Add parallel Print Page Options

Okusaba kwa Ezera ku Nsonga ey’Okufumbiriganwa mu mawanga

(A)Oluvannyuma lw’ebintu ebyo okukolebwa,[a] abakulembeze ne bajja gye ndi ne boogera nti, “Abantu ba Isirayiri, omwo nga mwe muli bakabona n’Abaleevi, tebeeyawudde ku mawanga agabaliraanye n’ebikolwa byabwe eby’emizizo. Tebeeyawudde ku Bakanani, ne ku Bakiiti ne ku Baperizi ne ku Bayebusi ne ku Bamoni ne ku Bamowaabu ne ku Bamisiri ne ku Bamoli. (B)Bawasizza abamu ku bawala baabwe, n’abawala ne bafumbirwa abamu ku batabani baabwe, bwe kityo eggwanga ettukuvu ne lyetabula n’amawanga agabeetoolodde. Ku nsonga eyo abakulembeze n’abakungu, be basinze okwonoona.”

Read full chapter

Footnotes

  1. 9:1 Bino byabaawo oluvannyuma lw’emyezi mwenda, Ezra ng’akomyewo mu Yerusaalemi.

11 (A)Yuda takuumye bwesigwa n’eby’omuzizo ne bikolebwa mu Isirayiri ne mu Yerusaalemi. Kubanga Yuda yayonoona ekifo kya Mukama ekitukuvu, ky’ayagala ennyo, bwe yawasa omuwala wa lubaale.

Read full chapter

Enkyukakyuka za Nekkemiya Ezasembayo

13 (A)Ku lunaku olwo, Ekitabo kya Musa ne kisomebwa ng’abantu bawulira, ne bazuula nga kyawandiikibwa nti tewabanga Omwamoni newaakubadde Omumowaabu akkirizibwanga okuyingira mu kuŋŋaaniro lya Katonda,

Read full chapter

30 (A)“Tusuubiza obutafumbiza bawala baffe mu bantu abatwetoolodde, newaakubadde okukkiriza batabani baffe okuwasa bawala baabwe.

Read full chapter