Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Samwiri 19

Sawulo Agezaako Okutta Dawudi

19 (A)Awo Sawulo n’agamba mutabani we Yonasaani, n’abaweereza be bonna, batte Dawudi. Naye Yonasaani yayagalanga nnyo Dawudi, bw’atyo n’amulabula ng’agamba nti, “Kitange Sawulo anoonya bw’anaayinza okukutta. Weekuume enkya ku makya, weekweke mu kifo ekikusifu obeere eyo. (B)Nnaagenda ne nnyimirira ne kitange mu nnimiro, w’onoobeera, ne njogera naye ku bikukwatako, n’oluvannyuma nzija kujja nkutegeeze bye nnaazuula.”

(C)Awo Yonasaani n’ayogera bulungi ku Dawudi eri Sawulo kitaawe ng’agamba nti, “Kabaka aleme okukola akabi ku muddu we Dawudi, kubanga talina kyakukoze, era akuweereza bulungi nnyo mu mirimu egy’omugaso. (D)Yeewaayo n’atta Omufirisuuti; Mukama n’aleetera Isirayiri yenna, obuwanguzi obw’ekitalo, n’okiraba n’osanyuka. Lwaki oyigganya omuntu nga Dawudi ataliiko musango, n’oyagala okumutta awatali nsonga?”

Sawulo n’awuliriza Yonasaani, era n’amulayirira ng’agamba nti, “Mukama nga bw’ali omulamu, Dawudi tajja kuttibwa.”

(E)Awo Yonasaani n’ayita Dawudi, n’amutegeeza byonna. N’amuleeta eri Sawulo, Dawudi n’addamu n’aweereza Sawulo ng’olubereberye. Ne wagwawo olutalo nate, Dawudi n’agenda okulwana n’Abafirisuuti, n’abakuba n’atta bangi ku bo, abaasigalawo ne badduka.

(F)Awo omwoyo omubi okuva eri Mukama ne gujja ku Sawulo bwe yali ng’atudde mu nnyumba ye, ng’akutte effumu mu mukono, Dawudi bwe yali ng’akuba entongooli. 10 (G)Sawulo n’agezaako okumufumitira ku kisenge n’effumu, naye Dawudi n’alyewoma, ne likwasa ekisenge. Ekiro ekyo Dawudi n’adduka n’awona.

11 (H)Sawulo n’atuma ababaka bagende bakuume ennyumba ya Dawudi, bamutte enkeera. Naye Mikali mukyala wa Dawudi n’amulabula n’amugamba nti, “Bw’otodduke kiro kino, bwe bunaakya bajja kukutta.” 12 (I)Awo Mikali n’assiza Dawudi mu ddirisa, n’adduka n’agenda ne yeekweka. 13 Mikali n’addira ekifaananyi ekyole n’akiteeka ku kitanda, n’akibikkako olugoye, n’assa n’ebyoya eby’embuzi ku mutwe gwakyo.

14 (J)Awo Sawulo bwe yatumayo ababaka okuwamba Dawudi, Mikali n’abagamba nti, “Mulwadde.” 15 Sawulo n’abatuma baddeyo bamulabe era n’abalagira nti, “Mumundeetere mu kitanda kye, mmutte.” 16 Naye abasajja bwe bagenda yo, ne balaba ekifaananyi ekyole mu kitanda, nga ne ku mutwe kuliko ebyoya by’embuzi.

17 Sawulo n’abuuza Mikali nti, “Lwaki wannimbye bw’otyo, n’oleka omulabe wange okudduka, n’okuwona n’awona?” Mikali n’amuddamu nti, “Yaŋŋambye nti, ‘Bw’otondeke kugenda nzija kukutta.’ ”

18 (K)Awo Dawudi n’addukira eri Samwiri e Laama, n’amutegeeza byonna Sawulo bye yamukola. Ye ne Samwiri ne bagenda e Nayosi ne babeera eyo. 19 Sawulo n’ategeezebwa nti, “Dawudi ali Nayosi mu Laama;” 20 (L)n’atuma ababaka okumuwamba. Naye bwe baalaba ekibiina kya bannabbi nga boogera eby’obunnabbi, nga Samwiri ye mukulembeze waabwe, Omwoyo wa Katonda n’akka ku basajja ba Sawulo, nabo ne baba nga bali. 21 Awo Sawulo bwe yategeezebwa ekibaddewo, n’atuma ababaka abalala nabo ne baba nga bali. Sawulo n’atuma ekibinja ekyokusatu, era nabo ne baba nga bali. 22 Ekyavaamu, ye yennyini kwe kugenda e Laama, n’atuuka awali oluzzi olunene oluli e Seku, n’abuuza nti, “Samwiri ne Dawudi bali ludda wa?” Ne bamuddamu nti, “Bali Nayosi mu Laama.” 23 (M)Awo Sawulo n’agenda e Nayosi mu Laama, naye Omwoyo wa Mukama n’amukkako, n’atambula ng’ayogera eby’obunnabbi okutuuka e Nayosi. 24 (N)Ne yeyambula ebyambalo bye, n’atandika okwogera nga bannabbi mu maaso ga Samwiri. N’abeera bw’atyo olunaku lwonna n’okuzibya obudde. Abantu kyebaava boogera nti, “Ne Sawulo ali mu bannabbi?”

1 Abakkolinso 1

(A)Nze Pawulo eyayitibwa okuba omutume wa Yesu Kristo olw’okwagala kwa Katonda, ne Sossene[a] owooluganda[b], (B)tuwandiikira ekkanisa ya Katonda eri mu Kkolinso n’eri abo abaatukuzibwa mu Kristo Yesu, abayitibwa abatukuvu, n’abo bonna abakoowoola erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo mu buli kifo, owaabwe era owaffe; (C)ekisa kibe ku mmwe n’emirembe egiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Kristo.

Okwebaza

(D)Nneebaza Katonda wange bulijjo ku lwammwe, olw’ekisa kya Katonda ekyabaweebwa mu Kristo Yesu, (E)mu ye mwagaggawazibwa mu buli kintu, ne mu kwogera kwonna, era ne mu kutegeera kwonna, (F)era ng’obujulirwa bwa Kristo bwe bwakakasibwa mu mmwe, (G)muleme kubaako kye mwetaaga mu kirabo kyonna, nga mulindirira okubikkulirwa kwa Mukama waffe Yesu Kristo. (H)Era oyo y’alibanyweza ku nkomerero, nga temuliiko kya kunenyezebwa ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu Kristo. (I)Katonda mwesigwa, oyo eyabayita mu kussekimu okw’Omwana we Yesu Kristo Mukama waffe.

10 Kaakano mbeegayirira abooluganda, mu Iinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mukkiriziganyenga mwekka na mwekka muleme okwawukananga. Naye mube n’omutima gumu n’endowooza emu. 11 Abooluganda, ab’ewa Kuloowe bannyinnyonnyola nti mu mmwe mulimu ennyombo. 12 (J)Kye ŋŋamba kye kino nti buli omu ku mmwe agamba nti nze ndi wa Pawulo, nze ndi wa Apolo, nze ndi wa Keefa, nze ndi wa Kristo.

13 (K)Kale Kristo ayawuliddwamu? Pawulo yakomererwa ku musaalaba ku lwammwe? Oba mwabatizibwa mu linnya lya Pawulo? 14 (L)Neebaza Katonda kubanga nze sibatizanga muntu n’omu ku mmwe okuggyako Kulisupo ne Gaayo. 15 Noolwekyo si kulwa nga wabaawo agamba nti mwabatizibwa mu linnya lyange. 16 (M)Naye nzijukira nga nabatiza ab’omu nnyumba ya Suteefana, naye sirowooza nga nabatiza omuntu omulala yenna. 17 (N)Kristo teyantuma kubatiza wabula yantuma kubuulira Njiri. Era sigibuulira mu magezi ga bigambo bugambo, si kulwa ng’omusaalaba gwa Kristo gumalibwamu amaanyi gaagwo.

Kristo amagezi n’amaanyi ga Katonda

18 (O)Ekigambo ky’omusaalaba kya busirusiru eri abo abazikirira naye eri ffe abaalokolebwa ge maanyi ga Katonda. 19 (P)Kubanga kyawandiikibwa nti,

“Ndizikiriza amagezi g’abagezi,
    ne nzigyawo okumanya kw’abayivu.”

20 (Q)Kale omugezi aluwa? N’omuwandiisi aluwa? Omuwakanyi w’omulembe guno aluwa? Katonda teyafuula amagezi ag’ensi eno okuba obusirusiru? 21 Kubanga Katonda, mu magezi ge, yalaba ng’ensi teyinza kumumanya ng’eyita mu kutegeera kwayo. Katonda kyeyava asiima okuyita mu busirusiru bw’okubuulira Enjiri okulokola abakkiriza. 22 (R)Kubanga Abayudaaya banoonya bubonero, Abayonaani bo ne banoonya amagezi, 23 (S)naye ffe tubuulira Kristo eyakomererwa. Eri Abayudaaya nkonge, eri Abaamawanga busirusiru, 24 (T)naye eri abaayitibwa, Abayudaaya n’Abamawanga, Kristo ge maanyi ga Katonda, era amagezi ga Katonda. 25 (U)Kubanga obusirusiru bwa Katonda businga amagezi g’abantu, n’obunafu bwa Katonda businga abantu amaanyi.

26 Kubanga mulabe okuyitibwa kwammwe abooluganda, bangi ku mmwe temwali bagezi mu mubiri, era nga bangi temuli b’amaanyi, era nga bangi temwazaalibwa nga muli ba kitiibwa. 27 (V)Naye Katonda yalonda ebisirusiru eby’ensi, akwase abagezi ensonyi; era Katonda yalonda ebinafu eby’ensi, akwase ab’amaanyi ensonyi, 28 (W)era n’alonda abakopi ab’ensi n’abo abanyoomebwa; era n’ebitaliiwo alyoke aggyewo ebiriwo, 29 (X)waleme kubaawo muntu n’omu eyeenyumiriza mu maaso ga Katonda. 30 (Y)Kyokka ku bw’oyo muli mu Kristo Yesu, eyafuuka amagezi gye tuli okuva eri Katonda, bwe butuukirivu, n’okutukuzibwa, n’okununulibwa, 31 (Z)nga bwe kyawandiikibwa nti eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu Mukama waffe.

Okukungubaga 4

(A)Zaabu ng’ettalazze!
    Zaabu ennungi ng’efuuse!
Amayinja ag’omuwendo gasaasaanye
    buli luguudo we lutandikira.

Abaana ba Sayuuni ab’omuwendo
    abaali beenkana nga zaabu ennungi,
kaakano bali ng’ensuwa ez’ebbumba,
    omulimu gw’emikono gy’omubumbi.

(B)Ebibe biyonsa
    abaana baabyo,
naye abantu bange bafuuse ng’abatalina kisa,
    bafaanana nga bammaaya mu ddungu.

(C)Olw’ennyonta omwana ayonka gy’alina,
    olulimi lwe lukwatira ku kibuno ky’akamwa ke;
abaana basaba emmere
    naye tewali n’omu agibawa.

(D)Abaalyanga ebiwoomerera
    basabiriza ku nguudo;
n’abo abaakuzibwa ng’abambala engoye ezinekaaneka
    bali ku ntuumu ez’ebisasiro.

(E)Ekibonerezo ky’abantu bange
    kisinga ekya Sodomu,
ekyawambibwa mu kaseera akatono,
    nga tewali n’omu azze kukibeera.

Abalangira baabwe baatukula nnyo okusinga omuzira,
    nga beeru okusinga amata;
n’emibiri gyabwe nga mimyufu okusinga amayinja amatwakaavu,
    era banyirivu nga safiro.

(F)Naye kaakano badduggala okusinga enziro,
    era tebakyasobola kutegeerekeka mu nguudo.
Olususu lwabwe lukalidde ku magumba gaabwe;
    lukaze ng’ekiti ekikalu.

(G)Abafa ekitala bafa bulungi
    okusinga abafa enjala,
kubanga abafa enjala bayongobera ne baggwaawo
    olw’obutaba na mmere mu nnimiro.

10 (H)Abakazi ab’ekisa abaagala abaana
    bafumbye abaana baabwe;
abaana abaafuuka emmere
    abantu bange bwe baazikirizibwa.

11 (I)Mukama akituukirizza mu busungu bwe obungi,
    era abayiyeeko obusungu bwe obungi.
Yakoleeza omuliro mu Sayuuni
    ogwayokya emisingi gyakyo.

12 (J)Bakabaka b’ensi
    n’abantu ab’ensi endala tebakkiriza,
nti abalabe n’ababakyawa baliyingira
    mu wankaaki wa Yerusaalemi.

13 (K)Ebyo byabatuukako olw’ebibi bya bannabbi be,
    n’olw’obutali butuukirivu bwa bakabona be,
abaayiwa omusaayi
    gw’abatuukirivu abaababeerangamu.

14 (L)Badoobera mu nguudo
    nga bamuzibe;
bajjudde omusaayi
    so tewali ayaŋŋanga okukwata ku byambalo byabwe.

15 (M)Abantu baabagobaganya nga boogera nti, “Muveewo, mmwe abatali balongoofu!
    Muviireewo ddala, so temutukwatako!”
Bwe baafuuka emmombooze,
    amawanga gabagobaganya nga boogera nti,
    “Tebakyasaana kubeera wano.”

16 (N)Mukama yennyini abasaasaanyizza,
    takyabafaako.
Bakabona tebakyassibwamu kitiibwa,
    newaakubadde abakadde okuweebwa ebifo eby’oku mwanjo.

17 (O)Amaaso gaffe gakooye
    olw’okulindirira okubeerwa okutajja;
nga tulindirira
    eggwanga eriyinza okutulokola.

18 (P)Baatucocca
    ne batulemesa okutambulira mu nguudo zaffe;
enkomerero yaffe n’eba kumpi,
    n’ennaku zaffe ne ziggwaayo.

19 (Q)Abaatuyiganyanga baatusinga embiro
    okusinga n’empungu ez’omu bbanga.
Baatugobera mu nsozi
    ne batuteegera mu ddungu.

20 (R)Oyo Mukama gwe yafukako amafuta
    yagwa mu mitego gyabwe.
Twalowooza nga tulikwekebwa mu kisiikirize kye
    ne tubeeranga mu mawanga.

21 (S)Sanyuka ojaguze, ggwe Omuwala wa Edomu,
    abeera mu nsi ya Uzi;
naye lumu olinywa ku kikompe
    n’otamiira ne weeyambula.

22 (T)Ggwe Muwala wa Sayuuni, ekibonerezo kyo kikomye awo,
    talikwongerayo mu busibe.
Naye ggwe omuwala wa Edomu, Mukama alikubonereza,
    n’ayanika ekibi kyo mu lujjudde.

Zabbuli 35

Zabbuli ya Dawudi.

35 (A)Ayi Mukama, wakanya abo abampakanya,
    lwanyisa abo abannwanyisa.
(B)Golokoka okwate engabo,
    n’akagabo onziruukirire.
Galula effumu,
    abangigganya obazibire ekkubo;
otegeeze omwoyo gwange nti,
    “Nze bulokozi bwo.”

(C)Abo bonna abannoonya okunzita bajolongebwe
    era baswazibwe;
abo abateesa okunsanyaawo
    bazzibweyo ennyuma babune emiwabo.
(D)Babe ng’ebisusunku ebifuumuulibwa empewo,
    malayika wa Mukama ng’abagoba.
Ekkubo lyabwe libe lya kizikiza era lijjule obuseerezi, ne malayika wa Mukama ng’abagoba.

Nga bwe bantega omutego nga siriiko kye mbakoze,
    ne bansimira n’ekinnya mu kkubo lyange awatali nsonga,
(E)bazikirizibwe nga tebategedde,
    n’omutego gwe banteze be baba bagugwamu,
    era bagwe ne mu kinnya kiri bazikirire.
(F)Omwoyo gwange ne gulyoka gujaguliza mu Mukama,
    ne gusanyukira mu bulokozi bwe.
10 (G)Amagumba gange galyogera nti,
    “Ani afaanana nga ggwe, Ayi Mukama?
Kubanga abaavu obadduukirira n’obawonya ababasinza amaanyi,
    n’abali mu kwetaaga n’obawonya abanyazi.”

11 (H)Abajulizi abakambwe bagolokoka
    ne bambuuza ebintu bye sirinaako kye mmanyi.
12 (I)Bwe mbayisa obulungi bo bampisa bubi,
    ne banakuwaza omwoyo gwange.
13 (J)So nga bwe baalwala nanakuwala ne nnyambala ebibukutu,
    ne neerumya nga nsiiba, ne nsaba Mukama nga nkotese omutwe,
naye okusaba kwange bwe kutaddibwamu,
14     ne mbeera mu nnaku
    ng’ankungubagira ow’omukwano
oba owooluganda nkoteka omutwe gwange mu buyinike
    ng’akaabira nnyina.
15 (K)Naye bwe nagwa mu kabi ne beekuŋŋaanya nga basanyuse;
    ne bannumba nga simanyi,
    ne bampayiriza obutata.
16 (L)Banduulidde n’ettima ng’abatamanyi Katonda bwe bakola,
    ne bannumira obujiji.
17 (M)Ayi Mukama, olituusa ddi ng’otunula butunuzi?
    Nziruukirira nga bannumba, obulamu bwange obuwonye okutaagulwataagulwa,
    obulamu bwange obw’omuwendo eri empologoma zino.
18 (N)Nnaakwebalizanga mu lukuŋŋaana olukulu,
    ne nkutenderezanga mu kibiina ky’abantu abangi ennyo.
19 (O)Tokkiriza balabe bange kunneeyagalirako,
    abankyawa awatali nsonga;
abankyayira obwereere
    tobakkiriza kunziimuula.
20 Teboogera bya mirembe,
    wabula okuwaayiriza abantu abeetuulidde emirembe mu nsi.
21 (P)Banjasamiza akamwa kaabwe ne boogera nti,
    “Leero luno, ky’okoze tukirabye n’amaaso gaffe.”

22 (Q)Bino byonna obirabye, Ayi Mukama.
    Noolwekyo tosirika. Tonsuulirira, Ayi Mukama.
23 (R)Golokoka ojje onnyambe;
    nnwanirira Ayi Katonda wange era Mukama wange.
24 Mu butuukirivu bwo nnejjeereza, Ayi Mukama Katonda wange,
    tobaganya kunneeyagalirako.
25 (S)Tobaleka kulowooza nti, “Leero luno! Kino kye twali twagala!”
    Oba nti, “Tumusaanyizzaawo!”

26 (T)Abo bonna abanneeyagalirako olw’ennaku yange ne beesanyusa,
    batabulwetabulwe era baswazibwe;
abo bonna abanneegulumirizaako
    baswazibwe era banyoomebwe.
27 (U)Abo abasanyuka ng’annejjeereza,
    baleekaanire waggulu olw’essanyu n’okujaganya;
era boogerenga nti, “Mukama agulumizibwe,
    asanyuka omuweereza we ng’atebenkedde.”

28 (V)Olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo,
    era nnaakutenderezanga olunaku lwonna.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.