Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Samwiri 12

Ebigambo bya Samwiri ng’Asiibula

12 (A)Samwiri n’ayogera eri Isirayiri yenna, ng’agamba nti, “Mpulirizza buli kintu kye muŋŋambye, ne mbateerawo kabaka okubafuga. (B)Kaakano mulina kabaka ng’omukulembeze wammwe. Naye nze nkaddiye, mmeze n’envi, era n’abaana bange bali wano nammwe. Mbadde mukulembeze wammwe okuva mu buvubuka bwange n’okutuusa leero. (C)Nzuuno mu maaso gammwe. Munnumirize ensonga yonna mu maaso ga Mukama ne mu maaso g’oyo gwe yafukako amafuta. Ani gwe nnali ntwalidde ente ye? Oba ani gwe nnali ntwalidde endogoyi ye? Oba ani gwe nnali ndyazaamaanyizza? Oba ani gwe nnali njooze? Oba ani gwe nnali nsabye enguzi? Bwe wabaawo anvunaana mu nsonga yonna nzija kumuliyira.”

Ne baddamu nti, “Totunyagangako newaakubadde okutujooga, wadde okulya enguzi okuva mu mukono gw’omuntu yenna.”

(D)Awo Samwiri n’abaddamu nti, “Mukama ye mujulirwa gye muli, era n’oyo gwe yafukako amafuta mujulirwa leero, nga sirina nsobi yonna mu maaso gammwe.” Ne baddamu nti, “Mujulirwa.”

(E)Samwiri n’agamba abantu nti, “Mukama ye yalonda Musa ne Alooni era n’aggya bajjajjammwe mu Misiri. (F)Kale nno, musseeyo omwoyo mutege amatu mu maaso ga Mukama, eri okubalamula era n’okubajjukiza ebikolwa eby’obutuukirivu Mukama bye yabakolera mmwe ne bajjajjammwe.

(G)“Yakobo bwe yabeera mu Misiri, bajjajjammwe ne bakaabirira Mukama; Mukama yatuma Musa ne Alooni, abaabaggya mu Misiri, n’abateeka mu kifo kino.

(H)“Naye ne beerabira Mukama Katonda waabwe, kyeyava abatunda mu mukono gwa Sisera omuduumizi w’eggye lya Kazoli, ne mu mukono gw’Abafirisuuti, ne mu mukono gwa kabaka wa Mowaabu, abaabalwanyisanga. 10 (I)Abayisirayiri ne bakaabirira Mukama, nga boogera nti, ‘Twasobya, twava ku Mukama ne tuweereza Babaali ne Baasutoleesi. Naye kaakano tulokole okuva mu mukono gw’abalabe baffe, tunaakuweerezanga.’ 11 (J)Mukama n’alyoka atuma Yerubbaali[a], ne Bedani, ne Yefusa ne Samwiri ne babalokola mu mukono gw’abalabe bammwe enjuuyi zonna, ne mutuula mirembe. 12 (K)Naye bwe mwalaba Nakkasi kabaka w’Abamoni ng’abalumba, newaakubadde nga Mukama Katonda wammwe ye yali kabaka wammwe ne muŋŋamba nti, ‘Nedda, ffe twagala kabaka okutufuga.’ 13 (L)Kaakano kabaka gwe mulonze era gwe mwasaba wuuno, era laba Mukama ataddewo kabaka okubafuga. 14 (M)Bwe munaatyanga Mukama ne mumuweerezanga, ne mugonderanga eddoboozi lye, ne mutajeemera biragiro bye, mmwe ne kabaka abafuga ne mugobereranga Mukama Katonda wammwe, kinaabanga kirungi. 15 (N)Naye bwe mutaagonderenga Mukama, ne mujeemera ebiragiro bye, omukono gwe gunaalwananga nammwe, nga bwe kyali ku bajjajjammwe.

16 (O)“Kale nno mulindirire mulabe ekintu ekikulu Mukama kyagenda okukola mu maaso gammwe. 17 (P)Bino kaakano si biseera bya kukungula ŋŋaano. Naye nzija kusaba Mukama, aweereze okubwatuka n’enkuba, mulyoke mutegeere nga kye mwakola okusaba kabaka kyali kibi mu maaso ga Mukama.”

18 (Q)Awo Samwiri n’asaba Mukama, Mukama n’aweereza okubwatuka n’enkuba, abantu bonna ne batya nnyo Mukama ne Samwiri. 19 (R)Awo abantu bonna ne bagamba Samwiri nti, “Tusabire eri Mukama Katonda wo, ffe abaweereza bo, tuleme kufa, kubanga twongedde ku bibi byaffe ebirala byonna, bwe twasabye kabaka.”

20 Samwiri n’addamu abantu nti, “Temutya, okukola mwakola ebibi ebyo byonna, naye temuvanga ku Mukama, kaakano mumuweerezenga n’omutima gwammwe gwonna. 21 (S)Temukyukanga okugoberera ebintu ebitaliimu, ebitayinza kubagasa wadde okubawonya, kubanga tebiriimu nsa. 22 (T)Mukama tagenda kwabulira bantu be, olw’erinnya lye ekkulu, kubanga Mukama yasiima okubafuula ababe. 23 (U)Nze ku lwange, kikafuuwe, okwonoona eri Mukama ne ssibasabira; nnaabalaganga ekkubo ettuufu era eggolokofu. 24 (V)Kyokka mutyenga Mukama era mumuweerezenga n’obwesigwa n’omutima gwammwe gwonna, nga mujjukira ebintu ebikulu bye yabakolera. 25 (W)Naye bwe muneeyongeranga okukola ebibi, mmwe ne kabaka wammwe mulizikirizibwa.”

Abaruumi 10

10 Abooluganda, kye njagala mu mutima gwange era kye nsabira Abayisirayiri eri Katonda, kwe kulokolebwa. (A)Kubanga nkakasa nga balina obunyiikivu eri Katonda, naye si mu kutegeera. (B)Mu butamanya butuukirivu bwa Katonda, bagezaako okwenoonyeza obutuukirivu, nga bagondera amateeka mu kifo ky’okugondera obutuukirivu bwa Katonda. (C)Kristo atuwa amakulu amajjuvu, buli amukkiriza n’amuwa obutuukirivu.

(D)Musa awandiika ku butuukirivu obuva mu mateeka nti, “Omuntu alikola ebintu ebyo aliba mulamu mu byo.” (E)Naye okukkiriza okuva mu butuukirivu, kugamba nti, “Toyogeranga mu mutima gwo nti, ‘Ani alirinnya mu ggulu?’ (kwe kuggya Kristo mu ggulu) newaakubadde okugamba nti, ‘Ani alikka emagombe?’ (kwe kuggya Kristo mu bafu.)” (F)Abo bonna abalina okukkiriza mu Kristo bagamba nti, “Ekigambo kiri kumpi naawe, kiri mu kamwa ko era kiri mu mutima gwo,” kye kigambo eky’okukkiriza kye tubuulira. (G)Bw’oyatula n’akamwa ko nti, Yesu ye Mukama, n’okkiriza n’omutima gwo nga Katonda yamuzuukiza mu bafu, olokoka. 10 Kubanga omuntu akkiriza na mutima gwe n’aweebwa obutuukirivu, era ayatula na kamwa ke n’alokoka. 11 (H)Kubanga Ebyawandiikibwa bigamba nti, “Buli amukkiriza taliswazibwa.” 12 (I)Tewali njawulo wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, kubanga Mukama waabwe y’omu era ayanukula abo bonna abamukoowoola. 13 (J)Buli alikoowoola erinnya lya Mukama alirokoka. 14 Kale balikoowoola batya oyo gwe batakkiririzaamu? Era balikkiriza batya oyo gwe batawulirangako? Era baliwulira batya awatali abuulira? 15 (K)Era balibuulira batya nga tebatumiddwa? Ekyawandiikibwa nga bwe kigamba nti, “Ebigere by’abo abategeeza amawulire amalungi, nga birungi.” 16 (L)Naye si bonna abaagondera Enjiri. Isaaya agamba nti, “Mukama, waliwo akkirizza obubaka bwaffe?” 17 (M)Noolwekyo okukkiriza kujja olw’okuwulira ekigambo kya Kristo. 18 (N)Naye mulowooza Abayisirayiri tebaawulira? Weewaawo baawulira. Ebyawandiikibwa bigamba nti,

“Eddoboozi lyabwe lyabuna mu nsi zonna,
    n’ebigambo byabwe byatuuka ku nkomerero z’ensi.”

19 (O)Abayisirayiri baabitegeera oba tebaabitegeera? Bw’ati Musa bw’addamu ekibuuzo ekyo:

“Ndibaleetera okukwatirwa obuggya abatali ggwanga,
    ne mbasunguwaza olw’eggwanga eritalina kutegeera.”

20 (P)Ne Isaaya yali muvumu bwe yagamba nti,

“Nazuulibwa abo abatannoonya,
    ne ndabika eri abo abatambuulirizaako.”

21 (Q)Naye eri Isirayiri agamba nti,

“Olunaku lwonna nalumala nga ngolodde emikono gyange
    eri eggwanga ekkakanyavu era abantu abeewaggula.”

Yeremiya 49

Obubaka Obukwata ku Amoni

49 (A)Ebikwata ku baana ba Amoni bye bino.

Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Isirayiri terina baana balenzi?
    Terina basika?
Lwaki Malukamu atutte Gaadi?
    Lwaki abantu be batutte ebibuga by’e Gaadi?
(B)Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama Katonda,
“lwe ndiraya eŋŋoma ezirangirira olutalo
    ku Labba eky’abawala ba Amoni.
Kirifuuka ntuumu ya mafunfugu,
    n’ebyalo ebiriraanyeewo byokebwe omuliro.
Isirayiri eryoke egobere ebweru
    abo abagigoba,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.
(C)“Kaaba, ggwe Kesuboni, kubanga Ayi kizikiridde!
    Mukaabe mmwe abatuuze b’omu Labba!
Mwesibe ebibukutu mukungubage.
    Mudduke mudde eno n’eri mu bisenge by’ekibuga,
kubanga Malukamu alitwalibwa mu busibe,
    awamu ne bakabona n’abakungu.
(D)Lwaki mwenyumiriza olw’ebiwonvu byammwe,
    ne mwenyumiriza olw’ebiwonvu ebigimu?
Ggwe omuwala atali mwesigwa,
    weesiga obugagga bwo n’ogamba nti,
    ‘Ani alinnumba?’
Ndikuleetako entiisa,
    okuva mu abo bonna abakwetoolodde,”
    bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye.
“Buli omu ku mmwe aligobebwa,
    era tewali n’omu alikuŋŋaanya abadduka.

(E)“Naye oluvannyuma ndikomyawo nate omukisa gy’abaana ba Amoni,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

Obubaka obukwata ku Edomu

(F)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Tewakyali magezi mu Temani?
    Abeegendereza babuliddwa okutegeera?
    Amagezi gaabwe gaweddemu ensa?
(G)Mukyuke mudduke mwekweke mu mpuku eziri ewala
    mmwe abatuuze b’e Dedani,
kubanga ndireeta ekikangabwa ku Esawu,
    mu kiseera bwe ndimubonerereza.
Abanozi b’emizabbibu singa bazze gy’oli,
    tebandikuleseeko mizabbibu mibale bubazi?
Singa ababbi bazze ekiro,
    tebandibbye byonna bye beetaaga?
10 (H)Naye ndyambula Esawu mwerule;
    ndizuula ebifo bye mwe yeekweka,
    aleme kwekweka.
Abaana be, n’ab’eŋŋanda ze n’ab’omuliraano baakuzikirira,
    era wa kuggwaawo.
11 (I)Bamulekwa mu mmwe mubaleke, ndibalabirira.
    Ne bannamwandu mu mmwe banneesige.”

12 (J)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Obanga abo abatandinywedde ku kikompe bawaliriziddwa okukinywako, lwaki mmwe temubonerezebwa? Temuuleme kubonerezebwa, mulina okukinywa. 13 (K)Neerayirira,” bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Bozula alifuuka matongo era ekibuga ekijjudde entiisa, ekinyoomebwa era ekikolimire, era ebibuga bye byonna biriba matongo emirembe gyonna.”

14 Mpulidde obubaka okuva eri Mukama Katonda.
    Omubaka yatumibwa eri amawanga okugamba nti,
“Mwekuŋŋaanye mukirumbe!
    Mugolokoke mukole olutalo!”

15 “Kaakano ndibafuula aba wansi ennyo mu mawanga,
    abanyoomebwa mu bantu.
16 (L)Entiisa gy’oleeta
    n’amalala g’omutima gwo bikulimbye,
mmwe ababeera mu bunnya bw’amayinja,
    mmwe ababeera waggulu mu nsozi.
Wadde nga muzimba ebisu byammwe okubeera waggulu nga eby’empungu,
    ndibawanulayo ne mbasuula wansi,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.
17 (M)“Edomu kirifuuka kyerolerwa,
    abo bonna abayitawo balyewuunya batye
    olw’ebiwundu bye byonna.
18 (N)Nga Sodomu ne Ggomola bwe byayonoonebwa,
    wamu n’ebibuga ebirala ebiriraanyeewo,” bw’ayogera Mukama Katonda,
“tewaliba n’omu abibeeramu;
    tewali musajja alikituulamu.

19 (O)“Ng’empologoma eva mu bisaka by’omu Yoludaani
    okugenda mu muddo omugimu,
ndigoba Edomu mu nsi ye amangu n’embiro.
    Ani oyo omulonde gwe nnaateekawo akole kino?
Ani ali nga nze era ani ayinza okunsomooza?
    Era musumba wa ndiga ki ayinza okunjolekera?”
20 (P)Noolwekyo, muwulire Mukama Katonda kyategese okuleeta ku Edomu,
    kyategekedde abo abatuula mu Temani.
Endiga ento mu bisibo za kuwalulwa,
    alyonoonera ddala ebisibo byazo ku lwabwe.
21 (Q)Bwe baligwa ensi erikankana,
    emiranga gyabwe giriwulirwa mu Nnyanja Emyufu.
22 (R)Laba, alibuuka mu bire ng’empungu n’atumbiira,
    n’alyoka akka ng’ayanjululiza ebiwaawaatiro bye ku Bozula.
Ku lunaku olwo emitima gy’abalwanyi ba Edomu
    giribeewanika ng’ogw’omukazi alumwa okuzaala.

Obubaka ku Damasiko

23 (S)Ebikwata ku Damasiko:

“Kamasi ne Alupaadi biweddemu amaanyi,
    kubanga biwulidde amawulire amabi.
Bakeŋŋentereddwa,
    batabuddwa ng’ennyanja esiikuuse, tebasobola kutereera.
24 Ddamasiko ayongobedde,
    akyuse adduke
    era okutya kumukutte;
obubalagaze n’obuyinike bimunyweezezza,
    obulumi nga obw’omukazi alumwa okuzaala.
25 Lwaki ekibuga ekimanyiddwa tebakidduse,
    ekibuga mwe nsanyukira?
26 (T)Ddala abavubuka baakyo baligwa mu nguudo,
    n’abalwanyi baakyo bonna ku olwo baakusirisibwa,”
    bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
27 (U)“Ndiyokya bbugwe wa Ddamasiko omuliro;
    gwakumalawo n’embiri za Benukadaadi.”

Obubaka ku Kedali ne Kazoli

28 (V)Bino bye bikwata ku Kedali n’obwakabaka bwa Kazoli, obwalumbibwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni.

Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Golokoka, olumbe Kedali
    ozikirize abantu be bugwanjuba.
29 (W)Weema zaabwe n’ebisibo byabwe bya kutwalibwa;
    enju zaabwe ziryetikkibwa
    n’ebintu byabwe byonna n’eŋŋamira zaabwe.
Abasajja balibakanga nga bawowoggana nti,
    ‘Akabi kavudde ku buli ludda!’

30 “Mudduke mwekukume mangu!
    Mubeere mu mpuku empanvu, mmwe abatuuze b’omu Kazoli,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.
“Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni abasalidde olukwe;
    ategese okubalumba.

31 (X)“Golokoka olumbe eggwanga eriri mu ggandaalo,
    eriri mu kweyagala,”
    bw’ayogera Mukama Katonda,
“eggwanga eritalina miryango gisibwa wadde ebyuma;
    abantu baalyo babeera awo bokka.
32 (Y)Eŋŋamira zaabwe zaakunyagibwa,
    n’amagana gaabwe amanene gatwalibwe.
Ndibasaasaanya eri empewo, abo abali mu bifo eby’ewala,
    mbaleeteko akabi okuva ku buli ludda,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.
33 (Z)“Kazoli alifuuka kifo kya bibe,
    ekifo eky’amatongo eky’emirembe n’emirembe.
Tewali alikibeeramu;
    tewali muntu alikituulamu.”

Obubaka ku Eramu

34 (AA)Kino kye kigambo kya Mukama Katonda ekyajjira nnabbi Yeremiya ekikwata ku Eramu, nga Zeddekiya kabaka wa Yuda kyajje alye obwakabaka.

35 (AB)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Laba, ndimenya omutego gwa Eramu,
    amaanyi gaabwe mwe gasinga okwesigibwa.
36 (AC)Era ndireeta ku Eramu empewo ennya,
    okuva mu bitundu ebina eby’eggulu;
ndibasaasaanyiza eri empewo ezo ennya,
    era tewaliba nsi n’emu
    abawaŋŋanguse ba Eramu gye bataliddukiramu.
37 (AD)Ndimenyeramenyera Eramu mu maaso g’abalabe be,
    mu maaso gaabo abamunoonya okumutta;
ndibatuusaako ekikangabwa,
    n’obusungu bwange obungi ennyo,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.
“Ndibawondera n’ekitala
    okutuusa lwe ndibamalirawo ddala.
38 Nditeeka entebe yange ey’obwakabaka mu Eramu
    era nzikirize kabaka we n’abakungu be,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

39 (AE)“Wabula ekiseera kijja,
    lwe ndiddiramu Eramu,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

Zabbuli 26-27

Zabbuli ya Dawudi.

26 (A)Onnejjeereze, Ayi Mukama,
    kubanga obulamu bwange tebuliiko kya kunenyezebwa;
nneesiga ggwe, Ayi Mukama,
    nga sibuusabuusa.
(B)Neetegereza, Ayi Mukama, ongezese;
    weekalirize ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange.
(C)Kubanga okwagala kwo kwe kunkulembera,
    era mu mazima go mwe ntambulira.

(D)Situula na bantu balimba,
    so siteesaganya na bakuusa.
(E)Nkyawa ekibiina ky’aboonoonyi;
    so situula na bakozi ba bibi.
(F)Naaba mu ngalo zange okulaga nga bwe sirina misango;[a]
    ne ndyoka nzija ku Kyoto kyo, Ayi Mukama;
(G)ne nnyimba oluyimba olw’okwebaza,
    olwogera ku bikolwa byo ebyewuunyisa.

(H)Ennyumba yo mw’obeera njagala, Ayi Mukama,
    kye kifo ekijjudde ekitiibwa kyo.
(I)Tombalira mu boonoonyi,
    wadde mu batemu,
10 (J)abakozesa emikono gyabwe okutegeka ebikolwa ebibi,
    era abali b’enguzi.
11 (K)Naye nze ntambula nga siriiko kye nnenyezebwa;
    nkwatirwa ekisa, Ayi Mukama, ondokole.

12 (L)Nnyimiridde watereevu.
    Nnaatenderezanga Mukama mu kibiina ky’abantu ekinene.

Zabbuli ya Dawudi.

27 (M)Mukama gwe musana gwange n’obulokozi bwange;
    ani gwe nnaatyanga?
Mukama ge maanyi ag’obulamu bwange;
    ani asobola okuntiisa?

(N)Abalabe bange n’abantu ababi bonna
    bwe banannumba nga baagala okunzita,
baneesittala
    ne bagwa.
(O)Newaakubadde ng’eggye linaasiisira okunneebungulula,
    omutima gwange teguutyenga;
olutalo ne bwe lunansitukirangako,
    nnaabanga mugumu.

(P)Ekintu kimu kye nsaba Mukama,
    era ekyo kye nnoonya:
okubeeranga mu nnyumba ya Mukama
    ennaku zonna ez’obulamu bwange,
ne ndabanga obulungi bwa Mukama,
    era ne nsinzizanga mu Yeekaalu ye.
(Q)Kubanga mu biseera eby’obuzibu
    anansuzanga mu nju ye;
anankwekanga mu weema ye,
    n’ankuumira ku lwazi olugulumivu.

(R)Olwo ononnyimusanga
    waggulu w’abalabe bange abanneetoolodde.
Nnaaweerangayo ssaddaaka mu weema ye nga bwe ntendereza n’eddoboozi ery’omwanguka olw’essanyu;
    nnaayimbiranga Mukama ennyimba ez’okumutenderezanga.

(S)Wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama, nga nkukoowoola;
    onkwatirwe ekisa onnyanukule!
Omutima gwange guwulidde eddoboozi lyo nga lyogera nti, “Munnoonye, munsinze.”
    Omutima gwange ne guddamu nti, “Nnaakunoonyanga, Ayi Mukama.”
(T)Tonneekweka,
    so tonyiigira muweereza wo,
    kubanga ggw’obadde omubeezi wange bulijjo.
Tonneggyaako, so tonsuula,
    Ayi Katonda, Omulokozi wange.
10 Kitange ne mmange bwe balindeka,
    Mukama anandabiriranga.
11 (U)Njigiriza, Ayi Mukama, by’oyagala nkole,
    era onkulembere mu kkubo lyo,
    kubanga abalabe bange banneetoolodde.
12 (V)Tompaayo mu balabe bange,
    kubanga abajulizi ab’obulimba bansitukiddeko n’enkwe zaabwe,
    okunkambuwalira.

13 (W)Nkyakakasiza ddala
    nga ndiraba obulungi bwa Mukama
    mu nsi ey’abalamu.
14 (X)Lindirira Mukama.
    Ddamu amaanyi, ogume omwoyo.
    Weewaawo, lindirira Mukama.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.