M’Cheyne Bible Reading Plan
Okulwala kwa Keezeekiya
20 Mu biro ebyo Keezeekiya n’alwala n’abulako katono okufa. Nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi n’agenda gy’ali n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti: Teekateeka ennyumba yo, kubanga ogenda kufa so togenda kuwona.”
2 Keezeekiya ne yeekyusa n’atunuulira ekisenge, ne yeegayirira Mukama ng’agamba nti, 3 (A)“Jjukira, Ayi Mukama Katonda, nga bwe ntambulidde mu maaso go mu bwesigwa n’omutima ogutuukiridde, era ne nkola ebirungi mu maaso go.” Keezeekiya n’akaaba nnyo.
4 Awo Isaaya bwe yali nga tannava mu luggya olwa wakati, ekigambo kya Mukama ne kimujjira nti, 5 (B)“Ddayo ogambe Keezeekiya omukulembeze w’abantu bange nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa jjajjaawo Dawudi nti: Mpulidde okusaba kwo, era n’amaziga go ngalabye. Nzija kukuwonya. Oluvannyuma lw’ennaku ssatu onooyambuka n’olaga mu yeekaalu ya Mukama. 6 (C)Ndikwongerako emyaka emirala kkumi n’ettaano, era laba ndikulokola ggwe n’ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli, nga nnwanirira ekibuga kino ku lwange nze ne ku lw’omuddu wange Dawudi.’ ”
7 (D)Awo Isaaya n’alagira baleete ekitole ky’ettiini, ne bakisiiga ku jjute, Keezeekiya n’awona.
8 Keezeekiya yali abuuzizza Isaaya nti, “Kabonero ki akalindaga nti Mukama amponyezza, era nti ndyambuka mu yeekaalu ya Mukama nga wayiseewo ennaku ssatu?”
9 (E)Isaaya n’addamu nti, “Kano ke kaliba akabonero gy’oli okuva eri Mukama nti ajja kutuukiriza kye yasuubiza: ekisiikirize kinaatambula mu maaso amadaala kkumi, oba kinaaddayo emabega amadaala kkumi?”
10 Keezeekiya n’addamu nti, “Kintu kyangu nnyo ekisiikirize okugenda mu maaso amadaala kkumi, Noolwekyo kiddeyo emabega amadaala kkumi.”
11 (F)Awo Isaaya n’akoowoola erinnya lya Mukama, era Mukama n’azzaayo ekisiikirize emabega amadaala kkumi okuva ne we kyali ku madaala ga Akazi.
Obusirusiru bwa Keezeekiya
12 Mu biro ebyo Berodakubaladani mutabani wa Baladani kabaka w’e Babulooni n’aweereza Keezeekiya ebbaluwa n’ekirabo, kubanga yawulira nti Keezeekiya yali alwadde. 13 Keezeekiya n’ayaniriza ababaka abaleeta ebbaluwa, n’abalambuza amawanika ge gonna omwali eby’omuwendo ebingi ng’effeeza, ne zaabu, n’ebyakaloosa n’amafuta ag’omuwendo omungi. Yabalambuza ennyumba omwali ebyokulwanyisa, n’eby’omuwendo ebirala ebyali mu mawanika ge. Tewali kintu mu lubiri wadde mu bwakabaka bwe bwonna Keezeekiya ky’ataabalaga.
14 Awo nnabbi Isaaya n’agenda eri Kabaka Keezeekiya n’amubuuza nti, “Abasajja abo bagambye ki era bavudde wa?”
Keezeekiya n’addamu nti, “Bavudde mu nsi ey’ewala mu Babulooni.”
15 Nnabbi n’amubuuza nti, “Balabye ki mu lubiri lwo?”
N’addamu nti, “Balabye buli kintu mu lubiri lwange, tewali na kimu ku by’omu mawanika gange kye nabakwese.”
16 Isaaya n’agamba Keezeekiya nti, “Wuliriza Mukama Katonda ky’agamba: 17 (G)Laba, ekiseera kijja byonna ebiri mu lubiri lwo, ne byonna bajjajjaabo bye baatereka, lwe biritwalibwa e Babulooni. Tewaliba kintu ekirisigalawo,” bw’ayogera Mukama. 18 (H)“Era abamu ku bazzukulu bo, ab’omubiri gwo n’omusaayi gwo, abaliba bakuzaaliddwa balitwalibwa mu busibe, era baliba balaawe mu lubiri lwa kabaka w’e Babulooni.”
19 Keezeekiya n’addamu nti, “Ekigambo kya Mukama ekyo ky’oyogedde kirungi.” Yalowooza mu mutima gwe nti, “Kasita, emirembe n’obutebenkevu binaabeerangawo mu mirembe gyange.”
20 (I)Ebirala byonna ebyabaawo mu mirembe gya Keezeekiya n’ebyobuzira bye byonna, ne bwe yakola ekidiba n’omudumu omunene ebyaleetanga amazzi mu kibuga, tebyawandiikibwa mu kitabo ky’ebyafaayo eky’ebyomumirembe bya bassekabaka ba Yuda? 21 Keezeekiya n’afa, mutabani we Manase n’amusikira okuba kabaka.
Okulabula okussaayo Omwoyo
2 Kyekivudde kitusaanira okussaayo ennyo omwoyo ku bintu bye twawulira, si kulwa nga tuwaba ne tubivaako. 2 (A)Obanga ekigambo ekyayogerwa bamalayika kyakola, na buli eyayonoona era n’ajeemera ekigambo ekyo, yaweebwa ekibonerezo ekimusaanira, 3 (B)ffe tuliwona tutya bwe tuliragajjalira obulokozi obukulu obwenkana awo? Obulokozi obwo bwasooka okwogerwa Mukama waffe, ne bulyoka bukakasibwa abo abaabuwulira. 4 (C)Katonda yakikakasiza mu bubonero ne mu by’ekitalo ne mu byamagero abitali bimu, era ne mu birabo ebya Mwoyo Mutukuvu bye yagaba nga bwe yayagala.
5 Ensi empya gye twogerako si yakufugibwa bamalayika. 6 (D)Waliwo mu byawandiikibwa, omuntu we yagambira Katonda nti,
“Omuntu kye ki ggwe okumujjukira?
Oba Omwana w’Omuntu ye ani ggwe okumussaako omwoyo?
7 Wamussa obuteenkana nga bamalayika, okumala akaseera katono,
wamutikkira engule ey’ekitiibwa n’ettendo,
8 (E)n’oteeka ebintu byonna wansi w’ebigere bye.”
Katonda atadde buli kintu wansi we. Kyokka kaakano tetulaba bintu byonna nga biteekeddwa wansi we. 9 (F)Naye tulaba Yesu eyassibwa wansi wa bamalayika okumala akaseera akatono. Olw’ekisa kya Katonda, yabonaabona n’afa, alyoke alege ku kufa ku lwa buli muntu, n’atikkirwa engule ey’ekitiibwa n’ettendo.
10 (G)Katonda oyo eyatonderwa ebintu byonna, era mu oyo Yesu Kristo ebintu byonna mwe byatonderwa, eyalondebwa okuleeta abaana abangi mu kitiibwa. Era kyasaanira Yesu okubonyaabonyezebwa, ng’omukulembeze omutuukirivu, okubaleetera obulokozi. 11 (H)Oyo atukuza era n’abo abatukuzibwa bava mu omu bonna. Noolwekyo takwatibwa nsonyi kubayita baganda be. 12 (I)Agamba nti,
“Nditegeeza baganda bange erinnya lyo,
era nnaakuyimbiranga ennyimba wakati mu kkuŋŋaaniro.”
13 (J)Era awalala agamba nti,
“Nze nnaamwesiganga oyo.”
Ate ne yeeyongera n’agamba nti,
“Laba nze n’abaana Katonda be yampa.”
14 (K)Olw’okubanga abaana balina omubiri n’omusaayi, naye yalina omubiri n’omusaayi, alyoke azikirize oyo alina amaanyi ag’okufa, ye Setaani. 15 (L)Yakikola alyoke awe eddembe abo bonna abaali bamaze obulamu bwabwe bwonna mu buddu olw’entiisa y’okufa. 16 Kubanga eky’amazima kiri nti tayamba bamalayika, ayamba zzadde lya Ibulayimu. 17 (M)Kyekyava kimugwanira mu byonna okufaananyizibwa baganda be, alyoke abeerenga Kabona Asinga Obukulu asaasira era omwesigwa mu kuweereza Katonda. Ekyo yakikola alyoke atangirire ebibi by’abantu. 18 (N)Yabonaabona, ye yennyini ng’akemebwa, alyoke ayambe abo abakemebwa.
Mukama Asunguwalira Isirayiri
13 (A)Efulayimu buli lwe yayogeranga, abantu baakankananga.
Yagulumizibwanga mu Isirayiri.
Naye bwe yayonoona olw’okusinza Baali, n’afa.
2 (B)Ne kaakano bongera okwonoona;
ne beekolera ebifaananyi ebisaanuuse mu ffeeza yaabwe,
ng’okutegeera kwabwe bwe kuli,
nga byonna mulimu gw’abaweesi.
Kigambibwa nti,
“Bawaayo ssaddaaka ez’abantu,
ne banywegera ebifaananyi eby’ennyana.”
3 (C)Kyebaliva babeera ng’olufu olw’oku makya,
oba ng’omusulo oguvaawo amangu,
ng’ebisusunku embuyaga ze bifumuula okubiggya mu gguuliro,
oba ng’omukka ogufulumira mu ddirisa.
4 (D)“Nze Mukama Katonda wo
eyakuggya mu nsi ya Misiri;
so tolimanya Katonda mulala wabula nze,
so tewali mulokozi wabula nze.
5 Nakulabirira mu ddungu,
mu nsi ey’ekyeya ekingi.
6 (E)Bwe nabaliisa, bakkuta;
bwe bakkuta ne beegulumiza,
bwe batyo ne banneerabira.
7 Kyendiva mbalumba ng’empologoma,
era ndibateegera ku kkubo ng’engo.
8 (F)Ng’eddubu erinyagiddwako abaana baalyo,
ndibalumba ne mbataagulataagula.
Era okufaananako ng’empologoma bw’ekola ndibaliira eyo,
ensolo ey’omu nsiko eribataagulataagula.
9 (G)Ndibazikiriza mmwe Isirayiri,
kubanga munnwanyisa.
10 (H)Kabaka wammwe ali wa, abalokole?
Abafuzi ab’omu bibuga byo byonna bali ludda wa,
be wayogerako nti,
‘Tuwe kabaka n’abafuzi?’
11 (I)Nabawa kabaka nga nsunguwadde,
ate ne mmubaggyako nga ndiko ekiruyi.
12 (J)Omusango gwa Efulayimu guterekeddwa,
era n’ekibi kye kimanyiddwa.
13 (K)Obubalagaze ng’obw’omukyala alumwa okuzaala bumujjira,
naye omwana olw’obutaba n’amagezi,
ekiseera bwe kituuka,
tavaayo mu lubuto.
14 (L)“Ndibanunulayo mu maanyi g’emagombe,
era ndibalokola mu kufa.
Ggwe kufa, endwadde zo ziri ludda wa?
Ggwe Magombe, okuzikiriza kwo kuli ludda wa?
“Sirimusaasira,
15 (M)ne bw’anaakulaakulana mu baganda be.
Empewo ey’ebuvanjuba erijja okuva eri Mukama,
ng’eva mu ddungu,
n’ensulo ze ne zikalira,
n’oluzzi lwe ne lukalira.
Eggwanika lye lirinyagibwa,
eby’omuwendo byonna ne bitwalibwa.
16 (N)Abantu b’e Samaliya balivunaanibwa omusango gwabwe
kubanga bajeemedde Katonda waabwe.
Balittibwa n’ekitala, n’abaana baabwe abato balibetentebwa,
n’abakyala baabwe abali embuto balibaagibwa.”
137 (A)Twatuula ku mabbali g’emigga gy’e Babulooni,
ne tukaaba amaziga bwe twajjukira Sayuuni.
2 Ne tuwanika ennanga zaffe
ku miti egyali awo.
3 (B)Abaatunyaga ne batulagira okuyimba,
abaatubonyaabonya ne batulagira okusanyuka;
nga bagamba nti, “Mutuyimbireyo lumu ku nnyimba za Sayuuni.”
4 Tunaayimba tutya oluyimba lwa Mukama
mu nsi eteri yaffe?
5 Bwe nnaakwerabiranga, ggwe Yerusaalemi,
omukono gwange ogwa ddyo gukale!
6 (C)Olulimi lwange lwesibire waggulu w’ekibuno kyange
singa nkwerabira,
ggwe Yerusaalemi, ne sikulowoozaako
okusinga ebintu ebirala byonna.
7 (D)Jjukira, Ayi Mukama, batabani ba Edomu kye baakola,[a]
ku lunaku Yerusaalemi lwe kyawambibwa;
ne baleekaana nti, “Kisuule,
kimalirewo ddala n’emisingi gyakyo.”
8 (E)Ggwe omuwala wa Babulooni, agenda okuzikirizibwa,
yeesiimye oyo alikusasula ebyo
nga naawe bye watukola.
9 (F)Yeesiimye oyo aliddira abaana bo
n’ababetentera[b] ku lwazi.
Zabbuli Ya Dawudi.
138 (G)Nnaakutenderezanga Ayi Mukama, n’omutima gwange gwonna;
ne mu maaso ga bakatonda abalala nnaayimbanga okukutendereza.
2 (H)Nvuunama nga njolekedde Yeekaalu yo Entukuvu,
ne ntendereza erinnya lyo
olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo;
kubanga wagulumiza ekigambo kyo
n’erinnya lyo okusinga ebintu byonna.
3 Olunaku lwe nakukoowoolerako wannyanukula;
n’onnyongeramu amaanyi mu mwoyo gwange.
4 (I)Bakabaka bonna ab’omu nsi banaakutenderezanga, Ayi Mukama,
nga bawulidde ebigambo ebiva mu kamwa ko.
5 Banaatenderezanga ebikolwa byo Ayi Mukama;
kubanga ekitiibwa kya Mukama kinene.
6 (J)Newaakubadde nga Mukama asukkulumye,
naye afaayo eri abo abeetoowaza; naye abeegulumiza ababeera wala.
7 (K)Newaakubadde nga neetooloddwa ebizibu,
naye ggwe okuuma obulamu bwange;
ogolola omukono gwo eri abalabe bange abakambwe,
era omukono gwo ogwa ddyo ne gumponya.
8 (L)Mukama alituukiriza ebyo by’anteekeddeteekedde;
kubanga okwagala kwo, Ayi Mukama, kubeerera emirembe gyonna.
Tolekulira ebyo bye watonda.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.