Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
2 Samwiri 16

Dawudi ne Ziba

16 (A)Awo Dawudi bwe yali ng’atambuddeko ebbanga ttono n’okuva awaali olusiisira, Ziba omuddu wa Mefibosesi n’ajja okumusisinkana. Yalina endogoyi bbiri eziriko amatandiiko, nga zeetisse emigaati ebikumi bibiri, n’ebirimba eby’ezabbibu enkalu kikumi, n’ebirimba eby’ebibala eby’ekyeya kikumi, n’ekita kya wayini. (B)Kabaka n’abuuza Ziba nti, “Bino oleese bya ki?” Ziba n’addamu nti, “Endogoyi za ba mu nnyumba ya kabaka okwebagalanga, n’emigaati n’ebibala bya bavubuka okulya, ne wayini, w’abo abaliyongobera mu ddungu.”

(C)Kabaka n’amubuuza nti, “Ate muzzukulu wa mukama wo ali ludda wa?” Ziba n’amuddamu nti, “Yasigadde mu Yerusaalemi, kubanga yalowoozezza nti, ‘Leero ennyumba ya Isirayiri eneenziriza obwakabaka bwa jjajjange.’ ”

Awo kabaka n’agamba Ziba nti, “Byonna ebibadde ebya Mefibosesi, kaakano bibyo.” Ziba n’ayogera nti, “Neeyanzizza, era ŋŋanje mu maaso go, mukama wange kabaka.”

Simeeyi Akolimira Dawudi

(D)Awo kabaka Dawudi bwe yali ng’anaatera okutuuka e Bakulimu ne wajja omusajja ow’omu kika ky’ennyumba ya Sawulo erinnya lye Simeeyi mutabani wa Gera; n’akolima nga bw’asembera okumpi ne we baali. N’akasuukirira Dawudi n’abakungu ba kabaka amayinja, naye abaserikale bonna n’abakuumi ba Dawudi nga bamwetoolodde ku luuyi lwe olwa ddyo ne ku luuyi lwe olwa kkono. Simeeyi n’akolima, nga bw’ayogera nti, “Fuluma, vva wano, ggwe omusajja eyasaaba omusaayi, era ataliiko bw’ali! (E)Mukama akusasudde olw’omusaayi gwonna gwe wayiwa mu nnyumba ya Sawulo, gwe waddira mu bigere. Mukama obwakabaka abugabidde mutabani wo Abusaalomu. Laba ekikutuusizza kw’ekyo, kubanga engalo zo zijjudde omusaayi!”

(F)Awo Abisaayi mutabani wa Zeruyiya[a] n’agamba kabaka nti, “Lwaki embwa eyo enfu ekolimira mukama wange kabaka? Leka ŋŋende mmutemeko omutwe.” 10 (G)Naye kabaka n’ayogera nti, “Luganda ki lwe nnina nammwe, mmwe batabani ba Zeruyiya? Bw’aba ng’ankolimira kubanga Mukama ye yamugambye nti, ‘Kolimira Dawudi,’ ani ayinza okubuuza nti, ‘Kiki ekikukoza bw’otyo?’ ”

11 (H)Awo Dawudi n’agamba Abisaayi n’abakungu be bonna nti, “Obanga mutabani wange, ow’omusaayi gwange agezaako okunzita, naye ate Omubenyamini oyo. Mumuleke, akolime, kubanga Mukama amulagidde. 12 (I)Oboolyawo Mukama anaalaba okunakuwala kwange n’ansasula obulungi olw’okukolima okwo.”

13 Awo Dawudi n’abasajja be ne bagenda ku lugendo lwabwe, naye Simeeyi n’ayitira ku lusozi okumwolekera nga bw’akolima, nga bw’amukasuukirira amayinja n’enfuufu. 14 (J)Kabaka n’abantu bonna abaali naye ne batuuka gye baali bagenda nga bakooye. N’aweereraweerera eyo.

Amagezi Kusaayi ne Akisoferi ge baawa

15 (K)Mu kiseera kye kimu, Abusaalomu n’abantu bonna aba Isirayiri ne bajja e Yerusaalemi, ne Akisoferi n’ajja naye. 16 (L)Awo Kusaayi Omwaluki, mukwano gwa Dawudi, n’ajja eri Abusaalomu n’ayogera nti, “Kabaka awangaale! Kabaka awangaale!” 17 (M)Abusaalomu n’abuuza Kusaayi nti, “Bw’otyo bw’olaga okwagala eri mukwano gwo Kabaka Dawudi? Kiki ekyakulobedde okugenda ne mukwano gwo?”

18 Kusaayi n’addamu Abusaalomu nti, “Nedda. Oyo Mukama gw’anaalonda, n’abantu bano, n’abasajja bonna aba Isirayiri, n’abanga wuwe era n’abeeranga naye. 19 (N)Era nate n’aweereza ani okuggyako mutabani we? Nga bwe naweerezanga kitaawo, bwe ntyo bwe nnaakuweerezanga.” 20 Abusaalomu n’agamba Akisoferi nti, “Tuwe ku magezi. Tunaakola tutya?”

21 Akisoferi n’addamu nti, “Weebake n’abakyala ba kitaawo be yalekawo okulabirira olubiri. Isirayiri yenna bwe banaawulira ng’ofuuse ekyenyinyalwa eri kitaawo, banaddamu amaanyi.” 22 (O)Awo ne basimbira Abusaalomu eweema waggulu ku nnyumba ne yeebaka n’abakyala ba kitaawe, nga Isirayiri yenna balaba.

23 (P)Mu biro ebyo okuteesa kwa Akisoferi, kwatwalibwanga okuba nga kuva eri Katonda, era Dawudi ne Abusaalomu bwe batyo bwe baatwalanga okuteesa kwe.

2 Abakkolinso 9

Okuyamba Bakristaayo bannaabwe

(A)Mmanyi bulungi nga tekinneetaagisa kubawandiikira ku nsonga y’okuweereza abatukuvu; (B)kubanga mmanyi nga bwe mwagala ennyo okuyamba, ne mikwano gyaffe wano mu Makedoniya nabategeezaako nga nnenyumiriza ku lwammwe nti ab’omu Akaya babadde beetegefu okuviira ddala mu mwaka ogwayita, era obumalirivu bwammwe bwakubiriza bangi. (C)Nabatumira abooluganda okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe kuleme kuba kwa bwereere mu nsonga eyo, mube beetegefu nga bwe nagamba. (D)Si kulwa ng’ab’e Makedoniya bajja nange ne babasanga nga temwetegese, ne tuswala, ne bwe tutaboogerako nti ye mmwe, mu kubeesiga mmwe. (E)Kyenvudde ndowooza nga kiŋŋwanidde okubagumya abooluganda, bano babasookeyo, bateeketeeke ekirabo kye mwasuubiza, ekirabo ekyo kitegekebwe kibeere omukisa so si ekintu eky’okuwalirizibwa.

(F)Naye mujjukire nti, “Asiga ekitono alikungula kitono, naye asiga ekinene alikungula kinene.” (G)Buli omu akola nga bw’asazeewo mu mutima gwe, si lwa nnaku, newaakubadde olw’okuwalirizibwa, kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu. (H)Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye muli, bulijjo mubeerenga n’ebibamala byonna mu buli kintu nga musukkirira mu mulimu gwonna omulungi, (I)nga bwe kyawandiikibwa nti,

“Yasaasaanya, yagabira abaavu.
    Obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna.”

10 (J)Kubanga oyo awa omulimi ensigo okusiga, ate n’amuwa n’emmere ey’okulya, anaayazanga ensigo yammwe era n’agyongerako, era anaayongeranga ebibala eby’obutuukirivu. 11 (K)Anaabagaggawazanga mu buli kintu, ekyebazisa Katonda mu ffe.

12 (L)Kubanga omulimu gw’obuweereza buno tegukoma ku kuyamba batukuvu abali mu kwetaaga kyokka, kusukkirira mu kwebaza okungi eri Katonda. 13 (M)Olw’obukakafu obuvudde mu buweereza obwo, Katonda agulumizibwa olw’okugonda okw’okwatula kwammwe eri Enjiri ya Kristo, ne mu kugaba kwe mwalaga mu bye mwabawa, n’eri abantu bonna, 14 era n’okubasabira kwe babasabira kubanga babaagala nnyo olw’ekisa kya Katonda eky’ekitalo kye mulina; 15 (N)Katonda yeebazibwe olw’ekirabo ekitayogerekeka.

Ezeekyeri 23

Abooluganda Ababiri Abenzi

23 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, (A)“Omwana w’omuntu waaliwo abakazi babiri, nnyabwe omu, (B)abeewaayo mu Misiri, ne bakola obwamalaaya okuviira ddala mu buto bwabwe, era eyo gye baakwatirakwatira ku mabeere ne batandika n’okumanya abasajja. Erinnya ly’omukulu nga ye Okola, ne muto we nga ye Okoliba. Baali bange, era banzalira abaana aboobulenzi n’aboobuwala. Okola ye yali ayitibwa Samaliya, Okoliba nga ye Yerusaalemi.

(C)“Okola n’akola obwamalaaya ng’akyali wange, n’akabawala ku baganzi be Abasuuli, abaserikale abaayambalanga kaniki, n’abaamasaza, n’abaduumizi b’eggye, bonna nga basajja balabika bulungi era nga beebagala embalaasi. (D)Yeewaayo okubeera malaaya eri abakulembeze ab’e Bwasuli, ne yeeyonoonyesa ne bakatonda abalala bonna aba buli muntu gwe yakabawalanga naye. (E)Teyalekayo bwamalaaya bwe yatandikira mu Misiri.

(F)“Kyenava muwaayo eri baganzi be Abasuuli, be yakabawalanga nabo. 10 (G)Baamwambula, ne batwala batabani be ne bawala be, ye ne bamutta n’ekitala. Yafuuka ekivume mu bakazi ne bamuwa n’ekibonerezo.

11 (H)“Newaakubadde nga muganda we Okoliba, yabiraba ebyo, yeeyongera mu bukaba bwe ne mu bwamalaaya bwe n’okusinga muganda we. 12 (I)Yakabawala n’Abasuuli, n’abaamasaza n’abaduumizi b’eggye n’abaserikale abaali bambadde obulungi engoye ennungi n’abeebagalanga embalaasi n’abaalabikanga obulungi abeegombebwanga. 13 Ne ndaba nga naye yeeyonoonye, era bombi nga bakutte ekkubo lye limu.

14 (J)“Naye wakati mu ebyo byonna, ne yeeyongeranga mu bwamalaaya bwe; n’alaba ebifaananyi eby’abasajja ebyasiigibwa ku bisenge, n’ebifaananyi eby’Abakaludaaya ebyatonebwa mu langi emyufu, 15 nga beesibye enkoba mu biwato, nga beesibye n’ebiremba ku mitwe, bonna nga bafaanana ng’abakungu ba Babulooni abavuga amagaali ab’omu nsi ey’Abakaludaaya. 16 Awo olwatuuka, n’abeegomba, n’abatumira ababaka mu Bukaludaaya. 17 Era Abababulooni ne bajja gy’ali, ne beebaka naye, era mu kwegomba kwe ne bamwonoona. Bwe baamusobyako n’abaviira, nga yeetamiddwa. 18 (K)Bwe yagenda mu maaso n’obwamalaaya bwe mu lwatu, n’ayolesa obwereere bwe, ne mmuviira nga nennyamidde, nga bwe nnava ku muganda we. 19 Newaakubadde nga namukola ebyo byonna, yeeyongeranga bweyongezi mu maaso, nga bwe yejjukanya ennaku ez’omu buvubuka bwe, bwe yakola obwamalaaya mu Misiri, 20 gye yakabawalira ku baganzi be, abaalina entula ez’ekisajja nga zifaanana ez’endogoyi, n’amaanyi agabavaamu ng’ag’embalaasi. 21 (L)Bw’otyo n’oyaayaanira okwegomba okw’omu buvubuka bwo, bwe wali mu Misiri ne bakukwatirira mu ngeri ey’obukaba, ne bakwatirira n’amabeere go amato.

22 (M)“Kale ggwe Okoliba, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ndikuma mu baganzi bo omuliro, ne bakulumba ku njuyi zonna: 23 (N)Abababulooni, n’Abakaludaaya bonna, n’abasajja ab’e Pekodi ne Sara ne Kowa, n’Abaasuli bonna wamu nabo, n’abavubuka abalabika obulungi, n’abaamasaza n’abaduumizi b’eggye bonna, n’abakungu abavuga amagaali n’abaserikale ab’oku ntikko bonna, nga beebagadde embalaasi bonna. 24 (O)Balikulumba nga balina amagaali, n’ebiwalulibwa n’ekibiina eky’abantu; balyesega ne beetereeza mu bifo byabwe ne bakulumba enjuuyi zonna nga bakutte engabo ennene n’entono nga bambadde n’enkuufiira ez’ebyuma. Ndikuwaayo mu mukono gwabwe ne bakusalira omusango, era balikubonereza ng’amateeka gaabwe bwe gali. 25 (P)Ndikuyiwako ekiruyi kyange, nabo ne bakubonereza mu busungu. Balibasalako ennyindo zammwe n’amatu gammwe, n’abalisigalawo balifa n’ekitala. Balitwala batabani bammwe ne bawala bammwe, n’abaliba basigaddewo, balyokebwa omuliro. 26 (Q)Balibambulamu engoye zammwe, ne batwala n’eby’omu bulago. 27 (R)Era ndikomya obukaba n’obwamalaaya bwe waleeta okuva mu Misiri, so tolibuyaayaanira nate newaakubadde okujjukira Misiri.

28 (S)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nnaatera okukuwaayo eri abo abakukyawa n’eri abo be weetamwa. 29 (T)Balikukwata n’obukyayi obuyitiridde, ne batwala ebintu byonna bye wakolerera, ne bakuleka bwereere nga tolina kantu, n’ensonyi z’obwamalaaya zirabibwe buli muntu. Obukaba bwo n’obugwagwa bwo 30 (U)bwe bukuleetedde ebyo, kubanga weegomba amawanga ne weeyonoona ne bakatonda baabwe. 31 (V)Kubanga wagoberera ekkubo lya muganda wo, kyendiva nkuwa ekikompe kye mu mukono gwo.

32 (W)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Olinywa ekikompe kya muganda wo,
    ekikompe ekigazi era ekinene;
kirikuleetera okusekererwa n’okuduulirwa
    kubanga kirimu ebintu bingi.
33 (X)Olijjuzibwa okutamiira n’ennaku,
    ekikompe eky’obuyinike era eky’okunakuwala,
    ekyo kye kikompe kya muganda wo Samaliya.
34 (Y)Olikinywa n’okikaliza;
    olikyasaayasa,
    ne weeyuzaayuza amabeere.

Nze Mukama Katonda, nkyogedde.

35 (Z)Mukama Katonda kyava ayogera nti, Kubanga mwanneerabira ne munkuba amabega, kyemuliva mubonaabona olw’okwegomba kwammwe.” 36 (AA)Mukama n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu olisalira Okola ne Okoliba omusango? Kale nno baŋŋange olw’ebikolwa byabwe eby’ekivve, 37 (AB)kubanga bakoze eby’obwenzi, n’engalo zaabwe zijjudde omusaayi. Benze ne bakatonda baabwe, ne basaddaaka n’abaana baabwe ng’emmere y’abakatonda baabwe, abaana be banzalira. 38 Ne kino bakinkoze. Mu kiseera kyekimu boonoonye ekifo kyange ekitukuvu, era boonoonye ne Ssabbiiti zange. 39 (AC)Ku lunaku kwe baassaddaakira abaana baabwe eri bakatonda baabwe, baayingira mu watukuvu ne bayonoonawo. Ebyo bye baakola mu nnyumba yange.

40 (AD)“Baatuma ababaka okuleeta abasajja okuva ewala ennyo, era bwe baatuuka, ne munaaba ku lwabwe ne mweyonja mu maaso, ne mwambala n’amayinja ag’omuwendo omungi. 41 (AE)Watuula ku kitanda ekinene eky’ekitiibwa, n’oyalirira n’emmeeza mu maaso go ng’etegekeddwako obubaane bwange n’amafuta gange.

42 (AF)“Oluyoogaano olw’ekibinja ky’abantu abatalina nnyo kye bakola ne Abaseba ne lumwetooloola; Abaseba ne baleetebwa okuva mu ddungu wamu n’abasajja abaalyanga mu kasasiro, ne bambaza ebintu eby’ebikomo ku mikono gy’omukazi ne muganda we, ne babatikkira n’engule ennungi ku mitwe gyabwe. 43 (AG)Awo ne njogera ku oyo eyali akaddiye olw’obwenzi nti, ‘Bamukozeseze ddala nga malaaya kubanga ekyo kyali.’ 44 Ne beebaka naye. Ng’abasajja bwe beebaka ne malaaya, bwe batyo beebaka n’abakazi abo abagwenyufu, Okola ne Okoliba. 45 (AH)Naye abatuukirivu balisalira omusango abakazi abenzi era abassi kubanga benzi era n’engalo zaabwe zijjudde omusaayi.

46 (AI)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ‘Mukuŋŋaanye ekibiina ekinene mubaleeteko entiisa era mubanyage. 47 (AJ)Ekibiina ekyo kiribakuba amayinja ne babatemaatema n’ebitala; balitta batabani baabwe ne bawala baabwe ne bookya n’ennyumba zaabwe.’ 

48 (AK)“Bwe ntyo bwe ndikomya obukaba mu nsi, abakazi bonna bakitwale ng’ekyokulabula, baleme okukola ebyo bye mwakola. 49 (AL)Mulisasulibwa olw’obukaba bwammwe, era mulibonerezebwa olw’ebibi byammwe eby’okusinza bakatonda abalala, mulyoke mumanye nga nze Mukama Katonda.”

Zabbuli 70-71

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi, ey’okujjukiza.

70 (A)Ayi Katonda oyanguwa okundokole.
    Ayi Mukama oyanguwe okumbeera.

(B)Abo abannoonya okunzita
    batabulwetabulwe;
abo abannoonya okunzikiriza,
    bagobebwe nga baswadde.
Abagamba nti, “Kasonso,”
    badduke nga bajjudde ensonyi.
Naye bonna abakunoonya
    basanyukenga bajagulizenga mu ggwe.
Abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti,
    “Katonda agulumizibwenga!”

(C)Naye nze ndi mwavu era ndi mu kwetaaga;
    oyanguwe okujja gye ndi, Ayi Katonda.
Ggwe onnyamba era ggwe ondokola,
    Ayi Mukama, tolwa!
71 (D)Mu ggwe, Ayi Mukama, mwe neekweka,
    tondeka kuswazibwa.
(E)Mu butuukirivu bwo ondokole, omponye;
    ontegere okutu ondokole.
(F)Onfuukire olwazi obuddukiro bwange,
    ekifo eky’amaanyi;
ondokole
    kubanga oli lwazi lwange era ekiddukiro kyange.
(G)Ayi Katonda wange omponye mu mukono gw’ababi,
    omponye abantu abatali batuukirivu era abakambwe.

(H)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, ggwe ssuubi lyange;
    ggwe, ggwe neesiga, okuviira ddala mu buvubuka bwange.
(I)Neesiga ggwe kasookedde nzalibwa;
    ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange.
    Nnaakutenderezanga ennaku zonna.
(J)Eri abangi nafuuka;
    naye ggwe kiddukiro kyange eky’amaanyi.
(K)Akamwa kange kajjudde ettendo lyo,
    nga ntenda ekitiibwa kyo obudde okuziba.

(L)Tonsuula mu kiseera kyange eky’obukadde.
    Tondekerera ng’amaanyi gampweddemu.
10 (M)Kubanga abalabe bange banjogerako;
    abo abaagala okunzita bansalira olukwe.
11 (N)Bagamba nti, “Katonda amulese,
    ka tumugobe tumukwate,
    kubanga taliiko anaamuwonya.”
12 (O)Ayi Katonda, tombera wala, Ayi Katonda wange,
    yanguwa ojje ombeere.
13 (P)Abo abampawaabira bazikirizibwe nga bajjudde ensonyi,
    abanoonya okunnumya baswale
    era banyoomebwe.

14 (Q)Naye nze nnaabanga n’essuubi ennaku zonna.
    Era nneeyongeranga okukutenderezanga.

15 (R)Akamwa kange kanaayogeranga ku bikolwa byo eby’obutuukirivu obudde okuziba;
    nnaayogeranga ku bulokozi bwo,
    wadde siyinza kubupima.
16 (S)Nnaatambuliranga mu maanyi go, Ayi Mukama Katonda,
    era ne ntegeezanga nti ggwe wekka ggwe mutuukirivu.
17 (T)Ayi Katonda, ggwe wanjigiriza okuva mu buvubuka bwange;
    n’okutuusa leero nkyatenda ebikolwa byo eby’ekitalo.
18 (U)Ne bwe ndiba nga nkaddiye nga mmeze n’envi,
    tonjabuliranga, Ayi Katonda,
okutuusiza ddala nga mmaze okutendera abo abaliddawo amaanyi go amangi,
    n’okumanyisa emirembe egigenda okujja obuyinza bwo.

19 (V)N’obutuukirivu bwo, Ayi Katonda, butuuka mu ggulu.
    Ggw’okoze ebikulu,
    Ayi Katonda, ani akwenkana?
20 (W)Newaakubadde wandeka ne mbonaabona nnyo bwe ntyo,
    ggw’olinzizaamu obulamu,
n’ompa amaanyi amaggya,
    n’onnyimusa okuva mu kinnya ekiwanvu ennyo wansi w’ensi.
21 (X)Olinnyongerako ekitiibwa
    n’oddamu okunsanyusa.

22 (Y)Nnaakutenderezanga ne nnanga ey’enkoba
    olw’obwesigwa bwo, Ayi Katonda wange;
nnaakutenderezanga n’entongooli,
    Ayi ggwe Omutukuvu wa Isirayiri.
23 (Z)Nnaayimusanga eddoboozi lyange olw’essanyu
    nga nkutendereza,
    nze gw’onunudde!
24 (AA)Olulimi lwange nalwo lunaayogeranga ku bikolwa byo eby’obutuukirivu
    obudde okuziba,
kubanga abo ababadde baagala okunkola akabi
    otabuddetabudde enkwe zaabwe ne baswazibwa.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.