Add parallel Print Page Options

(A)Abantu ba Isirayiri ne Yuda abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, nabo ne baleeta ekimu eky’ekkumi ku nte n’endiga, n’ekimu eky’ekkumi eky’ebintu ebyatukuzibwa ebyayawulirwa Mukama Katonda waabwe, ne babituuma entuumo.

Read full chapter

51 (A)Omulimu gwonna Kabaka Sulemaani gwe yakola ku yeekaalu ya Mukama bwe gwaggwa, n’aleeta ebintu Dawudi kitaawe bye yayawulirako Mukama, effeeza ne zaabu n’ebintu ebirala byonna, n’abiteeka mu mawanika ga yeekaalu ya Mukama.

Read full chapter

37 (A)“Tunaaleetanga mu mawanika g’ennyumba ya Katonda waffe, eri bakabona, ekitole ekibereberye ku mmere gye tunaabanga tugoyezza, ne ku biweebwayo byaffe, ne ku bibala ebya buli muti gwaffe ebiriibwa, ne ku wayini waffe, ne ku mafuta. Ate era tunaaleeteranga Abaleevi ekimu eky’ekkumi ku bimera byaffe, kubanga Abaleevi be bakuŋŋaanya ebitundu eby’ekkumi mu byalo byaffe byonna gye tulimira. 38 (B)Kabona, ow’omu lulyo lwa Alooni, yanaawerekeranga abaleevi, bwe banaabanga bagenze okukima ebitundu eby’ekkumi, era Abaleevi banaaleetanga kimu kya kkumi ku bitundu eby’ekkumi mu nnyumba ya Katonda waffe, mu bisenge, mu mawanika.[a] 39 (C)Abantu ba Isirayiri okwo nga kw’otadde n’Abaleevi, banaaleetanga ebirabo byabwe eby’emmere ey’empeke, ne wayini omuggya, n’omuzigo mu mawanika, ebintu eby’omu kifo ekitukuvu gye biterekebwa, era bakabona abaweereza, n’abakuuma wankaaki n’abayimbi gye babeera.

“Tetuulagajjalirenga nnyumba ya Katonda waffe.”

Read full chapter

Footnotes

  1. 10:38 Mu luggya lwa Yeekaalu mwalingamu amawanika omwaterekebwanga ebintu ebitukuvu.

10 (A)Muleete ekimu eky’ekkumi ekijjuvu mu nnyumba yange, ennyumba yange ebeeremu emmere, era mungezese,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “obanga siribaggulirawo ebituli eby’omu ggulu, ne mbawa omukisa ne gutabaako ne we guligya.

Read full chapter