Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Olubereberye 44

Ekikopo kya Ffeeza Kibula

44 (A)Awo Yusufu n’alagira omuweereza mu nnyumba ye nti, “Jjuza ensawo z’abasajja emmere nga bwe basobola okugyetikka, era oteeke ensimbi za buli omu mu nsawo ye. Era oteeke ekikopo kyange, ekya ffeeza, mu kamwa k’ensawo ya muto waabwe, wamu n’ensimbi ze ez’okugula emmere.” N’akola nga Yusufu bwe yamugamba.

Emmambya eba evaayo abasajja ne basiibulwa n’endogoyi zaabwe. (B)Bwe baali baakava mu kibuga Yusufu n’agamba omuweereza we nti, “Golokoka obagoberere bw’obatuukako obabuuze nti, ‘Lwaki musasudde ekibi olw’ebirungi? Lwaki mubbye ekikopo kyange ekya ffeeza? (C)Mu kino mukama wange si mwanywera, era si kyalaguza? Mu ekyo mukoze bubi.’ ”

Bwe yabatuukako n’abategeeza ebigambo ebyo. Ne bamugamba nti, “Mukama waffe lwaki ayogedde ebigambo ebyo? Olowooza tuli bantu ba ngeri ki abayinza okukola ekintu ng’ekyo? (D)Laba, ensimbi ze twasanga ku mimwa gy’ensawo zaffe twazikuddiza okuva mu nsi ya Kanani, kale twandisobodde tutya okubba ffeeza oba zaabu okuva mu nnyumba ya mukama wo? (E)Oyo gw’onookisanga nakyo mu ffe abaddu bo, afe, era naffe tuliba baddu ba mukama wange.”

10 N’abaddamu nti, “Kale kibeere nga bwe mwogedde, oyo anaasangibwa nakyo abeere muddu wange, naye abalala mu mmwe tewaabe abaako ky’avunaanwa.” 11 Amangwago buli omu nassa ensawo ye wansi n’agisumulula. 12 (F)N’alyoka abaaza ng’asookera ku asinga obukulu okutuuka ku asembayo obuto; ekikopo ne kisangibwa mu nsawo ya Benyamini. 13 (G)Awo ne bayuza engoye zaabwe, buli omu n’atikka endogoyi ye, ne baddayo mu kibuga.

Baganda ba Yusufu Bamuvuunamira

14 (H)Yusufu yali akyali mu nju, Yuda ne baganda be bwe baatuuka gy’ali, ne bagwa mu maaso ge ne bamuvuunamira. 15 (I)Yusufu n’abagamba nti, “Kiki kino kye mukoze? Temumanyi nti omuntu ali nga nze asobola okuvumbula kye mukoze?”

16 (J)Yuda n’addamu nti, “Tunaddamu ki mukama wange? Tunaayogera ki? Oba tuneggyako tutya omusango? Katonda avumbudde obwonoonyi bw’abaddu bo, laba tuli baddu ba mukama wange, ffenna, ffe n’oyo asangiddwa n’ekikopo.” 17 Yusufu n’addamu nti, “Ekyo sijja kukikola, wabula oyo asangiddwa n’ekikopo, y’anaaba omuddu wange, naye mmwe mwambuke mirembe, mutuuke eri kitammwe.”

Yuda Yeegayirira olwa Benyamini

18 (K)Awo Yuda n’alaga eri Yusufu n’agamba nti, “Ayi mukama wange nkusaba omuddu wo abeeko kyayogera gy’oli, n’obusungu bwo buleme kubuubuuka eri omuddu wo; kubanga oli nga Falaawo yennyini. 19 (L)Mukama wange yabuuza abaweereza be nti, ‘Mulina kitammwe oba muganda wammwe?’ 20 (M)Ne tuddamu mukama wange nti, ‘Tulina kitaffe, musajja mukulu, ne muganda waffe atusinga obuto, omwana gwe yazaala mu bukadde bwe, ne muganda wa muto waffe, yafa; muto waffe yekka y’aliwo, eyasigalawo yekka ku baana ba nnyina; era kitaawe amwagala nnyo.’

21 (N)“N’olyoka ogamba abaddu bo nti, ‘Mumundeetere, mmulabeko.’ 22 (O)Twategeeza mukama wange nti, ‘Omulenzi tayinza kuva ku kitaawe, kubanga bw’amuvaako, kitaawe alifa bufi!’ 23 (P)N’oddamu abaddu bo nti, ‘Muto wammwe bw’ataliserengeta nammwe, temugenda kulaba maaso gange.’ 24 Bwe twaddayo eri omuddu wo kitaffe, twamutegeeza ebigambo ebyo, mukama wange. 25 (Q)Kale kitaffe bwe yagamba nti, ‘Muddeeyo mutugulire ku mmere,’ 26 ne tumuddamu nti, ‘Tetusobola kuserengeta. Muto waffe bw’atagenda naffe tetujja kugenda kubanga tetusobola kulaba maaso ga musajja oli nga muto waffe tali naffe.’

27 (R)“Awo omuddu wo, kitaffe n’atugamba nti, ‘Mumanyi, mukazi wange yanzaalira abaana abalenzi babiri; 28 (S)omu yambulako, ne njogera nti mazima yataagulwataagulwa; era siddangayo kumulaba. 29 (T)Bwe muntwalako n’ono, akabi ne kamutuukako, muliserengesa envi zange emagombe nga nkungubaga.’

30 (U)“Kale kaakano, bwe nzirayo eri omuddu wo kitange ng’omulenzi tali naffe, obulamu bwe nga bwe bunyweredde ku bw’omulenzi, 31 bw’anaalaba ng’omulenzi tali naffe, ajja kufa, n’abaddu bo baliserengesa envi z’omuddu wo kitaffe emagombe ng’akyakungubagira omwana we. 32 (V)Kubanga omuweereza wo yeeyimirira omulenzi eri kitange; nga ŋŋamba nti, ‘Bwe sirimuzza gy’oli ndiba n’obuvunaanyizibwa n’okunenyezebwa ennaku zonna ez’obulamu bwange.’

33 (W)“Kale kaakano nkwegayirira, omuddu wo nsigale ng’omuddu wa mukama wange, mu kifo ky’omulenzi; omulenzi omuleke addeyo ne baganda be. 34 (X)Kale n’addayo ntya eri kitange ng’omulenzi tali nange? Ntya okulaba akabi akayinza okutuuka ku kitange.”

Makko 14

Omukazi Asiiga Yesu Amafuta ag’Omuwendo

14 (A)Embaga ey’Okuyitako[a], kwe baliira emigaati egitali mizimbulukuse, yali ebuzaayo ennaku bbiri etuuke. Bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka ne basala olukwe engeri gye banaakwata Yesu bamutte. Ne bagamba nti, “Si mu kiseera ky’embaga y’Okuyitako, kubanga abantu bayinza okuleetawo akeegugungo.”

(B)Mu kiseera ekyo Yesu ng’ali Besaniya mu nnyumba y’omusajja eyali amanyiddwa nga Simooni Omugenge, ng’atudde, omukazi n’ayingira ng’alina eccupa, eyalimu amafuta ag’akaloosa ag’omuwendo omungi. N’ayasa eccupa n’asiiga amafuta ku mutwe gwa Yesu. Abamu ku abo abaaliwo ne basunguwalira nnyo ekikolwa ekyo, nga beebuuza nti, “Amafuta ago gafudde ki? Wakiri singa gatundiddwa dinaali ezisukka mu bikumi ebisatu, ne ziweebwa abaavu!” Ne bamwemulugunyiza.

Naye Yesu n’abagamba nti, “Omukazi mumuleke. Lwaki mumuteganya? Ankoledde ekikolwa kirungi. (C)Abaavu muli nabo bulijjo, era muyinza okubakolera obulungi buli we mwagalidde, naye Nze sijja kubeera nammwe bulijjo. (D)Akoze ky’asobola, omubiri gwange agusiigiddewo amafuta ag’akaloosa nga bukyali, ng’aguteekateeka okuziikibwa. (E)Ddala ddala mbagamba nti buli kifo kyonna Enjiri gy’eneebuulirwanga mu nsi yonna, ekikolwa ky’omukazi ono kinajjukirwanga era kinaayongerwangako okumujjukiranga.”

Yuda Alya mu Yesu Olukwe

10 (F)Awo Yuda Isukalyoti, omu ku bayigirizwa ba Yesu ekkumi n’ababiri, n’agenda eri bakabona abakulu alabe bw’anaalyamu Yesu olukwe amubawe. 11 Bakabona abakulu bwe baakiwulira ne basanyuka nnyo, ne bamusuubiza okumuwa ensimbi. Bw’atyo Yuda n’atandika okunoonyereza engeri entuufu w’anaaweerayo Yesu.

Ekyekiro kya Mukama Waffe

12 (G)Awo ku lunaku olusooka olw’embaga y’Abayudaaya kwe baliira emigaati egitali mizimbulukuse, nga bawaayo omwana gw’endiga ogw’Okuyitako nga ssaddaaka, abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Oyagala tukutegekere wa gy’onooliira Embaga ey’Okuyitako.”

13 N’atuma babiri ku bayigirizwa be, n’abagamba nti, “Mugende mu kibuga munaasanga omusajja eyeetisse ensuwa y’amazzi, mumugoberere. 14 Muyingire mu nnyumba mw’anaayingira, mubuuze nnyinimu nti, ‘Ekisenge nze n’abayigirizwa bange mwe tunaalira Embaga ey’Okuyitako kiri ludda wa?’ 15 (H)Ajja kubalaga ekisenge ekinene ekya waggulu, ekiwedde okulongoosa n’okutegeka. Muteekereteekere omwo ekijjulo kyaffe.”

16 Awo abayigirizwa ababiri ne bagenda mu kibuga, ne basanga byonna nga Yesu bwe yabibagamba, ne bateekateeka Okuyitako.

17 Obudde bwe bwawungeera n’atuuka n’abayigirizwa be ekkumi n’ababiri. 18 Bwe baali batudde nga balya, Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti omu ku mmwe alya nange anandyamu olukwe.”

19 Ennaku n’ebakwata nnyo, ne batandika okumubuuza kinnoomu nti, “Ddala ye nze?”

20 (I)N’abagamba nti, “Omu ku mmwe ekkumi n’ababiri, akoza nange mu kibya. 21 (J)Omwana w’Omuntu agenda ng’Ebyawandiikibwa bwe biri. Naye zimusanze alya mu Mwana w’Omuntu olukwe. Kyandibadde kirungi singa omuntu oyo teyazaalibwa.”

22 (K)Awo bwe baali balya, Yesu n’addira omugaati, ne yeebaza, n’agumenyaamenyamu, n’agabira abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Mutoole mulye, guno gwe mubiri gwange.”

23 (L)Ate n’addira ekikompe ne yeebaza n’akibawa; bonna ne banywa.

24 (M)N’abagamba nti, “Guno musaayi gwange ogw’endagaano, oguyiika ku lw’abangi. 25 (N)Ddala ddala mbagamba nti sigenda kuddayo kunywa ku kibala kya muzabbibu okutuusa ku lunaku luli lwe ndikinywa nga kisingawo obulungi mu bwakabaka bwa Katonda.”

26 (O)Awo ne bayimbayo oluyimba, ne bafuluma ne bagenda ku lusozi olwa Zeyituuni.

Yesu Ategeeza Peetero nga bw’Anaamwegaana

27 (P)Yesu n’abagamba nti, “Buli omu ku mmwe ajja kunjabulira, kubanga kyawandiikibwa nti,

“ ‘Ndikuba omusumba,
    endiga ne zisaasaana.’

28 (Q)Naye bwe ndimala okuzuukizibwa, ndibakulembera okugenda e Ggaliraaya.”

29 Peetero n’amugamba nti, “Abalala bonna ne bwe banaakwabulira, nze siikwabulire!”

30 (R)Yesu n’amugamba nti, “Ddala ddala nkugamba nti ekiro kya leero, enkoko eneeba tennakookolima mirundi ebiri, onooneegaana emirundi esatu.”

31 (S)Peetero n’akiggumiza nnyo ng’agamba nti, “Oba kufiira wamu naawe n’afa, naye sijja kukwegaana n’akamu kokka.” N’abalala bonna ne beerayirira bwe batyo.

Yesu mu Gesusemane

32 Awo Yesu n’abayigirizwa be ne batuuka mu kifo ekiyitibwa Gesusemane, n’agamba abayigirizwa be nti, “Mugira mutuula wano, ŋŋende nsabe.” 33 (T)N’atwala Peetero, ne Yakobo ne Yokaana; n’atandika okweraliikirira n’okuteganyizibwa mu mutima. 34 (U)N’abagamba nti, “Omwoyo gwange guliko ennaku nnyingi nnyo zaagala na kunzita, kale mubeere wano mukuume.”

35 (V)Ne yeeyongerako mu maaso katono, n’agwa wansi n’asaba obanga kisoboka, essaawa eyo, ereme kutuuka. 36 (W)N’asaba nti, “Aba, Kitange, ebintu byonna bisoboka gy’oli. Nzigyako ekikompe kino. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw’oyagala.”

37 N’akomawo gye bali, n’abasanga nga beebase. N’agamba Peetero nti, “Simooni! Weebase? Tosobodde kutunulako nange wadde essaawa emu? 38 (X)Mutunule musabe, muleme kukemebwa. Omwoyo gwagala, naye omubiri munafu.”

39 Ate n’abaleka awo n’addayo, n’asaba ebigambo bye bimu na biri bye yasaba olubereberye. 40 N’akomawo we bali, n’abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gakambira. Ne batamanya kya kumuddamu.

41 (Y)Bwe yadda gye bali omulundi ogwokusatu n’abagamba nti, “Kale mwebakire ddala. Kinaamala, laba ekiseera kituuse Omwana w’Omuntu aweebweyo mu mikono gy’abalina ebibi. 42 Musituke! Tugende, laba andyamu olukwe anaatera okutuuka.”

43 (Z)Yesu yali akyayogera, amangwago Yuda (omu ku batume be ekkumi n’ababiri) n’ajja ng’ali n’ekibiina kinene, ekyava ewa bakabona abakulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya, nga balina ebitala era nga bakutte emiggo.

44 Yuda yali abagambye nti, “Gwe nnanywegera, ye wuuyo mumukwate, mumutwale nga mumunywezezza.” 45 (AA)Awo baali baakatuuka Yuda n’alaga eri Yesu, bwe yamutuukako n’agamba nti, “Omuyigiriza!” N’amugwa mu kifuba. 46 Ne bavumbagira Yesu ne bamukwata, ne bamunyweza. 47 Naye omu ku baali bayimiridde awo n’asowolayo ekitala n’asalako okutu kw’omuddu wa Kabona Asinga Obukulu.

48 Yesu n’ababuuza nti, “Lwaki munzijjidde ng’omumenyi w’amateeka, n’ebitala n’emiggo okunkwata? 49 (AB)Mbadde nammwe ennaku nnyingi mu yeekaalu nga njigiriza, naye temwankwata. Naye kino kikoleddwa ebyawandiikibwa bituukirire.” 50 (AC)Bonna ne bamwabulira ne badduka.

51 Naye waaliwo omulenzi omuvubuka eyali agoberera ng’avaako ennyuma, nga yeebikkiridde olugoye, lumu lwokka, ne baagezaako okumukwata, 52 n’abeesumattulako, ne basigaza olugoye n’adduka bwereere.

Yesu mu Maaso g’Olukiiko

53 Awo Yesu n’atwalibwa eri Kabona Asinga Obukulu, bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya n’abannyonnyozi b’amateeka. 54 (AD)Peetero n’agoberera nga yeesuddeko akabanga, n’ayita mu luggya lwa Kabona Asinga Obukulu, n’atuula ku kyoto n’abaweereza we baali bootera omuliro.

55 (AE)Bakabona abakulu, n’Abasaddukaayo bonna,[b] baali banoonya obujulizi kwe banaasinziira okutta Yesu, naye ne bubabula. 56 Bangi baayogera eby’obulimba ku ye, naye obujulizi bwabwe nga bukoonagana bukoonaganyi.

57 Abamu ku bo ne bamuwaayiriza nga bagamba nti, 58 (AF)“Twamuwulira ng’ayogera nti, ‘Ndizikiriza Yeekaalu eno eyazimbibwa n’emikono gy’abantu, naye oluvannyuma lw’ennaku ssatu ndizzaawo endala etazimbiddwa na mikono gy’abantu.’ ” 59 Naye era n’olwo ebigambo byabwe tebyatereera bulungi.

60 Awo Kabona Asinga Obukulu n’ayimirira, n’abuuza Yesu nti, “Tolina ky’oddamu ku bino bye bakwogerako?” 61 (AG)Yesu n’atamuddamu kintu. Ate Kabona Asinga Obukulu n’amubuuza nti, “Ggwe Kristo, Omwana w’oyo atenderezebwa?”

62 (AH)Yesu n’addamu nti, “Ye Nze, era mugenda kulaba Omwana w’Omuntu ng’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda Ayinzabyonna, ng’akomawo mu bire eby’eggulu.”

63 (AI)Awo Kabona Asinga Obukulu n’ayuza ebyambalo bye, n’agamba nti, “Ate twetaagira ki abajulizi? 64 (AJ)Muwulidde obuvvoozi. Musala mutya omusango guno?”

Bonna ne bamusalira gwa kufa. 65 (AK)Abamu ne batandika okumuwandulira amalusu, ne bamusiba kantuntunu ku maaso, ne bamukuba empi mu maaso, nga bwe bamuduulira nga bagamba nti, “Lagula.” N’abaserikale nabo ne bamukuba ebikonde nga bamufulumya.

Peetero Yeegaana Yesu

66 (AL)Peetero yali ali wabweru mu luggya, omu ku bawala abaweereza ba Kabona Asinga Obukulu n’ajja. 67 (AM)Bwe yalaba Peetero n’amwetegereza ng’ayota omuliro, n’amugamba nti, “Ggwe, wali ne Yesu, Omunnazaaleesi.”

68 (AN)Peetero ne yeegaana ng’agamba nti, “Simanyi wadde okutegeera by’oyogerako!” N’afuluma n’alaga ebweru mu kisasi, enkoko n’ekookolima.

69 Omuwala oli n’alengera Peetero, n’ategeeza banne abaali bayimiridde awo nti, “Ono ali omu ku bo.” 70 (AO)Peetero n’ayongera okwegaana.[c]

Bwe waayitawo akabanga, abantu abalala abaali bayimiridde awo ne bagamba Peetero nti, “Ddala ddala oli omu ku bo, kubanga oli Mugaliraaya!”

71 (AP)Peetero n’atandika, okukolima n’okulayira nga bw’agamba nti, “Omusajja ono gwe mwogerako, simumanyi.”

72 (AQ)Amangwago enkoko n’ekookolima omulundi ogwokubiri, Peetero n’ajjukira ebigambo Yesu bye yali amugambye nti, “Enkoko eneeba tennakookolima mirundi ebiri, onoonneegaana emirundi esatu.” Awo Peetero n’atulika n’akaaba amaziga.

Yobu 10

10 (A)“Obulamu bwange mbukyayidde ddala,
    noolwekyo leka nfukumule okwemulugunya kwange,
    njogerere mu kulumwa kw’emmeeme yange.
(B)Nnaagamba Katonda nti, Tonsalira musango ne gunsinga,
    ntegeeza ky’onvunaana.
(C)Kikusanyusa okunnyigiriza,
    okunyooma omulimu gw’emikono gyo,
    n’owagira emirimu gy’abakozi b’ebibi?
(D)Amaaso go ga mubiri?
    Olaba ng’omuntu bw’alaba?
(E)Ennaku zo zisinga ez’omuntu,
    n’emyaka gyo gisinga egy’omuntu,
(F)olyoke onoonye ebisobyo byange
    era obuulirize ekibi kye nkoze,
newaakubadde ng’omanyi nti sirina musango
    era nga tewali n’omu ayinza kunzigya mu mukono gwo?

(G)“Emikono gyo gye gyammumba, gye gyankola.
    Ate kaakano onookyuka okunsanyaawo?
(H)Jjukira nti wammumba ng’ebbumba,
    ate kaakano onoonfuula ng’enfuufu?
10 Tewanzitulula ng’amata
    n’onkwasa ng’omuzigo?”
11 (I)Tewannyambaza omubiri n’olususu,
    n’oluka amagumba n’ebinywa n’ongatta?
12 (J)Kale wampa okuganja mu maaso go,
    era walabirira, n’omwoyo gwange.
13 (K)Naye bino wabikweka mu mutima gwo,
    era mmanyi nga byali mu birowoozo byo.
14 (L)Singa nyonoona, ondaba
    era tewandindese n’otombonereza.
15 (M)Bwe mba nga nsingibbwa omusango,
    zinsanze nze!
Newaakubadde nga sirina musango, sisobola kuyimusa mutwe gwange,
    kubanga nzijjudde obuswavu era mu kunyigirizibwa kwange, mwe nsaanikiddwa.
16 (N)Bwe mba ng’asituka, n’onjigga ng’empologoma,
    era n’onnumba n’amaanyi go amangi ennyo.
17 (O)Oleeta abajulizi abajja okunnumiriza,
    era obusungu bwo ne bweyongera gye ndi;
    amayengo ne gajja okunnumba olutata.

18 (P)“Kale lwaki wanziggya mu lubuto lwa mmange?
    Wandindese nga tewannabaawo liiso lyonna lindabyeko.
19 Singa satondebwa,
    oba singa natwalibwa butereevu okuva mu lubuto ne nzikibwa.
20 (Q)Ennaku zange entono kumpi teziweddeeko?
    Ndeka mbeeko n’akaseera ak’okusanyuka,
21 (R)nga sinnaba kugenda mu kifo eteri kudda,
    ekiri mu nsi ejjudde ekizikiza, n’ekisiikirize eky’ebuziba,
22 y’ensi ey’ekizikiza ekikutte, eyeekisiikirize eky’ebuziba
    era n’okutabukatabuka,
    ng’omusana gwayo guli nga ekizikiza.”

Abaruumi 14

Obutanenyagananga lwa Byakulya

14 (A)Mwanirizenga omunafu mu kukkiriza, nga temumusalira musango. Wabaawo omuntu omu akkiririza mu kulya ebintu byonna, nga so ye omunafu akoma ku nva kwokka. (B)Omuntu asalawo okubaako ky’alya tanyoomanga atakirya, n’oyo atalya kintu alemenga kusalira musango oyo akirya kubanga Katonda yamusembeza. (C)Ggwe ani asalira omusango omuweereza w’omuntu omulala? Mukama we y’amanya oba atuukiriza emirimu gye oba tagituukiriza. Naye aligituukiriza kubanga Mukama we alimusobozesa.

(D)Omuntu omu agulumiza olunaku olumu okusinga olulala, naye omulala n’alowooza nti ennaku zonna zenkanankana. Noolwekyo buli muntu anywererenga ku ky’alowooza bwe kiba nga kye kituufu. (E)Akuza olunaku aba alukuza eri Mukama. Oyo alya aba alya ku bwa Mukama, kubanga aba agulumiza Katonda. N’oyo atalya aba talya ku bwa Mukama, era aba agulumiza Katonda. (F)Kubanga tewali n’omu ku ffe abeera omulamu ku bubwe yekka, era tewali n’omu afa ku lulwe. (G)Kubanga bwe tuba abalamu, tuba balamu ku bwa Mukama, oba bwe tufa, tufa ku bwa Mukama. Kale nno bwe tuba abalamu oba bwe tufa, tuli ba Mukama.

(H)Kubanga ekyo Kristo kye yafiira ate n’abeera omulamu, alyoke abeere Mukama w’abo abaafa era n’abalamu. 10 (I)Kale ggwe lwaki osalira muganda wo omusango? Oba lwaki onyooma muganda wo? Kubanga ffenna tuliyimirira mu maaso g’entebe ya Katonda, ey’okulamula. 11 (J)Kubanga kyawandiikibwa nti,

“ ‘Nga bwe ndi omulamu,’ bw’ayogera Mukama,
‘buli vviivi lirinfukaamirira
    era na buli lulimi lulyatula Katonda.’ ”

12 (K)Noolwekyo buli omu ku ffe alyennyonnyolako eri Katonda.

Okwesittaza Abalala

13 (L)Noolwekyo tetusaliragananga misango. Tumalirire obuteesittaza waluganda wadde okumutega okugwa mu kibi. 14 (M)Mmanyi era nkakasiza ddala mu Mukama waffe Yesu, nga tewali kya muzizo ku bwakyo, wabula kya muzizo eri oyo akirowooza nga kya muzizo. 15 (N)Kubanga obanga muganda wo anakuwala olw’ekyo ky’olya, oba tokyatambulira mu kwagala; tolyanga kintu kyonna ky’omanyi nga kinaakyamya omuntu oyo Kristo gwe yafiirira. 16 (O)Ekirungi ekiri mu mmwe kireme okuvumibwa. 17 (P)Kubanga obwakabaka bwa Katonda si kulya na kunywa, wabula butuukirivu na mirembe, na ssanyu mu Mwoyo Omutukuvu. 18 (Q)Kubanga aweereza Kristo mu ebyo asanyusa nnyo Katonda era asiimibwa abantu.

19 (R)Noolwekyo tunyiikirirenga eby’emirembe, n’eby’okuzimbagana ffekka ne ffekka. 20 (S)Toyonoonanga mulimu gwa Katonda olw’emmere. Ebintu byonna birongoofu, naye ekibi kwe kulya ekyo ekireetera omulala okwesittala. 21 (T)Kirungi obutalya nnyama newaakubadde okunywa wayini newaakubadde ekintu kyonna ekyesittaza muganda wo.

22 (U)Ky’okkiririzaamu mu kulya kikuume nga kya kyama ne Katonda. Alina omukisa ateesalira musango kumusinga mu ekyo ky’alowooza nga kituufu. 23 (V)Naye oyo abuusabuusa bw’alya, omusango gumaze okumusinga, kubanga talya lwa kukkiriza, era na buli ekitava mu kukkiriza kiba kibi.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.