M’Cheyne Bible Reading Plan
Okunoonyeza Isaaka Omukazi
24 (A)Ibulayimu yawangaala n’akaddiwa nnyo; era Mukama yamuwa emikisa mingi mu byonna. 2 (B)Awo Ibulayimu n’agamba omuddu asinga obukulu mu nnyumba ye, eyali afuga byonna Ibulayimu bye yalina nti, “Teeka omukono gwo wansi w’ekisambi kyange[a] 3 (C)ndyoke nkulayize mu maaso ga Mukama Katonda w’eggulu era Katonda w’ensi, nga toliwasiza mutabani wange mukazi kuva mu bawala ba nsi ya Bakanani, mwe mbeera, 4 (D)wabula ng’oligenda mu nsi yange mu bantu bange n’owasiza mutabani wange Isaaka omukazi.”
5 Omuddu kwe ku mubuuza nti, “Omukazi bw’ataliyagala kujja nange mu nsi eno, ndizzaayo mutabani wo mu nsi mwe wava?” 6 Ibulayimu n’addamu nti, “Togezanga n’ozzaayo mutabani wange. 7 (E)Mukama, Katonda w’eggulu, eyanzigya mu nnyumba ya kitange, mu nsi mwe nazaalibwa eyayogera nange era n’andayirira nti, ‘Ezadde lyo ndiriwa ensi eno,’ alituma malayika we n’akukulembera owasirize mutabani wange omukazi era omuggyeyo. 8 Naye omukazi bw’aligaana okujja naawe, olwo ekirayiro kino kiriba tekikyakusiba. Kyokka togezanga n’ozzaayo omwana wange.” 9 (F)Awo omuddu kwe kuteeka omukono gwe wansi w’ekisambi kya mukama we Ibulayimu.
10 Awo omuddu n’atwala ku ŋŋamira za mukama we n’agenda ng’atutte buli ngeri ya kirabo okuva ku bya mukama we. N’ayimuka n’agenda e Mesopotamiya mu kibuga kya Nakoli. 11 (G)Obudde bwe bwawungeera n’atuuka ebweru w’ekibuga n’afukamiza awo eŋŋamira okumpi n’oluzzi obudde nga buwungedde abakazi we bagendera okukima amazzi.
12 (H)N’asaba nti, “Ayi Mukama Katonda wa mukama wange Ibulayimu mpa obuwanguzi leero nkwegayiridde, olage mukama wange Ibulayimu okwagala kwo okutaggwaawo. 13 Laba nnyimiridde okumpi n’oluzzi, ne bawala b’abantu ab’omu kibuga bajja okusena amazzi. 14 (I)Kale omuwala gwe nnaagamba nti, ‘Nkwegayiridde mpa ku mazzi ag’omu nsuwa yo nnyweko,’ n’amala agamba nti, ‘Kale nnywa, era n’eŋŋamira zo nnaazinywesa,’ oyo y’aba abeera gw’olonze okuba mukazi w’omuddu wo Isaaka. Ku kino kwe nnaategeerera nti olaze mukama wange ekisa kyo ekitaggwaawo.”
Lebbeeka ku Luzzi
15 (J)Laba, bwe yali nga tannamaliriza kusaba, Lebbeeka muwala wa Besweri mutabani wa Mirika muka Nakoli, muganda wa Ibulayimu, n’ajja ng’atadde ensuwa ye ey’amazzi ku kibegabega kye. 16 (K)Omuwala oyo yali mulungi okulabako nga muwala mbeerera, n’akka mu luzzi n’ajjuza ensuwa ye n’avaayo.
17 Awo omuddu n’ayanguwa n’amusisinkana, n’amugamba nti, “Nkusaba ompe ku tuzzi ku nsuwa yo.”
18 (L)N’amuddamu nti, “Nywako mukama wange.” Amangwago n’assa ensuwa mu mikono gye, n’agikwata mu mukono gwe n’amuwa amazzi.
19 (M)Bwe yamala okumuwa amazzi, n’amugamba nti, “N’eŋŋamira zo nazo nnaazisenera amazzi okutuusa lwe zinaamala okunywa.” 20 Bw’atyo n’ayanguwa n’ayiwa ensuwa ye ey’amazzi n’agimalira mu kyesero, n’adduka n’asena amalala agaali gamala eŋŋamira ze zonna, 21 (N)omusajja ng’asirise ng’amwekaliriza amaaso okumanya obanga Mukama awadde olugendo lwe omukisa oba nedda.
22 (O)Eŋŋamira bwe zaamala okunywa, omusajja n’addira empeta ya zaabu ey’oku matu erimu gulaamu ttaano n’obutundu musanvu n’ebikomo ebya zaabu bibiri eby’oku mikono bya gulamu kikumi mu kkumi na ttaano n’abiwa omuwala abyenaanike. 23 N’amubuuza nti, “Oli muwala w’ani? Mu nnyumba ya kitaawo mulimu ekisenge mwe tuyinza okusuzibwa?” 24 (P)N’amuddamu nti, “Ndi muwala wa Besweri, mutabani wa Mirika gwe yazaalira Nakoli.” 25 N’ayongerako nti, “Tulina omuddo omukalu n’emmere endala ebimala, era n’ekisenge eky’okusulamu tukirina.”
26 (Q)Awo omusajja n’akutamya omutwe gwe n’asinza Mukama. 27 (R)N’agamba nti, “Yeebazibwe Mukama Katonda wa mukama wange Ibulayimu atalese kisa kye ekitaggwaawo n’obwesigwa bwe eri mukama wange. Era nze ku lwange Mukama ankulembedde mu kkubo n’antuusa mu nnyumba ya booluganda lwa mukama wange.” 28 Awo omuwala n’adduka n’ategeeza ab’ennyumba ya nnyina ebintu ebyo byonna. 29 (S)Lebbeeka yalina mwannyina, Labbaani, eyayanguwa okulaga ku luzzi eri omusajja, 30 Labbaani bwe yalaba empeta n’ebikomo ku mikono gya mwannyina, era bwe yawulira ebigambo bya mwannyina ng’omusajja bw’amugambye, n’agenda eri omusajja. Laba omusajja yali ng’ayimiridde awali eŋŋamira ku luzzi. 31 (T)Labbaani n’amugamba nti, “Jjangu gwe aweereddwa Mukama omukisa. Lwaki obeera eno? Ntegesse ennyumba era n’ekifo ky’eŋŋamira.”
32 (U)Awo, omusajja n’alaga ku nnyumba, n’asumulula eŋŋamira, ne baziwa essubi n’ebyokulya ne bamuleetera n’amazzi ye n’abasajja be yali nabo banaabe ebigere. 33 Oluvannyuma ne bamuleetera emmere alye. Kyokka ye n’agamba nti, “Sijja kulya nga sinnayogera kindeese.”
Labbaani n’amugamba nti, “Yogera.”
Omuddu Annyonnyola Ekyamutwala
34 Awo n’agamba nti, “Ndi muddu wa Ibulayimu. 35 (V)Mukama yawa mukama wange emikisa mingi, era afuuse mukulu, amuwadde ebisibo by’endiga n’amagana g’ente, ne ffeeza ne zaabu, abaweereza abasajja n’abaweereza abakazi era n’eŋŋamira awamu n’endogoyi. 36 (W)Era Saala muka mukama wange bwe yali ng’akaddiye yamuzaalira omwana owoobulenzi, era mukama wange awadde oyo byonna by’alina. 37 (X)Mukama wange yandayiza n’aŋŋamba nti, ‘Towasizanga mutabani wange mukazi ava mu Bakanani ba nnyini nsi mwe mbeera. 38 (Y)Wabula oligenda mu nnyumba ya kitange, mu bantu bange, n’owasiza mutabani wange omukazi okuva omwo.’
39 (Z)“Ne mbuuza mukama wange nti, ‘Omukazi bw’atalikkiriza kujja nange?’
40 (AA)“Ye n’anziramu nti, ‘Mukama oyo gwe ntambulira mu maaso ge alikutumira malayika we mu lugendo lwo era alikuwa omukisa, n’owasiza mutabani wange omukazi okuva mu bantu bange, era mu nnyumba ya kitange. 41 (AB)Naye ekirayiro kyange tekirikubaako bw’olituuka mu bantu bange ne batamukuwa, nga ggwe toliiko musango.’
42 (AC)“Leero bwe ntuuse ku luzzi, ne ŋŋamba nti, ‘Ayi Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, obanga onoowa omukisa olugendo luno lwe ndiko, 43 (AD)laba, nnyimiridde awali oluzzi, kale omuwala anajja okusena amazzi, ne mugamba nti, “Nkusaba ku tuzzi mu nsuwa yo nyweko,” 44 n’anziramu nti, “Nnywa, era n’eŋŋamira zo nazo nzija kuzisenera,” oyo y’aba abeera omukazi Mukama gw’alondedde mutabani wa mukama wange.’
45 (AE)“Laba, bwe nabadde nga nkyayogera mu mutima gwange, Lebbeeka n’avaayo n’ensuwa ye ng’eri ku kibegabega kye, n’aserengeta ku luzzi n’asena amazzi. Ne mugamba nti, ‘Nkusaba ompe nyweko.’
46 (AF)“Nassa mangu ensuwa ye okuva ku kibegabega kye, n’agamba nti, ‘Nnywa, era nnaanywesa n’eŋŋamira zo.’
47 (AG)“Kwe ku mubuuza nti, ‘Oli muwala w’ani?’ N’anziramu nti, ‘Ndi muwala wa Besweri, mutabani wa Nakoli, Mirika gwe yamuzaalira.’ Ne nteeka empeta ku nnyindo ye n’ebikomo ku mikono gye. 48 (AH)Awo ne nkutamya omutwe gwange ne nsinza Mukama ne muwa ekitiibwa, Katonda wa mukama wange Ibulayimu eyankulembera nannuŋŋamya mu lugendo lwange okuwasiriza mutabani wa mukama wange omukazi okuva mu bantu ba mukama wange. 49 (AI)Kale kaakano obanga mu mazima munaakolera mukama wange ebyekisa, mumbuulire, era obanga si bwe kityo mumbuulire; ndyoke mmanye eky’okukola.”
Lebbeeka Agenda n’Omuddu
50 (AJ)Awo Labbaani ne Besweri ne baddamu nti, “Kino kivudde wa Mukama, tetuyinza kukuddamu kino oba kiri. 51 Laba, Lebbeeka wuuyo, mutwale, agende abeere muka mutabani wa mukama wo, nga Mukama bw’alagidde.”
52 (AK)Omuddu wa Ibulayimu bwe yawulira ebigambo byabwe n’avuunama wansi mu maaso ga Mukama. 53 (AL)N’aggyayo eby’obugagga ebya ffeeza ne zaabu, n’ebyambalo n’abiwa Lebbeeka, era n’awa mwannyina ne nnyina ebirabo eby’omuwendo omungi. 54 (AM)Awo ye n’abasajja be yali nabo ne balyoka balya era ne banywa; ne basulayo ekiro ekyo.
Bwe baagolokoka enkya n’agamba nti, “Ka nzireyo eri mukama wange.”
55 Mwannyina ne nnyina ne bamuddamu nti, “Leka omuwala abeereko naffe akaseera, wakiri ennaku kkumi, olwo mulyoke mugende.”
56 Ye n’abaddamu nti, “Temundwisa, kubanga Mukama awadde olugendo lwange omukisa.” 57 Ne bagamba nti, “Ka tuyite omuwala tumubuuze.” 58 Ne bayita Lebbeeka, ne bamubuuza nti, “Onoogenda n’omusajja ono?” N’addamu nti, “Nnaagenda.”
59 (AN)Awo ne basiibula Lebbeeka mwannyinaabwe, n’omuweereza we omuwala, n’omuweereza wa Ibulayimu omusajja awamu n’abasajja be. 60 (AO)Ne basabira Lebbeeka omukisa ne bamugamba nti,
“Mwannyinaffe beera nnyina
w’enkumi n’enkumi,
abaana n’abazzukulu bo balyenga
ebibuga by’abalabe baabwe.”
61 Awo Lebbeeka n’abaweereza be ne basituka ne beebagala eŋŋamira ne bagenda n’omuweereza wa Ibulayimu omusajja, bw’atyo omuddu n’atwala Lebbeeka ne bagenda.
Isaaka ne Lebbeeka Bafumbiriganwa
62 (AP)Olwo Isaaka yali ng’avudde e Beerirakayiroyi ng’ali mu Negevu. 63 (AQ)Awo bwe yali ng’atambula nga bw’afumiitiriza mu nnimiro akawungeezi, n’ayimusa amaaso ge n’alengera eŋŋamira nga zijja. 64 Ne Lebbeeka n’ayimusa amaaso ge. Bwe yalengera Isaaka n’ava ku ŋŋamira, 65 n’abuuza omuddu nti, “Ani oyo gwe nnengera mu nnimiro ajja okutusisinkana?”
Omuddu n’addamu nti, “Ye mukama wange.” Lebbeeka kwe kutoola omunagiro gwe ne yeebikkirira.
66 Awo omuddu n’ategeeza Isaaka byonna nga bwe byagenda. 67 (AR)Awo Isaaka n’atwala Lebbeeka n’amuyingiza mu weema eyali eya Saala nnyina, n’afuuka mukazi we n’amwagala. Isaaka n’alyoka afuna essanyu kasookedde afiirwa nnyina.[b]
23 Awo Yesu n’ayogera eri ebibiina n’abayigirizwa be ng’agamba nti, 2 (A)“Abawandiisi n’Abafalisaayo batudde ku ntebe ya Musa. 3 Noolwekyo mukole era mwekuume buli kye babagamba wabula temugoberera bikolwa byabwe. Kubanga boogera naye ne batakola bye bagamba. 4 (B)Basiba emigugu emizito ne bagitikka abalala, so nga bo n’okugezaako tebagezaako kukwatako n’engalo yaabwe.
5 (C)“Buli kye bakola bakikola abantu babalabe. Bambala ku mikono gyabwe obusawo[a] omuli ennyiriri eziva mu Byawandiikibwa, ne bawanvuya amatanvuuwa ku byambalo byabwe, agajjukiza abagambala okudda eri Mukama, nga babikola okulaga ababalaba. 6 (D)Baagala nnyo ebifo eby’oku mwanjo ku mbaga, ne mu bifo eby’ekitiibwa mu makuŋŋaaniro. 7 (E)Banyumirwa nnyo okuweebwa ekitiibwa mu butale n’okuyitibwa ‘Labbi.’
8 “Temweyitanga ‘Labbi[b] ,’ kubanga Katonda yekka ye Muyigiriza wammwe, naye mmwe muli baaluganda. 9 (F)Era temuyitanga muntu yenna ku nsi ‘Kitammwe,’ kubanga Katonda ali mu ggulu ye yekka gwe muteekwa okuyita bwe mutyo. 10 Era temuganyanga muntu yenna kubayita ‘bayigiriza,’ kubanga omuyigiriza wammwe ali omu yekka, ye Kristo. 11 (G)Oyo ayagala abantu okumussaamu ekitiibwa. Asaana abeere muweereza waabwe. 12 (H)Naye buli alyegulumiza alikkakkanyizibwa, na buli alyetoowaza aligulumizibwa.
13 (I)“Zibasanze mmwe Abawandiisi, nammwe Abafalisaayo. Bannanfuusi mmwe! Muziyiza abantu abalala okuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu, ate nammwe ne mutayingira.
14 “Bannanfuusi mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Mulowoozesa abantu nti muli batuukirivu nga musaba essaala, so ng’ate mwekyusa ne mugobaganya bannamwandu mu mayumba gaabwe. 15 (J)Zibasanze bannanfuusi mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Kubanga mutambula okwetooloola ennyanja ne ku lukalu musobole okukyusa omuntu, naye bw’akyuka, mumufuula mwana wa ggeyeena okusingawo emirundi ebiri.
16 (K)“Zibasanze mmwe abakulembeze abazibe b’amaaso abagamba nti, ‘Okulayira Yeekaalu, si nsonga, naye oyo alayira zaabu ali mu Yeekaalu, asaana okukituukiriza!’ 17 (L)Mmwe abatalina magezi abazibe b’amaaso! Ku ebyo byombi kiruwa ekisingako obukulu, zaabu oba Yeekaalu efuula zaabu okuba entukuvu? 18 Ate mugamba nti, ‘Omuntu okulayira ekyoto, kirina amakulu, naye bw’alayira ebirabo ebireeteddwa ku kyoto, asaana okukituukiriza!’ 19 (M)Mmwe abazibe b’amaaso, ku byombi kiruwa ekisinga kinnaakyo obukulu, ekirabo ekiri ku kyoto oba ekyoto kyennyini ekifuula ekirabo ekyo okuba ekitukuvu? 20 Bwe mulayira ekyoto, muba mulayira ekyoto n’ebikiriko byonna, 21 (N)era bwe mulayira Yeekaalu muba mulayira Yeekaalu ne Katonda agibeeramu. 22 (O)Era bwe mulayira eggulu, muba mulayira n’entebe ya Katonda ey’obwakabaka n’oyo yennyini agituulako.
23 (P)“Zibasanze, mmwe Abawandiisi, nammwe Abafalisaayo! Bannanfuusi mmwe! Kubanga muwaayo ekimu eky’ekkumi ku buli kintu, ne ku buli kika kya muddo oguwunyisa obulungi era oguwoomesa enva, okutuukira ddala ne ku kalagala akasinga obutono, naye ne mulagajjalira ebintu ebisinga obukulu eby’amateeka, ng’obwenkanya, n’okusaasira n’okukkiriza. Weewaawo musaanidde okuwaayo ekitundu eky’ekkumi, naye ebintu ebirala ebisinga obukulu temusaanidde kubiragajjalira. 24 (Q)Mmwe abakulembeze abazibe b’amaaso! Musengejja akabu muleme kukanywera mu mazzi, naye ne munyweramu eŋŋamira!
25 (R)“Zibasanze mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Bannanfuusi mmwe! Muzigula kungulu kw’ekikopo ne kungulu kw’ebbakuli, naye nga munda mujjudde omululu n’okwefaako mwekka. 26 Mmwe Abafalisaayo abazibe b’amaaso! Musooke mulongoose munda w’ekikopo olwo nno mulongoose ne kungulu.
27 (S)“Zibasanze mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Mulabika ng’amalaalo agatemagana kungulu,[c] songa munda gajjudde amagumba g’abafu n’obuvundu obwa buli ngeri. 28 Mulabika ng’abantu abatuukirivu kungulu, songa munda mujjudde obunnanfuusi n’obumenyi bw’amateeka.
29 (T)“Zibasanze mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Bannanfuusi mmwe! Kubanga muzimbira bannabbi ebijjukizo, ne mutimba ebijjukizo, by’abatuukirivu, 30 ne mulyoka mugamba nti, ‘Naye ddala singa twaliwo mu biseera bya bajjajjaffe tetwandisizza kimu nabo mu kuyiwa omusaayi gw’abannabbi.’ 31 (U)Bwe mwogera mutyo muba mwessaako omusango nga bwe muli abaana b’abo abatta bannabbi. 32 (V)Mugenda nga mutuukiriza ebyo bajjajjammwe bye bataamaliriza.
33 (W)“Mmwe emisota! Abaana b’embalasaasa muliwona mutya omusango ogugenda okubatwaza mu ggeyeena? 34 (X)Kyenva mbaweereza bannabbi, n’abasajja ab’amagezi, n’abawandiisi, abamu mulibatta nga mubakomerera ku musaalaba, n’abalala mulibakuba embooko mu makuŋŋaaniro gammwe, ne mubagobaganya mu bibuga byammwe. 35 (Y)Bwe mutyo omusango gw’okutemula abatuukirivu, okutandikira ku Aberi omutuukirivu okutuuka ku Zaakaliya, mutabani wa Balakiya gwe mwattira wakati wa yeekaalu n’ekyoto, ne gubasingira ddala. 36 (Z)Ddala ddala mbagamba nti ebyo byonna birituuka ku mulembe guno.
37 (AA)“Ggwe Yerusaalemi, ggwe Yerusaalemi atta bannabbi, n’okuba amayinja abo ababa batumiddwa gy’oli, emirundi nga mingi nnyo gye njagadde okukuŋŋaanya abaana bo ng’enkoko bw’ekuŋŋaanya obwana bwayo mu biwaawaatiro byayo, naye n’ogaana. 38 (AB)Laba kaakano ennyumba yo esigalidde awo, kifulukwa. 39 (AC)Kubanga nkugamba nti toliddayo kundaba nate, okutuusa ng’oyogedde nti, ‘Aweereddwa omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.’ ”
Enkyukakyuka za Nekkemiya Ezasembayo
13 (A)Ku lunaku olwo, Ekitabo kya Musa ne kisomebwa ng’abantu bawulira, ne bazuula nga kyawandiikibwa nti tewabanga Omwamoni newaakubadde Omumowaabu akkirizibwanga okuyingira mu kuŋŋaaniro lya Katonda, 2 (B)kubanga tebaayaniriza Bayisirayiri na mmere newaakubadde amazzi, wabula baagulirira Balamu akolimire Abayisirayiri. Kyokka Katonda waffe yafuula ekikolimo okuba omukisa. 3 (C)Abantu bwe baawulira etteeka eryo, ne bagoba bannaggwanga bonna mu Isirayiri.
4 (D)Ebyo nga tebinnabaawo, Eriyasibu omu ku bakabona, yali aweereddwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga amawanika g’ennyumba ya Katonda waffe, kyokka nga mukwano nnyo wa Tobiya. 5 (E)Eriyasibu yali awadde Tobiya ekimu ku bisenge ebigazi omwali muterekebwa ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, n’omugavu, n’ebintu ebikozesebwa mu kusinza, ne kimu kya kkumi eky’emmere ey’empeke, ne wayini omuggya, awamu n’omuzigo ogwaweebwanga Abaleevi, n’abayimbi, n’abakuumi ba wankaaki, n’ebyo ebyaweebwanga bakabona.
6 (F)Kyokka ebyo byonna bwe byali bikolebwa, ssaali mu Yerusaalemi, kubanga mu mwaka ogw’amakumi asatu mu ebiri ogw’obufuzi bwa Alutagizerugizi kabaka w’e Babulooni, nnali nzizeeyo eri kabaka. Oluvannyuma lw’ebbanga, ne nsaba kabaka, 7 (G)ne nkomawo e Yerusaalemi, ne manyisibwa ekibi Eriyasibu kye yali akoze, bwe yawa Tobiya ekisenge mu mpya z’ennyumba ya Katonda. 8 (H)Ne nyiiga nnyo era ne nkasuka ebintu bya Tobiya byonna ebweru, okubiggya mu kisenge. 9 (I)Ne ndagira ebisenge bitukuzibwe, n’oluvannyuma ebintu ebyabeeranga mu nnyumba ya Katonda, n’emmere ey’empeke, n’omugavu ne biddizibwamu.
10 (J)Ne ntegeezebwa ng’emigabo gy’Abaleevi nagyo gyali tegibaweerebbwa, era nga n’Abaleevi bonna awamu n’abayimbi baali bazzeeyo mu bibanja byabwe. 11 (K)Kyenava nnenya abakungu ne mbabuuza nti, “Lwaki ennyumba ya Katonda terabiriddwa?” Bonna ne mbayita ne mbagamba bakomewo mu bifo mwe baabeeranga.
12 (L)Yuda yenna ne baleeta ekimu eky’ekkumi eky’emmere ey’empeke ne wayini omuggya n’omuzigo, ne babiteeka mu mawanika. 13 (M)Ne nnonda Seremiya omu ku bakabona, ne Zadooki omuwandiisi, ne Pedaya omu ku Baleevi balabirirenga amawanika. Ne nnonda ne Kanani mutabani wa Zakkuli, mutabani wa Mattaniya okubayambangako; baali basajja beesimbu.
14 (N)Ozinjukirenga Ayi Katonda wange olw’ekikolwa ekyo, oleme okusangulawo ebyo byonna bye nakolera ennyumba ya Katonda wange, n’okuweereza kwe naweereza n’obwesigwa.
15 (O)Mu biro ebyo, ne ndaba abasajja mu Yuda, nga basogola omwenge ku Ssabbiiti, era nga baleeta emmere ey’empeke awamu ne wayini, n’emizabbibu, n’ettiini, n’emigugu emirala egya buli ngeri, nga babitisse endogoyi. Bino baali babiyingiza mu Yerusaalemi ku Ssabbiiti. Kyenava mbalabula obutatunda mmere ku lunaku olwo. 16 (P)Abantu b’e Ttuulo abaatuulanga mu Yerusaalemi, baaleetanga ebyennyanja n’ebyamaguzi eby’engeri ez’enjawulo, nga babitunza abantu ba Yuda mu Yerusaalemi ku Ssabbiiti. 17 Nanenya abakulembeze ba Yuda ne mbagamba nti, “Kiki kino eky’ekivve kye mukola nga mwonoona olunaku lwa Ssabbiiti? 18 (Q)Bajjajjammwe tebaakola bintu bye bimu, Katonda waffe n’alyoka aleeta ekikangabwa kino kyonna ku ffe ne ku kibuga kyaffe kino? Kaakano mwongera kusiikula kiruyi kirala eri Isirayiri nga mwonoona Ssabbiiti?”
19 (R)Awo ebisiikirize ebya kawungeezi bwe byali bitandise okugwa ku miryango gya Yerusaalemi, nga Ssabbiiti tennatuuka, ne ndagira emiryango okuggalwa era gireme okuggulwa okutuusa nga Ssabbiiti eweddeko. Nateeka abamu ku basajja bange ku miryango, waleme kubaawo mugugu guyingizibwa wadde ogufulumizibwa ku Ssabbiiti. 20 Omulundi gumu oba ebiri, abasuubuzi n’abatundanga ebintu eby’engeri zonna baasula ebweru w’ekibuga Yerusaalemi. 21 Kyokka ne mbalabula nga mbagamba nti, “Lwaki musula awo ku bbugwe? Bwe munaddamu okukikola nzija kubabonereza.” Okuva ku olwo tebaddayo kujja ku Ssabbiiti. 22 (S)Ne ndyoka ndagira Abaleevi okwetukuza bagende bakuume emiryango, okusobola okukuuma olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu.
Onzijukire olwa kino nakyo Ayi Katonda wange, era ondage ekisa okusinziira ku kwagala kwo okungi.
23 (T)Ate era mu nnaku ezo, ne ndaba abasajja ba Yuda abaali bawasizza abakazi okuva mu Asudodi, ne Amoni, ne Mowaabu. 24 Kimu kyakubiri ku baana baabwe baali boogera olulimi lw’Abasudodi, oba olumu ku nnimi z’abantu abalala. 25 (U)Ne mbanenya ne mbakolimira. Ne nkubako abamu ku basajja abo Abayudaaya, ne mbakuunyuulako enviiri. Ne mbalayiza mu linnya lya Katonda nga mbagamba nti, “Temuwangayo bawala bammwe kufumbirwa batabani baabwe, wadde bawala baabwe okufumbirwa batabani bammwe, oba mmwe mwennyini. 26 (V)Okufumbiriganwa okw’engeri eyo, si kwe kwaleetera Sulemaani kabaka wa Isirayiri okwonoona? Mu mawanga gonna, tewaali kabaka nga ye. Yali ayagalibwa nnyo Katonda, era Katonda yamufuula kabaka wa Isirayiri yonna, kyokka abakazi bannaggwanga amalala, baamuwabya, n’akola ebibi. 27 (W)Ate tuwulira nga mukoze ebintu bino ebibi bwe bityo. Temuba beesigwa eri Katonda waffe bwe muwasa abakazi bannamawanga.”
28 (X)Omu ku batabani ba Yekoyaada, mutabani wa Eriyasibu kabona omukulu yali mukoddomi wa Sanubalaati Omukoloni. Ne mmugoba we ndi.
29 (Y)Bajjukire, Ayi Katonda wange, kubanga baayonoona omulimu gw’obwakabona n’endagaano y’obwakabona ne ey’Abaleevi.
30 (Z)Ne ntukuza bakabona awamu n’Abaleevi okuva mu buli kintu kyonna ekitali kitukuvu, buli omu ne mmuwa emirimu egy’okukola. 31 (AA)Ne nteekawo enkola ey’abantu okuwaayo enku mu biseera ebigereke, era n’ebibala ebibereberye.
Onzijukire n’okwagala kwo Ayi Katonda wange.
23 (A)Awo Pawulo n’atunuulira Olukiiko enkaliriza, n’agamba nti, “Baganda bange, obulamu bwange bwonna mbadde ntambulira mu makubo ga Katonda okutuusiza ddala ne ku lunaku lwa leero.” 2 (B)Bwe yayogera atyo, Ananiya, Kabona Asinga Obukulu, n’alagira abo abayimiridde okumpi ne Pawulo bamukubemu oluyi ku mimwa. 3 (C)Pawulo n’amugamba nti, “Naawe Katonda agenda kukukuba oluyi, oli ng’ekisenge ekiva okusiigibwa ennoni! Oli mulamuzi ki ggwe amenya amateeka ng’olagira bankube mu ngeri eyo, so ng’osuubirwa okugagoberera ng’onsalira omusango?”
4 Abo abaali bayimiridde okumpi ne Pawulo ne bamugamba nti, “Bw’otyo bw’oyogera ne Kabona Asinga Obukulu owa Katonda?”
5 (D)Pawulo n’addamu nti, “Baganda bange, sitegedde nga ye Kabona Asinga Obukulu, kubanga Ebyawandiikibwa bigamba nti, ‘Toyogeranga bubi ku bafuzi bammwe.’ ”
6 (E)Awo Pawulo bwe yalaba ng’abamu abali mu Lukiiko Basaddukaayo n’abalala nga Bafalisaayo, n’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka eri olukiiko nti, “Baganda bange, nze ndi Mufalisaayo, ne bakadde bange Bafalisaayo! Kaakano mpozesebwa lwa kubanga nzikiriza nga waliwo okuzuukira kw’abafu!” 7 Bwe baawulira ebyo, Olukiiko ne lwawukanamu wabiri ne wabaawo empaka za maanyi wakati w’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo, 8 (F)kubanga Abasaddukaayo bagamba nti tewali kuzuukira wadde bamalayika, wadde omwoyo ogutafa, naye bo Abafalisaayo ebyo byonna babikkiriza.
9 (G)Awo empaka ne zikwata wansi ne waggulu, abamu ku bannyonnyozi b’amateeka, nga ba mu kibiina kya Bafalisaayo, ne beekubira ku ludda lwa Pawulo nga bagamba nti, “Ffe tetulaba kisobyo kyonna omusajja ono ky’akoze. Obanga malayika yayogera naye, oba Mwoyo, ogwo nagwo guba musango?” 10 (H)Ne beeyongera nnyo okuwakana ng’abamu Pawulo bamusika bamulaza eno, ng’abalala bamulaza eri. Okutuusa omuduumizi w’abaserikale lwe yatandika okutya ng’alaba Pawulo baagala kumuyuzaamu wabiri, n’alagira abaserikale be bagende bamubaggyeko n’amaanyi bamuzzeeyo munda mu nkambi yaabwe.
11 (I)Ekiro ekyo Mukama waffe n’ayimirira awali Pawulo, n’amugamba nti, “Guma omwoyo, kubanga nga bw’onjulidde n’obuvumu wano mu Yerusaalemi, era bw’otyo bw’onookola ne mu Ruumi.”
Olukwe Okutta Pawulo
12 (J)Enkeera Abayudaaya ne bakuŋŋaana ne bakola olukwe. Ne beeyama nti tebajja kulya ku kintu kyonna oba okunywa, wabula nga bamaze okutta Pawulo! 13 Omuwendo gw’abantu abaali mu lukwe luno gwasinga ku makumi ana. 14 (K)Awo ne bagenda eri bakabona abakulu n’abakulembeze baabwe ne babategeeza nti, “Twerayiridde obutalya kintu kyonna okutuusa nga tusse Pawulo. 15 (L)Noolwekyo mugambe omuduumizi w’abaserikale akomyewo Pawulo mu Lukiiko. Mumugamba nti waliwo ebibuuzo bitonotono bye mwagala okwongera okumubuuza. Ffe tulyoke tumuttire mu kkubo nga bamuleeta.”
16 (M)Naye mutabani wa mwannyina Pawulo bwe yategeera olukwe olwo n’agenda mu nkambi y’abaserikale n’ategeeza Pawulo.
17 Awo Pawulo n’ayita omuserikale atwala banne n’amugamba nti, “Twala omulenzi ono eri omuduumizi wammwe, kubanga alina ekintu ekikulu ky’ayagala okumutegeeza.” 18 (N)Omuserikale n’atwala omulenzi eri omuduumizi waabwe n’amugamba nti, “Omusibe Pawulo ampise n’antuma ndeete omulenzi ono gy’oli ng’alina ky’ayagala okukutegeeza.”
19 Omuduumizi w’abaserikale n’akwata omulenzi ku mukono n’amuzza wabbali n’amubuuza nti, “Kiki ky’oyagala okuntegeeza?”
20 (O)Omulenzi n’amubuulira nti, “Enkya Abayudaaya bajja kukusaba ozzeeyo Pawulo mu Lukiiko lwabwe, nga beekwasiza ku kwagala abeeko ky’ayongera okwennyonnyolako. 21 (P)Tokkiriza! Kubanga waliwo abasajja amakumi ana abajja okwekwekerera abaserikale bo abanaaba bamutwala, bamufubutukireko bamutte. Kubanga beerayiridde obutalya n’obutanywa okutuusa nga bamaze okumutta. Kaakano bali eyo nga basuubira nti onokkiriza.”
22 Omuduumizi w’abaserikale bwe yali asiibula omulenzi n’amukuutira nti, “Tobuulirako muntu yenna nti ontegeezezza ebintu bino.”
Pawulo Atwalibwa e Kayisaliya
23 (Q)Awo omuduumizi w’abaserikale n’ayita abamyuka be babiri n’abalagira nti, “Mutegeke ekibinja ky’abaserikale ebikumi bibiri, n’abeebagala embalaasi abaserikale nsanvu, n’ab’amafumu ebikumi bibiri, bagende e Kayisaliya ekiro kya leero ku ssaawa ssatu. 24 (R)Mutegekeewo n’embalaasi Pawulo z’ajja okweyambisa mu lugendo alyoke atwalibwe bulungi atuusibwe mirembe ewa Gavana Ferikisi.”
25 Awo n’awandiikira gavana ebbaluwa eno nti:
26 (S)Nze Kulawudiyo Lusiya, nkulamusa Oweekitiibwa Gavana Ferikisi.
27 (T)Omusajja ono Abayudaaya baamukwata, naye baali bagenda okumutta, nze kwe kuweerezaayo abaserikale bange ne bamutaasa, kubanga nnali ntegedde nga Muruumi. 28 (U)Awo ne mmutwala mu Lukiiko lwabwe ntegeere ekisobyo kye yali akoze. 29 (V)Ne nvumbula ng’ensonga ze baali bamuvunaana zaali zifa ku bya kukkiriza kwabwe na by’amateeka gaabwe naye nga tezisaanyiza kussa muntu wadde okumusibya mu kkomera. 30 (W)Naye bwe nategeezebwa nti waliwo olukwe olw’okumutta, kwe kusalawo okukumuweereza, era nzija kulagira baleete ensonga zaabwe gy’oli.
31 Awo abaserikale ne basitula ekiro ekyo, nga bwe baalagirwa, ne batwala Pawulo ne batuuka mu Antipatuli. 32 (X)Enkeera ekibinja eky’oku mbalaasi ne kitwala Pawulo e Kayisaliya, abaserikale abalala bo ne baddayo mu nkambi yaabwe. 33 (Y)Abaserikale ab’omu kibinja eky’oku mbalaasi bwe baatuuka e Kayisaliya ne batwala Pawulo ewa gavana n’ebbaluwa ne bagiwaayo. 34 (Z)Gavana bwe yamala okugisoma, n’abuuza Pawulo essaza mw’ava. Pawulo n’addamu nti, “Nva mu Kirukiya.” 35 (AA)Awo gavana n’amugamba nti, “Abakuvunaana bwe banaatuuka ne ndyoka mpulira ensonga zo mu bujjuvu.” N’alagira bagira bamukuumira mu kkomera eriri mu lubiri lwa Kerode.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.