Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Olubereberye 15

Endagaano ya Mukama ne Ibulaamu

15 (A)Ebyo nga biwedde, ekigambo kya Mukama ne kijjira Ibulaamu mu kwolesebwa nti,

“Totya Ibulaamu,
    Nze ngabo yo
    era empeera yo ennene ennyo.”

(B)Naye Ibulaamu n’addamu nti, “Kiki ky’olimpa Ayi Mukama Katonda, kubanga sirina mwana, n’omusika w’ennyumba yange ye Eryeza ow’omu Ddamasiko?” (C)Ibulaamu ne yeeyongera n’agamba nti, “Laba tompadde mwana; omuddu eyazaalibwa mu nnyumba yange ye musika wange.”

(D)Laba ekigambo kya Mukama ne kimujjira nti, “Omusajja oyo tagenda kuba musika wo; mutabani wo, y’aliba omusika wo.” (E)N’amufulumya ebweru n’amugamba nti, “Tunuulira eggulu, obale emunyeenye, obanga osobola okuzibala.” Awo n’amugamba nti, “N’ezzadde lyo bwe liriba bwe lityo.”

(F)Ibulaamu n’akkiriza Mukama, n’akimubalira okuba obutuukirivu. N’amugamba nti, “Nze Mukama eyakuggya mu Uli ensi ey’Abakaludaaya, nkuwe ensi eno ebeere yiyo.” (G)Ibulaamu n’addamu nti, “Ayi Mukama nnaamanya ntya nti eriba yange?” Mukama n’amuddamu nti, “Ndeetera ennyana eyaakamala emyaka esatu, embuzi ey’emyaka esatu, endiga ensajja ey’emyaka esatu, kaamukuukulu n’ejjiba.”

10 (H)Ibulaamu n’abireeta byonna n’abisalamu wakati n’ateeka buli kitundu kungulu ku kinnaakyo, naye ebinyonyi byo teyabisalamu bitundu nga biri. 11 Ensega bwe zajja okubirya, Ibulaamu n’azigoba.

12 (I)Enjuba yali egwa, Ibulaamu ne yeebaka otulo tungi; era laba, ekizikiza ekingi eky’amaanyi ne kimubuutikira. 13 (J)Awo Mukama n’agamba Ibulaamu nti, “Manyira ddala nti ezzadde lyo baliba batambuze mu nsi eteri yaabwe, era baliba baddu eyo, balibonyaabonyezebwa eyo okumala emyaka ebikumi bina. 14 (K)Naye ndibonereza eggwanga lye balikolera n’oluvannyuma balivaayo n’obugagga bungi. 15 (L)Naye ggwe oligenda mirembe eri bajjajjaabo; oliziikibwa ng’owangaalidde ddala nnyo. 16 (M)Era balikomawo wano mu mulembe ogwokuna; kubanga obutali butuukirivu bw’Omwamoli tebunnayitirira.”

17 (N)Enjuba bwe yagwa ng’ekizikiza kikutte, laba, ensuwa eyaka omuliro era enyooka omukka n’ekimulisa ne biyita wakati w’ebitundu bino. 18 (O)Ku lunaku olwo Mukama n’akola endagaano ne Ibulaamu ng’agamba nti, “Ezadde lyo ndiwa ensi eno, okuva ku mugga ogw’e Misiri okutuuka ku mugga omunene, omugga Fulaati: 19 Omukeeni, n’Omukenizi, n’Omukadumoni, 20 n’Omukiiti, n’Omuperizi, n’Abaleefa, 21 n’Omwamoli, n’Omukanani, n’Omugirugaasi n’Omuyebusi, mbagabula mu mukono gwo.”

Matayo 14

Yokaana Atemwako Omutwe

14 (A)Mu kiseera ekyo Kabaka Kerode bwe yawulira ettutumu lya Yesu (B)n’agamba abaweereza be nti, “Oyo ye Yokaana Omubatiza azuukidde mu bafu, era y’akola eby’amagero.”

(C)Kuba Kerode yali amaze okukwata Yokaana n’amussa mu kkomera, kubanga Yokaana yamunenya olwa Kerodiya muka Firipo muganda we, (D)kubanga Yokaana yagamba Kerode nti, “Si kituufu okusigula muka muganda wo n’omufuula owuwo.” (E)Kerode yali ayagala kumutta naye n’atya abantu kubanga baalowooza Yokaana okuba nnabbi.

Olunaku lw’amazaalibwa ga Kerode bwe lwatuuka muwala wa Kerodiya n’azina nnyo ku mbaga n’asanyusa nnyo Kerode. Awo Kerode n’asuubiza omuwala ng’alayira okumuwa kyonna ky’anaamusaba. Naye bwe yaweebwa nnyina amagezi, n’agamba nti, “Mpeera wano omutwe gwa Yokaana Omubatiza ku lusaniya.” Ekintu ekyo ne kinakuwaza nnyo kabaka. Naye olwokubanga yali yakisuubiza mu maaso g’abagenyi be, kyeyava alagira bagumuleetere. 10 (F)Ne bagenda mu kkomera, ne batemako Yokaana omutwe 11 ne baguleetera ku lusaniya ne baguwa omuwala, naye n’agutwalira nnyina.

12 (G)Abayigirizwa ba Yokaana ne banonayo omulambo gwe ne bagutwala ne baguziika, ne balyoka bagenda ne babikira Yesu. 13 Yesu bwe yabiwulira ebyo, n’asaabala mu lyato, n’abaako gy’alaga abeere yekka mu kyama. Naye abantu bangi nnyo bwe baakiwulira ne bava mu bibuga bingi, ne beekooloobya, ne bamugoberera nga bayita ku lukalu. 14 (H)Yesu bwe yava eyo n’alaba, abantu bangi n’abasaasira n’awonya abalwadde baabwe.

15 Obudde bwe bwawungeera abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamugamba nti, “Laba obudde buzibye ate tuli mu ddungu, ssiibula abantu bagende beegulire emmere mu bibuga.”

16 Naye Yesu n’abaddamu nti, “Tekyetaagisa kubasiibula, mmwe mubawe ekyokulya.”

17 (I)Ne bamuddamu nti, “Ffe tetulina kyakulya kiyinza kubamala, wabula tulinawo emigaati etaano gyokka n’ebyennyanja bibiri.”

18 N’abagamba nti, “Kale mubindetere wano.” 19 (J)N’alagira ekibiina kituule wansi ku muddo, n’addira emigaati etaano n’ebyennyanja ebibiri, n’atunula waggulu ne yeebaza, emigaati n’agimenyaamenyamu n’agiwa abayigirizwa ne batandika okugabula ekibiina. 20 Bonna ne balya ne bakkuta; obutundutundu obwafikkawo ne babukuŋŋaanya wamu ne bujjuza ebisero kkumi na bibiri! 21 Abantu bonna abaalya baali ng’enkumi ttaano nga totaddeeko bakazi na baana.

Yesu Atambulira ku Mazzi

22 Amangwago Yesu n’alagira abayigirizwa be basaabale eryato bagende emitala w’ennyanja, ye asigale ng’akyasiibula abantu. 23 (K)Bwe yamala okusiibula ekibiina n’ayambuka ku lusozi yekka okusaba. Obudde ne buziba ng’ali eyo yekka. 24 Eryato abayigirizwa mwe baali bwe lyatuuka ebuziba, omuyaga mungi ne gubafuluma mu maaso eryato ne lyesunda.

25 Awo ku ssaawa nga mwenda ez’ekiro, Yesu n’ajja gye bali ng’atambula ku nnyanja. 26 (L)Naye abayigirizwa bwe baamulaba ng’atambulira ku nnyanja ne batya, nga balowooza nti muzimu.

27 (M)Awo amangwago Yesu n’abagamba nti, “Mugume, Nze nzuuno temutya.”

28 Peetero n’amugamba nti, “Obanga ye ggwe ddala Mukama waffe, ndagira nange nzije gy’oli nga ntambulira ku mazzi.”

29 Yesu n’amuddamu nti, “Kale jjangu.” Peetero n’ava mu lyato n’atambulira ku mazzi okugenda eri Yesu.

30 Naye Peetero bwe yalaba omuyaga ogw’amaanyi, n’atya n’atandika okusaanawo, n’akoowoola Yesu nti, “Mukama wange, ndokola!”

31 (N)Amangwago Yesu n’agolola omukono gwe n’amukwata, n’amugamba nti, “Ggwe alina okukkiriza okutono, lwaki obuusizzabuusizza?”

32 Bwe baalinnya mu lyato omuyaga gwonna ne guggwaawo. 33 (O)N’abo abaali mu lyato ne bamusinza nga bagamba nti, “Ddala ddala oli Mwana wa Katonda!”

34 Bwe baasomoka ne bagukkira ku lukalu e Genesaleeti. 35 Abantu b’omu kitundu ekyo bwe baamutegeera ne batumya abalwadde bonna ne babamuleetera. 36 (P)Ne bamwegayirira waakiri bakomeko bukomi ku lukugiro lw’ekyambalo kye, era buli eyakomako n’awonyezebwa.

Nekkemiya 4

Olukwe olw’Okulemesa Okuzimba

(A)Awo Sanubalaati olwawulira nga tuddaabiriza bbugwe, n’anyiiga nnyo era n’ajjula obuswandi. N’aduulira Abayudaaya (B)mu maaso ga mikwano gye ne mu maaso g’eggye ly’e Samaliya n’ayogera nti, “Bano Abayudaaya abanafu bali ku ki? Balizzaawo bbugwe waabwe? Baliwaayo ssaddaaka? Balimalira mu lunaku lumu? Bayinza okulamusa amayinja okuva mu ntuumu z’ebisaaniiko, ate ebyayokebwa?”

(C)Tobiya Omwamoni yali amuyimiridde kumpi, n’ayogera nti, “Ebyo bye bazimba, singa ekibe kinaalinnyako kinaasuula bbugwe waabwe ow’amayinja!”

(D)Ne nsaba Katonda nti, “Otuwulire Ayi Katonda waffe kubanga tunyoomebwa. Ebivumo byabwe bizze ku mitwe gyabwe bo, era baweeyo eri okunyagibwa mu nsi eribafuula abasibe. (E)Oleme okubikka ku musango gwabwe newaakubadde ekibi kyabwe okukisangula mu maaso go kubanga bakusunguwazizza mu maaso g’abazimbi.”

Awo ne tweyongerayo n’okuzimba bbugwe okutuuka wakati w’obugulumivu bwayo, kubanga abantu baakolanga n’obumalirivu.

(F)Naye Sanubalaati, ne Tobiya, n’Abawalabu, n’Abamoni, n’Abasudodi bwe baawulira ng’omulimu gw’okuddaabiriza bbugwe wa Yerusaalemi gugenda mu maaso, nga tutandise n’okuziba ebituli, ne banyiiga nnyo. (G)Bonna ne beegatta wamu ne basala olukwe okulwanyisa Yerusaalemi n’okugitabulatabula. Ne tusaba eri Katonda waffe, ne tuteekawo n’abakuumi abaakuumanga emisana n’ekiro.

10 (H)Mu kiseera kyekimu abantu b’e Yuda ne boogera nti, “Abakozi bagenda baggwaamu amaanyi, ate nga wakyaliwo ebifunfugu bingi nnyo, tetuyinza kuddaabiriza bbugwe.”

11 N’abalabe baffe ne boogera nti, “Baliba tebanamanya newaakubadde okukiraba, tulibagwako kiyiifuyiifu, era tulibatta ne tukomya omulimu.”

12 Awo Abayudaaya abaali babeera okumpi nabo ne bajja ne batulabula emirundi kkumi, nga boogera nti, “Balitulumba enjuuyi zonna.”

13 Kyennava nteeka abamu ku bantu mu njuyi eza wansi eza bbugwe awali amabanga, nga balina ebitala, n’amafumu n’emitego n’obusaale. 14 (I)Bwe namala okulaba embeera bwe yali, ne ngolokoka ne ŋŋamba abakungu, n’abakulu, n’abantu abalala nti, “Temubatya. Mujjukire Mukama, omukulu era ow’entiisa, mulwanirire baganda bammwe, ne batabani bammwe, ne bawala bammwe, ne bakyala bammwe n’amaka gammwe.”

15 (J)Awo abalabe baffe bwe baawulira nga tutegedde olukwe lwabwe, nga Katonda alemesezza enteekateeka yaabwe, ffenna ne tuddayo ku bbugwe, buli muntu ku mulimu gwe.

16 Okuva ku lunaku olwo, ekitundu ku basajja bange bazimbanga n’ekitundu ekirala nga bakutte amafumu, n’engabo, n’obusaale n’ebyokulwanyisa ebirala. Abakulembeze bonna ne bawagira abantu bonna aba Yuda abaali bazimba bbugwe. 17 (K)Abeetikkanga, baasitulanga n’omukono gumu eby’okuzimbisa n’omulala ne gukwata ekyokulwanyisa, 18 (L)na buli muzimbi yalina ekitala mu kiwato kye ng’akola. Naye omusajja eyafuwanga ekkondeere yambeeranga kumpi.

19 Ne ŋŋamba abakungu n’abakulu n’abantu abalala nti, “Omulimu munene ate mugazi, ate twesudde amabanga ku bbugwe, buli muntu ali wala ne munne. 20 (M)Buli kifo gye munaawuliriranga eddoboozi ly’ekkondeere nga mujja okutudduukirira. Katonda waffe alitulwanirira.”

21 Ne tweyongerayo n’omulimu, ekitundu ekimu ne kikwatanga amafumu obudde we bwakereranga okutuusa emmunyeenye lwe zaalabikanga. 22 Mu biro ebyo, ne nnyongera okutegeeza abantu nti, “Buli muntu n’oyo amubeera, basigalenga mu Yerusaalemi ekiro, bakuumenga ekiro, naye emisana babe nga bakola.” 23 Tewaali n’omu ku ffe newaakubadde nze newaakubadde baganda bange newaakubadde abasajja bange wadde abakuumi, eyayambulangamu engoye; buli omu yalina ekyokulwanyisa kye, ne bwe yagendanga ku luzzi.

Ebikolwa by’Abatume 14

14 (A)Awo Pawulo ne Balunabba bwe baatuuka mu Ikoniya ne bayingira mu kkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya. Ne babuulira n’amaanyi mangi era abantu bangi Abayudaaya n’Abayonaani ne bakkiriza. Naye Abayudaaya abaagaana okukkiriza ne bassa omutima omubi mu baamawanga okukyawa abooluganda. (B)Ne baabeerayo ebbanga gwanvu nga babuulira n’obuvumu, era Mukama n’akakasanga ekigambo ky’ekisa kye ng’abawa okukola obubonero n’ebyamagero. (C)Naye ekibiina ky’abantu mu kibuga ne kyawukanamu abamu ne bagoberera Abayudaaya n’abalala ne bakkiriza abatume. (D)Abayudaaya n’abakulembeze baabwe awamu n’Abamawanga, ne basala olukwe okubonyaabonya abatume, n’okubakuba amayinja. (E)Naye Pawulo ne Balunabba olukwe ne baluggukamu ne baddukira mu bibuga ebya Lukawoniya ne Lusitula ne Derube, ne mu bitundu ebiriraanyeewo, (F)era n’eyo ne babuulirirayo Enjiri.

Pawulo ne Balunabba mu Lusitula ne Derube

(G)Mu Lusitula mwalimu omusajja eyazaalibwa nga mulema, ng’ebigere bye bigongobavu, nga tatambulangako. (H)N’atuula awo ng’awuliriza Pawulo bye yali ayogera. Pawulo n’amwekaliriza amaaso n’alaba ng’alina okukkiriza okuwonyezebwa. 10 (I)Pawulo n’amugamba mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Yimirira ku bigere byo, weegolole!” Amangwago omusajja n’ayimirira, n’atandika okutambula! 11 (J)Awo ekibiina ky’abantu bwe baalaba Pawulo ky’akoze, ne baleekaanira waggulu mu lulimi lwabwe Olulikaoniya nti, “Bakatonda basse wansi gye tuli nga bali mu kifaananyi ky’abantu!” 12 Balunabba ne bamuyita Zewu, Pawulo ne bamuyita Kerume kubanga ye yali omwogezi omukulu. 13 Awo kabona wa Zewu, eyali ebweru w’ekibuga, n’agenda n’aleeta ente ennume n’ebimuli ku wankaaki, ye n’ekibiina ky’abantu ne baagala okuwaayo ssaddaaka.

14 (K)Naye abatume, Balunabba ne Pawulo, bwe baabiwulira, ne bayuza engoye zaabwe, ne bafubutuka ne bayingira mu kibiina ky’abantu nga baleekaana nga bagamba nti, 15 (L)“Abasajja! Kiki ekibakozesa ebintu bino? Naffe tuli bantu buntu nga mmwe! Twazze tubabuulire mukyuke okuva ku bintu bino ebitaliimu mudde eri Katonda omulamu eyakola eggulu n’ensi, n’ennyanja n’ebintu byonna ebirimu. 16 (M)Mu mirembe egyayita yaleka amawanga gonna okukwata amakubo ge baayagalanga. 17 (N)Kyokka tasigalirangako awo nga talina bujulirwa ng’abakolera ebirungi okuva mu ggulu, ng’aweereza enkuba, n’okubawa ebiro eby’okubalizangamu ebibala n’okubakkusa emmere, era n’okubajjuza essanyu mu mitima gyabwe.” 18 Newaakubadde baabategeeza bwe batyo, naye era katono balemwe okuziyiza ebibiina okubawa ssaddaaka.

19 (O)Awo Abayudaaya ne batuuka nga bava mu Antiyokiya ne mu Ikoniya, ne basasamaza ebibiina, ne bakuba Pawulo amayinja ne bamukulula ne bamutwala ebweru w’ekibuga nga balowooza nti afudde. 20 (P)Naye abayigirizwa ne bajja ne bayimirira okumwetooloola, n’asituka n’addayo mu kibuga! Enkeera ne basitula ne Balunabba ne balaga mu Derube.

Balunabba ne Pawulo badda mu Antiyokiya eky’omu Siriya

21 (Q)Ne babuulira Enjiri mu kibuga ekyo, era abantu bangi ne bakkiriza. Ne baddayo mu Lusitula, ne mu Ikoniya, ne mu Antiyokiya, 22 (R)ne babuulirira abakkiriza, nga babakubiriza banywerere mu kukkiriza, era ne babagamba nti, “Kitugwanidde okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda nga tuyita mu bibonoobono ebingi.” 23 (S)Pawulo ne Balunabba buli kkanisa baagironderamu abakadde. Ne basaba ne basiiba, ne babakwasa Mukama, oyo gwe bakkiriza. 24 Awo ne batambula ne bayita mu Pisidiya ne batuuka e Panfuliya, 25 bwe baamala okubuulira ebigambo mu Peruga, ne beeyongerayo mu Ataliya.

26 (T)Oluvannyuma ne basaabala ku nnyanja okuddayo mu Antiyokiya, gye baali baasigirwa ekisa kya Katonda olw’omulimu gwe baakola. 27 (U)Bwe baatuuka, ne bakuŋŋaanya ekkanisa ne babategeeza ebyafa mu lugendo lwabwe, ne byonna Katonda bye yabakozesa, n’Abamawanga nga bwe yabaggulirawo oluggi olw’okukkiriza. 28 Ne babeera eyo ne bamalayo ebbanga ggwanvu nga bali n’abayigirizwa.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.