bwe kigamba nti, “Omwoyo gwe yassa mu ffe, atulabirira n’okwagala okujjudde obuggya”? (D)Kyokka Omwoyo omukulu oyo era agaba ekisa kingi. Kyekiva kigamba nti,

“Katonda alwana n’ab’amalala
    naye abawombeefu abawa ekisa.”

(E)Kale, mugondere Katonda era mulwanyisenga Setaani, ajja kubaddukanga. (F)Musemberere Katonda, ne Katonda anaabasembereranga. Mulongoose engalo zammwe, mmwe abakozi b’ebibi, mutukuze emitima gyammwe, mmwe abalina emyoyo egitaaganaaga. (G)Mukungubage, mukube ebiwoobe era mukaabe. Okuseka kwammwe kufuuke okukungubaga, n’essanyu lifuuke okunakuwala. 10 Mwetoowazenga mu maaso ga Mukama waffe, naye alibagulumiza.

11 (H)Abooluganda, temugeyaŋŋananga, era buli omu aleme kwogera bubi ku munne newaakubadde okusalira munne omusango. Bwe mukikola muba mulwanyisa etteeka era musalira etteeka omusango. Bw’osalira etteeka omusango, oba totuukiriza tteeka wabula obeera musazi wa musango. 12 (I)Oyo yekka eyateeka amateeka y’asala omusango. Era y’asalawo okulokola oba okuzikiriza. Kale, osinziira ku ki okusalira muliraanwa wo omusango?

Okulabula ku kwekulumbaza

13 (J)Muwulire mmwe abagamba nti, “Leero oba enkya nzija kugenda egindi maleyo omwaka gumu, era ntandikeyo omulimu ogunanfunyisa ensimbi ennyingi.” 14 (K)Mumanyidde ku ki ebigenda okubaawo enkya oba obulamu bwammwe bwe bunaaba? Kubanga ebbanga lye mumala nga muli balamu liri ng’olufu olulabika ate mangwago ne lubula. 15 (L)Kino kye musaanira okwogera nti, “Katonda bw’anaaba ng’asiimye tuliba balamu ne tukola kino oba kiri.” 16 (M)Bwe mutakola mutyo muba mwekuluntaza olw’entegeka zammwe, songa okwekuluntaza okw’engeri eyo tekusanyusa Katonda. 17 (N)Okumanya ekituufu ekiteekwa okukolwa, naye ne mutakikola, kuba kwonoona.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.